Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omuti Bwe Gutemebwa Gusobola Okuloka?

Omuti Bwe Gutemebwa Gusobola Okuloka?

OMUTI gw’omuzeyituuni ogukuze ennyo era ogwatemebwako amatabi guyinza obutakusikiriza bw’ogugeraageranya ku muti gw’entolokyo omunene ogw’omu Lebanooni. Naye emizeyituuni gye gimu ku miti egisobola okugumira embeera enzibu ennyo. Kigambibwa nti emizeyituuni egimu gimaze emyaka nga 1,000 nga weegiri. Olw’okuba omuzeyituuni guba n’emirandira emiwanvu ennyo, gusobola okuloka ne bwe guba gutemeddwa kasita emirandira gyagwo gisigala nga miramu.

Omuweereza wa Yakuwa Yobu yali mukakafu nti ne bwe yandifudde, yandizzeemu okuba omulamu. (Yob. 14:13-15) Yakozesa ekyokulabirako ky’omuti, oboolyawo ogw’omuzeyituuni, okulaga nti Katonda asobola okumuzuukiza. Yobu yagamba nti: ‘Omuti bwe gutemebwa wabaawo essuubi nti guliroka nate.’ Enkuba bw’ettonnya oluvannyuma lw’ekyeya ekiwanvu, ekikolo ky’omuzeyituuni ekiba kikaze kisobola okuloka, ng’endokwa zimera okuva ku mirandira gyakyo ng’ekimera ekiggya era ne zissaako amatabi.Yob. 14:7-9.

Ng’omulimi bw’aba yeesunga okulaba ng’omuzeyituuni ogwali gutemeddwa gulose, Yakuwa Katonda naye yeesunga okuzuukiza abaweereza be n’abantu abalala bangi abaafa. (Mat. 22:31, 32; Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15) Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okwaniriza abantu abaafa n’okubalaba nga bazzeemu okuba abalamu ku nsi!