Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakadde, Okutendeka Abalala Mukitwala Mutya?

Abakadde, Okutendeka Abalala Mukitwala Mutya?

‘Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo.’—MUB. 3:1.

1, 2. Kiki abalabirizi abakyalira ebibiina kye beetegerezza mu bibiina bingi?

OMULABIRIZI w’ekitundu omu yali anaatera okufundikira olukuŋŋaana lw’abakadde. Bwe yatunuulira abakadde abo, muli yawulira ng’abaagala nnyo olw’omulimu ogw’amaanyi gwe bakola mu kibiina, ate ng’abamu ku bo baali bakulu nnyo nga basobola n’okumuzaala. Kyokka, waliwo ekintu ekyali kimweraliikiriza, bw’atyo n’ababuuza nti, “Ab’oluganda, kiki kye mukozeewo okutendeka abalala basobole okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina?” Mu kiseera ekyo bajjukira nti ku lukyala olwayita, omulabirizi w’ekitundu yali abakubirizza okufuba okutendeka abalala. Kya ddaaki, omu ku bakadde abo yamuddamu nti, “Ekituufu kiri nti ensonga eyo tugigayaaliridde.” N’abakadde abalala bakkiriziganya naye.

2 Bw’oba ng’oli mukadde mu kibiina, naawe oyinza okuba nga wandizzeemu mu ngeri y’emu. Abalabirizi abakyalira ebibiina bakyetegerezza nti abakadde bangi beetaaga okwongera amaanyi mu kutendeka ab’oluganda abato n’abakulu basobole okuyamba mu kulunda ekisibo kya Katonda. Naye oluusi ekyo kibakaluubirira okukola. Lwaki?

3. (a) Ebyawandiikibwa biraga bitya nti kikulu okutendeka abalala, era lwaki ensonga eyo ffenna etukwatako? (Laba obugambo obuli wansi.) (b) Lwaki abakadde abamu kiyinza okubazibuwalira okutendeka abalala?

3 Ng’omukadde mu kibiina, oteeka okuba ng’okimanyi nti kikulu nnyo okutendeka abalala. * Okimanyi nti waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okulabirira ebibiina ebiriwo n’ebirala ebiyinza okutandikibwawo. (Soma Isaaya 60:22.) Ate era okimanyi nti Ekigambo kya Katonda kikubiriza abakadde “okuyigiriza abalala.” (Soma 2 Timoseewo 2:2.) Wadde kiri kityo, okufaananako abakadde aboogeddwako waggulu, naawe kiyinza obutakwanguyira kutendeka balala. Oyinza okuba ng’olina amaka ag’okulabirira, ng’okola nnyo, ng’olina obuvunaanyizibwa bungi mu kibiina, era ng’olina n’ebintu ebirala ebikulu eby’okukola ne kiba nti owulira nti tolina budde butendeka balala. Kati ka tulabe ensonga lwaki kikulu okufuba okutendeka abalala.

KIKULU NNYO OKUTENDEKA ABALALA

4. Lwaki oluusi abakadde bagayaalirira eky’okutendeka abalala?

4 Emu ku nsonga lwaki abakadde abamu bayinza okugayaalirira eky’okutendeka abalala mu kibiina y’eruwa? Abamu bayinza okugamba nti: ‘Kikulu okutendeka abalala, naye waliwo ebintu ebirala mu kibiina ebyetaaga okukolebwako mu bwangu. Ne bwe tulindako okutendeka abalala, ekibiina kijja kusigala nga kigenda mu maaso.’ Wadde nga waliwo ebintu mu kibiina ebiba byetaaga okukolebwako mu bwangu, singa abakadde balagajjalira eky’okutendeka abalala kiyinza okukosa ekibiina mu by’omwoyo.

5, 6. Kiki kye tuyigira ku muvuzi w’emmotoka alagajjalira yingini, era ekyo kituyamba kitya okulaba obukulu bw’okutendeka abalala mu kibiina?

5 Lowooza ku kyokulabirako kino: Omuvuzi w’emmotoka ayinza okuba ng’akimanyi nti okusobola okukuuma yingini y’emmotoka ye nga nnamu bulungi, ateekwa okukyusa woyiro. Kyokka omuvuzi w’emmotoka oyo ayinza okulowooza nti okuteeka amafuta mu ttanka y’emmotoka kikulu nnyo okusinga okuteeka woyiro mu yingini, kubanga emmotoka bw’etebaamu mafuta, tetambula. Ayinza okugamba nti: ‘Olw’okuba nnina eby’okukola bingi, woyiro ndimukyusa olulala, kasita emmotoka ekyatambula.’ Naye ekyo kiyinza okuba eky’akabi ennyo. Singa omuvuzi w’emmotoka alwawo okukyusa woyiro wa yingini, ekiseera kisobola okutuuka yingini n’efiira ddala. Ekyo bwe kibaawo, kiba kimwetaagisa ebiseera bingi ne ssente nnyingi okusobola okuzzaawo yingini eyo. Ekyo kituyigiriza ki?

