Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Twafuna Emikisa “mu Biseera Ebirungi ne mu Biseera Ebizibu”

Twafuna Emikisa “mu Biseera Ebirungi ne mu Biseera Ebizibu”

NNAZAALIBWA mu Maaki 1930 ku kyalo ekiyitibwa Namkumba okumpi n’ekibuga Lilongwe, mu nsi kati eyitibwa Malawi. Nnalina ab’eŋŋanda n’ab’emikwano abaali baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Nnabatizibwa mu 1942, mu gumu ku migga gya Malawi. Mu myaka 70 egyaddirira, nnafuba okukolera ku bigambo bino omutume Pawulo bye yagamba Timoseewo: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.”2 Tim. 4:2.

Oluvannyuma lw’Ow’oluganda Nathan H. Knorr ne Milton G. Henschel okukyala mu Malawi ku ntandikwa ya 1948, nnatandika okwagala okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Sisobola kwerabira bigambo ebizzaamu amaanyi ab’oluganda abo abaali bakiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu ekiri mu Brooklyn, New York, bye baayogera. Ffenna 6,000 abaaliwo, twali tuyimiridde mu kifo ekijjudde ebisooto nga tuwuliriza bulungi Ow’oluganda Knorr ng’awa emboozi eyalina omutwe, “Gavana ow’Enkalakkalira ow’Amawanga Gonna.”

Bwe nnasisinkana Lidasi, nnakizuula nti naye yakulira mu maka g’Abajulirwa ba Yakuwa era nti naye yalina ekiruubirirwa eky’okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna. Mu 1950 twafumbiriganwa era omwaka gwa 1953 we gwatuukira, twalina abaana babiri. Wadde twalina abaana ab’okulabirira, twasalawo ntandike okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nnaweebwa enkizo okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.

Waayita ekiseera kitono, ne mpeebwa enkizo okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Olw’okuba Lidasi yampagira nnyo, nnasobola okulabirira ab’omu maka gange mu by’omubiri ne mu by’omwoyo ate ng’eno bwe nkyalira ebibiina. * Naye ffembi twali twagala nnyo okuweerereza awamu mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Olw’okuba twakola enteekateeka ennungi era abaana baffe nabo ne batuwagira, Lidasi naye yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna mu 1960.

Enkuŋŋaana ennene zaatuyamba okwetegekera okuyigganyizibwa

Mu biseera ebyo ebyali ebirungi, twasobola okuweereza bakkiriza bannaffe mu bibiina ebitali bimu era ekyo kyatuleetera essanyu lingi. Ekitundu kye twalina okulabirira kyali kiviira ddala mu Nsozi za Mulanje eziri mu bukiikaddyo okutuukira ddala ku lubalama lw’ennyanja Malawi eri ebuvanjuba. Twalaba okweyongerayongera kungi mu miwendo gy’ababuulizi n’ebibiina mu kitundu kye twali tuweererezaamu.

Mu 1962 twafuna olukuŋŋaana olunene olwalina omutwe “Ababuulizi Abavumu.” Oluvannyuma twakiraba nti enkuŋŋaana ng’ezo ennene zaatuyamba okwetegekera ebiseera ebizibu bye twali tugenda okwolekagana nabyo mu Malawi. Omwaka ogwaddako, Ow’oluganda Henschel yaddamu okukyalira Malawi era bwe yajja twafuna olukuŋŋaana olw’enjawulo ebweru w’ekibuga Blantyre olwaliko abantu nga 10,000. Olukuŋŋaana olwo lwatuyamba okwetegekera ebiseera ebizibu ebyali bijja.

EBISEERA EBIZIBU BITANDIKA

Omulimu gwaffe gwawerebwa, era gavumenti n’ewamba ofiisi y’ettabi

Mu 1964 Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigganyizibwa olw’okuba baagaana okwenyigira mu by’obufuzi. Ebizimbe by’Obwakabaka ebisukka mu 100 n’amayumba g’Abajulirwa ba Yakuwa agasukka mu 1,000 byasaanyizibwawo. Naye ffe tweyongera okukyalira ebibiina okutuusa gavumenti ya Malawi bwe yawera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1967. Ofiisi y’ettabi ey’omu Blantyre yawambibwa, abaminsani ne bagobebwa, era Abajulirwa ba Yakuwa abalala ne basibibwa mu makomera, nga mw’otwalidde nze ne Lidasi. Kyokka bwe twateebwa, tweyongera okukyalira ebibiina.

