Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo

Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo

“Tuli bitundu bya mubiri gumu.”BEF. 4:25.

1, 2. Kiki Katonda kye yeetaagisa abaweereza be, abato n’abakulu?

OKYALI muvubuka? Bwe kiba kityo, kimanye nti oli wa muwendo nnyo mu kibiina kya Yakuwa. Mu nsi nnyingi, abasinga obungi ku abo ababatizibwa baba bavubuka. Nga kisanyusa nnyo okulaba ng’abavubuka bangi beewaddeyo okuweereza Yakuwa!

2 Ng’omuvubuka, kikusanyusa okubeerako awamu ne bavubuka banno? Ekyo kiyinza okuba nga kikusanyusa. Kya lwatu nti ffenna oluusi kitusanyusa nnyo okubeerako awamu n’abantu ab’emyaka gyaffe. Naye, ka tube bato oba bakulu oba ka tube mu mbeera ki, Katonda ayagala tumusinze nga tuli bumu. Omutume Pawulo yagamba nti Katonda “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Okubikkulirwa 7:9, walaga nti abaweereza ba Katonda bava mu “buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.”

3, 4. (a) Mwoyo ki abavubuka abasinga obungi leero gwe balina? (b) Ndowooza ki etuukana n’ebyo ebiri mu Abeefeso 4:25?

3 Waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abavubuka abaweereza Yakuwa n’abavubuka abatamuweereza. Bangi ku abo abataweereza Yakuwa balina omwoyo gw’okwerowoozaako bokka. Engeri gye boogeramu n’engeri gye bambalamu eraga nti banyooma abantu abakulu era babatwala ng’abatakyali ku mulembe.

4 Omwoyo ogwo omubi gubunye buli wamu. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa abakyali abavubuka balina okufuba ennyo okwewala omwoyo ogwo n’okusigala nga balina endowooza ya Katonda. Ne mu kyasa ekyasooka, Pawulo yakiraba nti kyali kyetaagisa okukubiriza bakkiriza banne okwewala “omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu,” omwoyo gwe ‘baatambulirangamu edda.’ (Soma Abeefeso 2:1-3.) Abavubuka abafuba okwewala omwoyo ogwo era abafuba okukolera awamu ne bakkiriza bannaabwe bonna, basiimibwa nnyo. Endowooza eyo ennungi etuukana n’ebigambo bya Pawulo bino: “Tuli bitundu bya mubiri gumu.” (Bef. 4:25) Ng’enkomerero y’ensi eno egenda yeeyongera okusembera, kikulu nnyo okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. Ka tulabeyo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ebiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okuba obumu.

BAALI BUMU

5, 6. Kiki kye tuyigira ku Lutti ne bawala be?

5 Mu biseera by’edda, abaweereza ba Yakuwa abamu baayolekagana n’embeera enzibu ennyo. Bwe baabanga obumu era ne bayambagana, Yakuwa yabakuumanga. Abaweereza ba Yakuwa leero, ka babe bakulu oba bato, balina kye bayinza okuyigira ku baweereza ba Katonda ab’edda aboogerwako mu Bayibuli. Omu ku bo yali Lutti.

6 Lutti n’ab’omu maka ge baayolekagana n’embeera enzibu olw’okuba Katonda yali agenda kuzikiriza ekibuga Sodomu, mwe baali babeera. Bamalayika ba Katonda baagamba Lutti okuddukira mu nsozi asobole okuwonawo. Baamugamba nti: “Dduka oleme okufa.” (Lub. 19:12-22) Lutti yakolera ku kulabula okwo era ne bawala be ababiri baamwegattako ne badduka okuva mu kibuga ekyo. Eky’ennaku, abalala tebaakolera ku kulabula okwo. Abasajja abaali bagenda okuwasa bawala ba Lutti, baalaba nga Lutti ‘eyali asaaga,’ era ekyo kyabaleetera okufiirwa obulamu bwabwe. (Lub. 19:14) Lutti ne bawala be abaamunywererako be bokka abaawonawo.

