Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Ebizinga Ebingi Ka Bijaganye”

“Ebizinga Ebingi Ka Bijaganye”

Olunaku olwo nja kulwawo nga nkyalujjukira. Nnali wamu n’ab’oluganda abawerako okuva mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, nga tutudde mu kisenge Akakiiko Akafuzi mwe katuula. Twali tulinda ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakola ogw’Okuwandiika abaali banaatera okuyingira mu kisenge ekyo, tubeeko alipoota gye tubawa. Twali tumaze wiiki eziwerako nga twekenneenya ebizibu abavvuunuzi bye boolekagana nabyo era kati twali tusabiddwa okuwa amagezi ku ngeri y’okubigonjoolamu. Olukuŋŋaana olwo lwaliwo nga Maayi 22, 2000. Naye lwaki olukuŋŋaana olwo lwali lukulu nnyo? Nga sinnaba kuddamu kibuuzo ekyo, ka nsooke mbabuulire ebimu ku ebyo ebinkwatako.

Nnabatizibwa mu Queensland, nnaweereza nga payoniya mu Tasmania era nnaweereza ng’omuminsani mu Tuvalu, mu bugwanjuba bwa Samoa, ne mu Fiji

NNAZAALIBWA mu Queensland, Australia, mu 1955. Nga wayise ekiseera kitono, maama wange, Estelle, yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’abatizibwa mu mwaka ogwaddako. Ate taata wange, Ron, yabatizibwa nga wayiseewo emyaka 13. Nze nnabatizibwa mu Queensland mu 1968.

Okuva mu buto, mbaddenga njagala nnyo okusoma ebitabo n’okuyiga ennimi. Bwe twabanga tutambuddeko ng’amaka, bazadde bange baasoberwanga nnyo okulaba nga nze buli kiseera nnatuulanga mu mutto gw’emmotoka ogw’emabega nga ndiko bye nsoma mu kifo ky’okutunuulira ebifo eby’enjawulo bye twabanga tuyitamu. Kyokka eky’okuba nti nnali njagala nnyo okusoma kyannyamba nnyo ku ssomero. Bwe nnali nsoma siniya mu Glenorchy, ku kizinga ky’e Tasmania, nnawangula ebirabo bingi ku ssomero olw’okukola obulungi.

Kyokka ekiseera kyatuuka ne mba nga nnina okusalawo ku nsonga enkulu ennyo. Nnalina okusalawo obanga nnakiriza sikaala okugenda ku yunivasite oba okugigaana. Wadde nga nnali njagala nnyo okusoma, ndi musanyufu nnyo okuba nti maama yali annyambye okwagala ennyo Yakuwa okusinga emisomo. (1 Kol. 3:18, 19) N’olwekyo, bwe nnamala okufuna obuyigirize gavumenti bwe yeetaagisa buli muntu okufuna, nnasalawo okuva mu ssomero era ekyo bazadde bange baakikkiriza. Nnatandikirawo okuweereza nga payoniya mu Jjanwali 1971 nga ndi wa myaka 15.

Emyaka omunaana egyaddirira nnagimala mpeereza nga payoniya mu Tasmania. Mu kiseera ekyo, mwe nnawasiza Jenny Alcock, omuwala eyali alabika obulungi ow’omu Tasmania, era twamala emyaka ena nga tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Smithton ne Queenstown.

OKUWEEREZA KU BIZINGA EBIRI KU NNYANJA PACIFIC

Mu 1978 twagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu Port Moresby, Papua New Guinea. Ogwo gwe mulundi gwe twasooka okuva mu nsi yaffe okugenda mu nsi endala. Nzijukira emboozi omuminsani omu gye yawa mu lulimi oluyitibwa Hiri Motu. Wadde tewali kigambo na kimu kye nnategeera mu mboozi ye, emboozi eyo yansikiriza okwagala okufuuka omuminsani, okuyiga ennimi endala, n’okuwa emboozi nga ye. Kya ddaaki, nnali ndabye engeri gye nnali nsobola okukwataganya okwagala kwe nnina eri Yakuwa n’okwagala kwe nnina okw’okuyiga ennimi endala.

Kyatwewuunyisa nnyo okulaba nti bwe twali twakaddayo mu Australia, twaweebwa enkizo okuweereza ng’abaminsani ku kizinga ky’e Funafuti, mu Tuvalu, edda ekyayitibwanga Ekizinga Ellice. Twatuukayo mu Jjanwali 1979. Mu kiseera ekyo, mu Tuvalu mwalimu ababuulizi ababatize basatu bokka.

