Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu I

“Erinnya lyo litukuzibwe.”MAT. 6:9.

1. Tuyinza tutya okukozesa essaala eri mu Matayo 6:9-13 nga tubuulira?

ABANTU bangi bamanyi essaala ya Mukama waffe. Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba tutera okukozesa ebigambo ebiri mu ssaala eyo okuyamba abantu okukiraba nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala egenda okufuula ensi eno olusuku lwa Katonda. Ate oluusi tukozesa essaala eyo okulaga abantu nti Katonda alina erinnya eririna okutukuzibwa.Mat. 6:9.

2. Tumanya tutya nti Yesu yali tayagala tuddiŋŋane bigambo ebiri mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako nga tusaba?

2 Kati olwo tugambe nti Yesu yali ayagala tuddiŋŋane ebigambo ebiri mu ssaala eyo nga tusaba ng’abantu abasinga obungi bwe bakola? Nedda. Yesu bwe yali tannayigiriza bayigirizwa be ssaala eyo, yasooka kugamba nti: “Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga bigambo.” (Mat. 6:7) Ku mulundi omulala, Yesu yaddamu essaala eyo naye nga tagyogera kigambo ku kigambo. (Luk. 11:1-4) Bwe kityo, essaala eyo Yesu yagiwa okuyamba abayigirizwa be okumanya ebintu bye bayinza okwogerako nga basaba n’ebyo bye balina okukulembeza nga basaba. N’olwekyo, kituukirawo essaala eyo okugiyita essaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako.

3. Nga twetegereza essaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

3 Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kwetegereza ebyo ebiri mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako. Nga twetegereza essaala eyo, weebuuze, ‘Essaala eyo eyinza etya okunnyamba okulongoosa mu ssaala zange? N’ekisinga obukulu, nfuba okukolera ku ebyo ebiri mu ssaala eyo?’

“KITAFFE ALI MU GGULU”

4. Ekigambo “Kitaffe” kiraga ki, era mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘Kitaawe’ w’Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi?

4 Okuba nti Yesu yagamba nti “Kitaffe,” so si “Kitange,” kiraga nti ffenna abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna, Yakuwa ye Kitaffe. (1 Peet. 2:17) Ng’eyo nkizo ya maanyi! Abakristaayo abaafukibwako amafuta baafuulibwa baana ba Katonda era balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Bwe kityo Yakuwa ‘Kitaabwe’ mu ngeri ey’enjawulo. (Bar. 8:15-17) Kyokka Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo basobola okuyita Yakuwa ‘Kitaabwe.’ Yakuwa ye yabawa obulamu, era akola ku byetaago by’abaweereza be bonna ab’amazima. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bajja kufuuka abaana ba Katonda mu bujjuvu oluvannyuma lw’okufuuka abantu abatuukiridde n’okuyita mu kugezesebwa okusembayo.Bar. 8:21; Kub. 20:7, 8.

5, 6. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo abazadde kye basobola okuwa abaana baabwe, era buli mwana ayinza kukola ki okukuuma ekirabo ekyo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 20.)

5 Abazadde bwe bayigiriza abaana baabwe okusaba era ne babayamba okukiraba nti Yakuwa ye Kitaabwe ow’omu ggulu era nti abafaako nnyo, baba babawadde ekirabo eky’omuwendo ennyo. Ow’oluganda omu kati aweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu South Africa agamba nti: “Okuva lwe twazaala bawala baffe, nnasabanga nabo buli kiro, okuggyako lwe saabanga waka. Bawala baffe bagamba nti tebajjukira bigambo byennyini bye nnayogeranga nga nsaba nabo ekiro. Naye kye bajjukira kiri nti bwe twabanga twogera ne Kitaffe, Yakuwa, twayogeranga naye mu ngeri eraga nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. Bwe baakulamu, nnabakubirizanga okusaba mu ddoboozi eriwulikika nsobole okumanya bye bagamba Yakuwa nga basaba. Ekyo kyannyamba okutegeera ebyo ebyabanga mu mitima gyabwe. Oluvannyuma, nnagendanga mbayamba okumanya ebintu ebikulu ebiri mu ssaala ya Mukama waffe bye baali basobola okugatta mu ssaala zaabwe, zisobole okwongera okuba ez’amakulu.”

6 Tekyewuunyisa nti bawala b’ow’oluganda oyo baakulaakulana mu by’omwoyo. Kati bafumbo, era bo awamu n’abaami baabwe bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ekirabo ekisingayo obulungi abazadde kye basobola okuwa abaana baabwe kwe kubayamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Kya lwatu nti kiri eri buli mwana okufuba okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Ekyo kizingiramu okwagala erinnya lya Katonda n’okufuba okuliweesa ekitiibwa.Zab. 5:11, 12; 91:14.

