Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kikwetaagisa Okukyusa Endowooza Yo?

Kikwetaagisa Okukyusa Endowooza Yo?

LUMU waaliwo abavubuka Abakristaayo baasalawo okugenda okulaba firimu. Baali bawulidde nti bayizi bannaabwe baali balabye firimu eyo era nga yali ebanyumidde nnyo. Bwe baatuuka ku kizimbe omwali mugenda okulagirwa firimu eyo, baalaba ebipande ebigiranga nga kuliko ebifaananyi by’eby’okulwanyisa n’eby’abakazi abambadde obubi ennyo. Bandikoze ki? Bandiyingidde ne balaba firimu eyo?

Ekyokulabirako ekyo kiraga nti bulijjo twolekagana n’okusalawo okuyinza okuviirako enkolagana yaffe ne Yakuwa okunywera oba okwonooneka. Oluusi oyinza okuba ng’olina ekintu ky’oyagala okukola naye oluvannyuma lw’okukirowoozaako ennyo n’osalawo okukyusa endowooza yo. Ekyo kiba kitegeeza nti oli muntu atasalawo?

LWE KITABA KITUUFU Kukyusa Ndowooza Yo

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwatukubiriza okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa. Twagala nnyo okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda. Kyokka, omulabe waffe Sitaani Omulyolyomi akola kyonna ekisoboka okutuleetera okulekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa. (Kub. 12:17) Twasalawo okuweereza Yakuwa n’okukwata ebiragiro bye. Okuva bwe kiri nti twewaayo eri Yakuwa, kiba kikyamu okukyusa endowooza yaffe! Ekyo kiyinza okutuviirako okufiirwa obulamu bwaffe.

Ebyasa ebisukka mu 26 emabega, Kabaka Nebukadduneeza yateekawo ekibumbe ekinene ekya zzaabu era n’alagira abantu bonna bakivunnamire bakisinze. Omuntu yenna eyandigaanye okukola ekyo yandisuuliddwa mu kikoomi ky’omuliro. Naye waliwo abaweereza ba Yakuwa basatu abeesigwa, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, abaagaana okuvunnamira ekibumbe ekyo. Ekyo kyabaviirako okusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro. Naye Yakuwa yabanunula mu ngeri ey’ekyamagero. Mu butuufu, abaweereza ba Yakuwa abo baali beetegefu okunywerera ku kituufu ne bwe kyandibadde kitegeeza kufa.—Dan. 3:1-27.

Ate lowooza ku nnabbi Danyeri. Wadde nga yali akimanyi nti abalala bwe bandimulabye ng’asaba yandisuuliddwa mu kinnya ky’empologoma, yeeyongeranga okusaba emirundi esatu buli lunaku, ng’enkola ye bwe yali. Danyeri yali mumalirivu okweyongera okusinza Katonda ow’amazima. N’ekyavaamu, Danyeri yanunulwa okuva mu ‘maanyi g’empologoma.’—Dan. 6:1-27.

Ne leero abaweereza ba Katonda bafuba okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga beewaayo eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, ku ssomero erimu mu Afirika, waliwo abaana Abajulirwa ba Yakuwa abaagaana okukubira bbendera saluti. Abaana abo baabagamba nti singa ekyo tebakikola, baali ba kugobebwa ku ssomero. Waayita ekiseera kitono, minisita w’eby’enjigiriza n’agendako mu kibuga ekyo era n’ayogerako n’abamu ku bayizi Abajulirwa ba Yakuwa. Abaana abo bamunnyonnyola ensonga lwaki tebakubira bbendera saluti. Okuva olwo, ensonga eyo yagonjoolwa. Kati, baganda baffe ne bannyinaffe abo tebakakibwa kukola kintu ekiyinza okwonoona nkolagana yaabwe ne Yakuwa.

