Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Omulimu Ogwatuleetera Essanyu Erya Nnamaddala

Omulimu Ogwatuleetera Essanyu Erya Nnamaddala

NZE ne Gwen bwe twali ba myaka etaano, twatandika okuyiga okuzina. Mu kiseera ekyo tewali yali amanyi munne. Naye bwe twagenda tukula, buli omu ku ffe yasalawo nti okuzina gwe guba gufuuka omulimu gwe. Bwe twali tunaatera okufuuka abazinyi abatutumufu ennyo mu nsi yonna, omulimu ogwo twaguvaako. Lwaki?

David: Nnazaalibwa mu 1945 mu Shropshire, Bungereza. Taata wange yalina faamu mu kyalo. Bwe nnavanga ku ssomero, nnanyumirwanga nnyo okuwa enkoko emmere, okukuŋŋaanya amagi, n’okulabirira ente zaffe n’embuzi. Bwe twabanga mu luwummula, nnayambangako mu kukungula ebirime, ng’ebiseera ebimu nvuga ttulakita zaffe.

Kyokka, waliwo ekintu ekirala kye nnatandika okwagala ennyo. Bwe nnali nkyali muto, taata yakiraba nti nnali njagala nnyo okuzina, kubanga buli lwe nnawuliranga oluyimba nga ntandikirawo okuzina. Bwe kityo, bwe nnali wa myaka ettaano, taata yagamba maama antwale mu ssomero eritendeka okuzina. Omusomesa wange yakiraba nti nnali nsobola okufuuka omuzinyi omukugu. Bwe nnali wa myaka 15, nnawangula sikaala okugenda mu ssomero eddungi ennyo ery’omu London eriyitibwa Royal Ballet School. Eyo gye nnasanga Gwen, era ne batugamba nti tujja kuzinanga babiri.

Gwen: Nnazaalibwa mu kibuga London mu 1944. Okuviira ddala mu buto, nnali njagala nnyo Katonda. Nnagezaako okusoma Bayibuli, naye nga bye nsoma binzibuwalira okutegeera. Bwe nnali wa myaka etaano, nnagenda mu ssomero eritendeka okuzina. Nga wayise emyaka mukaaga nnawangula empaka z’okuzina ezeetabwamu abantu okuva mu bitundu bya Bungereza byonna, era ne nfuna sikaala okusomera mu Royal Ballet School eritendeka abaana abato. Essomero eryo lyali lisangibwa ku White Lodge, ekizimbe gaggadde ekiri mu Richmond Park mu kibuga London. Bwe nnali eyo, nnali nsoma ate nga mu kiseera kye kimu ntendekebwa okuzina. Abasomesa abaali bantendeka baali bassibwamu nnyo ekitiibwa. Bwe nnali wa myaka 16, nnatwalibwa mu ssomero lya Royal Ballet School erya siniya, era eyo gye nnasanga David. Waayita emyezi mitono ne ntandika okuzina naye, nga tuzinira mu Royal Opera House esangibwa mu Covent Garden, London.

Omulimu gwaffe ogw’okuzina gwatutuusa mu bitundu by’ensi bingi

David: Nga Gwen bw’agambye, twatandika okuzinira mu kifo ekyatiikirivu ekiyitibwa Royal Opera House nga tuli mu kibiina ekiyitibwa London Festival Ballet (kati ekiyitibwa English National Ballet). Omu ku abo abaali batutendeka okuzina ku ssomero lya Royal Ballet yatandikawo ekibiina ekiri ku mutindo gw’ensi yonna e Wuppertal, Bugirimaani, era nze ne Gwen n’atutwala okuba mu kibiina ekyo. Omulimu gwaffe ogw’okuzina gwatusobozesa okutuuka mu bifo bingi okwetooloola ensi, nga tuzina n’abazinyi abaatiikirivu ennyo gamba nga Dame Margot Fonteyn ne Rudolf Nureyev. Obulamu ng’obwo bwatuleetera okufuna omwoyo ogw’okwerowoozaako, era twemalira nnyo ku mulimu gwaffe ogwo.

