Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Muwulirize era Mutegeere Amakulu’

‘Muwulirize era Mutegeere Amakulu’

“Mumpulirize mmwe mmwenna, era mutegeere amakulu.”—MAK. 7:14.

1, 2. Lwaki abantu bangi abaawulira ebyo Yesu bye yayogera baalemererwa okutegeera amakulu gaabyo?

OMUNTU ayinza okuwulira omuntu omulala ng’aliko ky’ayogera, naye n’atategeera ebyo by’awulira. (1 Kol. 14:9) Yesu yayogera n’abantu bangi mu lulimi lwabwe. Kyokka abasinga obungi ku abo abaawuliranga ebyo bye yayogeranga, tebaategeeranga makulu gaabyo. Eyo ye nsonga lwaki lumu Yesu yagamba abantu nti: “Mumpulirize mmwe mmwenna, era mutegeere amakulu.”—Mak. 7:14.

2 Lwaki abantu bangi baalemererwa okutegeera ebyo Yesu bye yayogera? Abamu baabanga n’ebiruubirirwa ebikyamu ate abalala tebaabanga beetegefu kukyusa ndowooza zaabwe. Ng’ayogera ku bantu ng’abo, Yesu yagamba nti: “Mu ngeri ey’obukujjukujju muleka amateeka ga Katonda musobole okugoberera obulombolombo bwammwe.” (Mak. 7:9) Abantu abo tebaafubanga kutegeera makulu g’ebyo Yesu bye yayogera. Tebaali beetegefu kukyusa makubo gaabwe na ndowooza zaabwe. Amatu gaabwe gaali gawulira, naye ng’emitima gyabwe bagiggadde! (Soma Matayo 13:13-15.) Kati olwo tuyinza tutya okukakasa nti emitima gyaffe gisigala miggule kituyambe okuganyulwa mu ebyo Yesu bye yayigiriza?

EBINAATUYAMBA OKUGANYULWA MU EBYO YESU BYE YAYIGIRIZA

3. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baasobola okutegeera ebyo Yesu bye yayigiriza?

3 Kikulu okukoppa ekyokulabirako abayigirizwa ba Yesu abaali abeetoowaze kye baateekawo. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulina essanyu kubanga amaaso gammwe galaba, n’amatu gammwe gawulira.” (Mat. 13:16) Lwaki abayigirizwa abo baasobola okutegeera ebyo Yesu bye yayigiriza ate ng’abalala tebaabitegeera? Ekisooka, baali beetegefu okubuuza ebibuuzo n’okunoonyereza amakulu g’ebyo Yesu bye yayogera. (Mat. 13:36; Mak. 7:17) Eky’okubiri, baali beetegefu okwongera ku ebyo bye baali bayize era bye baali bakkirizza. (Soma Matayo 13:11, 12.) Eky’okusatu, baali beetegefu okukolera ku ebyo bye baali bayize n’okubikozesa okuyamba abalala.—Mat. 13:51, 52.

4. Mitendera ki esatu gye tulina okuyitamu okusobola okutegeera engero Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza?

4 Bwe tuba ab’okutegeera engero Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza, twetaaga okukoppa ekyokulabirako ky’abayigirizwa be abaali abeesigwa. Ekyo kizingiramu emitendera esatu. Ogusooka, tulina okuba abeetegefu okuwaayo ebiseera okwesomesa n’okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayogera, okunoonyereza, n’okubuuza ebibuuzo ebituukirawo. Ekyo kituyamba okufuna okumanya. (Nge. 2:4, 5) Ogw’okubiri, tulina okufuba okulaba engeri okumanya okwo gye kukwatagana n’ebyo bye tubadde tumanyi era n’engeri gye biyinza okutuganyula mu bulamu bwaffe. Ekyo kituyamba okufuna okutegeera. (Nge. 2:2, 3) Ogw’okusatu, tusaanidde okukolera ku ebyo bye tuba tuyize. Ekyo kiba kiraga nti tulina amagezi.Nge. 2:6, 7.

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga enjawulo eri wakati w’okumanya, okutegeera, n’amagezi.

5 Njawulo ki eri wakati w’okumanya, okutegeera, n’amagezi? Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa oba oyimiridde mu luguudo n’olaba emmotoka ng’ejja gy’oli. Okusookera ddala, okitegeera nti eyo mmotoka. Okwo kwe kumanya. Eky’okubiri, okiraba nti singa tova mu kkubo, emmotoka eyo ejja kukutomera. Okwo kwe kutegeera. Eky’okusatu, oyanguwa okuva mu kkubo. Ago ge magezi. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Bayibuli etukubiriza okunyweza amagezi kubanga gajja kutuyamba okuwonyaawo obulamu bwaffe!—Nge. 3:21, 22; 1 Tim. 4:16.