7. Yakuwa yayamba atya abantu be abaali obumu nga bava e Misiri?

7 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri, tebeekolamu bubinjabinja, buli kabinja ne katambula ku lwako. Musa bwe ‘yagolola omukono gwe ku nnyanja’ Yakuwa n’ayawulamu ennyanja, Musa teyayitamu yekka oba n’abamu ku Baisiraeri, wabula yayitamu n’ekibiina kyonna, era Yakuwa yabakuuma. (Kuv. 14:21, 22, 29, 30) Baali bumu, era beegattibwako ‘ekibiina kya bannaggwanga,’ abataali Baisiraeri abadda ku ludda lw’Abaisiraeri. (Kuv. 12:38) Tekyandibadde kya magezi abamu ku bo okwekolamu akabinja, oboolyawo nga ka bavubuka, ne basalawo okukwata ekkubo bo lye bandirowoozezza nti ttuufu. Omuntu yenna eyandisazeewo okweyawula ku banne teyandifunye bukuumi bwa Yakuwa.—1 Kol. 10:1.

8. Mu kiseera kya Yekosofaati, abantu ba Katonda baayoleka batya obumu?

8 Mu kiseera kya Kabaka Yekosofaati, abantu ba Katonda baalumbibwa “eggye eddene” okuva mu bitundu ebyali bibeetoolodde. (2 Byom. 20:1, 2) Abantu ba Katonda tebaagezaako kulwanyisa balabe baabwe abo mu maanyi gaabwe. Mu kifo ky’ekyo, baasaba Yakuwa abayambe. (Soma 2 Ebyomumirembe 20:3, 4.) Abaisiraeri tebaagezaako kwesalira magezi kinnoomu. Bayibuli egamba nti: “Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n’abaana baabwe.” (2 Byom. 20:13) Bonna, abato n’abakulu, beesiga Yakuwa ne bakolera ku bulagirizi Yakuwa bwe yali abawadde, era Yakuwa yabanunula okuva mu mikono gy’abalabe baabwe. (2 Byom. 20:20-27) Ekyokulabirako ekyo kituyamba okulaba engeri abantu ba Katonda gye basaanidde okweyisaamu nga bafunye ebizibu.

9. Kiki kye tuyigira ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka?

9 N’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bumu. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’Abayudaaya bangi n’abakyufu okufuuka Abakristaayo, beeyongera “okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga, ne bagabananga ebintu byonna, ne baliiranga wamu era ne banyiikiranga okusaba.” (Bik. 2:42) Obumu obwo okusingira ddala bweyolekanga bwe baabanga bayigganyizibwa. Mu biseera ng’ebyo buli omu yabanga yeetaaga nnyo munne. (Bik. 4:23, 24) Naffe bwe tuba tuyigganyizibwa, tulina okuba obumu n’okuyambagana.

OKUBA OBUMU NG’OLUNAKU LWA YAKUWA BWE LWEYONGERA OKUSEMBERA

10. Ddi lwe tujja okwetaaga ennyo okuba obumu?

10 Mu kiseera ekitali kya wala, tujja kwolekagana n’ekiseera ekizibu ennyo mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Ekiseera ekyo, nnabbi Yoweeri yakyogerako ‘ng’olunaku olw’ekizikiza n’ekikome.’ (Yo. 2:1, 2; Zef. 1:14) Mu kiseera ekyo, abantu ba Katonda kijja kubeetaagisa nnyo okuba obumu. Kijjukire nti Yesu yagamba nti: “Buli bwakabaka obweyawulamu buzikirira.”—Mat. 12:25.

11. Bwe kituuka ku bumu, kiki abantu ba Katonda kye bayigira ku ebyo ebiri mu Zabbuli 122:3, 4? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)

11 Mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo, tujja kwetaaga nnyo okuba obumu. Obumu bwe tulina mu kibiina Ekikristaayo, buyinza okugeraageranyizibwa ku ngeri amayumba g’omu Yerusaalemi eky’edda gye gaazimbibwangamu. Amayumba ago gaazimbibwanga nga gali kumu kumu ne kiba nti omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti Yerusaalemi kye ‘kibuga ekigattiddwa awamu.’ Ekyo kyasobozesanga abantu b’omu kibuga ekyo buli omu okuyamba munne n’okumudduukirira ng’afunye ekizibu. Ate era okuba nti ennyumba ezo zaali kumu kumu, kiyinza okuba nga kyajjukiza omuwandiisi wa Zabbuli obumu Abaisiraeri bwe baabanga nabwo nga bakuŋŋaanye ng’eggwanga okusinza Yakuwa. (Soma Zabbuli 122:3, 4.) Mu kiseera kino ne mu kiseera ekizibu ekigenda okujja, twetaaga okusigala nga tuli bumu.

