Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weesige Yakuwa Bulijjo!

Weesige Yakuwa Bulijjo!

“Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu.”—ZAB. 62:8.

1-3. Lwaki Pawulo yali mukakafu nti Yakuwa yali asobola okumuyamba? (Laba ekifaananyi waggulu.)

TEKYALI kyangu kuba Mukristaayo mu Rooma. Abaruumi baawaayiriza abagoberezi ba Kristo nti be baali bakumye omuliro ku kibuga mu mwaka gwa 64 E.E. era nti baalina obukyayi eri abantu abalala. Ekyo kyaviirako Abakristaayo okuyigganyizibwa ennyo. Mu kiseera ekyo, Abakristaayo abamu baaweebwayo eri ensolo ne zibataagulataagula era abalala ne bakomererwa ku miti oba ne bookebwa omuliro nga balamu. Singa waliwo mu kiseera ekyo, ekiseera kyonna wandibadde mu kutya nti naawe basobola okukukwata ne bakutulugunya.

2 Kiyinzika okuba nti mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, omutume Pawulo mwe yasibirwa mu kkomera e Rooma omulundi ogw’okubiri. Omutume Pawulo ayinza okuba nga yali alowooza nti ne ku mulundi guno Bakristaayo banne tebajja kumuyamba. Yagamba Timoseewo nti: “Mu kwewozaako kwange okwasooka tewali n’omu yali nange, bonna banjabulira, (ekyo kireme kubavunaanibwa).” Wadde kyali kityo, Pawulo yakiraga nti teyali yekka. Yagamba nti: “Mukama waffe yali kumpi nange n’ampa amaanyi.” Mu butuufu, Mukama waffe Yesu yawa Pawulo amaanyi ge yali yeetaaga. Amaanyi ago gaamuyamba gatya? Agamba nti: “Nnawonyezebwa okuva mu kamwa k’empologoma.”2 Tim. 4:16, 17. *

3 Okujjukira embeera eyo enzibu gye yayitamu, kyayamba Pawulo okuba omukakafu nti Yakuwa yandimuwadde amaanyi ageetaagisa okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye yalina n’ebyo bye yandyolekaganye nabyo mu biseera eby’omu maaso. Yagamba nti: “Mukama waffe ajja kumponya obubi bwonna.” (2 Tim. 4:18) Mu butuufu, Pawulo yali mukakafu nti ne bwe yandibadde nga talina buyambi kuva eri bantu, Yakuwa n’Omwana we bandimuyambye!

KIRAGE NTI WEESIGA YAKUWA

4, 5. (a) Ani ayinza okukuyamba ekiseera kyonna? (b) Oyinza otya okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?

4 Wali obaddeko mu mbeera enzibu n’owulira ng’atalina buyambi bwonna? Oyinza okuba nga wali tolina mulimu, ng’opikirizibwa ku ssomero, ng’olina obulwadde obw’amaanyi, oba ng’oli mu mbeera endala yonna enzibu. Oyinza okuba wasaba abalala okukuyamba naye ne batasobola kukuwa buyambi bwe weetaaga. Mu butuufu, ebizibu ebimu abantu tebasobola kubigonjoola. Kati olwo kiki ky’oyinza okukola mu mbeera ng’eyo? Bayibuli etukubiriza ‘okwesiga Yakuwa.’ (Nge. 3:5, 6) Naye ddala Yakuwa asobola okukuyamba? Yee, kubanga waliwo ebyokulabirako bingi mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa ayamba abantu be.

5 Bw’obeera mu mbeera enzibu ennyo, tonyiiga olw’okuba abalala balemereddwa okukuwa obuyambi bwe weetaaga. Mu kifo ky’ekyo, okufaananako Pawulo, embeera eyo gitwale ng’akakisa k’oba ofunye okukiraga nti weesiga Yakuwa n’okulaba engeri gy’anaakuyambamu. Ekyo kisobola okukuyamba okwongera okumwesiga n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.

