Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?

Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?

“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”YAK. 4:8.

1. Lwaki tusaanidde okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?

OLI Mujulirwa wa Yakuwa omubatize? Bwe kiba bwe kityo, olina ekintu eky’omuwendo ennyo, ng’eno ye nkolagana yo ne Katonda. Kyokka, ensi ya Sitaani awamu n’obutali butuukirivu bwo bisobola okukuleetera okufiirwa enkolagana eyo. Buli Mukristaayo ayolekagana n’embeera eyo. N’olwekyo, ffenna tulina okukola kyonna ekisoboka okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.

2. (a) Enkolagana kye ki? (Laba obugambo obuli wansi.) (b) Tuyinza tutya okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa?

2 Olina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Wandyagadde okwongera okuginyweza? Ebyo ebiri mu Yakobo 4:8 bisobola okukuyamba okumanya eky’okukola. Wagamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” Weetegereze nti bw’oba ow’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, olina okubaako ky’okolawo ne Yakuwa n’abaako ky’akolawo. * Bwe tubaako kye tukolawo okusemberera Katonda naye abaako ky’akolawo okutusemberera. Gye tukoma okusemberera Yakuwa naye gy’akoma okutusemberera. N’ekivaamu, Yakuwa afuuka wa ddala gye tuli. Mu ngeri eyo, tusobola okuwulira nga Yesu bwe yawulira. Yagamba nti: “Eyantuma ddala gy’ali, era . . . mmumanyi.” (Yok. 7:28, 29) Naye, biki by’oyinza okukola okusobola okusemberera Yakuwa?

Oyinza otya okuwuliziganya ne Katonda? (Laba akatundu 3)

3. Oyinza otya okuwuliziganya ne Yakuwa?

3 Okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa oba olina okuba n’empuliziganya ennungi naye. Oyinza otya okuwuliziganya ne Yakuwa? Lowooza ku ngeri gy’owuliziganyaamu ne mukwano gwo abeera ewala. Oboolyawo mutera okwewandiikira amabaluwa oba okwekubira amasimu. Bw’osaba Yakuwa obutayosa, oba oyogera naye. (Soma Zabbuli 142:2.) Ate bw’osoma Ekigambo kye, Bayibuli, obutayosa era n’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma, Yakuwa aba ayogera naawe. (Soma Isaaya 30:20, 21.) Kati ka tulabe engeri okusaba n’okusoma Ekigambo kya Katonda gye kiyinza okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa.

BW’OSOMA BAYIBULI, YAKUWA ABA AYOGERA NAAWE

4, 5. Yakuwa ayogera atya naawe okuyitira mu Kigambo kye? Waayo ekyokulabirako.

4 Kya lwatu nti okkiriza nti mu Bayibuli mulimu obubaka Katonda bw’ayagala abantu bonna bamanye. Naye Bayibuli esobola okukuyamba okumanya ky’oyinza okukola okusobola okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Yee esobola. Mu ngeri ki? Bw’oba osoma Bayibuli, lowooza ku ngeri gye weeyisaamu era n’engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’osoma. Mu ngeri eyo, oba okkirizza Yakuwa okwogera naawe ng’ayitira mu Kigambo kye. Ekyo kisobola okukuyamba okwongera okumusemberera.Beb. 4:12; Yak. 1:23-25.

5 Ng’ekyokulabirako, soma era ofumiitirize ku bigambo bya Yesu bino: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi.” Bw’okiraba nti Obwakabaka bw’okulembeza mu bulamu bwo, ekyo kikuleetera okuwulira nga Yakuwa akusiima. Ku luuyi olulala, bw’okiraba nti olina enkyukakyuka z’olina okukola osobole okukulembeza Obwakabaka, Yakuwa aba akuyambye okulaba ekyo ky’oyinza okukola okusobola okweyongera okumusemberera.Mat. 6:19, 20.

6, 7. (a) Okusoma Bayibuli kikwata kitya ku kwagala kwe tulina eri Yakuwa n’okwagala kw’alina gye tuli? (b) Kiruubirirwa ki kye tusaanidde okuba nakyo nga tusoma Bayibuli?

6 Kya lwatu nti okusoma Bayibuli kituyamba okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okusanyusa Katonda. Naye era kituyamba okumanya ebintu ebirungi Yakuwa by’akola era kituyamba okumanya engeri ze, ekyo ne kituleetera okwongera okumwagala. Bwe tweyongera okwagala Katonda, naye yeeyongera okutwagala, mu ngeri eyo enkolagana yaffe naye ne yeeyongera okunywera.Soma 1 Abakkolinso 8:3.