12. Kiki ekinaatuyamba okufuna obukuumi nga Googi atulumbye?

12 Lwaki kijja kutwetaagisa nnyo okuba obumu mu kiseera eky’omu maaso? Ezeekyeri essuula 38 eyogera ku bulumbaganyi “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” bw’ajja okukola ku bantu ba Katonda. Mu kiseera ekyo, tekijja kuba kya magezi kweyawula ku bakkiriza bannaffe. Ate era tekijja kuba kya magezi kunoonya buyambi mu nsi eno. Mu kifo ky’ekyo tujja kuba twetaaga nnyo okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. Kya lwatu nti okubeera obubeezi ne bakkiriza bannaffe si kye kijja okutuyamba okuwonawo. Mu kiseera ekyo ekizibu, Yakuwa n’Omwana we bajja kuwonyaawo abo abakoowoola erinnya lya Yakuwa. (Yo. 2:32; Mat. 28:20) Ddala kya magezi okulowooza nti abo abeeyawudde ku kibiina kya Yakuwa, ne basalawo okukola ebintu nga bo bwe baagala, bajja kuwonyezebwawo?—Mi. 2:12.

13. Biki abavubuka bye bayinza okuyiga mu byokulabirako bye twakalaba?

13 Bw’oba okyali muvubuka, okiraba nti kya magezi okubeera obumu ne bakkiriza banno? Bwe kiba kityo, weewala okweyawula ku balala oba okuba nga buli kiseera obeera n’abo bokka ab’emyaka gyo. Tusemberedde ekiseera ffenna abato n’abakulu lwe tujja okuba nga twetaaga nnyo okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. Mu butuufu, kino kye kiseera okwemanyiiza okukolera awamu ne bakkiriza bannaffe, kubanga ekyo kijja kutuyamba okuwonawo mu kiseera eky’omu maaso.

“TULI BITUNDU BYA MUBIRI GUMU”

14, 15. (a) Lwaki Yakuwa atutendeka okubeera obumu leero? (b) Magezi ki Yakuwa g’atuwa agasobola okutuyamba okuba obumu?

14 Yakuwa atuyamba okumuweereza nga tuli bumu. (Zef. 3:8, 9) Atutegekera ebiseera eby’omu maaso, ‘lw’anaakuŋŋaanya ebintu byonna mu Kristo.’ (Soma Abeefeso 1:9, 10.) Yakuwa ayagala okugatta awamu abaweereza be ab’omu ggulu n’ab’oku nsi babe bumu, era ekyo ajja kukituukiriza. Ggwe omuvubuka, ekyo kikuyamba okulaba obukulu bw’okukolera awamu n’ekibiina kya Yakuwa?

15 Yakuwa atutendeka okuba obumu leero, kitusobozese okubeera obumu emirembe gyonna mu nsi ye empya. Enfunda n’enfunda, Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okufaayo ku bannaffe,’ ‘okwagalananga,’ ‘okubudaabudagananga,’ ‘n’okuzimbagananga.’ (1 Kol. 12:25; Bar. 12:10; 1 Bas. 4:18; 5:11) Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde, era nti kiyinza okutuzibuwalira okuba obumu. Eyo ye nsonga lwaki atukubiriza ‘okusonyiwagananga.’—Bef. 4:32.

16, 17. (a) Emu ku nsonga lwaki tuba n’enkuŋŋaana zaffe y’eruwa? (b) Kiki abavubuka kye bayinza okuyigira ku Yesu?

16 Engeri endala Yakuwa gy’atuyambamu okuba obumu kwe kuyitira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Abebbulaniya 10:24, 25 walaga nti emu ku nsonga lwaki tukuŋŋaana wamu kwe kusobozesa ‘buli omu ku ffe okulowooza ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’ Ate era enkuŋŋaana zituyamba ‘okuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe tulaba nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde.’

17 Yesu yayagalanga nnyo okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Yakuwa. Lumu, nga wa myaka 12, Yesu yagenda ne bazadde be ku lukuŋŋaana olunene olwali mu yeekaalu. Ekiseera kyatuuka bazadde be ne baba nga tebakyamulaba. Naye Yesu yali tali na bavubuka banne. Mu kifo ky’ekyo, Yusufu ne Maliyamu baamusanga “mu yeekaalu ng’atudde n’abayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo.”—Luk. 2:45-47.

18. Okusabira bakkiriza bannaffe kiyinza kitya okutuyamba okuba obumu?

18 Engeri endala gye tuyinza okunyweza obumu ne Bakristaayo bannaffe kwe kubasabiranga. Bwe tutegeeza Yakuwa ebizibu bakkiriza bannaffe bye boolekagana nabyo era ne tumusaba abayambe, kijja kutuyamba okwongera okubaagala. Ffenna abakulu n’abato, tusaanidde okwagala bakkiriza bannaffe, okubazzaamu amaanyi nga bazze mu nkuŋŋaana, n’okubasabiranga. Bw’oba oli muvubuka, ofuba okukola ebintu ebyo, kikuyambe okuba obumu ne bakkiriza banno? Bwe tuba ab’okuwonawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa, tulina okuba obumu ne bakkiriza bannaffe.