OKWESIGA YAKUWA KITUYAMBA OKUNYWEZA ENKOLAGANA YAFFE NAYE

6. Lwaki oluusi tekiba kyangu kwesiga Yakuwa nga tuli mu mbeera enzibu?

6 Singa oba n’ekizibu eky’amaanyi, ng’owulira nti okoze kyonna ekisoboka okukigonjoola, era ng’osabye ne Yakuwa akuyambe, kisoboka okulekera awo okweraliikirira ng’okimanyi nti Yakuwa ajja kukuyamba? Yee, kisoboka! (Soma Zabbuli 62:8; 1 Peetero 5:7.) Bw’oba oyagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, olina okuyiga okumwesiga. Naye ekyo oluusi tekiba kyangu. Lwaki? Ensonga emu eri nti ebiseera ebimu essaala zaffe Yakuwa taziddamu mangu.Zab. 13:1, 2; 74:10; 89:46; 90:13; Kaab. 1:2.

7. Lwaki oluusi essaala zaffe Yakuwa taziddamu mangu?

7 Lwaki ebiseera ebimu, essaala zaffe Yakuwa taziddamu mangu? Kijjukire nti enkolagana eri wakati waffe ne Yakuwa eri ng’eyo omwana gy’aba nayo ne kitaawe. (Zab. 103:13) Tekiba kya magezi omwana okusuubira omuzadde okumuwa buli kimu ky’aba amusabye oba okumuweerawo buli kimu ky’aba amusabye. Oluusi omwana ayinza okusaba ekintu naye nga ddala mu butuufu takyetaaga. Ate ebintu ebimu omwana by’aba asaba kiba kyetaagisa ekiseera okuyitawo ng’omuzadde tannabimuwa. Ate ebirala omuzadde ayinza okukiraba nga si kya magezi kubimuwa kubanga biyinza okumukosa oba okukosa abalala. Ate era, singa buli kimu omwana ky’asaba omuzadde akimuweerawo, olwo nno omuzadde aba ng’afuuse omuddu w’omwana. Mu ngeri y’emu, oluusi Yakuwa ayinza okuleka ekiseera okuyitawo nga tannaddamu ssaala zaffe. Ng’Omutonzi waffe ow’amagezi era ow’okwagala, amanyi bye twetaaga era n’ekiseera ekituufu eky’okubituweeramu. Singa Yakuwa atuweerawo buli kimu kye tumusaba, olwo nno aba ng’afuuse omuddu waffe.—Geraageranya Isaaya 29:16; 45:9.

8. Kiki Yakuwa ky’atusuubiza?

8 Ensonga endala eri nti Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma. (Zab. 103:14) Bwe kityo, atuwa amaanyi ge twetaaga nga twolekagana n’ebizibu. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tetukyalina lugendo. Naye Yakuwa asuubiza nti tayinza kuleka baweereza be kugezesebwa kusukka ku kye basobola okugumira. Mu butuufu, ‘atuteerawo obuddukiro.’ (Soma 1 Abakkolinso 10:13.) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa amanyi kye tusobola okugumira ne kye tutasobola kugumira!

9. Kiki kye tusaanidde okukola singa tusaba Yakuwa naye n’atatuddamu mangu?

9 Singa tusaba Yakuwa naye n’atatuddamu mangu, tusaanidde okuba abagumiikiriza. Kijjukire nti Yakuwa ayagala nnyo okutuyamba, era nti naye aba agumiikiriza ng’alindirira ekiseera ekituufu okutuyamba. Bayibuli egamba nti: “Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire: kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.”Is. 30:18.

‘AKAMWA K’EMPOLOGOMA’

10-12. (a) Kiki ekiyinza okukifuula ekizibu eri Omukristaayo okujjanjaba omu ku b’omu maka ge alina obulwadde obw’amaanyi? (b) Okwesiga Yakuwa mu biseera ebizibu kiyinza kitya okukwata ku nkolagana yaffe naye? Waayo ekyokulabirako.

10 Bw’oba ng’olina ekizibu eky’amaanyi, oyinza okuwulira nga Pawulo bwe yawulira. Oyinza okuwulira ng’ali okumpi ‘n’akamwa k’empologoma’ oba ng’ali mu kamwa kaayo. Mu mbeera ng’eyo, kiyinza okuba ekizibu ennyo okwesiga Yakuwa, so ng’ate mu kiseera ekyo kiba kikwetaagisa nnyo okumwesiga. Ng’ekyokulabirako, watya singa olina omu ku b’omu maka go alina obulwadde obw’amaanyi gw’ojjanjaba. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa akuwe amagezi n’amaanyi, osobola okuwulira emirembe bw’okimanya nti Yakuwa ategeera bulungi embeera yo. * Yakuwa ajja kukuyamba okugumira embeera eyo n’okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali.Zab. 32:8.

