Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Abakadde Gye Bayambamu Abalala Okutuukiriza Ebisaanyizo

Engeri Abakadde Gye Bayambamu Abalala Okutuukiriza Ebisaanyizo

“Ebintu bye wawulira okuva gye ndi . . . , bitegeeze abasajja abeesigwa.”2 TIM. 2:2.

1. (a) Okuva edda n’edda, kiki abaweereza ba Katonda kye babadde bamanyi ku kutendeka abalala, era ekyo kitukwatako kitya leero? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OKUVA edda n’edda abaweereza ba Katonda babadde bamanyi nti okutendeka abalala kivaamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yagenda n’abasajja be abatendeke n’asobola okununula Lutti. (Lub. 14:14-16) Mu kiseera kya Kabaka Dawudi, abayimbi abaayimbiranga ku nnyumba ya Katonda baali baatendekebwa okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa. (1 Byom. 25:7) Leero, tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo nga tulwanyisa Sitaani n’abagoberezi be. (Bef. 6:11-13) Ate era tufuba okutendereza Yakuwa nga twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. (Beb. 13:15, 16) N’olwekyo, okufaananako abaweereza ba Katonda ab’edda, naffe twetaaga okutendekebwa okusobola okutuuka ku buwanguzi. Mu kibiina, obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abalala Yakuwa abukwasizza abakadde. (2 Tim. 2:2) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu abakadde abalina obumanyirivu bye bakoze okutendeka abalala basobole okutuukiriza ebisaanyizo okulabirira abantu ba Yakuwa.

YAMBA OYO GW’OTENDEKA OKWONGERA OKWAGALA KATONDA

2. Nga tannatandika kutendeka wa luganda, kiki omukadde ky’ayinza okusooka okukola, era lwaki?

2 Omukadde ayinza okugeraageranyizibwa ku mulimi. Nga tannasiga nsigo mu nnimiro, omulimi ayinza okukiraba nti kyetaagisa okusooka okuteekamu ebigimusa. Mu ngeri y’emu, omukadde bw’aba tannatandika kutendeka wa luganda atalina bumanyirivu, kiyinza okumwetaagisa okusooka okukubaganya naye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebisobola okuteekateeka omutima gwe asobole okukolera ku ebyo by’ayiga.1 Tim. 4:6.

3. (a) Omukadde ayinza atya okukozesa ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 12:29, 30 ng’ayogera n’oyo gw’atendeka? (b) Essaala omukadde gy’asaba eyinza etya okukwata ku oyo gw’atendeka?

3 Kikulu okumanya engeri amazima gye gakwata ku mutima gw’oyo gw’otendeka. Oyinza okumubuuza nti, ‘Okwewaayo eri Yakuwa kikutte kitya ku ngeri gy’okozesaamu obulamu bwo?’ Ekibuuzo ng’ekyo kisobola okukuwa akakisa okwogera n’oyo gw’otendeka ku ngeri gy’ayinza okuweerezaamu Yakuwa n’omutima gwe gwonna. (Soma Makko 12:29, 30.) Oluvannyuma oyinza n’okusabirako awamu naye, n’osaba Yakuwa amuwe omwoyo omutukuvu gwe yeetaaga ng’atendekebwa. Ow’oluganda bw’akuwulira ng’omusabira, kiyinza okumuzzaamu ennyo amaanyi!

4. (a) Ebimu ku byawandiikibwa ebisobola okuyamba oyo gw’otendeka okukulaakulana mu by’omwoyo bye biruwa? (b) Kigendererwa ki abakadde kye baba nakyo nga batendeka abalala?

