Yayagala Nnyo Abantu
“Essanyu lyange lyali n’abaana b’abantu.”
1, 2. Ekimu ku bintu ebiraga nti Yesu ayagala nnyo abantu kye kiruwa?
OMWANA wa Katonda omubereberye bwe bukakafu obusingirayo ddala okulaga nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo. Yayoleka amagezi ag’ekitalo bwe yali ng’akolera wamu ne Kitaawe ng’omukozi omukugu. Lowooza ku ssanyu lye yafuna nga Kitaawe ateekateeka “eggulu” era ng’assaawo “emisingi gy’ensi.” Naye mu bintu byonna Kitaawe bye yatonda, okusingira ddala yayagala nnyo “abaana b’abantu.” (Nge. 8:22-31) Mu butuufu ne bwe yali tannajja ku nsi, Yesu yali ayagala nnyo abantu.
2 Oluvannyuma, Omwana wa Katonda omubereberye yakiraga nti mwesigwa eri Kitaawe, era nti ayagala nnyo Kitaawe awamu ‘n’abaana b’abantu’ bwe “yeggyako buli kye yalina” n’abeera mu kifaananyi ky’abantu. Ekyo yakikola asobole okuwaayo obulamu bwe “ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Baf. 2:5-8; Mat. 20:28) Nga Yesu yayoleka okwagala okw’amaanyi eri olulyo lw’omuntu! Yesu bwe yali ku nsi, Katonda yamuwa amaanyi okukola ebyamagero ebyalaga nti ayagala nnyo abantu. Mu ngeri eyo, Yesu yakiraga nti ajja kukolera abantu ebintu eby’ekitalo mu biseera eby’omu maaso.
3. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
Luk. 4:43) Yesu yali akimanyi nti okuyitira mu Bwakabaka obwo erinnya lya Kitaawe lyanditukuziddwa era ebizibu by’abantu byonna ne bigonjoolwa. Yesu bwe yabanga abuulira, yakolanga ebyamagero bingi ebyalaga nti afaayo nnyo ku bantu. Lwaki ekyo kikulu nnyo gye tuli? Kubanga ebyo bye yakola bituwa essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Kati ka twetegerezeeyo ebyamagero bina Yesu bye yakola.
3 Yesu okujja ku nsi era kyamusobozesa “okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (‘YALINA AMAANYI AG’OKUWONYA’
4. Kiki ekyaliwo Yesu bwe yasanga omusajja omulwadde w’ebigenge?
4 Bwe yali abuulira, Yesu yagenda mu bitundu by’e Ggaliraaya. Bwe yali eyo, Yesu yasanga omusajja eyalina obulwadde bw’ebigenge. (Mak. 1:39, 40) Omusajja oyo yali mulwadde nnyo ne kiba nti Lukka, eyali omusawo, yakiraga nti omusajja oyo yali ajjudde ebigenge. (Luk. 5:12) “[Omusajja oyo] bwe yalaba Yesu n’avunnama, n’amwegayirira ng’agamba nti: ‘Mukama wange bw’oba oyagala, osobola okunnongoosa.’ ” Yali akimanyi bulungi nti Yesu asobola okumuwonya naye yali yeetaaga okumanya obanga ddala Yesu yali ayagala okumuwonya. Kiki Yesu kye yandikoze? Kiki Yesu ky’ayinza okuba nga yalowooza bwe yatunuulira omusajja oyo ayinza okuba nga kati obulwadde obwo bwali bumuleetedde okulabika obubi ennyo? Yesu yandibadde ng’Abafalisaayo abaali bayisa obubi ennyo abalwadde b’ebigenge? Ggwe kiki kye wandikoze?
5. Kiki ekyaleetera Yesu okugamba omugenge gwe yali agenda okuwonya nti “Njagala”?
5 Kiyinzika okuba nti omusajja oyo teyayogerera waggulu nti “siri mulongoofu, siri mulongoofu!” ng’Amateeka ga Musa bwe gaali geetaagisa abagenge okukola. Naye ekyo Yesu teyakyogera nako. Mu kifo ky’ekyo, Yesu essira yalissa ku musajja oyo n’ebyetaago bye. (Leev. 13:43-46) Tetumanyi biki Yesu bye yali alowooza mu kiseera ekyo, naye tumanyi engeri gye yali awuliramu. Yesu yasaasira omusajja oyo era n’akola ekintu ekyewuunyisa ennyo. Yagolola omukono gwe n’akwata ku mugenge oyo, era n’agamba nti: “Njagala. Longooka.” Amangu ago ‘ebigenge byava’ ku musajja oyo. (Luk. 5:13) Mu butuufu, Yakuwa yawa Yesu amaanyi n’asobola okukola ekyamagero ekyo era n’asobola okulaga nti ayagala nnyo abantu.