Gwen: Ebirowoozo byange byonna byali ku kuzina. Nze ne David twali twagala okututumuka tusinge abalala bonna. Nnayagalanga nnyo okuweebwa ebimuli n’okuwulira abantu nga bankubira emizira. Okufaananako abayimbi, abazinyi, ne bannakatemba bangi, nange nnakozesanga eby’obusamize. Okugatta ku ekyo, abantu be nnabeerangamu baali bagwenyufu, nga banywi ba ssigala, era nga batamiivu.

OBULAMU BWAFFE BUKYUKIRA DDALA

Olunaku lwe twagattibwa

David: Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga nkola omulimu gw’okuzina, ekiseera kyatuuka ne mpulira ng’eby’okutambula wano na wali mbikooye. Okuva bwe kiri nti nnakulira mu kyalo, nnawulira nga nneegomba okuddayo mu bulamu obwo. N’olwekyo, mu 1967, nnaleka omulimu gw’okuzina ne nzirayo ewaffe ne ntandika okukola ku faamu eyali okumpi ne bazadde bange we baali babeera era ne mpangisa emu ku nnyumba za nnannyini faamu eyo. Oluvannyuma nnakubira Gwen essimu ne musaba okunfumbirwa. Okuva bwe kiri nti kati yalina ekifo kya maanyi mu kibiina kye twalimu, ekyo tekyamwanguyira kusalawo. Wadde kyali kityo, yakkiriza okunfumbirwa era n’akkiriza n’okubeera nange mu kyalo, wadde ng’obulamu obwo yali tabumanyidde.

Gwen: Tekyannyanguyira kumanyiira bulamu obw’omu kyalo. Twalina okukama ente, okulabirira embizzi, n’okulunda enkoko, ate ng’oluusi embeera y’obudde yabanga mbi nnyo. David yatandika okusoma ku ttendekero eritendeka abalunzi kimuyambe okukuguka mu mulimu gw’okulunda. Yamala emyezi mwenda ng’asoma, era nnawuliranga ekiwuubaalo okutuusa lwe yakomangawo awaka ekiro. Mu kiseera ekyo, twali tumaze okuzaala muwala waffe asooka, Gilly. David yankubiriza okuyiga okuvuga emmotoka, era lumu bwe nnali ŋŋenzeeko mu kabuga akaali okumpi n’ewaffe, nnasisinkana Gael. Gael nnasooka kumumanya ng’akola mu dduuka erimu eryali okumpi n’ewaffe.

Era ne ku faamu nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufumbiriganwa

Gael yantwala ewuwe okunywa ku kacaayi. Yandaga ebifaananyi bye eby’embaga, era ekifaananyi ekimu kyalimu abantu bangi nga bayimiridde mu maaso g’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Nnamubuuza nti kkanisa ki eyo. Bwe yaŋŋamba nti ye n’omwami we Bajulirwa ba Yakuwa, nnajjukira nti omu ku basenga bange yali Mujulirwa wa Yakuwa. Era nnajjukira engeri taata gye yakambuwalirangamu ssenga wange oyo n’atuuka n’okusuula ebitabo bye ku kasasiro. Nneebuuzanga ensonga lwaki taata, eyali omusajja omukkakkamu, yakambuwaliranga ssenga wange, ate nga ssenga yali mukyala atalina mutawaana gwonna.

Kati nnali nfunye akakisa okumanya ensonga lwaki ebyo ssenga wange bye yali akkiriza byali bya njawulo ku ebyo amadiini amalala bye gayigiriza. Gael yandaga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Kyanneewuunyisa nnyo okukimanya nti ebintu bingi amadiini bye gayigiriza, gamba ng’obusatu n’omwoyo ogutafa, bikontana n’Ebyawandiikibwa. (Mub. 9:5, 10; Yok. 14:28; 17:3) Yandaga n’erinnya lya Katonda, Yakuwa, era ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okuliraba mu Bayibuli.Kuv. 6:3.