4 Bw’oba otandika okutendeka ow’oluganda, kubaganya naye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiyinza okumuyamba okulaba ensonga lwaki asaanidde okuba omwetegefu okuyamba abalala, okuba nga yeesigika, n’okuba omwetoowaze. (1 Bassek. 19:19-21; Nek. 7:2; 13:13; Bik. 18:24-26) Oyo gw’otendeka yeetaaga engeri ezo ng’ettaka bwe lyetaaga ebigimusa, kuba bw’aba nazo kimuyamba okwanguwa okukulaakulana mu by’omwoyo. Ow’oluganda Jean-Claude, aweereza ng’omukadde mu Bufalansa agamba nti: “Bwe mba ntendeka ow’oluganda mba n’ekigendererwa eky’okumuyamba okufaayo ennyo ku bintu eby’omwoyo. Nkozesa buli kakisa ke nfuna okumusomerayo ekyawandiikibwa ekisobola okumuyamba okutegeera ebintu ‘eby’ekitalo’ ebiri mu Kigambo kya Katonda.” (Zab. 119:18) Biki ebirala ebiyinza okukolebwa okutendeka ow’oluganda?

MUYAMBE OKWETEERAWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWOYO

5. (a) Lwaki kikulu okwogerako n’oyo gw’otendeka ku biruubirirwa bye eby’omwoyo? (b) Lwaki abakadde basaanidde okutendeka abo abakyali abato? (Laba obugambo obuli wansi.)

5 Osobola okubuuza oyo gw’otendeka nti: ‘Olina biruubirirwa ki eby’omwoyo?’ Bw’aba nga talina biruubirirwa bye yeeteereddewo, muyambe okweteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako. Mubuulire ku kiruubirirwa kye weeteerawo n’engeri gye wawuliramu ng’okituuseeko. Wadde ng’ekyo kiyinza okulabika ng’ekintu ekitono, kivaamu ebirungi bingi. Victor, ow’oluganda aweereza ng’omukadde era nga payoniya mu nsi emu ey’omu Afirika agamba nti: “Bwe nnali omuto, omukadde mu kibiina yambuuza ebibuuzo ebikwata ku biruubirirwa byange. Ebibuuzo ebyo byandeetera okulowooza ennyo ku buweereza bwange.” Abakadde abalina obumanyirivu bagamba nti kikulu nnyo okutandika okutendeka ab’oluganda nga bakyali bato, ng’obawa emirimu egigya mu myaka gyabwe. Ab’oluganda bwe batandika okutendekebwa nga bakyali bato, kisobola okubayamba okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo naddala mu myaka egy’obuvubuka we batera ennyo okuwugulibwa.Soma Zabbuli 71:5, 17. *

Laga ow’oluganda ensonga lwaki kikulu okukola omulimu gw’oba omuwadde, era musiime olw’okufuba okugukola (Laba akatundu 5-8)

6. Yesu yatendeka atya abalala?

6 Ate era osobola okuyamba oyo gw’otendeka okwagala okuweereza abalala ng’omubuulira ky’asaanidde okukola n’ensonga lwaki asaanidde okukikola. Bw’okola bw’otyo oba okoppye Yesu, Omuyigiriza Omukulu. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali tannawa batume be kiragiro eky’okufuula abantu abayigirizwa, yasooka n’abawa ensonga lwaki baalina okugondera ekiragiro ekyo. Yabagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Oluvannyuma yabagamba nti: “N’olwekyo, mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:18, 19) Oyinza otya okukoppa Yesu ng’otendeka abalala?

7, 8. (a) Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu nga batendeka abalala? (b) Lwaki kikulu okusiima oyo gw’oba otendeka? (c) Bintu ki ebiyinza okuyamba abakadde nga batendeka abalala? (Laba akasanduuko “ Engeri y’Okutendekamu Abalala.”)

