Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu II

Kolera ku Ssaala Yesu Gye Yawa ng’Ekyokulabirako—Ekitundu II

‘Kitammwe amanyi ebintu bye mwetaaga.’MAT. 6:8.

1-3. Lwaki mwannyinaffe omu mukakafu nti Yakuwa amanyi bulungi bye twetaaga?

MWANNYINAFFE ayitibwa Lana tayinza kwerabira ekyo ekyaliwo bwe yali agenze mu Bugirimaani mu 2012. Awulira nti Yakuwa yaddamu essaala ze ebbiri ze yasaba ku olwo. Essaala esooka yagisaba ng’ali mu ggaali y’omukka ng’agenda ku kisaawe ky’ennyonyi. Yasaba Yakuwa amuyambe okufuna akakisa okuwa obujulirwa. Essaala ey’okubiri yagisaba atuuse ku kisaawe ky’ennyonyi era ng’akitegeddeko nti ennyonyi gy’abadde alina okugenderamu ya kusimbula nkeera, so si ku olwo. Lana yasaba Yakuwa n’amutegeeza ku ky’okuba nti ssente ze yalina kumpi zaali zimuweddeko ate nga talina wa kusula.

2 Lana yali tannaba na kumalirizi ssaala ya kubiri n’awulira omuntu amugamba nti, “Lana, okola ki wano?” Lana yagenda okwetegereza ng’ono y’omu ku balenzi be yasomako nabo. Omulenzi oyo yali wamu ne maama we ne jjajjaawe nga bamuwerekeddeko ku kisaawe ng’agenda e South Africa. Maama w’omulenzi oyo ne jjajjaawe bwe baategeera nti Lana talina wa kusula, baamutwala asule ewaabwe. Baayisa bulungi nnyo Lana era baamubuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku nzikiriza ye n’obuweereza bwe obw’ekiseera kyonna.

3 Enkeera, oluvannyuma lw’okulya eky’enkya, Lana yeeyongera okuddamu ebibuuzo by’abakyala abo, era n’abaako ebintu ebibakwatako by’awandiika asobole okulaba engeri gye bayinza okwongera okuyambibwa. Oluvannyuma Lana yaddayo ewaabwe era akyeyongera okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Lana mukakafu nti Yakuwa yawulira okusaba kwe, yali amanyi bye yeetaaga, era yamuyamba.Zab. 65:2.

4. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

4 Bwe tufuna ebizibu, kiyinza okuba nga tekituzibuwalira kusaba Yakuwa kutuyamba, era Yakuwa mwetegefu okuddamu essaala z’abaweereza be abeesigwa. (Zab. 34:15; Nge. 15:8) Kyokka bwe tufumiitiriza ku ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako, tusobola okukiraba nti waliwo ebintu ebikulu ennyo bye tuyinza okubuusa amaaso. Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza engeri ebintu ebina ebisembayo Yesu bye yayogerako mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako gye biyinza okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.Soma Matayo 6:11-13.

“OTUWE EMMERE YAFFE EYA LEERO”

5, 6. Lwaki kikulu okusaba ebikwata ku mmere yaffe eya buli lunaku ne bwe tuba nga tulina emmere etumala?

5 Weetegereze nti Yesu teyagamba nti ompe emmere “yange” eya leero, wabula yagamba nti otuwe emmere “yaffe” eya leero. Victor, omulabirizi akyalira ebibiina mu nsi emu ey’omu Afirika, agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa okuba nti nze ne mukyala wange tetubeera awo nga tweraliikirira wa gye tunnaggya eky’okulya oba gye tunnaggya ssente ez’okusasula ennyumba. Bakkiriza bannaffe batulabirira bulungi buli lunaku. Naye nsaba Yakuwa bulijjo ayambe abo abatulabirira basobole okwaŋŋanga embeera enzibu ey’eby’enfuna gye boolekagana nayo.”

6 Bwe tuba nga tulina emmere esobola okututwazaako ennaku eziwerako, kikulu okulowooza ku bakkiriza bannaffe abaavu oba abakoseddwa obutyabaga. Ng’oggyeeko okubasabira tusaanidde n’okukolera ku ebyo bye tusaba. Ng’ekyokulabirako, tusobola okugabana ebintu byaffe ne bakkiriza bannaffe abali mu bwetaavu. Ate era tusobola n’okugifuula empisa yaffe okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, nga tuli bakakafu nti ssente ze tuwaayo zijja kukozesebwa bulungi.1 Yok. 3:17.