6. Kiki ekyewuunyisa ku byamagero Yesu bye yakola, era biraga ki?
6 Amaanyi Katonda ge yawa Yesu gaasobozesa Yesu okukola ebyamagero ebitali bimu. Ng’oggyeko okuwonya abagenge, Yesu era yawonya abantu endwadde eza buli ngeri. Bayibuli egamba nti: “Abantu ne beewuunya nnyo bwe baalaba abaali batayogera nga boogera, abalema nga batambula, n’abazibe b’amaaso nga balaba.” (Mat. 15:31) Yesu okusobola okuwonya abalwadde kyali tekimwetaagisa kusooka kufuna bantu n’abaggyako ebitundu byabwe ebiramu n’abiteeka ku balwadde. Yawonyanga ebitundu by’omubiri ebyo byennyini ebyabanga ebirwadde! Ate era abalwadde yabawonyezangawo era oluusi abalwadde abamu yabawonyanga bali wala. (Yok. 4:46-54) Ebyokulabirako ebyo biraga ki? Biraga nti Kabaka waffe Yesu, alina amaanyi okuggyawo endwadde zonna era nti ekyo ayagala nnyo okukikola. Bwe tulowooza ku ngeri Yesu gye yayisangamu abantu kituleetera okuba abakakafu nti mu nsi empya obunnabbi buno bujja kutuukirira: “Anaasaasiranga abanaku n’abaavu.” (Zab. 72:13) Mu kiseera ekyo, Yesu ajja kuwonya abalwadde bonna kubanga ekyo ayagala nnyo okukikola.
“YIMUKA OSITULE AKATANDA KO OTAMBULE”
7, 8. Yesu yatuuka atya ku musajja eyasannyalala eyali ku kidiba ky’e Besuzasa?
7 Nga wayise emyezi egiwerako oluvannyuma lw’okuwonya omugenge mu Ggaliraaya, Yesu yava e Ggaliraaya n’agenda e Buyudaaya ne yeeyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe yali eyo, abantu bangi bateekwa okuba nga baawulira obubaka bwe yali abuulira era ne bakwatibwako nnyo olw’okwagala okw’amaanyi kwe yabalaga. Mu butuufu, Yesu yali ayagala nnyo okubuulira abaavu amawulire amalungi, okulangirira eri abawambe nti bajja kuteebwa, n’okusiba abo abaalina emitima egimenyese.
8 Omwezi gwa Nisaani bwe gwatuuka, Yesu yayoleka obuwulize eri Kitaawe n’agenda e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Ekibuga kyalimu abantu bangi abaali bazze ku mbaga eyo. Ku luuyi olw’ebukiikakkono obwa yeekaalu, waaliwo ekidiba ekiyitibwa Besuzasa, era eyo Yesu yasangayo omusajja omulwadde.
9, 10. (a) Lwaki abantu baagendanga ku kidiba ky’e Besuzasa? (b) Kiki Yesu kye yakola ng’ali ku kidiba ekyo, era ekyo kituyigiriza ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)
9 Abantu bangi abalwadde n’abakosefukosefu baakuŋŋaaniranga ku kidiba ky’e Besuzasa. Lwaki? Olw’ensonga etemanyiddwa, abantu baali balowooza nti singa omuntu omulwadde ayingira mu kidiba ekyo ng’amazzi gaakyo gasiikuuse, yandibadde awonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. Lowooza ku ngeri abalwadde abo gye baawulirangamu! Bayinza okuba nga baabanga beeraliikirivu nnyo, nga tebalina ssuubi, kyokka nga baagala okuwonyezebwa. Naye kiki ekyaleetera Yesu omusajja eyali atuukiridde era nga talina bulwadde bwonna okugenda ku kidiba ekyo? Yesu yakwatirwa ekisa omusajja eyali amaze ekiseera ekiwanvu nga mulwadde. Mu butuufu, obulwadde obwo bwali bumulumidde ekiseera kiwanvu n’okusinga ekyo Yesu kye yali amaze ng’ali ku nsi.