7 Bw’oba n’ekintu ky’oyagala ow’oluganda akole, kozesa Ebyawandiikibwa okumunnyonnyola ensonga lwaki kikulu okukikola. Mu ngeri eyo, oba omuyamba okuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, watya singa osaba ow’oluganda okuyonjanga ku mulyango oguyingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka n’okukakasanga nti tewabaawo kintu kyonna kiyinza kuvaako kabenje. Oyinza okumusomera Tito 2:10 era n’omunnyonnyola engeri okukola ekyo gye kiyinza ‘okulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe.’ Ate era, oyinza okumuyamba okulowooza ku ngeri okukola ekyo gye kinaaganyulamu bannamukadde mu kibiina. Okukubaganya ebirowoozo mu ngeri eyo kisobola okumuyamba okussa essira ku bantu b’aweereza mu kifo ky’okulissa ku mirimu egizingirwamu. Bw’anaalaba ngeri ab’oluganda gye baganyulwa mu ebyo by’akola, kijja kumuleetera essanyu lingi.

8 Okugatta ku ekyo, fuba okumusiima olw’okukolera ku magezi g’omuwa. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Ng’ekimera bwe kikula obulungi nga kifukiriddwa, n’okusiima omuntu mu bwesimbu kimuleetera okukulaakulana mu by’omwoyo.—Geraageranya Matayo 3:17.

OKUSOOMOOZA OKUYINZA OKUBAAWO

9. (a) Lwaki kiyinza okuba ekizibu eri abakadde abali mu nsi engagga okutendeka abalala? (b) Lwaki abavubuka abamu ebintu eby’omwoyo si bye bakulembeza mu bulamu bwabwe?

9 Abakadde abali mu nsi engagga bayinza okukisanga nga kizibu okukubiriza ab’oluganda abali mu myaka 20 oba 30 okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Abakadde okuva mu nsi engagga nga 20 baagamba nti bangi ku bavubuka tebaagala kwetikka buvunaanyizibwa mu kibiina. Emu ku nsonga gye baawa eri nti abamu ku bavubuka abo bwe baali bakyali bato tebaakubirizibwa kweteerawo biruubirirwa bya mwoyo. Mu butuufu, abamu ku abo abaali bagezaako okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, bazadde baabwe baabakubirizanga kwetererawo biruubirirwa bitali bya mwoyo! Abavubuka ng’abo tebaayambiwa kukulembeza bintu eby’omwoyo mu bulamu bwabwe.Mat. 10:24.

10, 11. (a) Omukadde ayinza atya okuyamba ow’oluganda alabika ng’atayagala kwetikka buvunaanyizibwa mu kibiina? (b) Ebimu ku byawandiikibwa omukadde by’ayinza okukozesa okuyamba ow’oluganda ng’oyo bye biruwa, era lwaki? (Laba obugambo obuli wansi.)

10 Ow’oluganda bw’aba alabika ng’atayagala kwetikka buvunaanyizibwa mu kibiina, kiyinza okwetaagisa omukadde okufuba ennyo n’okuba omugumiikiriza okusobola okumuyamba okukyusa endowooza ye. Ng’omulimi bw’ayinza okugenda ng’atereeza mpolampola ekimera ekyakyama, naawe osobola okugenda ng’oyamba mpolampola aw’oluganda okukiraba nti kimwetaagisa okukyusa endowooza ye asobole okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ekyo oyinza kukikola otya?

11 Fuba okufuula ow’oluganda oyo mukwano gwo. Muyambe okukiraba nti wa mugaso nnyo mu kibiina. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, fuba okukubaganya naye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebisobola okumuyamba okufumiitiriza ku kwewaayo kwe eri Yakuwa. (Mub. 5:4; Is. 6:8; Mat. 6:24, 33; Luk. 9:57-62; 1 Kol. 15:58; 2 Kol. 5:15; 13:5) Oyinza okumubuuza nti, ‘Kiki kye wasuubiza Yakuwa nga weewaayo gy’ali?’ ‘Olowooza Yakuwa yawulira atya ng’obatiziddwa?’ (Nge. 27:11) ‘Olowooza Sitaani yawulira atya?’ (1 Peet. 5:8) Okusomera ow’oluganda ebyawandiikibwa ebituukirawo, kisobola okukwata ennyo ku mutima gwe.Soma Abebbulaniya 4:12. *

ABATENDEKEBWA, MUBE BEESIGWA

12, 13. (a) Ndowooza ki Erisa gye yayoleka ng’atendekebwa? (b) Yakuwa yawa atya Erisa omukisa olw’okwoleka obwesigwa?