6. Nga twetegereza engero musanvu Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza, bibuuzo ki ebina bye tujja okwebuuza? (Laba  akasanduuko.)

6 Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kwetegerezaayo engero musanvu Yesu ze yakozesa ng’ayigiriza. Nga twetegereza buli lumu ku zo, tujja kwebuuza ebibuuzo bino wammanga: Olugero luno lulina makulu ki? (Ekyo kijja kutuyamba okufuna okumanya.) Lwaki Yesu yakozesa olugero luno? (Ekyo kijja kutuyamba okufuna okutegeera.) Tuyinza tutya okukolera ku ebyo ebiri mu lugero luno era tuyinza tutya okubikozesa okuyamba abalala? (Ekyo kijja kulaga nti tulina amagezi.) Era, olugero luno lutuyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?

AKASIGO KA KALIDAALI

7. Olugero lw’akasigo ka kalidaali lulina makulu ki?

7 Soma Matayo 13:31, 32. Olugero lwa Yesu olw’akasigo ka kalidaali lulina makulu ki? Akasigo ka kalidaali kakiikirira obubaka bw’Obwakabaka n’ekibiina Ekikristaayo. Okufaananako akasigo ka kalidaali, nga kano ke kasigo “akasingayo obutono mu nsigo zonna,” ekibiina Ekikristaayo kyatandika nga kitono ddala mu mwaka gwa 33 E.E. Naye mu kiseera kitono, ekibiina Ekikristaayo kyakula ne kigejja. Ekyo bangi baali tebakisuubira kubaawo. (Bak. 1:23) Okukula kw’ekibiina Ekikristaayo kwavaamu emiganyulo mingi kubanga Yesu yagamba nti “ebinyonyi eby’omu bbanga” byajja ‘ne bibeera mu matabi gaakyo.’ Ebinyonyi ebyo eby’akabonero bikiikirira abantu ab’emitima emirungi abajja mu kibiina Ekikristaayo ne bafuna emmere ey’eby’omwoyo n’ekisiikirize.—Geraageranya Ezeekyeri 17:23.

8. Lwaki Yesu yakozesa olugero lw’akasigo ka kalidaali?

8 Lwaki Yesu yakozesa olugero olwo? Yesu yayogera ku ngeri ey’ekitalo akasigo ka kalidaali gye kakulamu ng’alaga engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bugaziwamu, gye buwaamu obukuumi, n’engeri gye butayinza kuziyizibwa. Okuva mu 1914, ekibiina Ekikristaayo kibadde kikulira ku sipiidi ya waggulu nnyo! (Is. 60:22) Abo abali mu kibiina ekyo bafuna obukuumi obw’eby’omwoyo. (Nge. 2:7; Is. 32:1, 2) Ate era tewali kisobola kulemesa kibiina ekyo kugenda mu maaso.—Is. 54:17.

9. (a) Kiki kye tuyigira ku lugero lw’akasigo ka kalidaali? (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?

9 Kiki kye tuyigira ku lugero lw’akasigo ka kalidaali? Kiyinzika okuba nti ekitundu mwe tubeera mulimu Abajulirwa ba Yakuwa batono oba nga tulaba ng’omulimu gwaffe ogw’okubuulira ogutavaamu bibala. Naye okukijjukira nti tewali kisobola kulemesa Bwakabaka bwa Katonda kutuukiriza bye bwagala, kisobola okutuzzaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Edwin Skinner we yatuukira mu Buyindi mu 1926, waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa batono nnyo. Mu kusooka, omulimu gw’okubuulira gwali gutambula mpola nnyo. Naye ow’oluganda oyo yeeyongera okubuulira, era yalaba engeri omulimu gw’Obwakabaka gye gwali gugenda mu maaso wadde nga waaliwo ebizibu bingi. Leero mu Buyindi waliyo Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 37,000, era abantu abasukka mu 108,000 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu 2013. Ate era mu mwaka ogwo Ow’oluganda Skinner mwe yagendera mu Buyindi, omulimu gw’okubuulira gwali gwakatandika mu Zambia. Leero mu Zambia waliyo ababuulizi abasukka mu 170,000, era abantu 763,915 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu 2013. Ekyo kitegeeza nti ku buli bantu 18 abali mu Zambia, 1 ku bo yaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ng’okwo kukulaakulana kwa maanyi nnyo!

