Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yoleka Obuvumu n’Okutegeera nga Yesu bwe Yakola

Yoleka Obuvumu n’Okutegeera nga Yesu bwe Yakola

“Wadde temwamulabako, mumwagala. Wadde nga temumulaba kaakano, mumukkiririzaamu.”1 PEET. 1:8.

1, 2. (a) Kiki kye tulina okukola okusobola okulokolebwa? (b) Kiki ekinaatuyamba okusigala ku kkubo ery’obulamu?

BWE tufuuka abayigirizwa ba Kristo, tutandika okutambulira mu kkubo. Ekkubo eryo lye kkubo erituusa mu bulamu obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi. Yesu yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero [enkomerero y’obulamu bwe oba enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu] y’alirokolebwa.” (Mat. 24:13) Mu butuufu, bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Katonda, tujja kulokolebwa. Naye, tusaanidde okwegendereza okulaba nti ensi eno tetujja ku kkubo ery’obulamu. (1 Yok. 2:15-17) Kiki ekinaatuyamba okusigala ku kkubo ery’obulamu?

2 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Bwe tusoma ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku ngeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe, kisobola okutuyamba okumutegeera. Ekyo kisobola okutuyamba okwongera okumwagala n’okumukkiririzaamu. (Soma 1 Peetero 1:8, 9.) Peetero yagamba nti Yesu yatulekera ekyokulabirako tusobole okutambulira mu bigere bye. (1 Peet. 2:21) Bwe tutambulira mu bigere bya Yesu, tujja kusobola okusigala ku kkubo ery’obulamu. * Mu kitundu ekyayita, twalaba engeri gye tuyinza okwoleka obwetoowaze n’obusaasizi nga Yesu bwe yakola. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwoleka obuvumu n’okutegeera nga Yesu bwe yakola.

YESU MUVUMU

3. Obuvumu kye ki, era kiki ekinaatuyamba okuba abavumu?

3 Obuvumu ye ngeri esobola okutuyamba okugumira embeera enzibu. Obuvumu kwe “kugumira ebizibu,” “okunywerera ku kituufu,” oba “okuba n’okukkiriza okunywevu ng’oli mu mbeera enzibu.” Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obuvumu, okutya, essuubi, n’okwagala. Mu ngeri ki? Okutya Katonda kitusobozesa okuba abavumu ne tutatya bantu. (1 Sam. 11:7; Nge. 29:25) Okuba n’essuubi kituyamba okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso ebirungi mu kifo ky’okubissa ku bizibu bye twolekagana nabyo. (Zab. 27:14) Okwagala okwa nnamaddala kutukubiriza okwoleka obuvumu ne bwe kiba nti obulamu bwaffe buli mu kabi. (Yok. 15:13) Okwesiga Katonda n’okutambulira mu bigere by’Omwana we, kijja kutuyamba okuba abavumu.Zab. 28:7.

4. Yesu yayoleka atya obuvumu bwe yali “ng’atudde n’abayigiriza” mu yeekaalu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 10.)

4 Yesu bwe yali wa myaka 12, yayoleka obuvumu bwe yali “mu yeekaalu ng’atudde n’abayigiriza.” (Soma Lukka 2:41-47.)Abayigiriza abo baali bamanyi bulungi Amateeka ga Musa awamu n’obulombolombo bw’abantu obwali busaabulula amateeka ago. Naye Yesu teyatya bayigiriza abo n’asalawo okusirika obusirisi. Mu kifo ky’ekyo ‘yababuuza ebibuuzo.’ Kya lwatu nti Yesu yali tabuuza bibuuzo ng’ebyo abaana abato bye batera okubuuza. Mu butuufu, ebibuuzo bye yabuuza abayigiriza abo byabaleetera okussaayo omwoyo n’okufumiitiriza. Ate bwe kiba nti abayigiriza abo baagezaako okubuuza Yesu ebibuuzo nga baagala okumuggya ku mulamwa, bateekwa okuba nga baalemererwa. Mu butuufu, abo bonna abaali bawuliriza Yesu, nga mw’otwalidde n’abayigiriza, “beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.” Tewali kubuusabuusa nti Yesu yayoleka obuvumu ng’anywerera ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda!

5. Yesu yayoleka atya obuvumu mu buweereza bwe ku nsi?

5 Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yayoleka obuvumu mu ngeri ezitali zimu. Yayanika enjigiriza enkyamu abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye ze baayigirizanga. (Mat. 23:13-36) Teyakkiriza nsi ya Sitaani kumwonoona. (Yok. 16:33) Yeeyongera okubuulira ne bwe yali ng’aziyizibwa. (Yok. 5:15-18; 7:14) Emirundi ebiri, yagoba mu yeekaalu abantu abaali bakoleramu bizineesi.Mat. 21:12, 13; Yok. 2:14-17.