10 Lowooza ku nnaku eyali ku maaso g’omusajja oyo nga Yesu amubuuza obanga ayagala okuwona. Omusajja oyo yamuddamu mangu nti yali ayagala okuwona naye yali talaba ngeri ekyo gye kyandisobose okuva bwe kiri nti tewaaliwo n’omu eyali asobola kumuteeka mu kidiba ekyo. Oluvannyuma Yesu yagamba omusajja oyo okukola ekintu ekyali kirabika ng’ekitasoboka. Yamugamba asitule akatanda ke atambule. Omusajja oyo yakolera ku bigambo bya Yesu ebyo, n’asitula akatanda ke n’atambula. Ekyamagero ekyo kiraga bulungi ekyo Yesu ky’ajja okukola mu nsi empya. Era kiraga nti Yesu akwatirwa abantu ekisa. Mu butuufu, yafubanga okuyamba abo abaali mu bwetaavu. Ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kisaanidde okutukubiriza okweyongera okunoonya abantu abali mu kitundu kyaffe abanakuwalira ebintu ebibi ebigenda mu maaso mu nsi.
“ANI AKUTTE KU KYAMBALO KYANGE?”
11. Ebyo ebiri mu Makko 5:25-34 biraga bitya nti Yesu afaayo nnyo ku balwadde?
11 Soma Makko 5:25-34. Waliwo omukazi eyali amaze emyaka 12 ng’alina obulwadde obwali bumuleetera okuswala. Obulwadde obwo bwali bumukosezza mu mbeera zonna ez’obulamu bwe nga mw’otwalidde n’engeri gye yali asinzaamu Katonda. Wadde nga yali ‘alumiziddwa nnyo olw’obujjanjabi abasawo bangi bwe baamuwanga, era nga yali awaddeyo ebintu bye byonna,’ yali yeeyongera kuba bubi. Naye lumu, omukazi oyo yasala amagezi amalala okusobola okuwona. Yanoonya engeri y’okutuuka awali Yesu. Yayingira mu kibiina ky’abantu n’atuuka awali Yesu n’akwata ku kyambalo kye eky’okungulu. (Leev. 15:19, 25) Yesu yawulira ng’amaanyi gamuvuddemu era n’abuuza ani eyali amukutteko. ‘Ng’atidde era ng’akankana,’ omukazi oyo ‘yafukamira mu maaso ga Yesu n’amubuulira amazima gonna.’ Bwe yakiraba nti Kitaawe, Yakuwa, yali awonyezza omukazi oyo, Yesu yamulaga ekisa, n’amugamba nti: “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”
12. (a) Okusinziira ku ebyo bye twakalaba, kiki ky’oyinza okwogera ku Yesu? (b) Kyakulabirako ki Yesu kye yatuteerawo?
12 Yesu alina ekisa kingi nnyo. Afaayo nnyo ku bantu abalwadde. Sitaani ayagala tulowooze nti tetwagalibwa era nti tetulina mugaso. Ebyamagero Yesu bye yakola biraga nti atufaako nnyo era nti mwetegefu okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Tuli basanyufu nnyo okuba nti tulina Kabaka era Kabona Asinga Obukulu atwagala ennyo. (Beb. 4:15) Kiyinza obutatwanguyira kutegeerera ddala ngeri abo abalina obulwadde obw’olukonvuba gye bawuliramu, nnaddala bwe tuba nga tetulina bulwadde ng’obwo. Naye kikulu okukijjukira nti wadde nga Yesu yali talwalangako, yakwatirwanga abantu abalwadde ekisa. N’olwekyo, ka tufube okumukoppa.
‘YESU YAKAABA’
13. Okuzuukizibwa kwa Lazaalo kutuyigiriza ki ku Yesu?
13 Yesu kyamuyisanga bubi nnyo okulaba abantu nga bali mu nnaku. Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, Yesu yawulira bubi nnyo bwe yalaba ennaku abantu gye baalimu era bw’atyo “n’asinda” era “n’anakuwala nnyo.” Yanakuwala nnyo wadde nga yali akimanyi nti agenda kuzuukiza Lazaalo. (Soma Yokaana 11:33-36.) Yesu teyakitwala nti kimuswaza abalala okumulaba ng’akaaba. Abantu abaamulaba ng’akaaba baakiraba nti Yesu yali ayagala nnyo Lazaalo ne bannyina ba Lazaalo. Yesu yakiraga nti alina ekisa kingi bwe yakozesa amaanyi Katonda ge yamuwa okuzuukiza Lazaalo!