EKIZIMBULUKUSA

10. Olugero lw’ekizimbulukusa lulina makulu ki?

10 Soma Matayo 13:33. Olugero lw’ekizimbulukusa lulina makulu ki? Olugero luno nalwo lukwata ku bubaka bw’Obwakabaka n’ebyo ebivaamu. “Ekitole kyonna” eky’obutta kikiikirira amawanga gonna, ate okuzimbulukuka kukiikirira okusaasaana kw’obubaka bw’Obwakabaka okuyitira mu mulimu gw’okubuulira. Wadde ng’okukula kw’akasigo ka kalidaali kwangu okulaba, engeri ekizimbulukusa gye kisaasaanamu si nnyangu kulaba. Ebyo ebivaamu birabibwa oluvannyuma lw’ekiseera.

11. Lwaki Yesu yakozesa olugero lw’ekizimbulukusa?

11 Lwaki Yesu yakozesa olugero olwo? Yesu yali alaga nti obubaka bw’Obwakabaka bulina amaanyi okusaasaana n’okuleetawo enkyukakyuka. Obubaka bw’Obwakabaka butuuse “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Kyokka, enkyukyuka obubaka obwo ze buleeta oluusi ziyinza obutalabibwa. Ate enkyukakyuka endala ziyinza obutalabika mu kusooka naye ne zirabika oluvannyuma. Abantu bangi mu bitundu by’ensi ebitali bimu bakkirizza obubaka bw’Obwakabaka era bubayambye okukyusa obulamu bwabwe.—Bar. 12:2; Bef. 4:22, 23.

12, 13. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri omulimu gw’okubuulira gye gusaasaanyeemu, nga bwe kiragibwa mu lugero lw’ekizimbulukusa.

12 Emirundi mingi ebyo ebiva mu mulimu gw’okubuulira birabibwa nga wayiseewo emyaka egiwerako. Ng’ekyokulabirako, Franz ne mukyala we Margit, kati abaweereza ku ofiisi y’ettabi mu nsi endala, bwe baali bakyaweereeza ku ofiisi y’ettabi mu Brazil mu 1982, baabuulirako mu kitundu ekimu. Omu ku bayizi baabwe aba Bayibuli yali mukyala, era yalina abaana bana. Mutabani we omukulu, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 12, yalina ensonyi nnyingi era yateranga okwekweka bwe baabanga bagenda okusoma. Franz ne Margit bwe baasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala, baali tebakyasobola kusoma nabo. Naye oluvannyuma lw’emyaka 25 baddayoko mu kitundu ekyo. Lowooza ku ssanyu lye baafuna bwe baasangayo ekibiina omwali ababuulizi 69, nga 13 ku bo baweereza nga bapayoniya aba bulijjo, era nga bakuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Okugatta ku ekyo, omulenzi eyalina ensonyi yali akuze era ng’aweereza ng’omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde! Ng’olugero olw’ekizimbulukusa bwe lulaga, obubaka bw’Obwakabaka bwali busaasaanye mu kitundu ekyo era nga bukyusizza obulamu bw’abantu bangi.

13 Ne mu nsi omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gukugirwa, obubaka bw’Obwakabaka busobodde okukyusa obulamu bw’abantu. Tekiba kyangu kumanya ngeri obubaka bw’Obwakabaka gye busaasaanamu mu nsi ezo, naye ebiseera ebisinga ebivaamu biba byewuunyisa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ggwanga lya Cuba. Obubaka bw’Obwakabaka bwatuuka mu nsi eyo mu 1910, era Ow’oluganda Russell yagendako mu ensi eyo mu 1913. Kyokka mu kusooka, omulimu gwaffe ogw’okubuulira gwali gutambula mpola mu Cuba. Naye ate kati? Mu Cuba waliyo ababuulizi abasukka mu 96,000, era abantu 229,726 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu 2013. Ekyo kitegeeza nti ku buli bantu 48 abali mu Cuba, 1 ku bo yaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ne mu nsi omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gutawereddwa, obubaka bw’Obwakabaka butuuka ne mu bitundu Abajulirwa ba Yakuwa bye balowooza nti tebibuulirwangamu. *Mub. 8:7; 11:5.

14, 15. (a) Ebyo ebiri mu lugero lw’ekizimbulukusa bituyigiriza ki? (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?

14 Olugero lwa Yesu olukwata ku kizimbulukusa lutuyigiriza ki? Okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu lugero olwo, kijja kutuyamba obuteeraliikirira nnyo ku ngeri obubaka bw’Obwakabaka gye bunaatuuka ku bukadde n’obukadde bw’abantu abatannabuwulirako. Yakuwa amanyi ekituufu eky’okukola. Kati olwo obuvunaanyizibwa bwaffe bwe buluwa? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” (Mub. 11:6) Ate era tusaanidde n’okusaba Yakuwa awe omukisa omulimu gw’okubuulira, naddala mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa.—Bef. 6:18-20.