“ERINNYA LYO LITUKUZIBWE”

7. Nkizo ki abantu ba Katonda gye balina, era kiki kye balina okukola?

7 Nga tulina enkizo ya maanyi okuba nti tumanyi erinnya lya Katonda era nti tuli ‘bantu abayitibwa erinnya lye’! (Bik. 15:14; Is. 43:10) Tusaba Kitaffe ow’omu ggulu nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.” Bwe twogera ebigambo ng’ebyo nga tusaba, kisobola okutukubiriza okusaba Yakuwa atuyambe okwewala okukola oba okwogera ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lye ettukuvu. Tetwagala kuba ng’abamu ku abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka abataakoleranga ku ebyo bye baayigirizanga. Omutume Pawulo yagamba abantu abo nti: “Erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b’amawanga ku lwammwe.”Bar. 2:21-24.

8, 9. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa awa emikisa abo abafuba okutukuza erinnya lye.

8 Ffenna twagala okukola kyonna ekisoboka okutukuza erinnya lya Katonda. Lowooza ku mwannyinaffe omu ow’omu Norway eyafiirwa omwami we era n’asigala ne mutabani waabwe ow’emyaka ebiri. Agamba nti: “Ekiseera ekyo kyali kizibu nnyo mu bulamu bwange. Nnasabanga Yakuwa buli lunaku, kumpi buli ssaawa, annyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi era annyambe okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali nneme kuwa Sitaani kaagaanya kuvuma Yakuwa. Nnali njagala okutukuza erinnya lya Yakuwa era nga njagala mutabani wange addemu okulaba ku kitaawe mu nsi empya.”Nge. 27:11.

9 Yakuwa yaddamu essaala za mwannyinaffe oyo? Yee. Olw’okuba mwannyinaffe oyo yafubanga nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza banne, baamuzzaamu nnyo amaanyi. Oluvannyuma lw’emyaka etaano, mwannyinaffe oyo yafumbirwa omukadde mu kibiina. Mutabani we, kati alina emyaka 20, era wa luganda mubatize. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okuba nti omwami wange annyambye okukuza mutabani wange.”

10. Kiki ekyetaagisa erinnya lya Katonda okutukuzibwa mu bujjuvu?

10 Kiki ekyetaagisa erinnya lya Katonda okutukuzibwa mu bujjuvu? Yakuwa alina okuggyawo abo bonna abagaanye okukkiriza obufuzi bwe. (Soma Ezeekyeri 38:22, 23.) Mpolampola abantu bajja kufuulibwa abatuukiridde. Nga twesunga nnyo ekiseera buli omu mu ggulu ne ku nsi lw’anaaba ng’atukuza erinnya lya Yakuwa! Mu kiseera ekyo Kitaffe ow’omu ggulu ajja ‘kuba byonna eri buli omu.’1 Kol. 15:28.

“OBWAKABAKA BWO BUJJE”

11, 12. Ekyasa ekya 19 bwe kyali kinaatera okuggwaako, kiki Yakuwa kye yayamba Abakristaayo ab’amazima okutegeera?

11 Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu, abatume be baamubuuza nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isiraeri mu kiseera kino?” Ebyo Yesu bye yabaddamu byalaga nti ekyo si kye kyali ekiseera bo okumanya ddi Obwakabaka bwa Katonda lwe bwanditandise okufuga. Yakubiriza abayigirizwa be okussa essira ku mulimu ogw’okuwa obujulirwa gwe baalina okukola. (Soma Ebikolwa 1:6-8.) Wadde kyali kityo, Yesu yali ayagala abayigirizwa be beesunge Obwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, okuva mu kiseera ky’abatume, abagoberezi ba Kristo babaddenga basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje.

12 Obwakabaka bwa Katonda bwe bwali bunaatera okutandika okufuga mu ggulu, Yakuwa aliko ebintu ebikwata ku Bwakabaka bye yayamba abantu be okumanya. Mu 1876, waliwo ekitundu ekyawandiikibwa Ow’oluganda Charles Taze Russell ekyafulumira mu katabo akayitibwa Bible Examiner. Ekitundu ekyo ekyalina omutwe, “Ebiseera by’Amawanga: Biggwaako Ddi?,” kyalaga nti omwaka gwa 1914 gwandibadde mwaka gwa njawulo. Ekitundu ekyo kyalaga nti waliwo akakwate wakati ‘w’ebiseera omusanvu’ ebyogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri n’ebigambo bya Yesu ebikwata ku ‘biseera ebigereke eby’amawanga.’ *Dan. 4:16; Luk. 21:24.

13. Kiki ekyaliwo mu 1914, era ebyo ebibaddewo mu nsi okuva mu mwaka ogwo bikakasa ki?

13 Mu 1914, waliwo olutalo olwabalukawo mu Bulaaya, era ne lubuna mu nsi yonna. Olutalo olwo we lwaggweera mu 1918, abantu bangi baali bakoseddwa enjala ey’amaanyi era obulwadde bwa sseseeba bwatta abantu bangi n’okusinga abo abaafiira mu lutalo. Bwe kityo, ‘akabonero’ Yesu ke yali yawa akandiraze okubeerawo kwe nga Kabaka kaali katandise okweyoleka. (Mat. 24:3-8; Luk. 21:10, 11) Mu butuufu, waliwo obukakafu bungi obulaga nti Mukama waffe Yesu Kristo ‘yaweebwa engule’ mu 1914. Okuva olwo, yagenda “ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.” (Kub. 6:2) Yesu yagoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu n’abasuula ku nsi. Okuva mu mwaka ogwo, ebigambo bino bituukiridde: “Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.”Kub. 12:7-12.

