Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kya Magezi Okuwasa oba Okufumbirwa—“Mu Mukama Waffe Mwokka”?

Kya Magezi Okuwasa oba Okufumbirwa—“Mu Mukama Waffe Mwokka”?

“Emyaka gyange gigenderedde, naye siraba muntu yenna mu kibiina gwe nnyinza kufumbiriganwa naye.”

“Abasajja abamu ab’ensi ba kisa, balina okwagala, ate banfaako. Tebawakanya ddiini yange, ate bacamufu n’okusinga ab’oluganda abamu mu kibiina.”

Abaweereza ba Katonda abamu boogedde ebigambo ebifaananako ng’ebyo. Wadde kiri kityo, bamanyi bulungi okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa okukwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” era ng’okubuulirira okwo Abakristaayo bonna balina okukukolerako. (1 Kol. 7:39) Naye lwaki abamu boogera ebigambo ng’ebyo?

ENSONGA LWAKI ABAMU BABUUSABUUSA

Abamu boogera ebigambo ng’ebyo olw’okuba balaba nti omuwendo gw’abaweereza ba Yakuwa abasajja tegwenkanankana na gwa bakazi. Mu butuufu, bwe kityo bwe kiri mu nsi nnyingi. Ng’ekyokulabirako: Mu Korea, okutwalira awamu ku buli Bajulirwa ba Yakuwa 100 abali obwannamunigina, 57 ku bo bakazi ate 43 basajja. Ate mu Colombia Abajulirwa ba Yakuwa 66 ku buli 100 bakazi, ate nga 34 ku buli 100 basajja.

Mu nsi ezimu, omusajja bw’aba ayagala okuwasa, abazadde abatali Bajulirwa ba Yakuwa bamusalira ebintu bingi nnyo. Ekyo kikifuula kizibu nnyo eri ab’oluganda abatali bagagga okuwasa. Bannyinaffe abamu bwe balowooza ku ekyo, bayinza okulaba nga si kyangu okufuna ow’oluganda ali “mu Mukama waffe” gwe bayinza okufumbirwa. N’olwekyo, bannyinaffe bayinza okutandika okwebuuza, “Ddala nnaasobola okufuna ow’oluganda mu kibiina ow’okufumbirwa?” *

KIKULU OKWESIGA YAKUWA

Bwe kiba nti naawe olina endowooza ng’eyo, kikulu okukijjukira nti Yakuwa ategeera bulungi embeera yo. Mu butuufu, ategeera bulungi engeri gy’owuliramu.2 Byom. 6:29, 30.

Wadde kiri kityo, mu Kigambo kye, Yakuwa atulagira okuwasa oba okufumbirwa mu mukama waffe mwokka. Lwaki? Kubanga ayagaliza abaweereza be ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Tayagala baweereza be bafune bulumi obuva mu kusalawo obubi, era ayagala babe basanyufu. Mu kiseera kya Nekkemiya, Abayudaaya bangi bwe baali bawasa era nga bafumbirwa abagwira abaali batasinza Yakuwa, Nekkemiya yabajjukiza ekyokulabirako ekibi Sulemaani kye yateekawo. Wadde nga Katonda yali ayagala nnyo Sulemaani, ‘abakazi ab’amawanga baamuleetera okwonoona.’ (Nek. 13:23-26) N’olwekyo, Yakuwa akimanyi nti singa abaweereza be bawasa oba bafumbirwa mu Mukama waffe mwokka, kijja kubaganyula nnyo. (Zab. 19:7-10; Is. 48:17, 18) Abakristaayo ab’amazima basiima nnyo amagazi Yakuwa g’abawa era beetegefu okugakolerako. Mu kukola batyo, baba bakiraga nti bakkirizza Yakuwa, Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, okuba Omufuzi waabwe.Nge. 1:5.

Kya lwatu nti naawe oli mumalirivu obutafumbiriganwa na muntu yenna atasinza Yakuwa. (2 Kol. 6:14) Abakristaayo bangi bagondedde ekiragiro kya Yakuwa ekyo era balabye ebirungi ebiva mu kukolera ku bulagirizi obwo. Naye eky’ennaku kiri nti abamu bagaanye okugondera ekiragiro kya Yakuwa ekyo.