David: Gwen yambuulirako ku ebyo bye yali ayiga. Nnajjukira nti bwe nnali nkyali muto, taata yankubiriza okusoma Bayibuli. Bwe kityo, nze ne Gwen twatandika okuyiga Bayibuli era nga Gael n’omwami we Derrick be batuyigiriza. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, twasengukira mu Oswestry, ekisangibwa mu Shropshire, okuva bwe kiri nti ye waali faamu gye twali tugenda okupangisa. Bwe twali eyo, Ow’oluganda Deirdre, yeeyongera okutuyigiriza Bayibuli. Mu kusooka sipiidi kwe twali tukulaakulanira yali ntono nnyo, okuva bwe kiri nti twalina emirimu egy’okukola mingi ku faamu yaffe. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, amazima gaagenda gasimba amakanda mu mitima gyaffe.

Gwen: Ekimu ku bizibu eby’amaanyi bye nnalina okuvvuunuka kwe kukkiririza mu bulombolombo. Isaaya 65:11 wannyamba okumanya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abo ‘abategekera katonda w’Omukisa emmeeza.’ Kyantwalira ekiseera kiwanvu ng’okwo kw’ogasse n’okusaba ennyo okusobola okwekutula ku bintu eby’obusamize. Okukimanya nti “buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa” kyannyamba okumanya bantu ba ngeri ki Yakuwa b’ayagala. (Mat. 23:12) Nnali njagala okuweereza Katonda atwagala ennyo eyatuuka n’okuwaayo Omwana we omwagalwa ng’ekinunulo. Mu kiseera ekyo, twali tuzadde muwala waffe ow’okubiri, era kyatusanyusa nnyo okukimanya nti tusobola okubeera ku nsi emirembe gyonna.

David: Bwe nnategeera engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye butuukirizibwamu, gamba ng’obwo obuli mu Matayo essuula 24 n’obwo obuli mu kitabo kya Danyeri, nnakakasa nti nnali nzudde amazima. Nnakiraba nti mu nsi temuli kintu kyonna kisinga kuba kya muwendo ng’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bwe kityo, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnalekera awo okuba n’omwoyo ogw’okwerowoozaako nzekka. Nnakiraba nti nnina okwagala mukyala wange ne bawala bange nga bwe nneeyagala. Abafiripi 2:4 wannyamba okukiraba nti okuweereza Yakuwa kye nnina okukulembeza mu bulamu bwange mu kifo ky’okwerowoozaako ennyo n’okwagala okuba ne faamu ennene. Nnalekera awo okunywa ssigala. Kyokka tekyatwanguyiranga kugenda mu nkuŋŋaana buli Lwamukaaga akawungeezi, okuva bwe kiri nti mu kiseera ekyo kyennyini mwe twalinanga okukamira ente ate nga n’enkuŋŋaana zaali mayiro mukaaga okuva we twali tubeera. Naye Gwen yannyambangako ne tumaliriza emirimu mu bwangu era tetwasubwa lukuŋŋaana na lumu. Ate era tetwayosanga kugenda kubuulira awamu ne bawala baffe buli lwa Ssande ku makya, oluvannyuma lw’okukama ente zaffe.

Ab’eŋŋanda zaffe tebaasanyuka kulaba nga tufuuse Abajulirwa ba Yakuwa. Taata wa Gwen yamala emyaka nga mukaaga nga tayogera naye. Bazadde bange nabo baagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa.

Gwen: Yakuwa yatuyamba okwolekagana n’embeera eyo enzibu. Ate era n’ab’oluganda mu kibiina ky’e Oswestry baatuyamba nnyo. (Luk. 18:29, 30) Twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa mu 1972. Olw’okuba nnali njagala okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okuyiga amazima, nnasalawo okutandika okuweereza nga payoniya.