6 Abakadde balina ebintu bingi bye bakola mu kibiina ebyetaaga okukolebwako mu bwangu okusobola okuyamba ekibiina okutambula obulungi. Okufaananako omuvuzi w’emmotoka afuba okukakasa nti buli kiseera ttanka y’emmotoka ebaamu amafuta, n’abakadde nabo bateekwa “okumanya ebintu ebisinga obukulu.” (Baf. 1:10) Wadde kiri kityo, abakadde abamu bamala ebiseera bingi nga bakola ku bintu ebyetaaga okukolebwako amangu ne balagajjalira eky’okutendeka abalala, bwe batyo ne baba ng’omuvuzi w’emmotoka alagajjalidde yingini. Kyokka singa abakadde balagajjalira eky’okutendeka abalala, ekiseera kisobola okutuuka ne waba nga tewakyaliwo ba luganda bamala batuukiriza bisaanyizo kukola mirimu gya kibiina.

7. Twanditutte tutya abakadde abafuba okutendeka abalala?

7 Mu butuufu, tetusaanidde kulowooza nti okutendeka abalala si kikulu nnyo. Abakadde abalengerera ewala era ne bafuba okutendeka abalala baba ba magezi era baba ba muwendo nnyo mu kibiina. (Soma 1 Peetero 4:10.) Ekyo kiganyula kitya ekibiina?

MUKOZESE BULUNGI EBISEERA BYAMMWE

8. (a) Kiki ekyandikubirizza abakadde okutendeka abalala? (b) Buvunaanyizibwa ki abakadde abaweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako bwe balina? (Laba akasanduuko “ Omulimu Omukulu Gwe Balina Okukola.”)

8 N’abakadde abalina obumanyirivu obungi basaanidde okukijjukira nti bwe bagenda beeyongera okukula, ebyo bye basobola okukola mu kibiina byeyongera okukendeera. (Mi. 6:8) Ate era basaanidde okukijjukira nti waliwo ebintu ebitasuubirwa ebiyinza okubaawo ne bikifuula kizibu gye bali okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (Mub. 9:11, 12; Yak. 4:13, 14) N’olwekyo, abakadde abafaayo ku ndiga za Yakuwa bakola kyonna ekisoboka okuyigiriza ab’oluganda abato ebintu bye bayize mu myaka emingi gye bamaze nga baweereza Yakuwa.Soma Zabbuli 71:17, 18.

9. Kiki ekijja okubaawo ekiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okutendeka abalala?

9 Ate era abakadde abatendeka abalala ba muwendo kubanga banyweza ekibiina. Mu ngeri ki? Ab’oluganda be batendeka bayamba ekibiina okuba obumu era bayamba bakkiriza bannaabwe okusigala nga beesigwa eri Katonda. Ekyo kikulu nnyo mu kiseera kino era kijja kuba kikulu nnyo ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ekinaatera okutuuka. (Ez. 38:10-12; Mi. 5:5, 6) N’olwekyo, abakadde mmwenna tubakubiriza okugifuula empisa yammwe okutendeka abalala.

10. Omukadde ayinza atya okufuna ebiseera okutendeka abalala?

10 Kya lwatu nti abakadde mulina eby’okukola bingi nnyo mu kibiina ne kiba nti kizibu okufuna ebiseera okutendeka abalala. N’olwekyo, kiyinza okubeetaagisa okukozesa ebimu ku biseera bye mukozesa ku mirimu gy’ekibiina okutendeka abalala. (Mub. 3:1) Bwe mukola mutyo, mujja kuba mukozesezza bulungi ebiseera byammwe era kijja kuganyula ekibiina mu biseera eby’omu maaso.

OKUTEEKAWO EMBEERA ENNUNGI

11. (a) Kiki ekyewuunyisa ku magezi abakadde okuva mu nsi ezitali zimu ge baawa ku kutendeka abalala? (b) Okusinziira ku Engero 15:22, lwaki kya muganyulo okwetegereza amagezi abakadde abo ge baawa?