Nga ndi ne Jenny mu Tuvalu

Tekyali kyangu kuyiga lulimi Olutuvalu. “Endagaano Empya” kye kitabo kyokka ekyali mu lulimi olwo. Tewaaliyo nkuluze wadde amasomero agayigiriza olulimi olwo, bwe kityo twagezaako okuyiga ebigambo by’Olutuvalu ebiri wakati wa 10 ne 20 buli lunaku. Naye twagenda okukiraba nga bingi ku bigambo bye twali tuyize, twali tetutegeera makulu gaabyo. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okugamba abantu nti kikyamu okwenyigira mu by’obusamize, twabagambanga nti kikyamu okukozesa minzaani n’emiggo gy’abalema! Twali twetaaga okuyiga obulungi olulimi olwo tusobole okuyigiriza obulungi Abayizi ba Bayibuli abangi be twali tufunye. Bwe kityo, tweyongera okufuba okuluyiga. Nga wayise emyaka egiwerako, omu ku abo be twasooka okuyigiriza Bayibuli yatugamba nti: “Tuli basanyufu okuba nti kati musobola okwogera olulimi lwaffe. Mu kusooka, twali tetutegeera bye mwogera!”

Ku luuyi olulala, embeera gye twalimu yali etusobozesa bulungi okuyiga olulimi olwo. Okuva bwe kiri nti tewaaliwo mayumba ga kupangisa, twasulanga mu maka agamu ag’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kyatusobozesa okuba nga buli lunaku tuwulira olulimi olwo nga lwogerwa era kyatuyamba okumanyiira obulamu bw’ekyalo. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga tetwogera Lungereza, ekiseera kyatuuka ne kiba nti Olutuvalu lwe lulimi olwali lusinga okutwanguyira okwogera.

Mu kiseera kitono, abantu bangi baatandika okwagala okuyiga amazima. Naye twandikozesezza ki okubayigiriza? Tetwalina bitabo byaffe mu lulimi lwabwe. Kati olwo abantu abo bandisobodde batya okwesomesa? Bwe bandizzenga mu nkuŋŋaana, nnyimba ki ze bandiyimbye, biki bye bandikozesezza, era bandisobodde batya okuzeetegekera? Bandisobodde batya okukulaakulana ne babatizibwa? Abantu abo ab’emitima emirungi baali beetaaga okufuna emmere ey’eby’omwoyo mu lulimi lwabwe! (1 Kol. 14:9) Twebuuzanga nti, ‘Ddala ekiseera kyandituuse ne tufuna ebitabo byaffe mu Lutuvalu, olulimi olwogerwa abantu abatawera na 15,000?’ Yakuwa yaddamu ebibuuzo ebyo, era ekyo kyatukakasa ebintu bibiri: (1) Ayagala Ekigambo kye kibuulirwe “ku bizinga ebiri ewala,” era (2) ayagala abantu abeetoowaze era abawombeefu bafune obuddukiro mu linnya lye.—Yer. 31:10; Zef. 3:12.

OKUVVUUNULA EBITABO BYAFFE

Mu 1980 ofiisi y’ettabi yatukwasa omulimu ogw’okuvvuunula ebitabo, omulimu gwe twawulira nti twali tetulina bumanyirivu kugukola. (1 Kol. 1:28, 29) Mu kusooka, twagula ekyuma ekikuba ebitabo ekikadde okuva ku gavumenti era twakikozesa okukuba ebitabo bye twakozesanga mu nkuŋŋaana zaffe. Twavvuunula n’ekitabo ekiyitibwa The Truth That Leads to Eternal Life mu Lutuvalu era ne tukikuba nga tukozesa ekyuma ekyo. Nkyajjukira engeri bwino gye yali awunyamu n’amaanyi amangi ge twakozesa okusobola okukuba ebitabo ebyo, ate ng’ebbugumu lyali lingi nnyo. Mu kiseera ekyo, tetwalina masannyalaze!

Tekyali kyangu kuvvuunula bitabo byaffe mu Lutuvalu okuva bwe kiri nti tewaaliwo nkuluze na bitabo birala ebyali bisobola okutuyamba mu mulimu gwaffe. Naye oluusi twafunanga obuyambi mu ngeri gye twali tetusuubira. Ng’ekyokulabirako, lumu nneesanga nga nkyamye ew’omusajja eyali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Yali musajja mukadde eyali yawummula ogw’obusomesa. Amangu ddala yantegeeza nti tetuddangamu kugenda wuwe. Oluvannyuma, yaŋŋamba nti: ‘Nnina ekintu kimu kye njagala okukugamba. Engeri gye muvvuunulamu ebitabo byammwe si gye twogeramu mu Lutuvalu.’ Bwe nnabuuzaako abalala, nabo baŋŋamba nti ekyo kituufu. Bwe kityo, twakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa. Kyokka kyanneewuunyisa nnyo okulaba nti Yakuwa yatuyamba ng’ayitira mu muntu eyali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa naye nga yali asoma ebitabo byaffe!