Ffenna tusobola okusabira bakkiriza bannaffe (Laba akatundu 18)

TUKIRAGE NTI “BULI OMU KITUNDU KYA MUNNE”

19-21. (a) Emu ku ngeri gye tulagamu nti “buli omu kitundu kya munne” y’eruwa? Waayo ebyokulabirako. (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri bakkiriza bannaffe abamu gye baayambaganamu nga waguddewo obutyabaga?

19 Abantu ba Yakuwa bakolera ku musingi oguli mu Abaruumi 12:5 ogugamba nti: “Buli omu kitundu kya munne.” Ekyo kyeyoleka bulungi naddala nga waguddewo akatyabaga. Mu Ddesemba 2011, omuyaga ogw’amaanyi gwakuba ekizinga ky’e Mindanao eky’omu Philippine. Mu kiro kimu kyokka, amayumba agasukka mu 40,000 gaali gabikkiddwa amazzi. Ofiisi y’ettabi yagamba nti ne bwe yali tennaba kutwalayo buyambi bwonna, ab’oluganda okuva mu bitundu ebirala baali baatandise dda okuweereza obuyambi.

20 Ate era musisi ow’amaanyi bwe yayita mu Japan n’aleeta ne ssunami, bakkiriza bannaffe bangi baakosebwa nnyo. Abamu ku bo tebaasigaza kantu konna. Mwannyinaffe Yoshiko, eyali abeera mayiro nga 25 okuva Ekizimbe ky’Obwakabaka we kiri, ennyumba ye yasaanawo. Yagamba nti: “Twakwatibwako nnyo okukimanya nti ku lunaku olwaddako, omulabirizi w’ekitundu n’ow’oluganda omulala bajja nga batunoonya.” Yagattako nti: “Kyatusanyusa nnyo okuba nti mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, ebyetaago byaffe eby’omwoyo byakolebwako okuyitira mu kibiina. Okugatta ku ekyo, baatuwa kabuuti, engatto, ensawo, n’eby’okwambala ebirala.” Omu ku b’oluganda akola mu kitongole ekidduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga yagamba nti: “Ab’oluganda bonna mu Japan baakolera wamu okuyambagana. Waliwo n’ab’oluganda abaatindigga olugendo okuva mu Amerika ne bajja mu Japan okuyamba bakkiriza bannaabwe. Bwe baabuuzibwa ensonga lwaki baali basazeewo okutindigga olugendo olwo lwonna, baagamba nti, ‘Ffe ne bakkiriza bannaffe mu Japan tuli bumu, ate kati beetaaga obuyambi.’” Toli musanyufu okuba nti oli mu kibiina ng’ekyo ekifaayo ennyo ku bantu baakyo? Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa kimusanyusa nnyo okulaba abaweereza be nga bali bumu.

21 Okukolera awamu ne bakkiriza bannaffe mu kiseera kino kijja kutuyamba okusigala nga tuli bumu nga twolekagana n’ebizibu bye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Tujja kusigala nga tuli bumu ne bwe tunaaba nga tetukyasobola kuwuliziganya ne bakkiriza bannaffe mu bitundu by’ensi ebirala. Mwannyinaffe Fumiko, eyakosebwa omuyaga ogwayita mu Japan, agamba nti: “Enkomerero eneetera okutuuka. Tusaanidde okweyongera okuyamba bakkiriza bannaffe okutuusiza ddala mu kiseera ensi lw’eneeba nga tekyalimu butyabaga.”

22. Okuba obumu kinaatuyamba kitya mu biseera eby’omu maaso?

22 Abakristaayo, abato n’abakulu, abafuba okuba obumu ne bakkiriza bannaabwe mu kiseera kino, beetegekera okuwonawo ng’ensi eno embi eteri bumu ezikirizibwa. Nga bwe kyali mu biseera by’edda, Katonda ajja kuwonyaawo abantu be. (Is. 52:9, 10) Kijjukirenga nti okusobola okuwonawo mu kiseera ekyo, olina okuba ng’oli bumu n’abantu ba Katonda. Ekintu ekirala ekinaatuyamba okuwonawo kwe kusiima ebyo byonna bye tulina. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nsonga eyo.