11 Ebiseera ebimu oyinza okuwulira nga gy’obeera Yakuwa akwabulidde. Abasawo abatali bamu bayinza okuba nga bakuwa amagezi ga njawulo. Ate n’ab’eŋŋanda zo be wandisuubidde okukubudaabuda, bayinza okwongera okukalubya embeera. Bw’oba mu mbeera ng’eyo, weeyongere okwesiga Yakuwa kubanga ajja kukuwa amaanyi. Weeyongere okumusemberera. (Soma 1 Samwiri 30:3, 6.) Bw’onoolaba engeri Yakuwa gy’akuyambyemu, enkolagana yo naye ejja kweyongera okunywera.

12 Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Linda. * Yali amaze ekiseera kiwanvu ng’ajjanjaba bazadde be okutuusa lwe baafa. Agamba nti: “Bwe twali mu mbeera eyo, nze, omwami wange, ne mwannyinaze oluusi twabanga tetumanyi kya kukola. Ebiseera ebimu twawuliranga ng’abatalina buyambi. Kyokka bwe tulowooza ku biseera ebyo, tukiraba nti Yakuwa yali wamu naffe. Yatuwa amaanyi era yatuwa byonna bye twali twetaaga mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo.”

13. Okwesiga Yakuwa kyayamba kitya mwannyinaffe omu okugumira ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa bye yafuna?

13 Okwesiga Yakuwa kisobola n’okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Ekyo kyennyini kye kyayamba Rhonda. Mu kiseera omwami we, ataali mukkiriza, we yali ayagalira bagattululwe, abasawo baakizuula nti mwannyina yalina obulwadde obw’amaanyi ennyo. Nga waayiseewo emyezi mitono, mukyala wa mwannyina yafa. Rhonda bwe yawulira ng’atereddemu oluvannyuma lw’ebizibu ebyo, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kyokka waayita akaseera katono maama we naye n’afa. Kiki ekyayamba Rhonda okuguma? Agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa buli lunaku, ne bwe nnabanga nsalawo ku bintu ebirabika ng’ebitono ennyo. Ekyo kyafuula Yakuwa okuba owa ddala gye ndi. Nnayiga okwesigama ku Yakuwa mu kifo ky’okwesigama ku bantu abalala oba ku magezi gange. Yakuwa yampa obuyambi bwonna bwe nnali nneetaaga. Mu butuufu, enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera.”

Bwe wajjawo embeera enzibu mu maka gaffe, enkolagana yaffe ne Yakuwa eneesigala nga nnywevu? (Laba akatundu 14-16)

14. Yakuwa ayinza atya okuyamba Omukristaayo omwesigwa ng’omu ku b’eŋŋanda ze agobeddwa mu kibiina?

14 Ate lowooza ku mbeera endala. Watya singa omu ku b’eŋŋanda zo agobebwa mu kibiina. Okusinziira ku ebyo by’osomye mu Bayibuli, oteekwa okuba ng’omanyi engeri abantu ababa bagobeddwa mu kibiina gye balina okuyisibwamu. (1 Kol. 5:11; 2 Yok. 10) Naye oluusi kiyinza okulabika ng’ekizibu ennyo oba ekitasoboka kukolera ku bulagirizi obwo. * Oneesiga Yakuwa nti ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okukolera ku bulagirizi Bayibuli bw’ewa obukwata ku ngeri y’okuyisaamu omuntu aba agobeddwa mu kibiina? Okiraba nti embeera eyo esobola okukuwa akakisa okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?

