Lwaki Okugoba Omwonoonyi mu Kibiina Kiba Kikolwa kya Kwagala
OW’OLUGANDA Julian agamba nti: “Bwe nnawulira ekirango nti mutabani wange agobeddwa mu kibiina, kyampisa bubi nnyo. Mutabani wange oyo, ye yali omwana wange omubereberye, nga tuli ba mukwano nnyo, era ng’ebintu ebisinga obungi tubikolera wamu. Mu kusooka yali yeeyisa bulungi, naye ekiseera kyatuuka n’atandika okweyisa obubi. Mukyala wange yakaabanga nnyo era nga simanyi ngeri ya kumubudaabudamu. Twebuuzanga obanga ddala twali tukoze ekyo kye twali tulina okukola ng’abazadde.”
Kati olwo lwaki okugoba Omukristaayo mu kibiina kikolwa kya kwagala ate nga kireeta obulumi bwa maanyi? Ebyawandiikibwa biwa nsonga ki ezisinziirwako okugoba omuntu mu kibiina? Era kiki ddala ekiviirako omuntu okugobebwa mu kibiina?
EBINTU BIBIRI EBIVIIRAKO OMUNTU OKUGOBEBWA MU KIBIINA
Waliwo ebintu bibiri ebisinziirwako okugoba Omujulirwa wa Yakuwa mu kibiina. Omujulirwa wa Yakuwa omubatize agobebwa mu kibiina singa akola ekibi eky’amaanyi ate n’agaana okwenenya.
Wadde nga Yakuwa tatusuubira kukola bintu mu ngeri etuukiridde, asuubira abaweereza be okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atulagira okwewala ebibi eby’amaanyi, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, obubbi, obunyazi, okutta, n’eby’obusamize.
Naawe okiraba nti kya magezi okukolera ku misingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu era nti okugikolerako kituganyula? Ani atandyagadde kubeera mu bantu ab’emirembe, abalina empisa ennungi, era abeesigwa? Abantu ng’abo obasanga mu kibiina Ekikristaayo. Mu butuufu, bwe tuba twewaayo eri Yakuwa, tweyama okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye.
Watya singa, olw’obutali butuukirivu, Omukristaayo omubatize akola ekibi eky’amaanyi? Mu biseera by’edda, waliwo abaweereza ba Yakuwa abaali abeesigwa abaakola ebibi eby’amaanyi naye Yakuwa n’abasonyiwa. Lowooza ku Kabaka Dawudi. Dawudi yayenda era n’atta omuntu; wadde kyali kityo, nnabbi Nasani yamugamba nti: ‘Yakuwa akusonyiye.’
Katonda yasonyiwa Dawudi olw’okuba Dawudi yeenenya mu bwesimbu. (Zab. 32:1-5) N’olwekyo, leero omuweereza wa Yakuwa agobebwa mu kibiina singa agaana okwenenya oba singa agenda mu maaso ng’akola ekintu ekibi. (Bik. 3:19; 26:20) Singa abakadde abali ku kakiiko akalamuzi bakiraba nti omuntu agaanye okwenenya, baba balina okumugoba mu kibiina.
Mu kusooka, tuyinza okuwulira nti eky’okugoba omwonoonyi tekibadde kikolwa kya kisa nnaddala singa oyo aba agobeddwa tubadde n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Wadde kiri kityo, waliwo ensonga nnyingi Bayibuli z’ewa eziraga nti okugoba omwonoonyi mu kibiina kikolwa kya kwagala.
OKUGOBA OMWONOONYI MU KIBIINA KIVAAMU EMIGANYULO
Yesu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Mat. 11:19) Okugoba omwonoonyi agaanye okwenenya kivaamu emiganyulo. Lowooza ku miganyulo gino esatu wammanga:
Okugoba omwonoonyi mu kibiina kiweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. Okuva bwe kiri nti tuyitibwa erinnya lya Yakuwa, engeri gye tweyisaamu eyinza okulitukuza oba okulivumisa. (Is. 43:10) Ng’empisa z’omwana bwe ziyinza okuvumisa bazadde be oba okubaweesa ekitiibwa, engeri abantu ba Yakuwa gye beeyisaamu erina kinene ky’ekola ku ngeri abalala gye batwalamu Yakuwa. Singa abantu abayitibwa erinnya lya Katonda bagoberera emitindo gye egy’obutuukirivu, kiviirako erinnya lya Katonda okugulumizibwa. Bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera kya Ezeekyeri, abantu abasinga obungi bwe baakwataganyanga erinnya Yakuwa n’Abayudaaya.