6. Yesu yayoleka atya obuvumu ku lunaku kwe baamuttira?

6 Okwetegereza engeri Yesu gye yayolekamu obuvumu ng’ali mu mbeera enzibu kinyweza okukkiriza kwaffe. Lowooza ku ngeri gye yayolekamu obuvumu ku lunaku kwe baamuttira. Yesu yali amanyi ebyo ebyandibaddewo oluvannyuma lwa Yuda okumulyamu olukwe. Wadde kyali kityo, bwe baali bakwata Okuyitako, Yesu yagamba Yuda nti: “Ky’okola kikole mu bwangu.” (Yok. 13:21-27) Bwe yali mu nnimiro y’e Gesusemane, Yesu yayoleka obuvumu ne yeeyanjula eri abasirikale abaali bazze okumukwata. Wadde ng’obulamu bwe bwali mu kabi, Yesu yakuuma abayigirizwa be. (Yok. 18:1-8) Bwe yali abuuzibwa ebibuuzo mu lukiiko lw’Abayudaaya olukulu, Yesu yakiraga kaati nti ye yali Kristo era nti yali Mwana wa Katonda, wadde nga yali akimanyi nti kabona omukulu yali anoonya eky’okwekwasa asobole okumusingisa omusango ogw’okufa. (Mak. 14:60-65) Yesu yasigala nga mwesigwa okutuukira ddala bwe yattibwa ng’awanikibwa ku muti ogw’okubonaabona. Bwe yali anaatera okufa, yagamba nti: “Kiwedde!”Yok. 19:28-30.

YOLEKA OBUVUMU NGA YESU BWE YAKOLA

7. Abavubuka, eky’okuba nti muyitibwa erinnya lya Yakuwa mukitwala mutya, era muyinza mutya okwoleka obuvumu?

7 Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga Yesu bwe yakola? Ku ssomero. Abavubuka, musobola okwoleka obuvumu nga mutegeeza bayizi bannammwe n’abalala nti muli Bajulirwa ba Yakuwa, wadde ng’okukola ekyo kiyinza okubaviirako okujeregebwa. Bwe mukola mutyo, muba mukiraga nti mwenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Yakuwa. (Soma Zabbuli 86:12.) Abasomesa bammwe n’abalala bayinza okwagala mukkirize nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Naye mulina ensonga nnyingi ezibakakasa nti ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kutondebwa kw’ebintu kituufu ddala. Musobola okukozesa brocuwa The Origin of LifeFive Questions Worth Asking okuddamu abo “ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe.” (1 Peet. 3:15) Ekyo bwe mukikola, mujja kufuna essanyu olw’okunywerera ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda.

8. Lwaki tusaanidde okubuulira n’obuvumu?

8 Nga tubuulira. Ng’Abakristaayo ab’amazima, twetaaga okweyongera ‘okwogera n’obuvumu kubanga twafuna obuyinza okuva eri Yakuwa.’ (Bik. 14:3) Lwaki tusaanidde okubuulira n’obuvumu? Tukimanyi nti bye tubuulira ge mazima kubanga tubiggya mu Bayibuli. (Yok. 17:17) Tukimanyi nti “tukolera wamu ne Katonda” era nti atuwa omwoyo gwe omutukuvu nga tukola omulimu ogw’okubuulira. (1 Kol. 3:9; Bik. 4:31) Ate era tukimanyi nti bwe tubuulira n’obunyiikivu, tuba tukiraga nti twagala Yakuwa ne bantu bannaffe. (Mat. 22:37-39) Bwe tuba abavumu, tetusobola kutya kubuulira. Mu kifo ky’ekyo, tuba bamalirivu okwanika enjigiriza z’amadiini ez’obulimba eziremesezza abantu okutegeera amazima. (2 Kol. 4:4) Ate era tuba tusobola okweyongera okubuulira n’obunyiikivu ne bwe kiba nti abantu be tubuulira tebaagala bubaka bwaffe, batuvuma, oba batuyigganya.1 Bas. 2:1, 2.

9. Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga tufunye ebizibu?

9 Nga tufunye ebizibu. Bwe twesiga Katonda, ajja kutuyamba okuba n’okukkiriza n’obuvumu ebinaatuyamba okugumira ebizibu. Bwe tufiirwa omuntu waffe, tunakuwala nnyo, naye tetuggwaamu ssuubi. Twesiga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” nga tuli bakakafu nti ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga. (2 Kol. 1:3, 4; 1 Bas. 4:13) Bwe tuba abalwadde oba bwe tugwa ku kabenje, tuyinza okuba mu bulumi obw’amaanyi. Wadde kiri kityo, twewala obujjanjabi bwonna obukontana n’emisingi gya Bayibuli. (Bik. 15:28, 29) Bwe twennyamira, ‘emitima gyaffe giyinza okutusalira omusango,’ naye olw’okuba tuli bakakafu nti Katonda ‘ali kumpi n’abo abalina emitima egimenyese,’ tetuggwaamu ssuubi. *1 Yok. 3:19, 20; Zab. 34:18.