11 Gye buvuddeko awo, waliwo abakadde abawerako abafubye okutendeka ab’oluganda mu kibiina, abaabuuzibwa engeri ekyo gye bakikozeemu. * Wadde ng’embeera zaabwe zaawukana nnyo, amagezi abakadde abo ge baawa gafaanagana. Ekyo kiraga ki? Kiraga nti amagezi agava mu Bayibuli gasobola okuyamba ab’oluganda “buli wamu mu buli kibiina,” nga bwe kyali ne mu kiseera ky’omutume Pawulo. (1 Kol. 4:17) N’olwekyo, mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kulaba agamu ku magezi abakadde abo ge baawa.Nge. 15:22.

12. Kiki omukadde ky’alina okukola, era lwaki?

12 Omukadde kimwetaagisa okuteekawo embeera ennungi esobozesa oyo gw’atendeka okuyiga. Ng’omulimi bw’ateekateeka ennimiro nga tannasiga nsigo, n’omukadde kimwetaagisa okusooka okuteekateeka omutima gw’ow’oluganda nga tannatandika kumutendeka. Kati olwo omukadde ayinza atya okuteekawo embeera ennungi emusobozesa okutendeka ow’oluganda? Ekyo ayinza okukikola ng’agoberera enkola nnabbi omu ayogerwako mu Bayibuli gye yakozesa. Nkola ki eyo?

13-15. (a) Buvunaanyizibwa ki obwaweebwa nnabbi Samwiri? (b) Samwiri yabutuukiriza atya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.) (c) Lwaki abakadde basaanidde okulowooza ku kyokulabirako Samwiri kye yassaawo?

13 Lumu emyaka nga 3,000 emabega, Yakuwa yagamba nnabbi Samwiri eyali akaddiye nti: “Enkya nga mu kiseera kino nnaaweereza gy’oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w’abantu bange Isiraeri.” (1 Sam. 9:15, 16) Samwiri yakiraba nti yali agenda kulekera awo okuba omukulembeze wa Isiraeri era nti Yakuwa yali amukwasizza obuvunaanyizibwa okufuka amafuta ku muntu eyali agenda okumuddira mu bigere. Samwiri ayinza okuba nga yeebuuza: ‘Nyinza ntya okuteekateeka omusajja ono asobole okwetikka obuvunaanyizibwa bw’agenda okufuna?’ Samwiri alina kye yalowoozaako era n’ateekateeka okukikola.

14 Ku lunaku olwaddako Samwiri bwe yalaba Sawulo, Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Ono ye musajja.’ Mu kiseera ekyo Samwiri yatandika okukola ekyo kye yali ateeseteese okukola. Yayaniriza Sawulo ku kijjulo mu kisenge awaliirwa emmere. Samwiri yatuuza Sawulo n’omuweereza we mu kifo ekisingayo okuba eky’ekitiibwa era n’abawa ennyama ennungi. Yagamba Sawulo agirye kubanga baali bagiterekedde ye. Oluvannyuma, nnabbi Samwiri yatwala Sawulo ewuwe ne bagenda nga banyumya. Samwiri yali ayagala okukozesa embeera ennungi eyaliwo oluvannyuma lw’okulya ekijjulo ne Sawulo n’okutambulako awamu naye. Bw’atyo yatwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye. Nga bali eyo, ng’akawewo kabafuuwako, Samwiri yeeyongera okwogera ne Sawulo okutuusa lwe baagenda okwebaka. Ku lunaku olwaddako, Samwiri yafuka amafuta ku Sawulo, n’amunywegera, era n’amuwa obulagirizi obulala. Oluvannyuma, Samwiri yaleka Sawulo okugenda ng’amuteeseteese bulungi olw’ebyo ebyali bigenda okubaawo.1 Sam. 9:17-27; 10:1.

15 Kya lwatu nti waliwo enjawulo wakati w’okufuka amafuta ku muntu okufuuka omukulembeze w’eggwanga n’okutendeka ow’oluganda okufuuka omukadde oba omuweereza mu kibiina. Wadde kiri kityo, abakadde leero balina bingi bye basobola okuyigira ku ngeri Samwiri gye yateekateekamu omutima gwa Sawulo. Ka tulabeyo eby’okuyiga bibiri.

BA MWETEGEFU OKUBATENDEKA ERA BA MUKWANO GWABWE

16. (a) Samwiri yawulira atya ng’Abaisiraeri basabye kabaka? (b) Kiki Samwiri kye yakola nga Yakuwa amugambye okufuka amafuta ku Sawulo?