Amawulire g’Obwakabaka Na. 30 mu Lutuvalu

Ekintu kye twasooka okukuba mu Lutuvalu nga kyakugabira abantu bonna kaali kapapula akaali kayita abantu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Oluvannyuma twakuba Amawulire g’Obwakabaka Na. 30, akaafulumira okumu n’ak’Olungereza. Nga kyali kya ssanyu nnyo okuwa abantu eky’okusoma mu lulimi lwabwe! Oluvannyuma lw’ekiseera, twatandika okukuba brocuwa n’ebitabo ebimu mu Lutuvalu. Mu 1983, ofiisi y’ettabi erya Australia yatandika okukuba Omunaala gw’Omukuumi ogw’empapula 24, emirundi ena buli mwaka. Ekyo kyatusobozesa okufunanga obutundu nga musanvu obw’okusoma buli wiiki. Ekyo kyakwata kitya ku bantu b’omu kitundu? Okuva bwe kiri nti abantu mu Tuvalu baagala nnyo okusoma, baayagala nnyo ebitabo byaffe. Buli kitabo kye twafulumyanga, kyalangirirwanga ku mawulire ku leediyo ya gavumenti, era ng’oluusi kyogerwako mu mitwe emikulu egigalimu! *

Bwe twabanga tuvvuunula, twasookanga kuvvuunula ebintu ku mpapula. Oluvannyuma, twabikubanga mu tayipu enfunda n’enfunda okutuusa lwe twalabanga nga biteredde ne tulyoka tuweereza empapula kwe biri okukubibwa mu kyapa ku ofiisi y’ettabi erya Australia. Lumu, ofiisi y’ettabi yasaba bannyinaffe babiri okuyingiza mu kompyuta ebintu bye twali tuvvuunudde, wadde nga baali tebamanyi Lutuvalu. Enkola eyo ey’okuyingiza ebintu mu kompyuta emirundi ebiri oluvannyuma ne bigeraageranyizibwa yayamba nnyo mu kukendeeza ensobi. Oluvannyuma lw’okukola ku ebyo bye twabanga tuvvuunudde, baatusindikiranga empapula kwe byabanga nga bakozesa poosita era bwe twamalanga okubyekenneenya nga naffe tubizzaayo ku ofiisi y’ettabi bisobole okukubibwa mu kyapa.

Naye kati ebintu bikyuse nnyo! Ennaku zino abavvuunuzi ebintu babiyingiza butereevu mu kompyuta. Ebiseera ebisinga, ebyo bye baba bavvuunudde bikolerwako awo we biba bivvuunuliddwa oluvannyuma ne bisindikibwa okukubibwa mu kyapa nga bakozesa Intaneeti. Kati tekikyetaagisa kudduka kugenda ku poosita kusindika oba kuggyayo mpapula okuli ebiba bivvuunuddwa.

ENKIZO ENDALA

Emyaka bwe gyagenda giyitawo, nze ne Jenny twaweebwa enkizo ezitali zimu mu bitundu bya Pacific. Bwe twava mu Tuvalu twasindikibwa okugenda okuweereza ku ofiisi y’ettabi erya Samoa mu 1985. Bwe twali eyo, twayambako mu mulimu gw’okuvvuunula ebitabo mu Lusamowa, mu Lutonga, ne mu Lutokelawu ate nga twali tukyakola ogw’okuvvuunula mu Lutuvalu. * Mu 1996, twaweebwa omulimu ogufaananako ng’ogwo ku ofiisi y’ettabi erya Fiji. Bwe twali eyo, twayambako mu mulimu gw’okuvvuunula ebitabo mu Lufiji, mu Lukiribati, mu Lunawulu, mu Lulotumani, ne mu Lutuvalu.