Lumu mu Okitobba 1972, abantu nga 100 ab’ekibiina ky’eby’obufuzi ekiyitibwa Malawi Youth League baalumba amaka gaffe. Naye bwe baali tebannatuuka, omu ku bo yadduka n’asooka banne okutuuka era n’aŋŋamba okwekweka kubanga baali bagenda kunzita. Nnagamba mukyala wange n’abaana okwekweka mu bitooke. Ate nze ne nninya omuti gw’omuyembe omunene. Bwe nnali waggulu eyo, nnalaba ebintu byaffe byonna awamu n’ennyumba yaffe nga bisaanyizibwawo.

Olw’okuba bakkiriza bannaffe tebeenyigiranga mu bya bufuzi, amayumba gaabwe gaayokebwa

Okuyigganyizibwa bwe kweyongera mu Malawi, bangi ku ffe twaddukira mu nsi endala. Nze n’ab’omu maka gange twatandika okubeera mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu mu bugwanjuba bwa Mozambique okutuusa mu Jjuuni 1974. Mu kiseera ekyo, nze ne Lidasi twasabibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Dómue, Mozambique, okumpi n’ensalo ya Malawi. Tweyongera okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo okutuuka mu 1975, Mozambique bwe yafuna obwetwaze okuva ku Portugal. Oluvannyuma, ffe awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala twalagirwa okuddayo e Malawi ewaali abatuyigganya.

Oluvannyuma lw’okuddayo mu Malawi, nnasabibwa okukyalira ebibiina ebyali mu kibuga ekikulu, Lilongwe. Wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa n’ebizibu ebirala, ebibiina byeyongera obungi mu kitundu kye twali tuweererezaamu.

YAKUWA YATUYAMBA

Lumu, twatuuka ku kyalo ekimu ng’olukuŋŋaana olw’eby’obufuzi lugenda mu maaso. Abantu abamu bwe baakitegeera nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, baatulagira okutuula awamu n’abawagizi b’ekibiina ky’eby’obufuzi ekiyitibwa Malawi Young Pioneers. Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, twegayirira Yakuwa atuyambe. Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, baatandika okutukuba. Kyokka, waaliwo omukyala nnamukadde eyajja adduka ng’aleekaanira waggulu nti: “Bambi mubaleke! Omusajja ono mwana wa mwannyinaze. Mumuleke agende!” Ssentebe w’olukuŋŋaana olwo yagamba abo abaali batukuba nti: “Mubaleke bagende!” Tetumanyi lwaki omukyala oyo yayogera ebigambo ebyo kubanga tewali n’omu ku ffe yamulinako oluganda. Twakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwaffe.

Kaadi y’ekibiina ky’eby’obufuzi

Mu 1981, twaddamu okusanga ab’ekibiina kya Malawi Young Pioneers. Baatuggyako obugaali bwaffe, emigugu gyaffe, bbokisi z’ebitabo, ne fayiro zange ze nnali nkozesa mu mulimu gw’okukyalira ebibiina. Twabaddukako ne tugenda mu maka g’omukadde mu kibiina ekimu. Ne ku mulundi guno twasaba Yakuwa. Twali beeraliikirivu nnyo olw’okuba fayiro ze baali batutte zaalimu ebintu bingi bye nnali nneetaaga nga nkyalira ebibiina. Ab’ekibiina kya Young Pioneers baatunula mu fayiro zange ne balaba nga mulimu amabaluwa mangi okuva mu bitundu eby’enjawulo okwetooloola Malawi. Ekyo kyabatiisa nnyo, kubanga baalowooza nti ndi mukungu wa gavumenti. Bwe kityo, amangu ddala baakomyawo ebintu byange byonna ne babikwasa abakadde b’omu kitundu.

Ate olulala, twali tusomoka omugga nga tuli mu lyato. Nnannyini lyato eryo, eyali ssentebe w’ekitundu, yalagira buli omu okuggyayo kaadi ye ey’ekibiina ky’eby’obufuzi. Bwe yali anaatera okututuukako, yalaba omubbi ab’obuyinza gwe baali bamaze ebbanga nga banoonya. Wajjawo akakyankalano era n’eby’okukebera kaadi ne bikoma awo. Ne ku olwo twakiraba nti Yakuwa yatuyamba.

NKWATIBWA ERA NE NSIBIBWA MU KKOMERA

Mu Febwali 1984, nnali ŋŋenda mu Lilongwe okuweereza alipoota ku ofiisi y’ettabi e Zambia. Omusirikale yannyimiriza n’ayaza ensawo yange. Yasangamu ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, bw’atyo n’antwala ku poliisi era ne batandika okunkuba. Oluvannyuma, bansiba emiguwa era ne banteeka mu kasenge omwali abasibe abalala abaali bakwatiddwa n’ebintu ebibbe.