Kati ate lowooza ku Joseph. Mukyala we yalwala kansa era oluvannyuma lw’ekiseera kitono n’afa. Ab’eŋŋanda za Joseph baali bamanyi nti teyeenyigira mu bulombolombo abantu bwe bakola ng’omuntu afudde era tebaagezaako kubukola. Kyokka, ab’eŋŋanda za mukyala we si Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe baali ku mukolo gw’okuziika, baagezaako okukola obulombolombo obutasanyusa Katonda. Joseph agamba nti: Bwe baalaba nga mmaliridde okunywerera ku kituufu, baagezaako okusendasenda abaana bange, naye nabo ne bagaana okwekkiriranya. Ab’enŋŋanda za mukyala wange era baagezaako okukuma olumbe mu maka gange, naye ne mbagamba nti bwe baba baagala okukuma olumbe tebalina kulukumira mu maka gange. Baakitegeera nti okukuma olumbe kyali kikontana n’ebyo bye nzikiriza era ne mukyala wange bye yali akkiriza. Bwe kityo, baasalawo okugenda mu kifo ekirala okukumira eyo olumbe.

“Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, nnasaba nnyo Yakuwa annyambe n’ab’omu maka gange obutamenya mateeka ge. Yawulira essaala zange era bw’atyo n’atuyamba okunywerera ku kituufu wadde nga twali tupikirizibwa.” Joseph n’abaana be baali bamalirivu okunywerera ku kusinza okw’amazima era tebaali beetegefu kukyusa ndowooza yaabwe.

LWE KIYINZA OKWETAAGISA Okukyusa Endowooza Yo

Mu mwaka gwa 32 E.E., waaliwo omukazi ataali Muisiraeri eyasanga Yesu Kristo mu kitundu ky’e Sidoni. Yamwegayirira enfunda n’enfunda agobe dayimooni ku muwala we. Mu kusooka, Yesu teyamunyega kigambo. Yagamba abayigirizwa be nti: “Saatumibwa walala wonna wabula eri endiga z’ennyumba ya Isiraeri ezaabula.” Omukazi oyo bwe yeeyongera okwegayirira Yesu, Yesu yamugamba nti: “Si kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” Omukazi oyo yakiraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi bwe yagamba Yesu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu yakkiriza okumukolera kye yali asaba era n’awonya muwala we.—Mat. 15:21-28.

Mu kukola ekyo, Yesu yali akoppa Yakuwa, Katonda omwetegefu okukyusaamu bwe kiba kyetaagisizza. Ng’ekyokulabirako, Katonda yali asazeewo okuzikiriza Abaisiraeri oluvannyuma lw’okukola ennyana eya zzaabu, naye Musa bwe yamwegayirira, yakyusa mu ekyo kye yali asazeewo.—Kuv. 32:7-14.

Omutume Pawulo yakoppa Yakuwa ne Yesu. Okumala ekiseera, Pawulo yali awulira nti tekyali kituufu kugenda ne Yokaana Makko ku lugendo lwabwe olw’obuminsani okuva bwe kiri nti Makko yayabulira Pawulo ne Balunabba ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka. Kyokka oluvannyuma Pawulo yakiraba nti Makko yali akuze mu by’omwoyo era nti yali asobola okuba ow’omugaso. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza.”—2 Tim. 4:11.

Ate ffe? Tusobola okukoppa Yakuwa, Katonda ow’ekisa, omugumiikiriza, era ow’okwagala nga tuba beetegefu okukyusaamu bwe kiba kyetaagisizza. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukyusa endowooza gye tulina ku balala. Obutafaananako Yakuwa ne Yesu, ffe tetutuukiridde. Bwe kiba nti bo beetegefu okukyusaamu we kiba kyetaagisizza, naffe tetwandikoze kye kimu?

