Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekitabo Ekyasanyusa Ennyo ab’Oluganda mu Japan

Ekitabo Ekyasanyusa Ennyo ab’Oluganda mu Japan

KU LUKUŊŊAANA olw’enjawulo olwali mu Nagoya, Japan, nga Apuli 28, 2013, Ow’oluganda Anthony Morris ali ku Kakiiko Akafuzi yafulumya ekitabo ekipya eky’Olujapaani ekirina omutwe BayibuliEnjiri nga Bwe Yawandiikibwa Matayo. Abantu abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo awamu n’abo abaayungibwa ku programu abaali basukka mu 210,000 baasanyuka nnyo.

Ekitabo ekyo eky’empapula 128 ye Njiri ya Matayo eyaggibwa mu Nkyusa ey’Ensi Empya ey’Olujapaani. Ow’oluganda Morris yagamba nti ekitabo ekyo kyategekebwa “mu ngeri esikiriza abantu b’omu Japan.” Ekitabo kya Matayo ekyo kyategekebwa kitya? Lwaki kyategekebwa? Era kikutte kitya ku bantu?

KYATEGEKEBWA KITYA?

Engeri ekitabo kya Matayo gye kyategekebwamu yeewuunyisa nnyo ab’oluganda mu Japan. Mu Lujapaani ebigambo bisobola okuwandiikibwa busimba oba bukiika, era ebitabo ebimu, nga mw’otwalidde n’ebitabo byaffe ebyafulumizibwa gye buvuddeko awo, ebigambo ebirimu byawandiikibwa bukiika. Kyokka mu kitabo ekyo ekipya, ebigambo byawandiikibwa busimba, okufaananako empapula z’amawulire n’ebitabo ebirala ebitundibwa eby’Olujapaani. Empandiika ng’eyo eyanguyira Abajapaani bangi okusoma. Okugatta ku ekyo, emitwe emitono egyabanga waggulu ku lupapula gyategekebwa mu ngeri eyamba omusomi okuzuula amangu ensonga enkulu.

Ab’oluganda ne bannyinaffe mu Japan baatandikirawo okukozesa ekitabo ekyo ekya Matayo. Mwannyinaffe ow’emyaka 80 yagamba nti: “Nsomye Enjiri ya Matayo emirundi mingi, naye okuva bwe kiri nti mu kitabo kino ekipya ebigambo biwandiikiddwa busimba era nga mulimu n’emitwe emitono kinnyambye okwongera okutegeera obulungi Okubuulira kwa Yesu okw’oku Lusozi.” Mwannyinaffe omulala yagamba nti: “Nnasoma ekitabo ekyo ekya Matayo ne nkimalako mu lunaku lumu. Wadde nga mbadde mmanyidde okusoma ebigambo ebiwandiikiddwa obukiika, Abajapaani bangi banyumirwa kusoma bigambo ebiwandiikiddwa obusimba.”

KISIKIRIZA ABANTU B’OMU JAPAN

Lwaki ekitabo ekyo kisikiriza abantu b’omu Japan? Wadde ng’abantu abasinga obungi mu Japan tebamanyi nnyo Bayibuli, beetegefu okugisoma. Ekitabo ekyo ekya Matayo kijja kuwa abantu bangi akakisa okufunayo waakiri ekitabo kimu ekya Bayibuli kye basobola okusoma.

Lwaki ekitabo kya Matayo kye kyalondebwa okukubibwa mu ngeri eyo? Abajapaani bangi bwe bawulira ekigambo “Bayibuli” balowooza ku Yesu Kristo. N’olwekyo, ekitabo kya Matayo kyalondebwa kubanga kirimu olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu, Okubuulira kwa Yesu okw’oku Lusozi, n’obunnabbi bwe yayogera obukwata ku nnaku ez’enkomerero, ebintu Abajapaani bangi bye baagala ennyo okumanya.

Ababuulizi mu Japan baatandikirawo okugaba ekitabo ekyo nnyumba ku nnyumba ne bwe baabanga bagenze okuddiŋŋana. Mwannyinaffe omu agamba nti: “Kati Ekigambo kya Katonda nsobola okukigabira abantu bangi mu kitundu kyaffe. Mu butuufu, ne ku olwo lwennyini lwe twafuna ekitabo kya Matayo, nnasobola okubaako omuntu gwe nkiwa!”

KIKUTTE KITYA KU BANTU?

Ebimu ku bintu ababuulizi mu Japan bye batera okwogerako nga bagaba ekitabo kya Matayo bye biruwa? Abantu bangi mu Japan batera okukozesa ebigambo, gamba nga “omulyango omufunda,” “okusuulira embizzi luulu,” ne “obuteeraliikirira bya nkya.” (Mat. 6:34; 7:6, 13) Abajapaani bangi kibeewuunyisa nnyo okukimanya nti ebigambo ebyo Yesu Kristo ye yabyogera. Oluvannyuma lw’okulaba ebigambo ebyo mu Njiri ya Matayo, bangi bagamba nti: “Bulijjo mbaddenga njagala okusoma Bayibuli.”

Ababuulizi bwe baddayo eri abo be baawa ekitabo kya Matayo, bangi ku bo babasanga baamala dda okukisoma ne bakimalako. Omusajja omu ow’emyaka 60 yagamba omubuulizi nti: “Ekitabo ekyo nkisomye enfunda n’enfunda era kinnyambye nnyo. Nsaba onnyambe okuyiga ebisingawo ebiri mu Bayibuli.”

Ekitabo kya Matayo kikozesebwa ne mu kubuulira mu bifo ebya lukale. Mwannyinaffe omu bwe yali abuulira mu ngeri eyo, aliko omukyala gwe yawa e-mail ye oluvannyuma lw’okumuwa ekitabo kya Matayo. Wayita essaawa emu yokka omukyala oyo n’aweereza mwannyinaffe obubaka ku e-mail ng’amugamba nti yali asomye ekitabo ekyo era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Oluvannyuma lwa wiiki emu, omukyala oyo yatandika okuyiga Bayibuli era n’atandika n’okugenda mu nkuŋŋaana.

Kopi ezisukka 1,600,000 ez’ekitabo BayibuliEnjiri nga Bwe Yawandiikibwa Matayo zaamala dda okusindikibwa mu bibiina ebitali bimu mu Japan, era buli mwezi, Abajulirwa ba Yakuwa bagaba kopi z’ekitabo ekyo nkumi na nkumi. Ennyanjula y’ekitabo ekyo erimu ebigambo bino: “Tusuubira nti ekitabo kino kijja kukuleetera okwongera okwagala okusoma Bayibuli.”