15. Lwaki Adamu yajeemera Yakuwa?

15 Ku nsonga eyo, lowooza ku musajja eyasooka, Adamu. Ddala Adamu ayinza okuba nga yalowooza nti bwe yandijeemedde Yakuwa teyandifudde? Nedda, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti Adamu “teyalimbibwa.” (1 Tim. 2:14) Kati olwo, lwaki yajeemera Katonda? Adamu yalya ku kibala Katonda kye yali abagaanye olw’okuba yali ayagala mukazi we okusinga bwe yali ayagala Yakuwa. Yasalawo okuwuliriza mukazi we mu kifo ky’okuwuliriza Katonda we, Yakuwa.Lub. 3:6, 17.

16. Ani gwe tusaanidde okwagala okusinga abalala bonna, era lwaki?

16 Kati olwo tugambe nti tetusaanidde kwagala nnyo ba ŋŋanda zaffe? Nedda! Naye okwagala kwe tulina eri Yakuwa kusaanidde okusinga okwagala kwe tulina eri omuntu omulala yenna. (Soma Matayo 22:37, 38.) Bwe tukola tutyo kisobola okukwata ennyo ku b’eŋŋanda zaffe, ka babe nga baweereza Yakuwa oba nga tebamuweereza. N’olwekyo, weeyongere okwagala Yakuwa n’okumwesiga. Ate era bw’obaako ekintu kyonna ekikweraliikiriza ekikwata ku omu ku b’eŋŋanda zo eyagobebwa mu kibiina, saba Yakuwa omutegeeze byonna ebikuli ku mutima. * (Bar. 12:12; Baf. 4:6, 7) Embeera eyo enzibu gitwale ng’akakisa k’oba ofunye okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Ekyo kijja kukuyamba okwesiga Yakuwa ng’okimanyi nti okumugondera kivaamu ebirungi bingi.

NGA BWE TULINDIRIRA YAKUWA

Kirage nti weesiga Yakuwa ng’oba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwe (Laba akatundu 17)

17. Bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira, kiraga kitya nti twesiga Yakuwa?

17 Lwaki Pawulo ‘yawonyezebwa okuva mu kamwa k’empologoma’? Yagamba nti: “Nsobole okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi era amawanga gonna gasobole okugawulira.” (2 Tim. 4:17) Okufaananako Pawulo, bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira, tuba tukiraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago byaffe byonna. (Mat. 6:33) Ng’ababuulizi b’Obwakabaka, ‘tukwasiddwa amawulire amalungi,’ era “tukolera wamu ne Katonda.” (1 Bas. 2:4; 1 Kol. 3:9) Gye tukoma okuba n’eby’okukola ebingi mu mulimu gwa Katonda, gye kijja okukoma okutwanguyira okumulindirira okutuusa lw’anaddamu essaala zaffe.

18. Biki ebinaatuyamba okwongera okwesiga Yakuwa n’okunyweza enkolagana yaffe naye?

18 N’olwekyo, ka ffenna tufube okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tuba twolekagana n’embeera enzibu, tusaanidde okugitwala ng’akakisa ke tuba tufunye okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu butuufu, ka ffenna tweyongere okusoma Ekigambo kya Katonda n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, ka tweyongere okusabanga buli lunaku, era ka tunyiikirire omulimu gw’okubuulira. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo mu kiseera kino n’ebyo bye tujja okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso.

^ lup. 2 Pawulo ayinza okuba nga yawonyezebwa kuva mu kamwa ka mpologoma yennyini oba nga yawonyezebwa kuva mu mbeera endala enzibu ennyo.

^ lup. 10 Waliwo ebitundu ebitali bimu ebyafulumira mu bitabo byaffe ebisobola okuyamba Omukristaayo alina obulwadde obw’amaanyi n’oyo amujjanjaba. Laba Awake! eya Febwali 8, 1994; Febwali 8, 1997; Maayi 22, 2000; n’eya Jjanwali 22, 2001.

^ lup. 12 Amannya gakyusiddwa.

^ lup. 16 Waliwo ebitundu ebitali bimu ebyafulumira mu bitabo byaffe ebisobola okuyamba Abakristaayo abeesigwa ng’omu ku b’eŋŋanda zaabwe avudde ku Yakuwa. Laba Watchtower eya Ssebutemba 1, 2006 (olupapula 17-21), n’eya Jjanwali 15, 2007 (olupapula 17-20).