OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa okuva nga Apuli 6 okutuuka nga Maayi 3, 2015.

Ekitabo Ekyasanyusa Ennyo ab’Oluganda mu Japan

Ekitabo ekipya ekiyitibwa ‘Bayibuli—Enjiri nga Bwe Yawandiikibwa Matayo’ kyafulumizibwa mu Japan. Kyategekebwa kitya? Lwaki kyategekebwa?

Yoleka Obwetoowaze n’Obusaasizi nga Yesu bwe Yakola

1 Peetero 2:21 watukubiriza okutambulira mu bigere bya Yesu. Ffe abantu abatatuukiridde tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze n’obusaasizi nga Yesu bwe yakola?

Yoleka Obuvumu n’Okutegeera nga Yesu bwe Yakola

Ebiri mu Bayibuli bisobola okutuyamba okutegeera ebikwata ku Yesu. Laba engeri gy’oyinza okwoleka obuvumu n’okutegeera nga Yesu bwe yakola.

Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu

Okubuulira amawulire amalungi gwe mulimu ogusingayo obukulu ogulina okukolebwa ku nsi leero. Bintu ki ebisobola okutuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu?

Amawanga Gategekebwa ‘Okuyigirizibwa Yakuwa’

Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka amawulire amalungi baagabuulira kutuuka wa? Bintu ki ebiyinza okuba nga byabayamba okukola obulungi omulimu ogwo?

Yakuwa Atuwa Obulagirizi nga Tukola Omulimu gw’Okubuulira

Biki ebibaddewo mu myaka egiyise ebiyambye abaweereza ba Yakuwa okukola obulungi omulimu ogw’okubuulira?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba bakkiriza bannaffe obuwoowo be buyisa obubi? Ddi lwe kyetaagisa omubuulizi omukazi okubikka ku mutwe?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

“Ekiseera Ekikulu Ennyo”

Magazini ya Zion Watch Tower ekiseera ky’Ekijjukizo yakiyita ‘ekiseera ekikulu ennyo’ era n’ekubiriza abaali bagisoma okubangawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Abayizi ba Bayibuli baakwatanga batya omukolo gw’Ekijjukizo?