KYA MAGEZI OKUGONDERA EKIRAGIRO KYA KATONDA

Maggy, * mwannyinaffe ow’omu Australia, ayogera ku ekyo ekyaliwo bwe yatandika okwogerezeganya n’omusajja ataali mukkiriza. Yagamba nti: “Nnayosanga enkuŋŋaana nnyingi okusobola okubeerako awamu naye. Nnaddirira nnyo mu by’omwoyo.” Omuwala ayitibwa Ratana ow’omu India naye yatandika okwogerezeganya ne muyizi munne ataali mukkiriza eyatandika okuyiga Bayibuli. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kyeyoleka kaati nti omulenzi oyo yali atandise okuyiga Bayibuli olw’okuba yali ayagala kwogereza Ratana. N’ekyavaamu, Ratana yava mu mazima n’adda mu ddiini endala asobole okufumbirwa omulenzi oyo.

Ate lowooza ku Ndenguè ow’omu Cameroon. Bwe yali wa myaka 19, yafumbirwa omusajja ataali mukkiriza. Omusajja oyo yali yamugamba nti tajja kumugaana kusinza Yakuwa. Naye oluvannyuma lwa wiiki bbiri nga bamaze okufumbiriganwa, omusajja oyo yamugaana okugenda mu nkuŋŋaana. Ndenguè agamba nti: “Nnawuliranga ekiwuubaalo era nnakaabanga nnyo. Nnali sikyaIina ddembe lye nnalina, era nnejjusa nnyo.”

Tekiri nti buli muntu atali mukkiriza aba mukambwe oba nti aba mukakanyavu. Naye, okufumbiriganwa n’omuntu oyo kinaakwata kitya ku nkolagana yo ne Yakuwa? Oluvannyuma onoowulira otya ng’ogaanye okukolera ku magezi Yakuwa g’akuwa agandikuyambye okuba omusanyufu? N’ekisinga obukulu, Yakuwa anaawulira atya ng’osazeewo mu ngeri eyo?Nge. 1:33.

Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi okwetooloola ensi bakirabye nti okugondera ekiragiro kya Katonda ekikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka” kya muganyulo nnyo. Abo abakyali obwannamunigina bamalirivu okusanyusa omutima gwa Katonda nga bawasa oba nga bafumbirwa abo bokka abasinza Yakuwa. Michiko ow’omu Japan bwe yali akyali bwannamunigina, ab’eŋŋanda ze baagezaako okumupikiriza afumbirwe omusajja atali mukkiriza. Ng’oggyeko ekyo, mikwano gya mwannyinaffe oyo abawerako baasobola okufuna ab’oluganda mu kibiina ne bafumbirwa. Agamba nti: “Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye ‘Katonda omusanyufu,’ essanyu lyaffe teryesigamye ku kuba nti tuli bafumbo oba nti tetuli bafumbo. Ate era ndi mukakafu nti Yakuwa atuwa ebyo bye twetaaga. N’olwekyo, bwe kiba nti tetunnafuna muntu wa kufumbiriganwa naye, kiba kya magezi okulindirira Yakuwa.” (1 Tim. 1:11) Ekiseera kyatuuka, Michiko n’afuna ow’oluganda mu kibiina n’afumbirwa, era musanyufu nnyo okuba nti yagumiikiriza.

Waliwo n’ab’oluganda abamu abamaze ekiseera ekiwanvu nga tebannafuna muntu wa kufumbiriganwa naye. Lowooza ku Bill ow’omu Australia. Agamba nti ebiseera ebimu yawuliranga nga yeegomba abakazi abatali mu kibiina. Kyokka yeewalanga okussaawo enkolagana ey’oku lusegere nabo. Lwaki? Yali tayagala kukola kintu kyonna ekiyinza okumuleetera okufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza. Era waliwo ne bannyinaffe abamu be yali ayagala okuwasa naye nga bo tebagaala. Waayita emyaka nga 30 Bill n’alyoka afuna mwannyinaffe gwe yawasa. Bill agamba nti: “Sirina kye nnejjusa.” Agattako nti: “Ndi musanyufu nnyo okuba nti nze ne mukyala wange tugendera wamu okubuulira, tusomera wamu Bayibuli, era tugendera wamu mu nkuŋŋaana. Kinsanyusa nnyo okubaako awamu ne mikwano gya mukyala wange kubanga bonna baweereza Yakuwa. Tukolera ku misingi gya Bayibuli mu bufumbo bwaffe.”

