ETTEREKERO LYAFFE
“Ekiseera Ekikulu Ennyo”
MU 1870, waaliwo abantu abatonotono mu Pittsburgh (Allegheny), Pennsylvania, Amerika, abaatandika okwekenneenya Ebyawandiikibwa. Abantu abo abaali bakulemberwa Charles Taze Russell, baanoonyereza ebikwata ku kinunulo kya Kristo era ne bakiraba nti kirina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. Baasanyuka nnyo okukimanya nti ekinunulo kisobozesa abantu okulokolebwa. Ekyo kyabakubiriza okutandika okujjukiranga okufa kwa Yesu buli mwaka.
Ow’oluganda Russell yatandika okufulumya magazini eyitibwa Zion’s Watch Tower, era magaziini eyo yakikkaatiriza nti ekinunulo ye ngeri esingayo obulungi Katonda gye yakyolekamu nti ayagala nnyo abantu. Magazini ya Watch Tower, ekiseera eky’okujjukira okufa kwa Kristo yakiyita “ekiseera ekikulu ennyo” era n’ekubiriza abo abaali bagisoma okukuŋŋaaniranga mu Pittsburgh oba awalala wonna okujjukira okufa kwa Kristo. “Abantu ne bwe bandibadde bakuŋŋaanye babiri oba basatu, oba ne bwe yandibadde omu yekka, Mukama waffe yandibadde wamu nabo.”
Buli mwaka, abantu abajjanga ku mukolo gw’Ekijjukizo mu Pittsburgh baagendanga beeyongera obungi. Akapapula akaakozesebwanga okuyita abantu kaaliko ebigambo bino: “Tubalindiridde n’essanyu lingi.” Mu butuufu, Abayizi ba Bayibuli ab’omu Pittsburgh baasuzanga bakkiriza bannaabwe abaabanga bazze ku mukolo gw’Ekijjukizo era ne babaliisa. Mu 1886, waaliwo olukuŋŋaana olwamala ennaku eziwerako olwaliwo mu kiseera ky’Ekijjukizo. Magazini ya Watch Tower yagamba nti: “Ka okwagala kw’olina eri Mukama waffe, baganda be, n’eri amazima kukukubirize okujja.”
Okumala emyaka mingi Abayizi ba Bayibuli ab’omu Pittsburgh baateekateekanga enkuŋŋaana z’abo abakkiririza mu kinunulo abajjanga ku mukolo gw’Ekijjukizo. Omuwendo gw’Abayizi ba Bayibuli bwe gwagenda gweyongera, n’omuwendo gw’abo abaabangawo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu nsi yonna gwagenda gweyongera. Ow’oluganda Ray Bopp eyali mu kibiina ky’e Chicago yagamba nti mu myaka gya 1910, kyatwalanga essaawa eziwerako okuyisa obubonero bw’Ekijjukizo okuva bwe kiri nti kumpi bonna abaaliwo baali balya era nga banywa ku bubonero.
Bubonero bwa ngeri ki obwakozesebwanga? Wadde nga Watch Tower yalaganga nti ku ky’Ekiro kya Mukama waffe Yesu yakozesa nvinnyo, okumala ekiseera magazini eyo yali ekubiriza ab’oluganda okukozesa omubisi gw’emizabbibu, obuteesittaza abo “abanafu mu mubiri.” Kyokka, abo abaali bawulira nti “envinnyo y’erina okukozesebwa” baagibawanga. Oluvannyuma Abayizi ba Bayibuli baakitegeera nti envinnyo emmyufu etetabuddwamu kintu kyonna ye yokka erina okukozesebwa okukiikirira omusaayi gwa Yesu.
Okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kyayambanga bonna okufumiitiriza ennyo ku kinunulo. Kyokka mu bibiina ebimu, omukolo ogwo bwe gwabanga gugenda mu
maaso ab’oluganda baabanga banakuwavu nnyo era ng’oluusi gugenda okuggwa nga tewali n’omu anyega kigambo. Mu 1934, ekitabo ekyalina omutwe Jehovah, kyagamba nti omukolo gw’Ekijjukizo tegusaanidde kuba gwa “nnaku” naye gusaanidde kuba gwa “ssanyu” okuva bwe kiri nti Kabaka yatandika okufuga okuva mu 1914.Mu 1935, waaliwo ekintu ekikulu ekyaliwo. Mu mwaka ogwo abaweereza ba Yakuwa baategeera amakulu g’ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 7:9 ebikwata ku ‘kibiina ekinene.’ Omwaka ogwo bwe gwali tegunnatuuka, abaweereza ba Yakuwa baalowoozanga nti ab’ekibiina ekinene be Bakristaayo abaali beewaddeyo eri Yakuwa naye nga si banyiikivu. Kati kyali kitegeerekese bulungi nti ab’ekibiina ekinene be baweereza ba Yakuwa abeesigwa abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Oluvannyuma lw’okutegeera ekyo, Ow’oluganda Russell Poggensee yagamba nti: “Nkirabye nti Yakuwa takozesangako mwoyo gwe kunnonda kuba mu abo abagenda mu ggulu.” Poggensee awamu n’abalala bangi abaali abeesigwa, baalekera awo okulya n’okunywa ku bubonero ku mukolo gw’Ekijjukizo, naye ne bagenda mu maaso nga babaawo ku mukolo ogwo.
Mu kiseera ky’Ekijjukizo, abaweereza ba Yakuwa baafunanga akakisa okukiraga nti basiima ekinunulo nga beenyigira mu kaweefube ow’enjawulo. Akapapula akaayitibwanga Bulletin aka 1932 kaakubiriza Abakristaayo abaali balya ku mugaati era nga banywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo naye ng’ate si banyiikivu, okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Mu 1934, akapapula Bulletin kaakubiriza ab’oluganda okukola nga bapayoniya “abawagizi” era ne kabuuza nti: “Ekiseera ky’Ekijjukizo we kinaatuukira, banaaba baweze 1,000?” Nga koogera ku baafukibwako amafuta, akapapula Informant kaagamba nti: “Essanyu lyabwe teriyinza kuba lijjuvu okuggyako nga beenyigidde mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira.” Oluvannyuma lw’ekiseera, n’abo abaalina essuubi ery’okubeera ku nsi baakubirizibwa okubuulira n’obunyiikivu. *
Olunaku lw’Ekijjukizo lwe lunaku olusingayo obukulu mu mwaka eri abantu ba Yakuwa. Bajjukira okufa kwa Kristo, ne bwe baba mu mbeera enzibu ennyo. Ng’ekyokulabirako, mu 1930, Pearl English ne muganda we, Ora, baatambula olugenda lwa mayiro 50 okugenda ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ate Omuminsani ayitibwa Harold King bwe yali asibiddwa mu kkomera e China, yawandiika ebitontome n’ennyimba ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo, era n’akola obubonero bw’Ekijjukizo ng’akozesa enkenene n’omuceere. Abakristaayo abatali bamu okwetooloola ensi yonna boolese obuvumu nga beeyongera okukwata omukolo gw’Ekijjukizo, ka kibe nti bali mu biseera bya ntalo oba ng’omulimu gwabwe guwereddwa. Ka tube nga tuli ludda wa oba nga tuli mu mbeera ki, tukuŋŋaana wamu okuwa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo ekitiibwa mu kiseera ekikulu ennyo eky’Ekijjukizo.
^ lup. 10 Akapapula Bulletin oluvannyuma kaatandika okuyitibwa Informant, era kati kayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.