YESU AYOLEKA OKUTEGEERA

10. Okutegeera kye ki, era Omukristaayo ayinza atya okwoleka okutegeera mu ngeri gy’ayogeramu ne mu ngeri gye yeeyisaamu?

10 Okutegeera bwe busobozi bw’okwawulawo ekituufu ku kikyamu era n’okola ekituufu. (Beb. 5:14) Omukristaayo alina okutegeera asalawo mu ngeri emusobozesa okunyweza enkolagana ye ne Katonda. Omukristaayo ng’oyo afuba okwogera n’okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. Ebigambo by’ayogera bizzaamu abalala amaanyi mu kifo ky’okubalumya. (Nge. 11:12, 13) Omukristaayo ng’oyo “alwawo okusunguwala.” (Nge. 14:29) Mu buli kimu ky’asalawo mu bulamu, afuba okukisalawo mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 15:21) Tuyinza tutya okufuna okutegeera? Tulina okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukolera ku ebyo bye tuba tusomye. (Nge. 2:1-5, 10, 11) Okugatta ku ekyo, tusaanidde okusoma ebikwata ku Yesu, omuntu eyayoleka okutegeera mu ngeri etuukiridde, era ne tufuba okumukoppa.

11. Yesu yayoleka atya okutegeera mu ngeri gye yayogerangamu?

11 Yesu yayoleka okutegeera mu byonna bye yakola ne bye yayogera. Mu ngeri gye yayogerangamu. Yesu yayoleka amagezi ng’abuulira. Yakozesanga “ebigambo ebirungi” ebyewuunyisanga abo abaamuwulirizanga. (Luk. 4:22; Mat. 7:28) Yakozesanga Ekigambo kya Katonda, ng’asoma ebyawandiikibwa ebituukirawo oba ng’abijuliza. (Mat. 4:4, 7, 10; 12:1-5; Luk. 4:16-21) Yesu era yannyonnyolanga ebyawandiikibwa mu ngeri etuuka ku mitima gy’abantu. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yayogerako n’abayigirizwa be babiri abaali bagenda ku kyalo ekiyitibwa Emawo, “n’abannyonnyola ebintu ebyali bimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna.” Oluvannyuma abayigirizwa abo baagamba nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo . . . ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”Luk. 24:27, 32.

12, 13. Kiki ekiraga nti Yesu yalwangawo okusunguwala era nti teyali mukakanyavu?

12 Mu nneewulira ye ne mu ndowooza ye. Okutegeera kwayamba Yesu okwefuga, n’aba ‘ng’alwawo okusunguwala.’ (Nge. 16:32) Yesu yali “muteefu.” (Mat. 11:29) Yali mugumiikiriza eri abayigirizwa be wadde nga baalina obunafu obutali bumu. (Mak. 14:34-38; Luk. 22:24-27) Yasigalanga mukkakkamu ne bwe yabanga ayisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya.1 Peet. 2:23.

13 Okutegeera kwayamba Yesu obutaba mukakanyavu. Yali ategeera bulungi ensonga lwaki Amateeka ga Musa gaateekebwawo; era ekyo kyeyolekera mu ngeri gye yayisangamu abantu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebiri mu Makko 5:25-34. (Soma.) Omukazi eyali omulwadde w’ekikulukuto eky’omusaayi yeenyigiriza mu bantu n’akwata ku kyambalo kya Yesu era n’awona. Okusinziira ku Mateeka, omukazi oyo teyali mulongoofu era yali takkirizibwa kukoona ku muntu yenna. (Leev. 15:25-27) Naye olw’okuba Yesu yali akimanyi nti mu “bintu ebisinga obukulu mu Mateeka” mwalimu “obusaasizi, n’obwesigwa,” teyanenya mukazi oyo olw’okukwata ku kyambalo kye. (Mat. 23:23) Mu kifo ky’ekyo, yamulaga ekisa n’amugamba nti: “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.” Mu butuufu okutegeera kwaleetera Yesu okwoleka ekisa!

14. Yesu yakozesa atya obulamu bwe, era kiki ekyamuyamba obutawugulibwa?

14 Mu ngeri gye yakozesaamu obulamu bwe. Yesu yayoleka okutegeera mu ngeri gye yakozesaamu obulamu bwe. Obulamu bwe yabukozesa okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Luk. 4:43) Era ebyo Yesu bye yasalangawo okukola byamuyamba obutawugulibwa okuva ku mulimu gwe. Ng’ekyokulabirako yasalawo obuteenoonyeza bintu asobole okukozesa mu bujjuvu ebiseera bye n’amaanyi ge mu mulimu gw’okubuulira. (Luk. 9:58) Yakiraba nga kyali kyetaagisa okutendeka abalala abandigenze mu maaso nga bakola omulimu gw’okubuulira oluvannyuma lw’okufa kwe. (Luk. 10:1-12; Yok. 14:12) Yasuubiza abagoberezi be nti yandibadde wamu nabo nga bakola omulimu ogwo “okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.”Mat. 28:19, 20.

