OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Agusito 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Ssebutemba 28 okutuuka nga Okitobba 25, 2015.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

“Ebizinga Ebingi Ka Bijaganye”

Soma ku byafaayo bya Geoffrey Jackson, ali ku Kakiiko Akafuzi.

Fumiitiriza ku Kwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka

Kiki ekiyinza okukuleetera okuba omukakafu nti Yakuwa ali naawe ne mu mbeera enzibu?

Lindirira Enkomerero!

Waliwo ensonga enkulu bbiri lwaki tusaanidde okweyongera okulindirira enkomerero.

Weeteekereteekere Ensi Empya

Abantu ba Katonda balina bingi bye bafaanaganya n’abo ababa bateekateeka okugenda okubeera mu nsi endala.

Weegendereze Abo b’Ofuula Mikwano Gyo

Emikwano gyo si be bantu bokka b’otera okubeera nabo.

Bye Tuyigira ku Yowaana

Nkyukakyuka ki ze yalina okukola buli lunaku okusobola okugoberera Yesu?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

“Yakuwa Yabaleeta mu Bufalansa Muyige Amazima”

Endagaano wakati wa Bufalansa ne Poland eyateekebwako omukono mu 1919 yavaamu ebintu ebyali bitasuubirwa.