Enkeera, omukulu wa poliisi yantwala mu kasenge akalala, era n’akola ekiwandiiko ekyali kigamba nti: “Nze, Trophim R. Nsomba, ndekedde awo okuba Omujulirwa wa Yakuwa nsobole okuteebwa.” Bwe yaŋŋamba okukiteekako omukono, nnamuddamu nti: “Siri mwetegefu kulekera awo kuba Mujulirwa wa Yakuwa, ka kibe nti kinneetaagisa kusibibwa oba kufa.” Yasunguwala nnyo, era n’akuba ekikonde ku mmeeza. Ekikonde ekyo kyavuga nnyo ne kireetera n’omusirikale eyali mu kisenge ekirala okujja ng’adduka okulaba ekyali kigenda mu maaso. Omukulu wa poliisi yamugamba nti: “Omusajja ono agaanye okuteeka omukono ku kiwandiiko okulaga nti takyali Mujulirwa wa Yakuwa. Kati nno, k’ateeke omukono ku kiwandiiko ekiraga nti Mujulirwa wa Yakuwa era tumusindike mu kkomera ly’e Lilongwe.” Ebyo byonna byaliwo nga mukyala wange omwagalwa tamanyi kigenda mu maaso. Oluvannyuma lw’ennaku nnya, waliwo ab’oluganda abaamubuulira wa gye nnali.

Ku poliisi y’e Lilongwe, bampisa bulungi. Omukulu wa poliisi yaŋŋamba nti: “Kwata essowaani y’omuceere eno kubanga osibiddwa olw’Ekigambo kya Katonda. Abasibe abalala bonna babbi.” Oluvannyuma yansindika mu kkomera ery’e Kachere, gye nnamala emyezi etaano.

Omukulu w’ekkomera yasanyuka nnyo okundaba era n’ayagala okunfuula “omubuulizi” mu kkomera eryo. Omubuulizi eyaliwo yamuggyako, era n’amugamba nti: “Toddamu kuyigiriza Kigambo kya Katonda mu kkomera lino, kubanga ekyakusibya kwali kubba mu kkanisa yo!” Bwe kityo, nnaweebwa obuvunaanyizibwa okuyigirizanga abasibe Bayibuli buli wiiki mu nkuŋŋaana ezaabangawo.

Oluvannyuma, ebintu byeyongera okwonooneka. Abakungu b’ekkomera bambuuza ebibuuzo bingi nga baagala okumanya Abajulirwa ba Yakuwa bameka abali mu Malawi. Bwe saabawa bya kuddamu bimatiza, bankuba okutuusa lwe nnazirika. Ku mulundi omulala, baayagala okumanya wa awasangibwa ekitebe kyaffe ekikulu. Nnabagamba nti, “Ekibuuzo kye mumbuuzizza kyangu nnyo, era ka nkiddemu.” Abasirikale baasanyuka era ne bateekako akuuma kaabwe akakwata amaloboozi. Nnabagamba nti ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa kyogerwako mu Bayibuli. Ekyo kyabeewuunyisa nnyo era ne bambuuza nti, “Kyogerwako wa mu Bayibuli?”

Nnabaddamu nti, “Mu Isaaya 43:12.” Baabikkula Bayibuli ne basoma ekyawandiikibwa ekyo n’obwegendereza. Kigamba nti: “‘Muli bajulirwa bange,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba, ‘era nze Katonda.’” Baasoma ekyawandiikibwa ekyo emirundi esatu. Bambuuza nti: “Kijja kitya okuba nti ekitebe ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekikulu kiri mu Bayibuli, so si mu Amerika?” Nnabagamba nti: “N’Abajulirwa ba Yakuwa abali mu Amerika balaba nti ekyawandiikibwa kino kyogera ku kitebe kyabwe ekikulu.” Olw’okuba nnagaana okubabuulira kye baali baagala okuwulira, bansindika mu kkomera ly’e Dzaleka, erisangibwa mu bukiikakkono bwa Lilongwe.

EMIKISA NE MU BISEERA EBIZIBU

Mu Jjulaayi 1984, nneegatta ku Bajulirwa abalala 81 abaali mu kkomera ly’e Dzaleka. Mu kkomera eryo, mwalimu abasibe 300 nga bonna babasuzza wansi nga beepakidde. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ffe Abajulirwa ba Yakuwa twegabanyaamu obubinja obutonotono tusobole okukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu buli lunaku, omu ku ffe kye yabanga aleese. Ekyo kyatuzzaamu nnyo amaanyi.