Oluusi kiyinza okutwetaagisa okukyusa endowooza yaffe bwe kituuka ku biruubirirwa eby’omwoyo. Abamu ku abo be tuyigiriza Bayibuli oba abo abajja mu nkuŋŋaana zaffe bayinza okwagala okugira nga balindako okubatizibwa. Oba ab’oluganda abamu bayinza okuba ng’embeera yaabwe ebasobozesa okuweereza nga bapayoniya naye nga batya okutandika okuweereza nga bapayoniya. Ate ab’oluganda abamu bayinza okuba nga tebaagala kuweereza ng’abakadde oba abaweereza. (1 Tim. 3:1) Kyandiba nti naawe ogwa mu kimu ku biti ebyo? Yakuwa ayagala weeteerewo ebiruubirirwa ng’ebyo era obituukeko. N’olwekyo, lwaki tokyusa ndowooza yo osobole okufuna essanyu eriva mu kuweereza Yakuwa n’abalala?

Okukyusa endowooza yo kiyinza okukuviiramu emikisa

Ng’ayogera ku buweereza bwe ku ofiisi y’ettabi emu mu Afirika, mwannyinaffe Ella agamba nti: “Bwe nnagenda ku Beseri, nnali simanyi nti nnaamalayo ekiseera kiwanvu. Nnali njagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna, naye ng’ate njagala nnyo okubeera okumpi n’ab’eŋŋanda zange. Mu kusooka, nnawulira ekiwuubaalo olw’obutaba kumpi na ba ŋŋanda zange! Naye waliwo Mukristaayo munnange ku Beseri eyanzizzaamu ennyo amaanyi, bwe ntyo ne nsalawo okusigalayo. Kati mmaze emyaka kkumi nga mpeereza ku Beseri. Mpulira nga wano we njagala okubeera nsobole okweyongera okuweereza bakkiriza bannange.”

LWE KYETAAGISA Okukyusa Endowooza Yo

Lowooza ku Kayini eyakwatirwa muganda we obuggya era n’asunguwala nnyo. Katonda yagamba Kayini nti bwe yandikyusizzaamu n’akola ebirungi yandizzeemu okusiimibwa mu maaso ge. Yakuwa yagamba Kayini okuziyiza ekibi ekyali ‘kitudde ku luggi.’ Kayini yali asobola okukyusa endowooza ye, naye yasalawo obutassaayo mwoyo ku kulabula Katonda kwe yamuwa. Eky’ennaku, Kayini yatta muganda we, bw’atyo n’afuuka omutemu eyasooka!—Lub. 4:2-8.

Kiki ekyandibaddewo singa Kayini yakyusa endowooza ye?

Ate lowooza ku Kabaka Uzziya. Mu kusooka yali akola ebyo ebyali ebirungi mu maaso ga Yakuwa era ng’afuba okumunoonya. Kyokka oluvannyuma Uzziya yayonoona erinnya eddungi lye yali akoze bwe yafuuka ow’amalala. Yayingira mu yeekaalu okuwaayo obubaane, wadde nga teyali kabona. Bakabona bwe baamulabula obutakola kikolwa ekyo eky’okwetulinkiriza, Uzziya teyakyusa ndowooza ye. Mu kifo ky’ekyo ‘yasunguwala’ busunguwazi, era n’awaayo obubaane. N’ekyavaamu, Yakuwa yamukuba ebigenge.—2 Byom. 26:3-5, 16-20.

Mu butuufu, ebiseera ebimu kiba kitwetaagisa okukyusa endowooza yaffe. Lowooza ku kyokulabirako kino: Joachim yabatizibwa mu 1955, naye mu 1978 yagobebwa mu kibiina. Oluvannyuma lw’emyaka 20 yeekuba mu kifuba ne yeenenya era n’akomezebwawo mu kibiina. Gye buvuddeko awo, omukadde omu yamubuuza ensonga lwaki yalwawo nnyo okudda mu kibiina. Joachim yagamba nti: “Nnali nnasiba ekiruyi era nnalina amalala. Nnejjusa lwaki nnalwawo okudda. Wadde nga nnali ngobeddwa mu kibiina, nnali nkimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa be bayigiriza amazima.” Joachim yali yeetaaga okukyusa endowooza ye.

Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera nga kitwetaagisa okukyusa endowooza yaffe n’amakubo gaffe. N’olwekyo, ka bulijjo tube beetegefu okukikola tusobole okusigala nga tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.—Zab. 34:8.