16 Ba mwetegefu. Samwiri bwe yakimanya nti Abaisiraeri baali baagala omuntu okuba kabaka waabwe, ekyo kyamuyisa bubi nnyo. (1 Sam. 8:4-8) Mu butuufu, Samwiri teyasooka kwagala kukola ekyo abantu kye baali baagala, ne kiba nti, emirundi esatu Yakuwa yamukubiriza okubawuliriza. (1 Sam. 8:7, 9, 22) Wadde kyali kityo, Samwiri teyakwatirwa buggya musajja eyali agenda okumuddira mu bigere. Yakuwa bwe yamugamba okufuka amafuta ku Sawulo, Samwiri yakola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola, si lwa kutuusa butuusa luwalo, naye lwa kuba yali ayagala nnyo Yakuwa.

17. Abakadde leero bakoppa batya Samwiri, era ekyo kibaleetera kitya essanyu?

17 Okufaananako Samwiri, abakadde bangi leero abalina obumanyirivu bafaayo nnyo ku abo be batendeka. (1 Peet. 5:2) Abakadde ng’abo beetegefu okutendeka abalala era tebatya nti abo be batendeka bajja kubatwalako enkizo zaabwe. Mu butuufu, tebabatwala ng’abo abavuganya nabo, wabula babatwala nga ‘bakozi bannaabwe,’ abajja okubayambako mu kulabirira ekibiina. (2 Kol. 1:24; Beb. 13:16) Abakadde ng’abo bafuna essanyu lingi okulaba ng’abo be batendese bakozesa obusobozi bwabwe okuyamba ekibiina.Bik. 20:35.

18, 19. Omukadde ayinza atya okuteekateeka omutima gw’oyo gw’ayagala okutendeka, era lwaki ekyo kikulu nnyo?

18 Ba mukwano gw’abo b’otendeka. Ku lunaku Samwiri lwe yasisinkana Sawulo, yali asobola okukwata eccupa n’amufukako mangu amafuta okufuuka kabaka, n’amusiibula naye nga tamuteeseteese. Mu kifo ky’ekyo, Samwiri yatwala akadde n’ateekateeka bulungi omutima gwa Sawulo. Baasooka kuliirako wamu, ne batambulako wamu, ne banyumya okumala ekiseera kiwanvu, oluvannyuma ne bawummulako, oluvannyuma Samwiri n’alyoka afuka amafuta ku Sawulo.

Okusobola okutendeka abalala olina okusooka okubafuula mikwano gyo (Laba akatundu 18, 19)

19 Mu ngeri y’emu leero, omukadde bw’aba tannatandika kutendeka wa luganda, asaanidde okusooka okuteekawo embeera ennungi n’okumufuula mukwano gwe. Kyo kituufu nti ebyo omukadde by’akola okusobola okuteekateeka omutima gw’oyo gw’ayagala okutendeka, bisobola okuba eby’enjawulo okusinziira ku nsi oba ku kitundu gye babeera. Wadde kiri kityo, singa omukadde awaayo obudde okubeerako awamu n’oyo gw’atendeka, aba ng’amugamba nti, “Oli wa muwendo nnyo gye ndi.” (Soma Abaruumi 12:10.) Mu butuufu, ow’oluganda kimusanyusa nnyo okulaba ng’omukadde amufaako.

20, 21. (a) Omusomesa omulungi y’ani? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Abakadde musaanidde okukijjukira nti: Omusomesa omulungi y’oyo ayagala okutendeka abalala era nga n’abo b’atendeka abaagala nnyo. (Geraageranya Yokaana 5:20.) Kyangu ow’oluganda okukiraba nti oyo amutendeka amufaako era ekyo kimuleetera okwagala okukolera ku ebyo by’amuyigiriza. N’olwekyo abakadde, ng’oggyeko okuyigiriza abalala, mufube okubafuula mikwano gyammwe.Nge. 17:17; Yok. 15:15.

21 Oluvannyuma lw’okuteekateeka omutima gw’ow’oluganda, olwo nno omukadde asobola okutandika okumutendeka. Biki omukadde by’ayinza okukola okutendeka ow’oluganda? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 3 Ekitundu kino n’ekiddako okusingira ddala bitegekeddwa okuyamba abakadde, naye ffenna bitukwatako. Lwaki? Bijja kuyamba ab’oluganda bonna okukitegeera nti beetaaga okutendekebwa okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Era ekyo bwe kikolebwa, buli omu mu kibiina aganyulwa.

^ lup. 11 Abakadde abo babeera mu Australia, Bangladesh, Bubirigi, Brazil, Bufalansa, French Guiana, Japan, Korea, Mexico, Namibia, Nigeria, Réunion, Russia, South Africa, n’Amerika.