12 Mmwe ab’oluganda abakyali abavubuka, mulina bingi bye musobola okukola okuyamba ekibiina. Ndowooza ki gye musaanidde okuba nayo esobola okubayamba okuweereza Yakuwa mu bujjuvu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ebyo Bayibuli by’eyogera ku Erisa.

13 Emyaka nga 3,000 emabega, nnabbi Eriya yalonda omuvubuka ayitibwa Erisa okuba omuweereza we. Amangu ddala, Erisa yakkiriza okuba omuweereza wa Eriya, era n’akola n’obwesigwa emirimu egyali girabika ng’egya wansi. (2 Bassek. 3:11) Oluvannyuma lw’okumala emyezi nga mukaaga ng’atendekebwa, Erisa yakimanya nti omulimu Eriya gwe yalina mu Isiraeri gwali gunaatera okukoma. Mu kiseera ekyo, Eriya yagamba Erisa gwe yali atendese obulungi nti alekere awo okumugoberera, naye emirundi esatu Erisa yamugamba nti: “Sijja kukuleka.” Erisa yali mumalirivu okusigala ng’ali wamu ne Eriya ekiseera kyonna singa ekyo kyali kisoboka. Yakuwa yawa Erisa omukisa olw’obwesigwa bwe yayoleka, n’amusobozesa okulaba nga Eriya atwalibwa mu ngeri ey’ekyamagero.2 Bassek. 2:1-12.

14. (a) Abo abatendekebwa bayinza batya okukoppa Erisa? (b) Lwaki abo abatendekebwa balina okuba abeesigwa?

14 Mmwe abatendekebwa, muyinza mutya okukoppa Erisa? Mube beetegefu okukola emirimu egibaweebwa nga mw’otwalidde n’egyo egiyinza okulabika ng’egya wansi. Oyo akutendeka mutwale nga mukwano gwo, era mutegeeze nti omusiima nnyo olw’okufuba okukuyamba. Bw’okola bw’otyo, oba ng’amugamba nti: “Sijja kukuleka.” N’ekisinga byonna, emirimu egiba gikuweereddwa gikole n’obwesigwa. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga bw’okiraga nti oli mwesigwa era nti weesigika, olwo nno abakadde bajja kukiraba nti Yakuwa ayagala oweebwe obuvunaanyizibwa obusingawo mu kibiina.Zab. 101:6; soma 2 Timoseewo 2:2.

SSA EKITIIBWA MU BAKADDE

15, 16. (a) Erisa yakiraga atya nti yali assa ekitiibwa mu Eriya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 9.) (b) Kiki ekyaleetera bannabbi abalala okwesiga Erisa?

15 Ebyo bye tusoma ku Erisa bisobola okuyamba ab’oluganda okumanya engeri gye bayinza okukiraga nti bassa ekitiibwa mu bakadde. Oluvannyuma lwa Eriya ne Erisa okugenda mu Yeriko ne balaba bannabbi baayo, baagenda ku Mugga Yoludaani. Nga bali eyo, Eriya yaddira ekyambalo kye n’akizingamu n’akuba ku mazzi ne geeyawulamu. Oluvannyuma lw’okusomoka omugga nga bayita awakalu, baagenda batambula nga bwe banyumya. Erisa teyakitwala nti kati yali ategedde buli kimu. Mu butuufu, Erisa yeeyongera okussaayo omwoyo ku ebyo Eriya bye yali amuyigiriza. Bwe baali bakyatambula, Eriya yatwalibwa mu mbuyaga. Erisa yaddayo ku Mugga Yoludaani, n’akuba ku mazzi ng’akozesa ekyambalo kya Eriya, ng’agamba nti: “Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya?” Ne ku mulundi guno, amazzi gaddamu okweyawulamu.2 Bassek. 2:8-14.

