‘Otegeera Amakulu’?
“N’abikkula amagezi gaabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.”—LUK. 24:45.
1, 2. Yesu yazzaamu atya abayigirizwa be amaanyi ku lunaku lwe yazuukira?
KU LUNAKU Yesu lwe yazuukira, abayigirizwa be babiri baali batambula nga bagenda ku kyalo ekimu ekyesudde mayiro musanvu okuva e Yerusaalemi. Baali banakuwavu nnyo olw’okuba Yesu yali afudde era nga tebannaba kumanya nti yali azuukidde. Yesu yabeegattako n’atandika okutambula nabo. Yabazzaamu amaanyi. Ekyo yakikola atya? Bayibuli egamba nti: “N’atandikira ku biwandiiko bya Musa n’ebya Bannabbi bonna, n’abannyonnyola ebintu ebyali bimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna.” (Luk. 24:13-15, 27) Emitima gyabwe gyakwatibwako nnyo olw’okuba ‘yabannyonnyola Ebyawandiikibwa.’—Luk. 24:32.
2 Akawungeezi ako, abayigirizwa abo ababiri baddayo e Yerusaalemi. Bwe baatuukayo, baabuulira abatume ebyo ebyali bibaddewo. Bwe baali bakyababuulira, Yesu yabalabikira bonna. Abatume baatya nnyo. Baali tebakakasa obanga ddala oyo eyali abalabikidde yali Yesu. Yesu yabazzaamu atya amaanyi? Bayibuli egamba nti: “[Yabikkula] amagezi gaabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.”—Luk. 24:45.
3. Biki ebiyinza okutumalamu amaanyi nga tuweereza Yakuwa, naye kiki ekinaatuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe?
3 Okufaananako abayigirizwa abo, naffe ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Tuyinza okuba nga 1 Kol. 15:58) Oba abo be tuyigiriza Bayibuli bayinza okulabika ng’abatakulaakulana. Ate abamu ku bo bayinza n’okugaana okuweereza Yakuwa. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe? Ekimu ku bintu ebinaatuyamba kwe kutegeera obulungi amakulu g’ebyo ebiri mu ngero za Yesu eziri mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Ka twetegerezeeyo engero ssatu era tulabe ebyo bye tuyinza okuyiga mu ngero ezo.
tukola n’obunyiikivu omulimu gwa Mukama waffe naye nga tulaba ng’ogutavaamu bibala. (OMUNTU ASIGA NE YEEBAKA
4. Olugero lwa Yesu olw’omuntu asiga ne yeebaka lulina makulu ki?
4 Soma Makko 4:26-29. Olugero lwa Yesu olw’omuntu asiga ne yeebaka lulina makulu ki? Omuntu ayogerwako mu lugero olwo akiikirira ababuulizi b’Obwakabaka kinnoomu. Ensigo ekiikirira obubaka bw’Obwakabaka obubuulirwa abantu ab’emitima emirungi. Nga bwe kiba mu mbeera eya bulijjo, omusizi “yeebaka ekiro, n’azuukuka emisana.” Wayitawo ekiseera kiwanvu okuva ensigo lw’esigibwa okutuuka ku makungula. Mu kiseera ekyo, ‘ensigo emera era n’ekula.’ Ensigo ekula mpolampola era ekulira mu mitendera. Mu ngeri y’emu, omuntu okukula mu by’omwoyo kitwala ekiseera era kibaawo mu mitendera. Omuntu bw’akulaakulana n’atuuka ku ssa ery’okusalawo okuweereza Katonda, abala ebibala mu ngeri nti yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa.
5. Lwaki Yesu yagera olugero lw’omusizi eyeebaka?
5 Lwaki Yesu yagera olugero luno? Yesu ayagala tukimanye nti Yakuwa y’asobozesa ensigo ey’amazima okukula mu mitima gy’abantu abalina “endowooza ennuŋŋamu.” (Bik. 13:48; 1 Kol. 3:7) Ffe tusiga era ne tufukirira, naye si ffe abakuza. Era si ffe abasalawo sipiidi ki ensigo ey’Obwakabaka kw’erina okukulira. Okufaananako omusizi ayogerwako mu lugero olwo, tetusobola kumanya ngeri ensigo eyo gy’ekulamu mu mutima gw’omuntu. Bwe tuba tukola emirimu gyaffe egya bulijjo, ensigo eyo yo eba yeeyongera okukula wadde ng’ekyo ffe tuba tetukiraba. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ensigo y’Obwakabaka eyinza okubala ebibala. Omuyigirizwa omupya atwegattako mu mulimu gw’amakungula.—Yok. 4:36-38.