14, 15. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala nnyo okuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona? (b) Ebigambo ‘entaana ez’ekijjukizo’ biraga ki?
14 Bayibuli egamba nti Yesu “kye kifaananyi [kya Katonda] kyennyini.” (Beb. 1:3) N’olwekyo, ebyamagero Yesu bye yakola biraga nti ye ne Kitaawe baagala nnyo okumalawo obulumi, obulwadde, n’okufa. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ne Yesu bajja kuzuukiza abantu abalala bangi. Yesu yagamba nti: ‘Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana ez’ekijjukizo lwe banavaamu.’
15 Yesu yakozesa ebigambo ‘entaana ez’ekijjukizo.’ Ekyo kiraga nti Katonda ajjukira abantu abaafa. Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna eyatonda eggulu n’ensi, ajjukira buli kimu ekikwata ku bantu baffe abaafa, nga mw’otwalidde n’engeri ze baalina. (Is. 40:26) Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa abajjukira, Yakuwa n’Omwana we ekyo baagala nnyo okukikola. Okuzuukira kwa Lazaalo awamu n’okuzuukira kw’abantu abalala aboogerwako mu Bayibuli kulaga ekyo ekinaabaawo mu nsi empya ku kigero eky’ensi yonna.
KYE TUYIGIRA KU BYAMAGERO YESU BYE YAKOLA
16. Nkizo ki Abakristaayo bangi abanaasigala nga beesigwa eri Yakuwa gye bajja okufuna?
16 Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tujja kusobola okulaba ekimu ku byamagero ebisingayo okuba eby’ekitalo, nga kuno kwe kuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene. Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, wajja kubaawo n’ebyamagero ebirala bingi. Mu kiseera ekyo, abantu bonna bajja kuba balamu bulungi. (Is. 33:24; 35:5, 6; Kub. 21:4) Kuba akafaananyi ng’olaba abantu basuula eri galubindi, emiggo gy’abalema, obugaali bw’abalema, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Yakuwa akimanyi nti abo abanaawonawo ku Kalumagedoni bajja kuba beetaaga okuba abalamu obulungi kubanga bajja kuba balina emirimu mingi egy’okukola. Abantu abo bajja kukola omulimu ogw’okulongoosa ensi yonna efuuke olusuku lwa Katonda.
17, 18. (a) Ebyamagero Yesu bye yakola biraga ki? (b) Lwaki osaanidde okufuba okulaba nti obeera mu nsi ya Katonda empya?
17 Okuba nti Yesu yawonya abantu abalwadde kiyamba ‘ab’ekibiina ekinene’ abaliwo leero okuba abakakafu nti mu kiseera eky’omu maaso ajja kubawonya endwadde zaabwe zonna. (Kub. 7:9) Ebyamagero Omwana wa Katonda omubereberye bye yakola biraga nti ayagala nnyo abantu. (Yok. 10:11; 15:12, 13) Ate era okuba nti Yesu ayagala nnyo abantu kiraga nti ne Yakuwa ayagala nnyo buli omu ku baweereza be.
18 Abantu basinda, bali mu bulumi, era bafa. (Bar. 8:22) Mu butuufu, twetaaga nnyo ensi ya Katonda empya, kubanga mu nsi eyo abantu bajja kuwonyezebwa endwadde zaabwe zonna. Malaki 4:2 walaga nti abantu abanaaba bawonyezeddwa bajja ‘kuligita ng’ennyana ez’omu kisibo,’ nga booleka essanyu lyabwe oluvannyuma lw’okusumululwa okuva mu butali butuukirivu. Ka ffenna tukirage nti tusiima Yakuwa era nti tukkiririza mu bisuubizo bye nga tukola kyonna ekisoboka okulaba nti tubeera mu nsi eyo empya. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ebyamagero Yesu bye yakola ng’ali ku nsi byali bisonga ku mikisa egy’ekitalo abantu gye bajja okufuna mu bufuzi bwa Masiya!