7. Kyakulabirako ki Yesu kye yawa okulaga nti tetusaanidde ‘kweraliikirira bya nkya’?

7 Yesu bwe yamala okwogera essaala gye yawa ng’ekyokulabirako, yakubiriza abagoberezi be okwewala okwemalira ku kunoonya ebintu. Yesu yayogera ku ngeri Katonda gy’ayambazaamu ebimuli eby’oku ttale, era n’agamba nti: “Taasingewo nnyo okubambaza mmwe abalina okukkiriza okutono? N’olwekyo, temweraliikiriranga nga mugamba nti, . . . ‘Tunaayambala ki?’ ” Yakomekkereza ensonga eyo ng’agamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya.” (Mat. 6:30-34) Ekyo kiraga nti mu kifo ky’okululunkanira ebintu, tusaanidde okuba abamativu n’ebyetaago byaffe ebya buli lunaku. Mu byetaago ebyo mwe muli, aw’okusula awasaana, omulimu ogusobola okutuyamba okulabirira ab’omu maka gaffe, n’amagezi ge twetaaga okusalawo ebikwata ku by’obujjanjabi. Kyokka singa twogera ku byetaago byaffe eby’omubiri byokka nga tusaba, tuba tugudde olubege. Tulina ebyetaago eby’omwoyo ebikulu ennyo n’okusinga ebyetaago eby’omubiri.

8. Ebigambo bya Yesu ebikwata ku mmere yaffe eya buli lunaku bisaanidde kutujjukiza kintu ki ekikulu kye twetaaga? (Laba ekifaananyi ku lupapula 25.)

8 Ebigambo bya Yesu ebikwata ku mmere yaffe eya buli lunaku bisaanidde okutujjukiza nti twetaaga emmere ey’eby’omwoyo. Mukama waffe Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Mat. 4:4) N’olwekyo, tusaanidde okweyongera okusabira Yakuwa yeeyongere okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.

“OTUSONYIWE AMABANJA GAFFE”

9. Lwaki ebibi byaffe bigeraageranyizibwa ku ‘mabanja’?

9 Lwaki Yesu yakozesa ekigambo “amabanja,” ate nga ku mulundi omulala yakozesa ekigambo “ebibi”? (Mat. 6:12; Luk. 11:4) Emyaka nga 60 emabega, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi yannyonnyola bulungi ensonga eyo. Yagamba nti: ‘Bwe tukola ekibi, tuba ng’abeewoze ebbanja ku Yakuwa. Yakuwa atusuubira okumwagala n’okumugondera. N’olwekyo, bwe tukola ekibi, tuba tetumuwadde ekyo kye tugwanidde kumuwa. Bw’aba ayagadde, asobola okuggyawo enkolagana ennungi gye tulina naye. Bwe tukola ekibi tuba tetulaze nti twagala Katonda.’1 Yok. 5:3.

10. Yakuwa asinziira ku ki okutusonyiwa ebibi byaffe, era ekyo kyandituleetedde kuwulira tutya?

10 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yawaayo Omwana we nga ssaddaaka y’ekinunulo tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe! Twetaaga Yakuwa okutusonyiwa ebibi byaffe buli lunaku. Wadde nga ssaddaaka eyo yaweebwayo emyaka nga 2,000 emabega, tusaanidde okugitwala nga gy’obeera yaweereddwaayo leero. “Ekinunulo” ekyaweebwayo olw’obulamu bwaffe kya muwendo nnyo ne kiba nti tewali muntu n’omu atatuukiridde eyali asobola okukisasula. (Soma Zabbuli 49:7-9; 1 Peetero 1:18, 19.) N’olwekyo, bulijjo tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’ekirabo ekyo eky’omuwendo ennyo kye yatuwa. Weetegereze nti mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako mulimu ebigambo “ebibi byaffe,” so si “ebibi byange.” Ekyo kiraga nti ffenna abaweereza ba Katonda twetaaga ekinunulo. Ate era kiragala nti Yakuwa ayagala tufeeyo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo awamu n’eya abalala, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba nga baatukola ekibi. Ebiseera ebisinga, ebibi bakkiriza bannaffe bye batukola tebiba bya maanyi nnyo. Bwe tubasonyiwa kiba kiraga nti tubaagala era nti tusiima eky’okuba nti naffe Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe.Bak. 3:13.