Nga nkozesa ebitabo by’Olutuvalu okuyamba abalala

Nneewuunya nnyo obunyiikivu baganda baffe ne bannyinaffe abakola ogw’okuvvuunula ebitabo byaffe bwe booleka. Omulimu ogwo si mwangu era gwetaagisa obumalirivu. Wadde kiri kityo, bakkiriza bannaffe abo abeesigwa bakoppa Yakuwa, Oyo ayagala amawulire amalungi okubuulirwa mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Ng’ekyokulabirako, bwe twali tuteekateeka okutandika okuvvuunula magazini y’Omunaala gw’Omukuumi mu Lutonga, nnayogerako n’abakadde bonna ab’omu Tonga ne mbabuuza ani eyali asobola okutendekebwa okukola ogw’okuvvuunula. Omu ku bakadde abo, eyalina omulimu omulungi ng’akola nga makanika, yasalawo okuleka omulimu gwe enkeera era n’atandikirawo okukola ogw’okuvvuunula ebitabo byaffe. Ekyo kyankwatako nnyo, okuva bwe kiri nti yalina amaka ag’okulabirira ate nga yali tamanyi wa gye yandiggye ssente okugalabirira. Naye Yakuwa yamulabirira awamu n’ab’omu maka ge, era yamala emyaka mingi ng’akola omulimu ogw’okuvvuunula.

Abavvuunuzi ng’abo abamalirivu, balina endowooza y’emu ng’ey’ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi abafaayo ennyo ku bwetaavu obw’eby’omwoyo obw’abo aboogera n’ennimi ezoogerwa abantu abatono. Ng’ekyokulabirako, lumu kyali kyebuuzibwa obanga kyali kikyetaagisa okugenda mu maaso n’okuvvuunula ebitabo mu Lutuvalu. Eky’okuddamu ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi kye baawa kyanzizaamu nnyo amaanyi. Baagamba nti: “Tetulaba nsonga yonna lwaki mwandirekedde awo okuvvuunula ebitabo mu Lutuvalu. Wadde ng’abantu batono nnyo aboogera olulimi olwo, abantu abo bakyetaaga okufuna amawulire amalungi mu lulimi lwabwe.”

Nga mbatiza mu nnyanja

Mu 2003, nze ne Jenny twaggibwa mu kitongole ekikola ogw’okuvvuunula ku ofiisi y’ettabi erya Fiji ne tutwalibwa okuweereza mu kitongole ekirabirira omulimu ogw’okuvvuunula ebitabo byaffe ekiri e Patterson, New York. Ekyo twakiraba ng’ekirooto obulooto! Twateekebwa ku ttiimu erabirira omulimu ogw’okutandika okuvvuunula ebitabo byaffe mu nnimi mwe bibadde tebivvuunulwa. Okumala emyaka egisukka mu ebiri, twagendanga mu nsi ezitali zimu okutendeka abavvuunuzi.

EBIMU KU BINTU EBIKULU EBYASALIBWAWO

Kati ka mbabuulire ebikwata ku lukuŋŋaana lwe nnayogeddeko ku ntandikwa. Omwaka gwa 2000 we gwatuukira, Akakiiko Akafuzi kaali kakirabye nti waaliwo obwetaavu obw’okwongera okuyamba abavvuunuzi mu nsi yonna okukola obulungi omulimu gwabwe. Abavvuunuzi abasinga obungi tebaali batendeke bulungi. Oluvannyuma lw’okuwa alipoota yaffe eri Akakiiko Akakola ogw’Okuwandiika, Akakiiko Akafuzi kaasalawo nti abavvuunuzi bonna okwetooloola ensi batendekebwe. Baali ba kubangulwa mu ngeri y’okutegeeramu olulimi Olungereza, mu bukodyo obw’okuvvuunula, ne mu ngeri y’okukolera awamu nga bavvuunula.

Biki ebivudde mu kutendekebwa okwo? Omutindo gw’ebitabo byaffe gweyongedde okulinnya. Ate era wabaddewo okweyongerayongera mu muwendo gw’ennimi ebitabo byaffe mwe bikubibwa. Bwe twali twakatandika okuweereza ng’abaminsani mu 1979, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi yali ekubibwa mu nnimi 82 zokka. Mu nnimi ezisinga obungi magazini eyo yafulumanga wayiseewo emyezi egiwerako ng’ey’Olungereza emaze okufuluma. Kyokka kati magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ekubibwa mu nnimi ezisukka mu 240, ate ng’ezisinga obungi zifulumira kumu n’ey’Olungereza. Kati tusobola okufuna emmere ey’eby’omwoyo mu nnimi ezisukka mu 700. Emyaka mingi emabega, ekyo twali tetusuubira nti kyandibaddewo.

Mu 2004, waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo Akakiiko Akafuzi kye kaasalawo. Kaasalawo okwongera ku sipiidi Bayibuli kwe yali evvuunulirwa. Waayita emyezi mitono, omulimu ogw’okuvvuunula Bayibuli ne gufuuka ensonga enkulu mu mirimu egikolebwa mu kitongole ekikola ogw’okuvvuunula ebitabo byaffe. Ekyo kisobozesezza Enkyusa ey’Ensi Empya okuvvuunulwa mu nnimi nnyingi. Omwaka gwa 2014 we gwaggwerako, enkyusa eyo yali emaze okukubibwa mu bitundutundu oba mu bulambalamba mu nnimi 128, nga mw’otwalidde n’ezo ezoogerwa mu bukiikaddyo bwa Pacific.