16 Weetegereze nti ekyamagero Erisa kye yasooka okukola kifaananira ddala n’ekyo Eriya kye yasembayo okukola. Ekyo kituyigiriza ki? Erisa teyakitwala nti olw’okuba kati yali akwasiddwa obuyinza, kyali kimwetaagisa okutandikirawo okukola ebintu mu ngeri eyawukana ku ya Eriya. Mu kifo ky’ekyo, yeeyongera okukola ebintu nga Eriya bwe yali abikola, ekyalaga nti yali assa ekitiibwa mu Eriya, era ekyo kyaleetera bannabbi abalala okwesiga Erisa. (2 Bassek. 2:15) Erisa yamala emyaka 60 ng’aweereza nga nnabbi, era Yakuwa yamuwa amaanyi okukola ebyamagero bingi n’okusinga ku ebyo Eriya bye yakola. Kiki abo abatendekebwa kye bayinza okuyigira ku Erisa?

17. (a) Abo abatendekebwa bayinza batya okukoppa Erisa? (b) Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa ayinza atya okukozesa mmwe ab’oluganda abeesigwa abatendekebwa?

17 Temusaanidde kulowooza nti oluvannyuma lw’okufuna obuvunaanyizibwa mu kibiina, mulina okutandikirawo okukola ebintu mu ngeri eyawukanira ddala ku eyo gye bibadde bikolebwamu. Mukijjukire nti enkyukakyuka zikolebwa okusinziira ku bwetaavu obuba buzzeewo mu kibiina oba okusinziira ku bulagirizi bwe tuba tufunye mu kibiina kya Yakuwa. Nga Erisa bwe yeeyongera okukola ebintu nga Eriya bwe yali abikola ne kireetera bannabbi abalala okumwesiga, nammwe bwe munaakola ebintu ng’abakadde abalina obumanyirivu bwe babadde babikola, kijja kulaga nti mubassaamu ekitiibwa era kijja kuleetera bakkiriza bannammwe okubeesiga. (Soma 1 Abakkolinso 4:17.) Kyokka, bwe munaagenda mufuna obumanyirivu, nammwe mujja kubaako enkyukakyuka ze mukola ezisobola okuyamba ekibiina kyammwe okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa. Mu butuufu, nga bwe kyali ku Erisa, oluvannyuma lw’ekiseera nammwe ab’oluganda abeesigwa Yakuwa ayinza okubasobozesa okukola ebintu bingi n’okusinga ku ebyo abo ababatendeka bye bakola.Yok. 14:12.

18. Lwaki kikulu nnyo leero okutendeka ab’oluganda?

18 Tusuubira nti amagezi agaweereddwa mu kitundu kino n’ekyayita gajja kuyamba abakadde okufuba okutendeka abalala. Era tusuubira nti n’ab’oluganda abatendekebwa bajja kukolera ku magezi agabaweebwa basobole okuyambako mu kulabirira endiga za Yakuwa. Ekyo kijja kunyweza ebibiina mu nsi yonna era kiyambe buli omu ku ffe okusigala nga mwesigwa mu biseera ebizibu ebijja mu maaso awo.

^ lup. 5 Ow’oluganda avubuse bw’akiraga nti mwetoowaze era ng’atuukiriza ebisaanyizo ebirala eby’omu Byawandiikibwa, abakadde basobola okumusemba okulondebwa okuba omuweereza mu kibiina ne bw’aba nga tannaweza myaka 20.1 Tim. 3:8-10, 12; laba Watchtower eya Jjulaayi 1, 1989, olupapula 29.

^ lup. 11 Osobola n’okukozesa ebyo ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2012, olupapula 14-16, akatundu 8-13; n’akatabo “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda,” essuula 16, akatundu 1-3.