7 Bwe tuba twagala okusemberera Yakuwa, kikulu nnyo okusoma Bayibuli nga tulina ekiruubirirwa ekirungi. Yokaana 17:3 wagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” Ekyo kiraga nti tusaanidde okusoma Bayibuli si lwa kwagala bwagazi kumanya bintu bigirimu. Tusaanidde okusoma Bayibuli nga tulina ekiruubirirwa ‘eky’okumanya’ obulungi Yakuwa.Soma Okuva 33:13; Zab. 25:4.

8. (a) Kiki abamu kye bayinza okulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayisaamu Azaliya, nga bwe kiragibwa mu 2 Bassekabaka 15:1-5? (b) Bwe tuba nga tumanyi bulungi Yakuwa, tunaatwala tutya ebintu by’aba akoze?

8 Okumanya obulungi Yakuwa, kisobola okutuyamba nga tusomye ku kintu Yakuwa kye yakola naye ne tutategeera nsonga lwaki yakikola bw’atyo. Ng’ekyokulabirako, Azaliya bwe yali afuga nga kabaka wa Yuda, abantu baali basinza bakatonda ab’obulimba. Azaliya teyeenyigira mu kusinza okwo. Bayibuli egamba nti Azaliya ‘yakola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi.’ (2 Bassek. 15:1-5) Kyokka Yakuwa yabonereza Azaliya, era Azaliya yali mugenge okutuusa lwe yafa. Lwaki? Ennyiriri eziriraanyeewo, teziraga nsonga lwaki Yakuwa yamubonereza. Naye ekyo kyandituleetedde okulowooza nti Yakuwa yabonereza Azaliya awatali nsonga yonna? Bwe tuba nga ddala tumanyi bulungi Yakuwa, tetusobola kulowooza bwe tutyo. Tuba tukimanyi nti Yakuwa akangavvula “ku kigero ekisaanira.” (Yer. 30:11, NW) Okumanya ekyo kituleetera okuba abakakafu nti wadde nga tetumanyidde ddala nsonga lwaki Yakuwa yabonereza Azaliya, bulijjo engeri Yakuwa gy’asalawo okukolamu ebintu eba ya bwenkanya.

9. Bayibuli etuyamba etya okumanya ensonga lwaki Yakuwa yakuba Azaliya ebigenge?

9 Bayibuli etubuulira ebisingawo ebikwata ku Kabaka Azaliya, era amanyiddwa nga Kabaka Uzziya. (2 Bassek. 15:7, 32) Mu 2 Ebyomumirembe 26:3-5, 16-21, walaga nti wadde nga mu kusooka Uzziya yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Yakuwa, oluvannyuma yafuna amalala mu mutima gwe ne yeereetera emitawaana. Yeetulinkiriza okukola emirimu egyalina okukolebwa bakabona. Bakabona 81 baamutuukirira okumuyamba okukyusa endowooza ye. Uzziya yeeyisa atya? Uzziya yali afuuse wa malala era ‘yasunguwalira’ bakabona abo. Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Yakuwa yamubonereza ng’amukuba ebigenge.

10. Lwaki tetwetaaga kumanya buli nsonga lwaki Yakuwa aba akoze ebintu nga bw’aba abikoze, era kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okwesiga Yakuwa?

10 Ebyo bye tusoma ku Azaliya bituyigiriza ki? Watya singa mu Kigambo kya Katonda temwalimu birala bikwata ku Azaliya, nga bwe kiri ku bintu ebimu ebyogerwako mu Bayibuli? Wandikoze ki? Wanditandise okulowooza nti ekyo Yakuwa kye yakola tekyali kya bwenkanya? Oba wandibadde okiraba nti Bayibuli erimu obukakafu obumala obulaga nti bulijjo Yakuwa akola ebintu mu ngeri entuufu? (Ma. 32:4) Bwe weeyongera okumanya Yakuwa, kikuleetera okwongera okumwagala n’okumwesiga ne kiba nti kiba tekikwetaagisa kumanya buli nsonga lwaki aba akoze ebintu nga bw’aba abikoze. Bwe weeyongera okusoma Bayibuli era n’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma, ojja kweyongera okumanya Yakuwa. (Zab. 77:12, 13) N’ekinaavaamu, enkolagana yo naye ejja kweyongera okunywera era ajja kufuuka wa ddala gy’oli.

BW’OSABA, OBA OYOGERA NE YAKUWA

11-13. Lwaki oli mukakafu nti Yakuwa awulira essaala zo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 19.)

11 Okusaba kutuyamba okwongera okusemberera Yakuwa. Okuyitira mu kusaba tusobola okutendereza Yakuwa, okumwebaza, n’okumusaba atuwe obulagirizi. (Zab. 32:8) Naye bw’oba ow’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, olina okuba omukakafu nti awulira essaala zo.