Nga nfulumya Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani mu Lutuvalu

Ekimu ku bintu ebyandeetera essanyu ery’ensusso kwe kusindikibwa okugenda ku lukuŋŋaana olunene mu Tuvalu mu 2011. Ensi eyo yali emaze emyezi egiwerako ng’eri mu kyeya eky’amaanyi era kyali kirabika nga gy’obeera olukuŋŋaana olwo lwali lugenda kusazibwamu. Naye, ku lunaku lwe twatuuka mu Tuvalu, enkuba yatonya era olukuŋŋaana olwo terwasazibwamu! Nnafuna enkizo ey’ekitalo okufulumya Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani mu Lutuvalu, nga luno lwe lulimi olusingayo okuba n’abantu abatono abalwogera olwafuna ekirabo kino. Ku nkomerero y’olukuŋŋaana olwo, enkuba era yaddamu n’etonnya. Bwe kityo, olukuŋŋaana lwagenda okugwa nga buli omu alina amazzi aga bulijjo n’amazzi ag’eby’omwoyo mangi!

Nga mbuuza ebibuuzo bazadde bange, Ron ne Estelle, ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Townsville, Australia, mu 2014

Eky’ennaku kiri nti Jenny, mukyala wange omwesigwa gwe nnamala naye emyaka 35, teyatuuka ku lunaku olwo. Yafa mu 2009 oluvannyuma lw’okumala emyaka kkumi ng’atawaanyizibwa kansa w’omu mabeere. Tewali kubuusabuusa nti bw’anaazuukira, ajja kuba musanyufu nnyo okuwulira ebikwata ku kufulumizibwa kwa Bayibuli mu Lutuvalu.

Yakuwa yansobozesa okuddamu okufuna omukyala omulungi ayitibwa Loraini Sikivou. Loraini ne Jenny baaweerezaako bombi ku Beseri ey’omu Fiji, era Loraini yali akola gwa kuvvuunula bitabo mu lulimi Olufiji. Loraini naye mukyala mwesigwa. Tuweerereza wamu Yakuwa era ffembi twagala nnyo okuyiga ennimi!

Nga ndi ne Loraini, nga tubuulira mu Fiji

Bwe ndowooza ku myaka gye mmaze nga mpeereza Yakuwa, kinzizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, afaayo ku bantu aboogera ennimi ez’enjawulo, ka babe bangi oba batono. (Zab. 49:1-3) Ekyo kyeyolekera bulungi mu ngeri abantu gye bakwatibwako ku mulundi gwe baba basoose okulaba ebitabo byaffe oba okuyimba ennyimba z’Obwakabaka mu lulimi lwabwe. (Bik. 2:8, 11) Nkyajjukira bulungi ebigambo Saulo Teasi, ow’oluganda nnamukadde ow’omu Tuvalu, bye yayogera. Oluvannyuma lw’okuyimba oluyimba lw’Obwakabaka mu Lutuvalu omulundi gwe ogusooka, yaŋŋamba nti: “Nsaba ogambe ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi nti ennyimba zaffe zinyuma nnyo mu Lutuvalu okusinga bwe kiri mu Lungereza.”

Mu Ssebutemba 2005, nnafuna enkizo gye nnali sisuubira. Nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga sikyasobola kukola mulimu gwa kuvvuunula, nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunzikiriza okweyongera okuwagira omulimu ogw’okuvvuunula ogukolebwa mu nsi yonna. Nga kisanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa afaayo nnyo ku byetaago eby’omwoyo eby’abantu be bonna, nga mw’otwalidde n’abo abali eyo mu bizinga by’Ennyanja Pacific! Mu butuufu ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, “Yakuwa afuuse Kabaka! Ensi k’esanyuke. Ebizinga ebingi ka bijaganye.”—Zab. 97:1, NW.

^ lup. 18 Okulaba engeri ebitabo byaffe gye byakwata ku bantu abamu, laba Watchtower eya Ddesemba 15, 2000, lup. 32; eya Agusito 1, 1988, lup. 22; ne Awake! eya Ddesemba 22, 2000, lup. 9.

^ lup. 22 Okumanya ebisingawo ebikwata ku mulimu gw’okuvvuunula mu Samoa, laba akatabo Yearbook aka 2009, lup. 120-121, 123-124.