15 Okugatta ku ekyo, tetusaanidde kuggwaamu maanyi singa mu kusooka omulimu gwaffe ogw’okubuulira gulabika ng’ogutavaamu bibala. Tetusaanidde kunyooma ‘lunaku olw’entandikwa entono.’ (Zek. 4:10, NW) Oluvannyuma lw’ekiseera, omulimu gwaffe ogw’okubuulira guyinza okuvaamu ebibala bingi n’okusinga bwe tubadde tusuubira!—Zab. 40:5; Zek. 4:7.

OMUSUUBUZI N’EKY’OBUGAGGA EKYAKWEKEBWA

16. Olugero lw’omusuubuzi n’olw’eky’obugagga ekyakwekebwa zirina makulu ki?

16 Soma Matayo 13:44-46. Olugero lw’omusuubuzi n’olw’eky’obugagga ekyakwekebwa zirina makulu ki? Mu kiseera kya Yesu, abasuubuzi abamu baatambulanga eŋŋendo empanvu basobole okufuna luulu ennungi ennyo era bazigule. Omusuubuzi mu lugero luno akiikirira abantu ab’emitima emirungi abakola kyonna ekisoboka okunoonya amazima. “Luulu ey’omuwendo omungi” ekikiikirira amazima ag’Obwakabaka ag’omuwendo ennyo. Oluvannyuma lw’okukiraba nti luulu eyo yali ya muwendo mungi, “amangu ago” omusuubuzi yali mwetegefu okutunda ebintu bye byonna asobole okugigula. Yesu era yayogera ku muntu eyali akola mu nnimiro n’asanga “eky’obugagga ekyakwekebwa.” Obutafaananako omusuubuzi, omuntu oyo ye yali tanoonya kya bugagga ekyo. Kyokka okufaananako omusuubuzi, naye yali mwetegefu okutunda “ebintu bye byonna” asobole okufuna eky’obugagga ekyo.

17. Lwaki Yesu yakozesa olugero lw’omusuubuzi n’olw’eky’obugagga ekyakwekebwa?

17 Lwaki Yesu yakozesa engero ezo? Yali alaga nti abantu bafuna amazima mu ngeri za njawulo. Abamu bagafuna oluvannyuma lw’okufuba ennyo okuganoonya. Ate abalala bo baba tebaganoonya naye ne bagafuna, oboolyawo nga bagabaleetedde buleetezi. Buli omu ku basajja aboogerwako mu ngero ezo yategeera nti ekyo kye yali azudde kyali kya muwendo nnyo era n’aba mwetegefu okwefiiriza ennyo okusobola okukifuna.

18. (a) Ebyo ebiri mu lugero lw’omusuubuzi n’olw’eky’obugagga ekyakwekebwa bituganyula bitya? (b) Ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa ne Yesu?

18 Ebyo ebiri mu ngero ezo ebbiri bituganyula bitya? (Mat. 6:19-21) Weebuuze: ‘Endowooza gye nnina ku mazima efaananako ng’ey’abantu aboogerwako mu ngero ezo? Amazima ngatwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo? Ndi mwetegefu okwefiiriza nsobole okunyweza amazima, oba kyandiba nti ndese ebintu ebirala okunnemesa okuganyweza?’ (Mat. 6:22-24, 33; Luk. 5:27, 28; Baf. 3:8) Bwe tuba nga ddala amazima tugatwala ng’ekintu eky’omuwendo, tujja kukola kyonna ekisoboka okuganyweza.

19. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

19 Ka ffenna tukirage nti tuwulidde era nti tutegedde bulungi amakulu agali mu ngero za Yesu ezikwata ku Bwakabaka. Kikulu okukijjukira nti tekimala kutegeera butegeezi makulu g’engero ezo, wabula tulina n’okukolera ku ebyo bye tuziyigamu. Mu kitundu ekiddako, tujja kwetegerezaayo engero endala ssatu era tulabe bye zituyigiriza.

^ lup. 13 Bwe kityo bwe kibadde ne mu nsi, gamba nga Argentina (Yearbook eya 2001, olupapula 186); Bugirimaani (Yearbook eya 1999, olupapula 83); Papua New Guinea (Yearbook eya 2005, olupapula 63); ne Robinson Crusoe Island (Watchtower eya Jjuuni 15, 2000, olupapula 9).