Bw’oba oyagala Katonda akusonyiwe, naawe sonyiwa abalala (Laba akatundu 11)

11. Lwaki kikulu nnyo okusonyiwa abalala?

11 Eky’ennaku kiri nti olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu, tuyinza okusibira ekiruyi abo ababa batukoze ekibi. (Leev. 19:18) Singa tutandika okugenda nga tubuulira buli omu ku nsonga eyo, kiyinza okuleetera abalala okudda ku ludda lwaffe ekyo ne kireetawo enjawukana mu kibiina. Bwe tukkiriza embeera ng’eyo okugenda mu maaso, kiba kiraga nti tetusiima kisa kya Katonda awamu n’ekirabo eky’ekinunulo. Singa tetusonyiwa balala, ne Kitaffe ow’omu ggulu tasobola kutusonyiwa. (Mat. 18:35) Ensonga eyo Yesu yagikkaatiriza oluvannyuma lw’essaala gye yawa ng’ekyokulabirako. (Soma Matayo 6:14, 15.) Ate era Katonda bw’aba ow’okutusonyiwa ebibi byaffe, tulina okwewala okugufuula omuze okukola ebibi eby’amaanyi.1 Yok. 3:4, 6.

“TOTULEKA KUKEMEBWA”

12, 13. (a) Kiki ekyaliwo nga Yesu yaakamala okubatizibwa? (b) Lwaki bwe tugwa mu kukemebwa, tetusaanidde kunenya balala? (c) Yesu okusigala nga mwesigwa eri Katonda okutuukira ddala okufa kyalaga ki?

12 Okufumiitiriza ku ekyo ekyaliwo nga Yesu yaakamala okubatizibwa kisobola okutuyamba okutegeera ensonga lwaki tusaanidde okusaba Katonda nti: “Totuleka kukemebwa.” Omwoyo gwa Katonda gwatwala Yesu mu ddungu. Lwaki? “Okukemebwa Omulyolyomi.” (Mat. 4:1; 6:13) Ekyo kyanditwewuunyisizza? Nedda, naddala singa tulowooza ku nsonga lwaki Katonda yali asindise Omwana we ku nsi. Yamusindika olw’ensonga eyajjawo oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeemera obufuzi bwa Katonda. Waliwo ebibuuzo ebyajjawo ebyali byetaaga okuddibwamu. Ng’ekyokulabirako, kyandiba nti waaliwo ekitaatereera mu ngeri Katonda gye yatondamu omuntu? Kyali kisoboka omuntu atuukiridde okunywerera ku bufuzi bwa Katonda ne bwe yandibadde ng’akemebwa “omubi”? Era kyandiba nti abantu bandibadde mu bulamu obusingako obulungi nga tebafugibwa Katonda, nga Sitaani bwe yalaga? (Lub. 3:4, 5) Kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo okusobola okuddamu ebibuuzo ng’ebyo, naye kyandiyambye ebitonde byonna ebitegeera okukiraba nti okunywerera ku bufuzi bwa Yakuwa kya muganyulo nnyo.

13 Yakuwa mutukuvu, bwe kityo tasobola kukema muntu yenna kukola kibi. Mu kifo ky’ekyo, Omulyolyomi ye ‘Mukemi.’ (Mat. 4:3) Omulyolyomi ateekawo embeera nnyingi ezisobola okutuleetera okukemebwa. Naye kiri eri buli omu ku ffe okusalawo okugwa mu kukemebwa oba okukuziyiza. (Soma Yakobo 1:13-15.) Sitaani bwe yagezaako okukema Yesu, amangu ddala Yesu yaziyiza ebikemo ng’ajuliza Ekigambo kya Katonda. Bwe kityo, Yesu yanywerera ku bufuzi bwa Katonda. Kyokka Sitaani teyalekulira. Bayibuli egamba nti: ‘Yamuleka okutuusa lwe yandifunye akakisa omulundi omulala.’ (Luk. 4:13) Yesu yeeyongera okuziyiza Sitaani bw’atyo ne yeeyongera okukola Katonda by’ayagala. Kristo yakiraga nti awagira obufuzi bwa Yakuwa era yakiraga nti omuntu atuukiridde asobola okusigala nga mwesigwa ne mu mbeera enzibu ennyo. Kyokka kikulu okukijjukira nti Sitaani akola kyonna ekisoboka okulaba nti aleetera abagoberezi ba Yesu, nga mw’otwalidde naawe, okujeemera Yakuwa.

