Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu biseera by’edda, mu bitabo byaffe mwafulumirangamu nnyo ebitundu ebyabanga binnyonnyola ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli era ne biraga nti birina kye bikiikirira, naye ekyo kati tekikyakolebwa nnyo. Lwaki?
Magazini ya Watchtower eya Ssebutemba 15, 1950, yagamba nti ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli birina kye bikiikirira oba nti biraga ebyo ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Yalaga nti ekintu ekirina kye kikiikirira kiba kisiikirize ky’ekyo kye kikiikirira.
Emyaka mingi emabega, ebitabo byaffe byakiraga nti abasajja n’abakazi abeesigwa, gamba nga Debola, Eriku, Yefusa, Yobu, Lakabu, ne Lebbeeka, awamu n’abalala bangi, baali bakiikirira abaafukibwako amafuta oba ‘ab’ekibiina ekinene.’ (Kub. 7:9) Ng’ekyokulabirako, kyagambibwa nti Yefusa, Yobu, ne Lebbeeka baali bakiikirira abaafukibwako amafuta, ate nga Debola ne Lakabu bakiikirira ab’ekibiina ekinene. Kyokka ennaku zino, ebintu ng’ebyo tetukyabyogerako nnyo. Lwaki?
Ebyawandiikibwa biraga nti waliwo abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli abalina kye bakiikirira. Nga bwe kiragibwa mu Abaggalatiya 4:21-31, omutume Pawulo ayogera ku bintu ‘eby’akabonero’ ebikwata ku bakazi ababiri. Agali, omuzaana wa Ibulayimu, akiikirira Isiraeri ow’omubiri, eyafuuka eggwanga lya Yakuwa okuyitira mu Mateeka ga Musa. Ate Saala, “omukazi ow’eddembe,” akiikirira mukazi wa Katonda, nga kino kye kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, Pawulo yalaga akakwate akali wakati wa Yesu ne Merukizeddeeki, eyali kabaka ate nga mu kiseera kye kimu kabona, era n’akiraga nti Merukizeddeeki akiikirira Yesu. (Beb. 6:20; 7:1-3) Ate era Pawulo yageraageranya Isaaya n’abaana be ku Yesu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. (Beb. 2:13, 14) Okuva bwe kiri nti Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebintu ebyo, tukkiriza nti ebyo byonna bye yawandiika bituufu.
Kyokka ne bwe kiba nti Bayibuli eba ekiraze nti omuntu omu alina gw’akiikirira, tetusaanidde kulowooza nti buli kimu omuntu oyo kye yakola kirina kye kikiikirira. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Pawulo yagamba nti Merukizeddeeki akiikirira Yesu, talina kye yayogera ku mmere
Abawandiisi abamu abajjawo oluvannyuma lw’ekiseera kya Yesu baatandika okulowooza nti buli kimu ekiri mu Byawandiikibwa kirina amakulu ameekusifu. Nga kyogera ku ebyo Origen, Ambrose, ne Jerome bye baayigirizanga, ekitabo The International Standard Bible Encyclopaedia kigamba nti: “Baalowoozanga nti buli kimu ekiri mu Byawandiikibwa, ne bwe kiba kitono kitya, kirina kye kikiikirira. . . . Mu butuufu, baatuuka n’okulowooza nti omuwendo gw’ebyennyanja 153, abatume bye baakwata ekiro ku lunaku Omulokozi lwe yazuukira byalina amakulu ameekusifu!”
Augustine ow’e Hippo yayogera nnyo ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yesu okuliisa abantu 5,000 ng’akozesa emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri. Okuva bwe kiri nti omuwendo gwa ssayiri gwali gwa wansi ku gw’eŋŋaano, Augustine yagamba nti emigaati etaano giteekwa okuba nga gikiikirira ebitabo ebitaano Musa bye yawandiika (ng’olwo nno “ssayiri” akiikirira “Endagaano Enkadde” eyatwalibwanga ng’etaali ya muwendo nnyo). Ate ebyennyanja ebibiri? Olw’ensonga etaategeerwa, yagamba nti bikiikirira kabaka ne kabona. Omwekenneenya omulala eyali ayagala ennyo okunoonyereza ku bintu ebiri mu Bayibuli ne kye bikiikirira yagamba nti Yakobo okugula omugabo gwa Esawu ng’akozesa omugoyo omumyufu kyali kikiikirira eky’okuba nti Yesu yandibadde agulira abantu obusika obw’omu ggulu ng’akozesa omusaayi gwe omumyufu!
Ebyokulabirako ebyo bituyigiriza ki? Bituyigiriza nti si kyangu bantu kutegeerera ddala bintu ki ebyogerwako mu Bayibuli ebirina kye bikiikirira n’ebyo ebitalina kye bikiikirira. Bwe kityo, eky’amagezi kiri nti: Ebyawandiikibwa bwe bikiraga nti omuntu omu oba ekintu ekimu kirina kye kikiikirira, ekyo kye tulina okutwala. Naye Ebyawandiikibwa bwe biba tebikiraga, tekyandibadde kya magezi kutandika kuteebereza nti omuntu omu oba ekintu ekimu kirina kye kikiikirira.
Kati olwo ebintu ebiri mu Byawandiikibwa bituganyula bitya? Mu Abaruumi 15:4, omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali akiraga nti baganda be abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka baalina bingi bye baali basobola okuyigira ku bintu ebyali mu Byawandiikibwa. Kyokka, n’abantu ba Katonda abalala, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nga ba ‘ndiga ndala,’ nga babaddewo mu “nnaku ez’oluvannyuma” oba nedda, basobola okuganyulwa mu ‘bintu byonna ebyawandiikibwa edda.’
Mu kifo ky’okulowooza nti ebintu ebisinga obungi ebiri mu Byawandiikibwa bikwata ku baafukibwako amafuta bokka oba ku ba ndiga ndala bokka, oba nti bikwata ku bantu ab’omu kiseera ekimu, abantu ba Katonda bonna balina bingi bye basobola okuyigira ku bintu byonna ebiri mu Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, tetusaanidde kulowooza nti ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu bikwata ku baafukibwako amafuta bokka abaayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo mu kiseera kya Ssematalo I. Abaweereza ba Katonda bangi abasajja n’abakazi, abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene, boolekaganye n’ebizibu ebifaananako ng’ebyo Yobu bye yafuna, era okufaananako Yobu bakirabye nti “Yakuwa alina okwagala kungi n’obusaasizi.”
Lowooza ku kino: Leero, mu bibiina byaffe, temuliimu bannyinaffe abakuze mu myaka aboolese obwesigwa nga Debola, abakadde mu kibiina aboolese amagezi nga Eriku, bapayoniya aboolese obunyiikivu nga Yefusa, oba abasajja n’abakazi abeesigwa aboolese obugumiikiriza nga Yobu? Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa akuumye “ebintu byonna ebyawandiikibwa edda,” tusobole “okuba n’essuubi okuyitira . . . mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa”!
N’olwekyo ennaku zino, mu bitabo byaffe essira lissibwa ku ebyo bye tuyigira ku bintu ebiri mu Bayibuli, mu kifo ky’okulissa ku ebyo bye bikiikirira.