Bwe twenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, tuleeta ekivume ku linnya lya Katonda ettukuvu. Omutume Peetero yagamba Abakristaayo nti: “Ng’abaana abawulize, temugobereranga kwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya, naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Muteekwa okuba abatukuvu kubanga ndi mutukuvu.’” (1 Peet. 1:14-16) Bwe tweyisa obulungi, kiweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa.
Singa omu ku Bajulirwa ba Yakuwa agenda mu maaso ng’akola ekibi, emirundi mingi abo abamumanyi ne mikwano gye bakitegeerako. Okugoba omwonoonyi mu kibiina kiraga nti Yakuwa alina abantu abayonjo abafuba okunywerera ku mitindo gye egiri mu Byawandiikibwa era abaagala okusigala nga batukuvu. Lumu waliwo omusajja eyajja mu Kizimbe ky’Obwakabaka mu Switzerland n’agamba nti yali ayagala kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Mwannyina yali agobeddwa mu kibiina olw’okuba yali yeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. Omusajja oyo yagamba nti yali ayagala okwegatta ku kibiina ekitattira ku liiso abo abeenyigira mu “bikolwa ebibi.”
Okugoba omwonoonyi kikuuma ekibiina Ekikristaayo nga kiyonjo. Omutume Pawulo yalabula Abakristaayo mu Kkolinso ku kabi akali mu kuleka omwonoonyi ateenenya mu kibiina. Yageraageranya akabi ako ku kizimbulukusa ekireetera omugaati gwonna okuzimbulukuka. Yagamba nti: “Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.” Yagattako nti: “Omubi oyo mumuggye mu mmwe.”
Kirabika, “omubi” omutume Pawulo gwe yayogerako yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, nga takyalina na nsonyi. Ate era waliwo n’abamu mu kibiina abaali batandise okuwagira ebikolwa bye. (1 Kol. 5:1, 2) Singa tewali kyakolebwawo, oboolyawo n’Abakristaayo abalala bandibadde batandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebyali bicaase ennyo mu kibuga ekyo. Mu ngeri y’emu leero, singa tewali kikolebwa boonoonyi abateenenya, kiyinza okuleetera n’abalala okutandika okusambajja emitindo gya Katonda. (Mub. 8:11) Ate era aboonoonyi abateenenya bayinza okuba ‘ng’enjazi eziri wansi mu mazzi’ kubanga bayinza okusaanyaawo okukkiriza kw’abalala mu kibiina ng’enjazi bwe zisobola okusaanyaawo eryato.
Okugoba omwonoonyi kisobola okumuleetera okwekuba mu kifuba. Lumu Yesu yayogera ku mwana eyava mu maka ga kitaawe n’ayonoona eby’obusika bwe nga yeenyigira mu mpisa embi. Omwana oyo omujaajaamya oluvannyuma yakiraba nti obulamu bwe yalimu ng’avudde ewa kitaawe bwali buzibu nnyo era nga tebulina makulu. N’ekyavaamu, omwana oyo yeekuba mu kifuba, ne yeenenya, era n’abaako ky’akolawo okudda eka. (Luk. 15:11-24) Ebyo Yesu bye yayogera ku kitaawe w’omwana oyo bisobola okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’awuliramu ng’omwonoonyi yeenenyezza. Yakuwa agamba nti: “Sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu.”
Mu ngeri y’emu, aboonoonyi ababa bagobeddwa mu kibiina Ekikristaayo, oluvannyuma bayinza okukiraba nti balina ebintu bingi bye bafiirwa. Bwe balaba ebizibu ebiva mu makubo gaabwe amabi era ne bajjukira essanyu lye baalina nga bakyalina enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abantu be, kiyinza okubaleetera okwekuba mu kifuba.