6. Kiki kye tusaanidde okumanya ku kukulaakulana kw’omuntu mu by’omwoyo?
6 Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? Okusookera ddala, tulina okukimanya nti tetusobola kusalawo sipiidi ki omuyizi wa Bayibuli gy’alina okukulaakulanirako mu by’omwoyo. Wadde nga tufuba okukola kyonna ekisoboka okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukula mu by’omwoyo, twoleka obwetoowaze nga twewala okumupikiriza oba okumukaka okubatizibwa. Omuntu okwewaayo kirina kusibuka mu mutima gwe ng’akubirizibwa okwagala kw’alina eri Katonda. Yakuwa okusobola okukkiriza okwewaayo kwaffe, tulina okuba nga tukikoze olw’okuba tumwagalira ddala.—Zab. 51:12; 54:6; 110:3.
7, 8. (a) Bintu ki ebirala bye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku musizi eyeebaka? Waayo ekyokulabirako. (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?
7 Eky’okubiri, ebyo ebiri mu lugero olwo bituyamba obutaggwaamu maanyi singa mu kusooka tetulaba bibala biva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Twetaaga okuba abagumiikiriza. (Yak. 5:7, 8) Bwe tuba nga tukoze kyonna ekisoboka okuyamba omuyizi wa Bayibuli naye ensigo ey’amazima n’etekula mu mutima gwe, ekyo tekitegeeza nti tuli bayigiriza babi. Yakuwa asobozesa ensigo ey’amazima okukula mu mutima gw’omuntu singa omuntu oyo aba mwetoowaze era nga mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Mat. 13:23) N’olwekyo, okuba nti Yakuwa asiima obuweereza bwaffe tetusaanidde kukipimira ku bantu bameka be tuba tuyambye okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa okusiima obuweereza bwaffe, tasinziira ku ngeri abantu gye beeyisaamu nga tubabuulidde. Mu kifo ky’ekyo, asiima nnyo obunyiikivu bwe twoleka nga tukola omulimu ogw’okubuulira.—Soma Lukka 10:17-20; 1 Abakkolinso 3:8.
8 Eky’okusatu, tetusobola kumanya nkyukakyuka zonna ezibaawo mu bulamu bw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, lumu waliwo omwami ne mukyala we abaatuukirira omuminsani eyali abayigiriza Bayibuli ne bamugamba nti baali baagala okufuuka ababuulizi abatali babatize. Omuminsani yabagamba nti okusobola okufuuka ababuulizi, baalina okulekayo omuze ogw’okunywa ssigala. Kyamwewuunyisa nnyo bwe baamugamba nti baali bamaze emyezi egiwerako nga tebakyanywa ssigala. Lwaki baalekayo omuze ogwo? Baali bakirabye nti ne bwe bandinywedde sigala mu nkukutu, Yakuwa yandibadde akiraba ate nga tayagala bunnanfuusi. Eyo ye nsonga lwaki baasalawo okulekayo omuze ogwo. Okwagala kwe baalina eri Yakuwa kwabakubiriza okusalawo obulungi. Baali bakuze mu by’omwoyo wadde ng’omuminsani oyo yali tamanyi nkyukakyuka eyali ebaddewo mu bulamu bwabwe.
AKATIMBA
9. Olugero lwa Yesu olukwata ku katimba lulina makulu ki?
9 Soma Matayo 13:47-50. Olugero lwa Yesu olukwata ku katimba lulina makulu ki? Yesu yageraageranya omulimu gw’okubuulira abantu bonna obubaka bw’Obwakabaka ku kutega akatimba akanene mu nnyanja. Okufaananako akatimba akakwasa “ebyennyanja [bingi] ebya buli ngeri,” omulimu gwaffe ogw’okubuulira nagwo gusikiriza abantu bangi aba buli ngeri. (Is. 60:5) Ekyo kyeyolekera ku muwendo omunene ogw’abantu ababaawo ku nkuŋŋaana zaffe ennene ne ku mukolo gw’Ekijjukizo ogubaawo buli mwaka. Abamu ku bantu abo balinga ebyennyanja “ebirungi,” era beegatta ku kibiina Ekikristaayo. Kyokka abalala balinga ebyennyanja “ebibi,” era tebasiimibwa mu maaso ga Yakuwa.