OMULIMU OGULEETA ESSANYU ERYA NNAMADDALA

David: Emyaka gye twamala nga tukola ku faamu tegyali myangu n’akamu; naye twafuba okuteerawo bawala baffe ekyokulabirako ekirungi mu kukulembeza ebintu eby’omwoyo. Eby’enfuna bwe byagootaana, twasalawo okuleka faamu gye twali tupangisa. Kati okuva bwe kiri nti twali tetukyalina nnyumba na mulimu, ate nga tulina ne muwala waffe ow’okusatu ow’omwaka ogumu, twasaba Yakuwa atuwe obulagirizi. Twasalawo okukozesa ebitone byaffe ne tutandikawo akasomero akatendeka abantu okuzina. Olw’okuba twafuba okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe, twafuna emikisa mingi. Kyatusanyusa nnyo okulaba nga bawala baffe bonna abasatu batandise okuweereza nga bapayoniya oluvannyuma lw’okusoma. Okuva bwe kiri nti mukyala wange Gwen naye yali aweereza nga payoniya, yawagira nnyo bawala baffe.

Bawala baffe ababiri abakulu, Gilly ne Denise, bwe baafumbirwa, twaggalawo akasomero kaffe. Twawandiikira ofiisi y’ettabbi batubuulire wa awali obwetaavu obusingako gye tusobola okugenda. Baatugamba nti tusobola okugenda mu bitundu ebiri mu bukiikaddyo bwa Bungereza. Okuva bwe kiri nti kati twali tubeera ne muwala waffe omu yekka, Debbie, nange nnatandika okuweereza nga payoniya. Nga wayise emyaka etaano, twasabibwa okugenda okuyambako mu bibiina ebitali bimu mu bukiikakkono. Debbie bwe yafumbirwa, twafuna enkizo okuyambako mu mulimu gw’okuzimba mu Zimbabwe, Moldova, Hungary, ne Côte d’Ivoire, era twamala emyaka kkumi mu buweereza obwo. Oluvannyuma twaddayo e Bungereza ne tuyambako mu mulimu gw’okuzimba Beseri y’e London. Olw’okuba nnalina obumanyirivu mu by’obulimi n’obulunzi, nnasabibwa okuyambako mu mirimu egyali gikolebwa ku faamu ya Beseri eyaliwo mu kiseera ekyo. Mu kiseera kino, tuweereza nga bapayoniya mu bukiikakkono bwa Bungereza.

Era Okuyambako mu mulimu gw’okuzimba kyatuleetera essanyu lingi

Gwen: Okwemalira ku mulimu gw’okuzina kyatuleetera essanyu naye essanyu eryo teryali lya nnamaddala. Kyokka okwemalira ku kuweereza Yakuwa kituleetedde essanyu eritagambika era erya nnamaddala. Nze ne David tukyakolera wamu, si mu mulimu gwa kuzina, wabula mu kuweereza nga bapayoniya. Okuyamba abantu okutegeera amazima aganaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo kituleetedde essanyu lingi. “Amabaluwa [ago] agatusemba” gasingira wala ettutumu lye twandifunye mu nsi eno. (2 Kol. 3:1, 2) Singa tetwayiga mazima, essanyu ery’akaseera obuseera lye twalina nga tukyakola omulimu gw’okuzina lyandibadde lyaggwaawo dda.

David: Okuweereza Yakuwa kinnyambye okukola enkyukakyuka nnyingi mu bulamu bwange. Mu butuufu, kinnyambye okufuuka omwami era taata omulungi. Bayibuli egamba nti Miriyamu, Kabaka Dawudi, awamu n’abalala baayoleka essanyu lyabwe nga bazina. Era naffe, awamu n’abalala bangi, twesunga nnyo okwoleka essanyu lyaffe mu nsi ya Yakuwa empya nga tuzina.Kuv. 15:20; 2 Sam. 6:14.