BY’OYINZA OKUKOLA NGA BW’OLINDIRIRA YAKUWA

Biki by’oyinza okukola nga bw’olindirira Yakuwa? Ekimu ku bintu by’oyinza okukola kwe kulowooza ku nsonga lwaki toli mufumbo. Bwe kiba nti ekyo kivudde ku kuba nti oyagala kugondera kiragiro kya Katonda ekikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” osiimibwa nnyo. Ba mukakafu nti Yakuwa musanyufu olw’okuba omaliridde okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye. (1 Sam. 15:22; Nge. 27:11) Weeyongere okumubuulira ebyo ebikuli ku mutima ng’oyitira mu kusaba. (Zab. 62:8) Bw’oneeyongera okweyabiza Yakuwa, essaala zo zijja kweyongera okuba ez’amakulu. Bw’onoosigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa wadde ng’opikirizibwa, enkolagana yo naye ejja kweyongera okunywera. Ba mukakafu nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be abeesigwa era nti oli wa muwendo nnyo mu maaso ge. Afaayo nnyo ku byetaago byo ne ku ebyo by’oyagala. Wadde nga Yakuwa tasuubiza kufunira muntu yenna muntu wa kufumbiriganwa naye, bw’akiraba nti ddala weetaaga omuntu ow’okufumbiriganwa naye, amanyi engeri esingayo obulungi ey’okukuyambamu.Zab. 145:16; Mat. 6:32.

Ebiseera ebimu oyinza okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi eyagamba nti: “Oyanguwe okumpitaba, Ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: tonkisa maaso go.” (Zab. 143:5-7, 10) Bw’oba mu mbeera ng’eyo, kiba kya magezi okulindirira Yakuwa akuyambe okulaba ekyo ky’olina okukola. Ekyo osobola okukikola ng’osoma Ekigambo kye era ng’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma. Ekyo kijja kukuyamba okwongera okutegeera amateeka ge n’okulaba engeri gye yayambamu abaweereza be ab’edda. Okukolera ku ebyo Yakuwa by’akugamba kijja kukuyamba okuba omumalirivu okweyongera okumugondera.

Abo abali obwannamunigina ba muwendo nnyo mu kibiina, era batera okuyamba ku bazadde n’abaana abato

Kiki ekirala ky’oyinza okukola nga bw’olindirira Yakuwa? Ng’okyali bwannamunigina, fuba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, okuyamba abalala, okuba omukozi omunyiikivu, okwemalira ku Katonda, n’okukola erinnya eddungi, kubanga ebintu ebyo bijja kukuyamba nnyo singa onooba oyingidde obufumbo. (Lub. 24:16-21; Luus. 1:16, 17; 2:6, 7, 11; Nge. 31:10-27) Kulembeza Obwakabaka nga weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira ne mu mirimu emirala egy’Ekikristaayo. Okukola ekyo kijja kuba kya bukuumi gy’oli. Ng’ayogera ku myaka gye yamala ng’anoonya omuntu ow’okuwasa, Bill ayogeddwako waggulu yagamba nti: “Emyaka egyo gyadduka ku sipiidi! Nnakozesa ekiseera ekyo okuweereza nga payoniya.”

Mu butuufu, kya magezi okukolera ku kiragiro kya Katonda ekikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” Bw’onookolera ku kiragiro ekyo, ojja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era ojja kufuna essanyu lingi. Bayibuli egamba nti: “Alina omukisa oyo atya Mukama, asanyukira ennyo amateeka ge. Ebintu n’obugagga biri mu nnyumba ye: n’obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.” (Zab. 112:1, 3) N’olwekyo, ba mumalirivu okukolera ku kiragiro kya Katonda ekikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.”

^ lup. 7 Mu kitundu kino, essira liteekeddwa ku bannyinaffe, wadde ng’emisingi egirimu giyamba n’ab’oluganda.

^ lup. 13 Amannya agamu gakyusiddwa.