10. Lwaki Yesu yagera olugero lw’akatimba?
10 Lwaki Yesu yagera olugero olwo? Okwawulawo ebyennyanja ebirungi ku bibi tekikiikirira okulamulwa kw’abantu okujja okubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Mu kifo ky’ekyo, kulaga ekintu ekyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero. Yesu yakiraga nti si bonna abasikirizibwa eri amazima nti basalawo okunywerera ku Yakuwa. Waliwo abantu bangi abazzeeko mu nkuŋŋaana zaffe oba be tuyigirizzaako Bayibuli naye ne bagaana okusalawo okuweereza Yakuwa. (1 Bassek. 18:21) Ate waliwo n’abo abasalawo okulekera awo okujja mu nkuŋŋaana. Abavubuka abamu bakulidde mu maka Amakristaayo naye ne basalawo okugaana okutambulira ku mitindo gya Yakuwa. Yesu yakiraga nti buli omu ku ffe alina okwesalirawo ku lulwe. Bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi, Yakuwa ajja kututwala ng’ebintu eby’omuwendo, “ebyegombebwa amawanga gonna.”—Kag. 2:7.
11, 12. (a) Ebyo ebiri mu lugero lw’akatimba bituyigiriza ki? (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?
11 Kiki kye tuyigira ku lugero lw’akatimba? Ebiri mu lugero olwo bituyamba okukiraba nti tetusaanidde kuggwaamu maanyi singa omuyizi waffe owa Bayibuli oba omwana waffe agaana okufuula amazima agage. Ekyo kisobola okubaawo ne bwe tuba nga tukoze kyonna ekisoboka okumuyamba. Okuba nti omuntu akkirizza okuyiga Bayibuli oba okuba nti akulidde mu maka Amakristaayo ku bwakyo tekitegeeza
nti ajja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Abo abatali beetegefu kukkiriza bufuzi bwa Yakuwa tebasobola kuba baweereza be.Abamu ku abo abasikirizibwa eri amazima bajja kuganywereramu (Laba akatundu 9-12)
12 Ekyo kitegeeza nti abo abavudde mu mazima tebasobola kudda mu kibiina? Oba singa omuntu agaana okwewaayo eri Yakuwa, kiba kitegeeza nti ajja kubeera ng’ebyennyanja “ebibi” emirembe n’emirembe? Nedda. Abantu ng’abo bakyalina akakisa okukyusa amakubo gaabwe ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnaba kutandika. Mu butuufu Yakuwa alinga abagamba nti: “Mudde gye ndi, nange nadda gye muli.” (Mal. 3:7) Ensonga eyo era ekkaatirizibwa mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya.—Soma Lukka 15:11-32.
OMWANA OMUJAAJAAMYA
13. Olugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya lulina makulu ki?
13 Olugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya lulina makulu ki? Taata ow’ekisa ayogerwako mu lugero olwo akiikirira Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Omwana asaba eby’obusika bwe oluvannyuma n’abyonoona, akiikirira abo ababa bavudde mu kibiina. Bwe bava mu kibiina, baba ng’abagenze “mu nsi ey’ewala,” ng’eno ye nsi ya Sitaani eyeeyawudde ku Katonda. (Bef. 4:18; Bak. 1:21) Kyokka abamu ku bo oluvannyuma beekuba mu kifuba ne bakomawo mu kibiina kya Yakuwa wadde ng’ekyo oluusi tekibabeerera kyangu. Abantu ng’abo abeetoowaze abeenenya, Kitaffe ow’omu ggulu abasonyiwa era n’abakkiriza okudda gy’ali.—Is. 44:22; 1 Peet. 2:25.