Omukulu w’ekkomera yatwawula ku basibe abalala. Omu ku bakuumi mu kkomera yatugamba nti: “Tekiri nti gavumenti tebaagala. Tubakuumira wano mu kkomera lwa nsonga bbiri: Gavumenti etya nti ab’ekibiina kya Young Pioneers bajja kubatta, ate n’eky’okubiri gavumenti etya nti abasirikale baayo bajja kudduka bave mu magye olw’okutya olutalo lwe mwogerako nti lunaatera okutuuka.”

BAb’oluganda nga batwalibwa oluvannyuma lw’okuwozesebwa

Mu Okitobba 1984, ffenna twatwalibwa mu kkooti era buli omu ku ffe n’aweebwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka ebiri. Nga bwe kyali mu kusooka, twasibibwa n’abantu abataali Bajulirwa ba Yakuwa. Naye omukulu w’ekkomera yalangirira eri bonna nti: “Abajulirwa ba Yakuwa tebanywa ssigala. N’olw’ensonga eyo, mmwe abakuumi, temubasaba kubawa ssigala era temubatuma kubaleetera muliro kukoleeza ssigala wammwe. Bano bantu ba Katonda! Abajulirwa ba Yakuwa bonna balina okuweebwa emmere emirundi ebiri buli lunaku, okuva bwe kiri nti tebalina musango gwonna gwe bazza okusibibwa, naye bali wano olw’okuba bakkiririza mu Bayibuli.”

Enneeyisa yaffe ennungi yatuviiramu n’emiganyulo emirala mingi. Obudde bwe bwabanga buzibye oba ng’enkuba etonnya, abasibe tebakkirizibwanga kufuluma mu kaduukulu. Naye ffe twakkirizibwanga okufuluma ekiseera kyonna we twayagaliranga. Baali bakimanyi nti tetusobola kutoloka. Mu butuufu, lumu omukuumi bwe yalwala ng’atukuuma mu nnimiro gye twali tukolera, twamusitula ne tumuzzaayo ku kkomera afune obujjanjabi. Abakulu b’ekkomera baakiraba nti twali twesigika. N’olwekyo, empisa zaffe ennungi zaaviirako abalala okugulumiza Katonda.1 Peet. 2:12. *

EBISEERA EBIRUNGI BIDDAMU OKUBAAWO

Nnateebwa okuva mu kkomera ly’e Dzaleka nga Maayi 11, 1985. Nga kyansanyusa nnyo okuddamu okubeera awamu n’ab’omu maka gange! Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali mu biseera ebyo ebyali ebizibu ennyo. Bwe tulowooza ku biseera ebyo, tuwulira ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Ab’oluganda, twagala mumanye okubonaabona kwe twayolekagana nakwo . . . Twali tetumanyi nti tusobola okusigala nga tuli balamu. Mu butuufu, muli twawulira nti twali tusaliddwa ogw’okufa. Kino kyali bwe kityo tuleme kussa bwesige mu ffe kennyini, wabula mu Katonda azuukiza abafu. Yatuwonya mu mbeera eyo ey’akabi ennyo.”2 Kol. 1:8-10.

Ow’oluganda Nsomba ne mukyala we, Lidasi, mu maaso g’Ekizimbe ky’Obwakabaka mu 2004

Mu butuufu, ebiseera ebimu twawuliranga ng’abagenda okufa. Naye bulijjo twasabanga Yakuwa atuyambe okuba abavumu n’okutuwa amagezi tusobole okweyongera okuba abeetoowaze era tusobole okweyongera okuweesa erinnya lye ekitiibwa.

Yakuwa atuwadde emikisa mingi nga tumuweereza mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu. Nga kituleetedde essanyu lingi okulaba nga kati mu Lilongwe waliyo ofiisi y’ettabi eyamalirizibwa okuzimbibwa mu 2000, n’okulaba nga kati waliwo Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala ebisukka mu 1,000 ebizimbiddwa mu bitundu ebitali bimu mu Malawi! Emikisa egyo Yakuwa gy’atuwadde mingi nnyo ne kiba nti nze ne Lidasi tulaba ng’ekirooto obulooto! *

^ lup. 7 Kati ab’oluganda abalina abaana abato tebakyalondebwa kuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina.

^ lup. 30 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kuyigganyizibwa okwali mu Malawi, laba akatabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 1999, olupapula 171-223.

^ lup. 34 Ekitundu kino bwe kyali kikyategekebwa, Ow’oluganda Nsomba yafa nga wa myaka 83.