Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Abakristaayo basaanidde kutwala batya enkola ey’okwokya emirambo?

Kiba eri bannannyini mufu okusalawo okwokya omulambo gw’omuntu waabwe oba obutagwokya. Wadde nga Bayibuli teyogera ku nsonga eyo butereevu, tusaanidde okukijjukira nti omulambo gwa Kabaka Sawulo n’ogwa mutabani we Yonasaani gyayokebwa era amagumba gaabwe ne gaziikibwa. (1 Sam. 31:2, 8-13)—6/15, olupapula 7.

Tukakasa tutya nti Katonda si y’aleetera abantu ebizibu?

Amakubo ga Katonda gonna ga butuukirivu. Katonda mwenkanya era mwesigwa. Alina okwagala kungi era musaasizi. (Ma. 32:4; Zab. 145:17; Yak. 5:11)—7/1, olupapula 4.

Kusoomooza ki abo abagenda okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako kwe boolekagana nakwo?

Okusoomooza kwa mirundi esatu (1) okutuukana n’embeera y’obulamu gye baba batamanyidde, (2) ekiwuubaalo, ne (3) okufuna emikwano. Bakkiriza bannaffe ng’abo abeetegefu okwefiiriza bafuna emikisa mingi.—7/15, olupapula 4-5.

Lwaki baganda ba Yusufu baamukyawa?

Yakobo yali akiraze nti asinga kwagala Yusufu bwe yamuwa ekyambalo eky’enjawulo. Baganda ba Yusufu baamukwatirwa obuggya ne bamutunda mu buddu.—8/1, olupapula 11-13.

Lwaki tulakiti zaffe empya nnungi nnyo era nnyangu okukozesa?

Zonna zaategekebwa mu ngeri y’emu. Buli emu ku tulakiti ezo erimu Ekyawandiikibwa kye tusobola okusomera omuntu n’ekibuuzo ekyetaagisa omuntu okubaako ky’addamu. Ka kibe ki omuntu ky’aba azzeemu, tusobola okubikkula munda ne tumulaga Bayibuli ky’egamba. Tuyinza okumulaga ekibuuzo kye tunaakubaganyaako ebirowoozo ku mulundi oguddako.—8/15, olupapula 13-14.

Peshitta kye ki?

Olusuuli, olumu ku nnimi ezirina akakwate n’Olulamayiki, lwatandika okukozesebwa ennyo mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu E.E. Kirabika ebitabo ebimu eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byasooka kuvvuunulwa mu Lusuuli. Bayibuli eyavvuunulwa mu Lusuuli yayitibwa Peshitta.9/1, olupapula 13-14.

Abazadde Abakristaayo bayinza batya okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo?

Basaanidde okuwuliriza abaana baabwe basobole okubategeera obulungi. Basaanidde okubaliisa mu by’omwoyo n’okubawa obulagirizi, naddala bwe baba balina ebintu bye babuusabuusa.—9/15, olupapula 18-21.

Bintu ki ebitajja kubaawo mu Bwakabaka bwa Katonda?

Obulwadde, okufa, ebbula ly’emirimu, entalo, enjala, n’obwavu.—10/1, olupapula 6-7.

Ndagaano ki eyogerwako mu Bayibuli esobozesa abalala okufugira awamu ne Kristo?

Oluvannyuma lw’okukwata embaga ey’Okuyitako eyasembayo ng’ali wamu n’abatume be, Yesu yakola endagaano n’abayigirizwa be abeesigwa. Endagaano eyo eyitibwa endagaano ey’Obwakabaka. (Luk. 22: 28-30) Endagaano eyo ebakakasa nti bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu.—10/15, olupapula 16-17.

Waayo ebyokulabirako bibiri okuva mu Bayibuli ebiraga nti Sitaani ddala gy’ali.

Ebyawandiikibwa biraga nti Sitaani yayogera ne Yesu ng’agezaako okumukema. Era mu kiseera kya Yobu, Sitaani yayogera ne Katonda. Ebyokulabirako ebyo biraga nti Sitaani ddala gy’ali.—11/1, olupapula 4-5.

Baani ‘abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa, Yakobo be yayogerako mu Ebikolwa 15:14?

Be Bakristaayo Abayudaaya n’abatali Bayudaaya Katonda be yalonda “okulangirira obulungi” bw’Oyo eyabayita. (1 Peet. 2:9, 10)—11/15, olupapula 24-25.

Timgad kyali ludda wa, era abamu ku bantu abaali babeerayo baalina ndowooza ki?

Timgad kyali kibuga kinene eky’Obwakabaka bwa Rooma ekyali kisangibwa mu Bukiikakono bwa Afirika (leero awayitibwa Algeria). Nga kiraga endowooza abamu ku bantu abaabeeranga mu kibuga ekyo gye baalina, ekiwandiiko ekimu eky’edda kigamba nti: “Okuyigga, Okunaaba, Okuzannya, Okuseka—Obwo Bwe Bulamu Obwa Nnamaddala!” Endowooza eyo efaanaganako n’eyo eyogerwako mu 1 Abakkolinso 15:32.—12/1, olupapula 8-10.