14. Lwaki Yesu yagera olugero lw’omwana omujaajaamya?
14 Lwaki Yesu yagera olugero olwo? Yesu yali alaga nti Yakuwa ayagala abo ababa bamuvuddeko bakomewo gy’ali. Taata ayogerwako mu lugero olwo teyalekera awo kusuubira nti luliba olwo mutabani we n’akomawo eka. Bwe yalaba mutabani we ng’akomawo, wadde nga “yali akyali wala,” taata oyo yadduka n’amusisinkana era n’amwaniriza. Ekyo kisaanidde okukubiriza abo abavudde ku Yakuwa okudda gy’ali awatali kulwa. Wadde nga bayinza okuba nga banafuye nnyo mu by’omwoyo, nga bawulira ensonyi okudda mu kibiina, era nga balaba ng’ekizibu ennyo okudda, basaanidde okufuba okukikola. Mu butuufu, bwe badda eri Yakuwa wabaawo essanyu lingi mu ggulu.—Luk. 15:7.
15, 16. (a) Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya? Waayo ebyokulabirako. (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?
15 Kiki kye tuyigira ku lugero lw’omwana omujaajaamya? Tusaanidde okukoppa Yakuwa. Tetusaanidde kwetwala kuba batuukirivu ekisukkiridde ne tutuuka n’okugaana Mub. 7:16) Waliwo n’ekintu ekirala kye tuyiga. Omuntu aba avudde mu kibiina tusaanidde okumutunuulira ‘ng’endiga ebuze,’ esobola okudda. (Zab. 119:176) Bwe tusanga omuntu eyawaba n’ava mu kibiina, tunaaba beetegefu okukola kyonna ekisoboka okumuyamba okudda? Tunaategeeza abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka basobole okumuyamba? Ekyo tujja kukikola singa tutegeera amakulu agali mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya.
okwaniriza abantu ababa beenenyezza era ne bakomezebwawo mu kibiina. Ekyo kiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (16 Abo abakomawo eri Yakuwa basiima nnyo Yakuwa olw’ekisa n’okwagala by’abalaga era basiima nnyo n’obuyambi ekibiina kye bwe kibawa. Ow’oluganda omu eyamala emyaka 25 ng’agobeddwa mu kibiina agamba nti: “Okuva bwe nnakomezebwawo mu kibiina, essanyu lyange libadde lyeyongera buli lukya olw’okuba Yakuwa ampadde ‘ebiro eby’okuwummuliramu.’ (Bik. 3:19) Buli omu mu kibiina andaze okwagala era annyambye nnyo! Kati ndi mu maka ag’eby’omwoyo omuli baganda bange ne bannyinaze abalungi ennyo.” Ate mwannyinaffe omu eyamala emyaka etaano ng’avudde mu kibiina yagamba nti: “Bwe nnakomawo, nneerabirako n’agange okwagala Yesu kwe yayogerako. Mu butuufu, nkizo ya maanyi okubeera mu kibiina kya Yakuwa!”
17, 18. (a) Biki bye tuyize mu ngero essatu ze tulabye mu kitundu kino? (b) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?
17 Bintu ki bye tuyize mu ngero za Yesu essatu ze tulabye mu kitundu kino? Ekisooka, tulina okukijjukira nti tetusobola kusalawo sipiidi ki omuntu gy’alina okukulaakulanirako mu by’omwoyo. Ekyo kiri mu mikono gya Yakuwa. Eky’okubiri, tetusaanidde kulowooza nti buli muntu ajja mu nkuŋŋaana oba gwe tuyigiriza Bayibuli ajja kukulaakulana afuuke omuweereza wa Yakuwa. Eky’okusatu, wadde ng’abamu bayinza okuva ku Yakuwa, tetusaanidde kulowooza nti tebasobola kudda. Era singa bakomawo, tusaanidde okubaaniriza mu ngeri eyoleka okwagala kwa Yakuwa.
18 Ka buli omu ku ffe yeeyongere okunoonya okumanya, okutegeera, n’amagezi. Bwe tuba tusoma engero Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza, tusaanidde okwebuuza, lwaki zaateekebwa mu Bayibuli, tuyinza tutya okukolera ku ebyo ebizirimu, era zituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu? Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kulaga nti tutegedde amakulu agali mu bigambo bya Yesu.