YOLEKA OKUTEGEERA NGA YESU BWE YAKOLA

Fuba okutegeera ebyetaago by’abo b’obuulira, era ofube okutuukanya by’oyogera n’ebyetaago byabwe (Laba akatundu 15)

15. Tuyinza tutya okwoleka okutegeera mu ngeri gye twogeramu?

15 Lowooza ku ngeri endala gye tuyinza okukoppamu Yesu. Mu ngeri gye twogeramu. Bwe tuba tunyumya ne baganda baffe ne bannyinaffe, tusaanidde okukozesa ebigambo ebirungi era ebizimba mu kifo ky’ebyo ebiyinza okubamalamu amaanyi. (Bef. 4:29) Bwe tuba tubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, tusaanidde okukozesa ebigambo ‘ebinoze omunnyo.’ (Bak. 4:6) Tufuba okutegeera ebyetaago byabwe era ne tufuba okutuukanya bye twogera n’ebyetaago ebyo. Bwe tukozesa ebigambo ebirungi, abantu bayinza okwagala okutuwuliriza era obubaka bwaffe buyinza okutuuka ku mitima gyabwe. Okugatta ku ekyo, bwe tuba tunnyonnyola abantu ebyo bye tukkiriza, tufuba okubasomera obutereevu mu kigambo kya Katonda Bayibuli. Ekyo kiri kityo kubanga tukimanyi nti Ekigambo kya Katonda kya maanyi okusinga ebigambo byonna bye tuyinza okwogera.Beb. 4:12.

16, 17. (a) Tuyinza tutya okukiraga nti tulwawo okusunguwala era nti tetuli bakakanyavu? (b) Tuyinza tutya okwewala okuwugulibwa okuva ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

16 Mu nneewulira yaffe ne mu ndowooza yaffe. Okutegeera kutuyamba ‘okulwawo okusunguwala.’ (Yak. 1:19) Abalala bwe bakola ekintu ekitatusanyusa, tufuba okutegeera ensonga lwaki bakoze ekintu ekyo. Ekyo kisobola okutuyamba okubuusa amaaso ensobi zaabwe era ne ‘tubasonyiwa.’ (Nge. 19:11) Okutegeera era kutuyamba obutaba bakakanyavu. Kutuyamba okukijjukira nti bakkiriza bannaffe nabo tebatuukiridde era nti bayinza okuba nga boolekagana n’embeera enzibu ze tuyinza okuba nga tetumanyi bulungi. Tufuba okubawuliriza n’okukkiriza endowooza yaabwe bwe kiba nga kituukirawo.Baf. 4:5.

17 Mu ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe. Ffenna abagoberezi ba Yesu tugitwala nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. N’olwekyo, mu byonna bye tusalawo mu bulamu tufuba okubisalawo mu ngeri eneetuyamba obutawugulibwa okuva ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Tufuba okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe era twewala okwekuŋŋaanyiza ebintu, kituyambe okwemalira ku mulimu gw’okubuulira, nga guno gwe mulimu ogusingayo obukulu ogulina okukolebwa ng’enkomerero tennatuuka.Mat. 6:33; 24:14.

18. Kiki ekinaatuyamba okusigala ku kkubo ery’obulamu, era kiki ky’omaliridde okukola?

18 Nga kitusanyusizza nnyo okwetegereza ezimu ku ngeri za Yesu! Mu butuufu, singa tufuba okuyiga ne ku ngeri za Yesu endala era ne tufuba okumukoppa, tujja kuganyulwa nnyo. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okutambulira mu bigere bya Yesu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okusigala ku kkubo ery’obulamu, era tujja kweyongera okusemberera Yakuwa, Oyo Yesu gwe yakoppa mu ngeri etuukiridde.

^ lup. 2 Ebyo ebiri mu 1 Peetero 1:8, 9 byawandiikirwa Bakristaayo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Wadde kiri kityo, omusingi oguli mu bigambo ebyo gukwata ne ku Bakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi.

^ lup. 9 Soma ku abo abaayoleka obuvumu nga boolekagana n’ebizibu mu Watchtower eya Ddesemba 1, 2000, olupapula 24-28; Awake! eya Apuli 22, 2003, olupapula 18-21; ne Awake! eya Jjanwali 22, 1995, olupapula 11-15.