14. (a) Lwaki kikulu okweyongera okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje? (b) Mulimu ki omukulu ennyo gwe tulina okukola leero?

14 Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 12:7-12 butuyamba okulaba ensonga lwaki Obwakabaka bwa Katonda bwe bwatandika okufuga wajjawo ebizibu bingi ku nsi. Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, yatandika okufugira wakati mu balabe be. Okutuusa ng’amaliriza okuwangula kwe era ng’amazeewo ebintu ebibi byonna ku nsi, tujja kweyongera okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okukolera ku ebyo bye tusaba nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”Mat. 24:14.

“BY’OYAGALA BIKOLEBWE MU NSI”

15, 16. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi?

15 Emyaka nga 6,000 emabega, Katonda by’ayagala byali bikolebwa mu nsi mu bujjuvu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagamba nti buli kimu kyali “kirungi nnyo.” (Lub. 1:31) Oluvannyuma Sitaani yajeemera Katonda, era okuva olwo abantu abasinga obungi ku nsi babaddenga tebakola Katonda by’ayagala. Naye kitusanyusa nnyo okulaba nti leero waliwo Abajulirwa ba Yakuwa ng’obukadde munaana abasaba Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi era abakolera ku ssaala eyo. Ekyo kyeyolekera mu ngeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe n’engeri gye banyiikirira omulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa.

Ofuba okuyamba abaana bo okukola Katonda by’ayagala? (Laba akatundu 16)

16 Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu eyabatizibwa mu 1948 era aweereza ng’omuminsani mu Afirika agamba nti: “Ntera okusaba Yakuwa atuyambe okutuuka ku abo bonna abalinga endiga tusobole okubayamba okumutegeera ng’ekiseera tekinnaggwaayo. Era bwe mba sinnatandika kubuulira muntu, nsaba Yakuwa annyambe nsobole okutuuka ku mutima gw’omuntu oyo. Ate abantu abalinga endiga be tuba tuzudde, nsaba Yakuwa atuyambe tubalabirire bulungi.” N’olwekyo, tekyewuunyisa nti mwannyinaffe oyo ow’emyaka 80 afunye ebibala bingi mu buweereza bwe era asobodde okuyamba abantu bangi okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Kya lwatu nti waliwo n’abaweereza ba Yakuwa abalala bangi b’omanyi abeeyongedde okukola Katonda by’ayagala n’obunyiikivu wadde nga bakaddiye.Soma Abafiripi 2:17.

17. Owulira otya bw’olowooza ku ebyo Yakuwa by’anaakola mu biseera eby’omu maaso ng’addamu essaala gye tusaba nti by’ayagala bikolebwe mu nsi?

17 Tujja kweyongera okusaba Katonda by’ayagala bikolebwe okutuusa ng’abalabe be basaanyiziddwaawo ku nsi. Oluvannyuma lw’ekyo tujja kuba n’omukisa okulaba ng’ebyo Katonda by’ayagala byeyongera okukolebwa mu nsi ng’abantu bukadde na bukadde bazuukizibwa okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Yesu yagamba nti: “Temwewuunya kino, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lyange] ne bavaamu.” (Yok. 5:28, 29) Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okubaawo mu kiseera ekyo okwaniriza abantu baffe abaafa! Katonda “alisangula buli zziga mu maaso” gaffe. (Kub. 21:4) Abantu abasinga obungi ku abo abanaazuukizibwa bajja kuba abo “abatali batuukirivu,” nga bano be bantu abaafa nga tebayize mazima agakwata ku Yakuwa Katonda n’Omwana we. Ng’ejja kuba nkizo ya maanyi okuyigiriza abantu abo Katonda by’ayagala awamu n’ekigendererwa kye, kibayambe okutuukiriza ebisaanyizo okufuna “obulamu obutaggwaawo”!Bik. 24:15; Yok. 17:3.

18. Bintu ki abantu bye basinga okwetaaga?

18 Erinnya lya Yakuwa bwe linaatukuzibwa okuyitira mu Bwakabaka bwe, bonna mu ggulu ne ku nsi bajja kuba basinza Yakuwa nga bali bumu. Mu butuufu, Katonda bw’anaatuukiriza ebintu ebisatu ebisooka Yesu bye yayogerako mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, ajja kuba awadde abantu ebintu bye basinga okwetaaga. Kyokka waliwo n’ebintu ebirala abantu bye beetaaga ebyogerwako mu bintu ebina ebisigaddeyo mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako. Ebintu ebyo bijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

^ lup. 12 Okusobola okumanya engeri gye tutegeeramu nti obunnabbi obwo bwatuukirira mu 1914, laba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? olupapula 215-218.