Zab. 141:5, NW) Ng’ekyokulabirako: Lowooza ku muntu abadde alya ekifi ky’ennyama, naye ne kimutuga. Mukwano gwe gw’ali naye asituka n’amukuba ekikonde mu mugongo, ekifi ekibadde kimutuze kisobole okuvaayo. Ekikonde ekyo kimuluma, naye kisobola okutaasa obulamu bwe. Mu ngeri y’emu, Dawudi yakiraba nti omuntu omutuukirivu bw’amuwabula, kiyinza okumuleetera obulumi, naye okuwabula okwo kuba kwa muganyulo nnyo gy’ali.
Okusobola okuyamba omwonoonyi, twetaaga okuba n’okwagala era twetaaga okunywerera ku kituufu. Omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, yagamba nti: “Omutuukirivu bw’ankuba, kiba kikolwa ekyoleka okwagala okutajjulukuka; bw’ankangavvula, kiba ng’amafuta agafukiddwa ku mutwe gwange.” (Emirundi mingi, omwonoonyi bw’agobebwa mu kibiina, okwo kwe kukangavvula kw’aba yeetaaga. Oluvannyuma lw’emyaka kkumi, mutabani wa Julian, eyayogeddwako ku ntandikwa, yakola enkyukakyuka ezeetaagisa, n’akomawo mu kibiina, era kati aweereza ng’omukadde. Agamba nti: “Okugobebwa mu kibiina kyandeetera okulaba nti nnalina okukola enkyukakyuka okulongoosa enneeyisa yange. Okukangavvula okwo nnali nkwetaaga.”
TWANDIYISIZZA TUTYA OYO ABA AGOBEDDWA MU KIBIINA?
Kyo kituufu nti tekitusanyusa kulaba ng’omuntu agobeddwa mu kibiina. Wadde kiri kityo ffenna tulina kye tuyinza okukolawo okuyamba omwonoonyi okuganyulwa mu kukangavvula okuba kumuweereddwa.
Abakadde ababa bakwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’okutegeeza omwonoonyi nti agenda kugobebwa mu kibiina, bafuba okwoleka okwagala nga Yakuwa. Bwe baba bategeeza omwonoonyi ekyo kye baba basazeewo, bafuba okumunnyonnyola obulungi ekyo ky’alina okukola okusobola okukomezebwawo mu kibiina. Singa abakadde bakiraba nti oyo eyagobebwa mu kibiina atandise okukola enkyukakyuka okulongoosa obulamu bwe, bayinza okumukyalirangako basobole okumujjukiza ekyo ky’alina okukola okusobola okudda eri Yakuwa. *
Ab’eŋŋanda ze basobola okwoleka okwagala eri ekibiina n’eri omwonoonyi nga bakkiriza ekyo ekiba kisaliddwawo, okugoba omwonoonyi mu kibiina. Julian yagamba nti: “Nnali nkyamutwala nga mutabani wange, naye enneeyisa ye yali etaddewo olukonko wakati wange naye.”
Buli omu mu kibiina asobola okwoleka okwagala okwa nnamaddala nga yeewalira ddala okukolagana n’oyo aba agobeddwa mu kibiina. (1 Kol. 5:11; 2 Yok. 10, 11) Ekyo kiyamba omwonoonyi okuganyulwa mu bujjuvu mu kukangavvula Yakuwa kw’aba amuwadde okuyitira mu bakadde. Ate era bonna mu kibiina basaanidde okufaayo ennyo ku b’eŋŋanda z’oyo aba agobeddwa mu kibiina kubanga baba n’obulumi bungi ku mutima. Ekyo kibayamba obutawulira nga gy’obeera nabo baawuliddwa ku kibiina.
Julian awunzika ng’agamba nti: “Okugoba omwonoonyi mu kibiina kituyamba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Wadde nga kireeta obulumi, ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kivaamu ebirungi bingi. Singa saagoberera bulagirizi bwa Yakuwa nga mutabani wange agobeddwa mu kibiina, oboolyawo teyandisobodde kukomawo mu kibiina.”
^ lup. 24 Laba Watchtower eya Apuli 15, 1991, olupapula 21-23.