12 Abantu abamu balowooza nti Katonda tawuliriza ssaala z’abantu, era nti okusaba kikuyamba buyambi okuwulira obulungi. Bagamba nti okusaba kukuleetera okufumiitiriza ku bizibu by’olina ekyo ne kikusobozesa okwenoonyeza eky’okukola okusobola okubivvuunuka. Kyo kituufu nti essaala zisobola okukuyamba mu ngeri eyo. Naye ekituufu kiri nti bw’osaba, Yakuwa aba awulira essaala zo. Kiki ekikakasa nti Yakuwa awulira essaala zo?

13 Lowooza ku kino: Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yalabanga engeri Yakuwa gye yaddangamu essaala z’abaweereza be ab’oku nsi. Ate bwe yali ku nsi, Yesu yayogeranga ne Kitaawe ow’omu ggulu ng’ayitira mu kusaba. Singa yali akimanyi nti Katonda tawuliriza ssaala, yandibadde amala ebiseera bingi ng’asaba, n’atuuka n’okumala ekiro kiramba ng’asaba? (Luk. 6:12; 22:40-46) Yandibadde akubiriza abayigirizwa be okusaba? Kya lwatu nti Yesu yali akimanyi nti Yakuwa awulira okusaba. Lumu yagamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. Nkimanyi nti bulijjo ompulira.” Naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa “awulira okusaba.”Yok. 11:41, 42; Zab. 65:2.

14, 15. (a) Bwe tubuulira Yakuwa ekyo kyennyini ekituli ku mutima, kituganyula kitya? (b) Okusaba kwayamba kutya mwannyinaffe omu okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa?

14 Bw’otegeeza Yakuwa ekyo kyennyini ekikuli ku mutima, kikwanguyira okulaba engeri gy’aba akuzzeemu, wadde ng’oluusi ayinza obutakuddamu nga bw’obadde osuubira. Bw’olaba engeri Yakuwa gy’addamu essaala zo, afuuka wa ddala gy’oli. Okugatta ku ekyo, gy’okoma okweyabiza Yakuwa, gy’akoma okukusemberera.

15 Lowooza ku mwannyinaffe Kathy. * Yateranga okugenda okubuulira, naye ng’okubuulira tekumunyumira. Agamba nti: “Nnali saagala kubuulira. Bwe nnawummula ku mulimu, omukadde omu mu kibiina kyaffe yankubiriza okutandika okuweereza nga payoniya era n’ampa ne foomu. Nnasalawo okutandika okuweereza nga payoniya, era ne ntandika okusaba Yakuwa buli lunaku annyambe okwagala okubuulira.” Yakuwa yaddamu essaala ye? Kathy agamba nti: “Kati nnaakamala emyaka esatu nga mpeereza nga payoniya. Okuva bwe kiri nti kati mmala ebiseera bingi nga mbuulira era nga nkola n’ababuulizi abatali bamu, kinnyambye okulongoosa mu ngeri gye mbuuliramu. Kati njagala nnyo okubuulira. Ate era, enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongedde okunywera.” Mu butuufu, okusaba kwayamba Kathy okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa.

OLINA OKUBAAKO KY’OKOLAWO

16, 17. (a) Kiki kye tulina okukola okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

16 Tusobola okweyongera okusemberera Yakuwa emirembe gyonna. Bwe tuba twagala Katonda okutusemberera, naffe tulina okubaako kye tukolawo okumusemberera. N’olwekyo, ka tweyongere okuwuliziganya ne Yakuwa nga tusoma Bayibuli buli lunaku era nga tumusaba obutayosa. N’ekinaavaamu, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okunywera, era ekyo kijja kutuyamba okwaŋŋanga ebizibu byonna bye tuyinza okwolekagana nabyo.

Osobola okweyongera okusemberera Yakuwa emirembe gyonna (Laba akatundu 16, 17)

17 Watya singa ekizibu kye tuba tulina tekivaawo wadde nga tunyiikiridde okusaba? Mu mbeera ng’eyo, obwesige bwe tulina mu Yakuwa buyinza okukendeera. Tuyinza okutandika okwebuuza obanga ddala Yakuwa awulira essaala zaffe era obanga ddala tuli mikwano gye. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo, kiki kye tuyinza okukola? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.

^ lup. 2 Enkolagana ye nneewulira ebaawo wakati w’abantu ababiri era ezingiramu n’engeri buli omu gy’ayisaamu munne. N’olwekyo, abantu abo ababiri bombi balina okubaako kye bakolawo enkolagana eyo okusobola okunywera.

^ lup. 15 Erinnya likyusiddwa.