14. Kiki kye tulina okukola okusobola okwewala okugwa mu bikemo?

14 Olw’ensonga Sitaani gye yaleetawo mu lusuku Adeni, Yakuwa alese Sitaani okukozesa ensi eno okutukema. Naye Katonda si y’atutwala mu kukemebwa. Mu kifo ky’ekyo, atwesiga era mwetegefu okutuyamba. Olw’okuba Yakuwa ayagala tukozese eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, tatuziyiza kugwa mu bikemo. Bwe tuba ab’okwewala okugwa mu bikemo, tulina okukola ebintu bibiri. Tulina okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era tulina okunyiikirira okusaba. Naye Yakuwa addamu atya essaala zaffe?

Weeyongere okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa era ba munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira (Laba akatundu 15)

15, 16. (a) Ebimu ku bikemo bye tulina okuziyiza bye biruwa? (b) Singa omuntu agwa mu kikemo ani asaanidde okunenyezebwa?

15 Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu ogusobola okutuyamba okuziyiza ebikemo. Era, ng’ayitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye, Yakuwa atulabula ku bintu bye tulina okwewala, gamba ng’okumalira ebiseera byaffe, ssente zaffe, n’amaanyi gaffe ku bintu ebitali bikulu nnyo mu bulamu. Espen ne Janne babeera mu nsi emu eya Bulaaya engagga. Baamala emyaka mingi nga baweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu kitundu ekimu mu nsi yaabwe awali obwetaavu obusingako. Bwe baazaala omwana waabwe eyasooka, baalekera awo okuweereza nga bapayoniya, era kati balina n’omwana ow’okubiri. Espen agamba nti: “Bulijjo tusaba Yakuwa atuyambe tuleme kugwa mu kukemebwa, naddala mu kiseera kino nga tetukyamala biseera bingi mu mulimu gw’okubuulira nga bwe twakolanga edda. Tusaba Yakuwa atuyambe okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo era nga tuli banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.”

16 Ekikemo ekirala kye tulina okuziyiza kwe kulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Bwe tugwa mu kikemo ekyo, tetusobola kunenya Sitaani. Lwaki? Kubanga Sitaani awamu n’ensi ye tabasobola kutukaka kukola kintu kyonna kye tutayagala kukola. Abamu bagudde mu kikemo ekyo olw’okuba bakuumira ebirowoozo byabwe ku bintu ebibi. Naye okufaananako bakkiriza bannaffe bangi, naffe tusobola okuziyiza ekikemo ekyo.1 Kol. 10:12, 13.

“TULOKOLE OKUVA ERI OMUBI”

17. (a) Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa atulokole okuva eri omubi? (b) Kintu ki eky’essanyu ekinaatera okubaawo?

17 Tusobola okulaga nti twagala Yakuwa ‘atulokole okuva eri omubi,’ nga twewala okuba ‘ab’ensi’ ya Sitaani. Tulina okwewala okwagala ‘ensi ya Sitaani n’ebintu ebiri mu nsi.’ (Yok. 15:19; 1 Yok. 2:15-17) Naye ekyo kyetaagisa okufuba ennyo. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okulaba nga Yakuwa azzeemu okusaba kwaffe okwo ng’aggyawo Sitaani awamu n’ensi ye embi! Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti Sitaani yagobebwa mu ggulu n’asuulibwa ku nsi ng’akimanyi nti alina akaseera katono. Olw’okuba alina obusungu bungi, akola kyonna ekisoboka okulaba nti atuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. N’olwekyo, tulina okweyongera okusaba Yakuwa atulokole okuva eri omubi.Kub. 12:12, 17.

18. Okusobola okuwonawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa, kiki kye tulina okukola?

18 Oyagala okubeera mu nsi omutali Sitaani? Bwe kiba kityo, weeyongere okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, erinnya lya Katonda litukuzibwe, era n’ebyo by’ayagala bikolebwe mu nsi. Weesige Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago byo eby’omwoyo n’eby’omubiri. N’olwekyo, ba mumalirivu okukolera ku ebyo ebiri mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako.