Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lindirira Enkomerero!

Lindirira Enkomerero!

“Newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga!”—KAAB. 2:3.

ENNYIMBA: 128, 45

1, 2. Okuva edda n’edda, kiki abaweereza ba Katonda kye babadde bakola?

OKUVA edda n’edda, abaweereza ba Yakuwa babaddenga baliko obunnabbi bwe balindirira okutuukirira. Ng’ekyokulabirako, Yeremiya yalagula nti Abababulooni bandizikirizza Yuda, era ekyo kyatuukirira mu mwaka gwa 607 E.E.T. (Yer. 25:8-11) Isaaya, eyalagula nti Yakuwa yandiggye Abayudaaya mu buwambe n’abakomyawo ku butaka, yagamba nti: “Balina omukisa bonna abamulindirira.” (Is. 30:18) Mikka, eyali omukakafu nti obunnabbi obukwata ku bantu ba Katonda bwandituukiridde, yagamba nti: “Nnaatunuuliranga Mukama.” (Mik. 7:7) Era abaweereza ba Katonda baamala ebyasa bingi nga balindirira okutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku Masiya, oba Kristo.—Luk. 3:15; 1 Peet. 1:10-12. *

2 N’abaweereza ba Katonda leero balindirira okutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku Bwakabaka bwa Masiya. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa agenda kukozesa Obwakabaka obwo okuzikiriza abantu ababi era anunule abantu be okuva mu nsi ya Sitaani eno embi. (1 Yok. 5:19) N’olwekyo, ka tusigale nga tuli bulindaala nga tukimanyi nti enkomerero y’enteekateeka eno eneetera okutuuka.

3. Bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tulindirira enkomerero, kibuuzo ki kye tuyinza okuba nga twebuuza?

3 Twesunga nnyo ekiseera ebyo Katonda by’ayagala lwe biriba nga ‘bikolebwa mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ (Mat. 6:10) Kyokka, bwe kiba nti tumaze emyaka mingi nga tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tuyinza okutandika okwebuuza, ‘Lwaki tusaanidde okweyongera okulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu?’ Ka tulabe eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.

LWAKI TUSAANIDDE OKWEYONGERA OKULINDIRIRA ENKOMERERO?

4. Nsonga ki enkulu esaanidde okutukubiriza okusigala nga tuli bulindaala?

4 Bayibuli etubuulira ekyo kye tusaanidde okukola nga tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Yesu yagamba abagoberezi be ‘okubeera obulindaala’ n’okusigala nga ‘batunula.’ (Mat. 24:42; Luk. 21:34-36) Eyo nsonga nkulu nnyo eyanditukubirizza okweyongera okulindirira. Ekibiina kya Yakuwa kitaddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Ebitabo bye kikuba bizze bitukubiriza ‘okulindirira n’okukuumira mu birowoozo okujja kw’olunaku lwa Yakuwa’ era n’okukuumira ebirowoozo byaffe ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya.—Soma 2 Peetero 3:11-13.

5. Lwaki kikulu nnyo leero okuba obulindaala?

5 Kikulu nnyo leero okuba obulindaala n’okusinga bwe kyali eri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Lwaki? Kubanga tuli mu kiseera eky’okubeerawo kwa Kristo. Akabonero akalaga okubeerawo kwa Kristo kaatandika okweyoleka mu 1914. Ng’ekyokulabirako, nga Yesu bwe yagamba, embeera mu nsi yeeyongedde okwonooneka era n’amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwa mu nsi yonna, ekiraga nti tuli mu kiseera ‘eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’ (Mat. 24:3, 7-14) Okuva bwe kiri nti Yesu teyatubuulira buwanvu bwa kiseera ekyo, twetaaga okuba obulindaala okusinga bwe kyali kibadde.

6. Tumanya tutya nti embeera y’ensi ejja kweyongera okwonooneka nga bwe tweyongera okusemberera enkomerero?

6 Abamu bayinza okuba nga beebuuza: Kyandiba nti “amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu” ga kubaawo mu kiseera eky’omu maaso ng’embeera y’ensi yeeyongedde okwonooneka? Bayibuli eraga nti embeera y’ensi yandigenze yeeyongera okwonooneka “mu nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Tim. 3:1, 13; Mat. 24:21; Kub. 12:12) N’olwekyo, wadde ng’embeera y’ensi mbi nnyo kati, tusuubira nti ejja kweyongera okwonooneka.

7. Ebyo ebiri mu Matayo 24:37-39 bituyigiriza ki ku mbeera eyandibaddewo mu nsi mu nnaku ez’enkomerero?

7 Naye olowooza ensi ejja kwonooneka kutuuka ku kigero ki ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ tekinnatandika? (Kub. 7:14) Ng’ekyokulabirako, olowooza nti ekiseera kijja kutuuka mu buli nsi mube nga mulimu entalo, nga buli omu talina mmere, era nga buli mu maka mulimu omulwadde? Singa ekyo kibaawo, tewali muntu n’omu yandisigadde ng’awakana nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira. Kyokka, Yesu yagamba nti abantu abasinga obungi abandibaddewo mu kiseera ky’okubeerawo kwe bandibadde ‘tebeefiirayo.’ Bandibadde bali mu bulamu obwa bulijjo, era olunaku lwa Yakuwa bwe lwandizze, lwandibaguddeko bugwi. (Soma Matayo 24:37-39.) N’olwekyo, Ebyawandiikibwa tebiraga nti mu nnaku ez’enkomerero, embeera y’ensi yandyonoonese nnyo ne kireetera buli muntu okukkiriza nti enkomerero eri kumpi.—Luk. 17:20; 2 Peet. 3:3, 4.

8. Abagoberezi ba Yesu abali ‘obulindaala’ bakakafu ku ki?

8 Ku luuyi olulala, akabonero ako okusobola okutuukiriza ekigendererwa kyako, kandibadde keeyoleka ku kigero ekimala okuyamba abagoberezi ba Yesu abali ‘obulindaala’ okukategeera. (Mat. 24:27, 42) Era bwe kityo bwe kibadde okuva mu 1914. Okuva mu mwaka ogwo ebyo ebiri mu kabonero ako bibadde byeyoleka bulungi. Tewali kubuusabuusa nti tuli mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ nga kino kye kiseera ekigereke ekibaawo ng’ensi ya Sitaani tennazikirizibwa era ekizingiramu n’okuzikirizibwa kwayo.

9. Lwaki tusaanidde okweyongera okulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu?

9 Kati olwo lwaki tusaanidde okulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu? Okusookera ddala, tugondera Yesu Kristo. Ate era tulaba ebyo ebiri mu kabonero k’okubeerawo kwe nga bituukirira. Tukkiriza nti enkomerero eri kumpi, si lwa kuba nti tumala gakkiriza buli kimu, naye lwa kuba nti tulina obukakafu obw’enkukunala okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira. N’olwekyo, tulina okuba obulindaala n’okwetegekera enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.

TULINDIRIRE KUTUUSA DDI?

10, 11. (a) Lwaki Yesu yagamba abagoberezi be okuba obulindaala? (b) Kiki Yesu kye yagamba abagoberezi be okukola singa bawulira nti enkomerero eruddewo okutuuka? (Laba ekifaananyi ku lupapula 14.)

10 Bangi ku ffe tumaze emyaka mingi nga tutunula mu by’omwoyo. Naye, ka tube nga tumaze bbanga ki nga tulindirira, tusaanidde okweyongera okuba obulindaala. Tulina okuba abeetegefu, kibe nti Yesu w’ajjira okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu atusanga tuli bulindaala. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi ddi ekiseera ekigereke we kinaatuukira. Kifaananako omusajja eyaleka ennyumba ye, n’agenda mu nsi ey’ewala n’awa abaddu be obuyinza okugirabirira. Buli omu n’amuwa omulimu ogw’okukola era n’alagira omukuumi w’oluggi okubeera obulindaala. N’olwekyo, mubeere bulindaala, kubanga temumanyi ddi nnyini nnyumba w’alijjira oba kawungeezi, oba kiro mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo; aleme kubasanga nga mwebase singa aba abaguddeko bugwi. Naye kye mbabuulira mmwe nkibuulira bonna, Mubeere bulindaala.”—Mak. 13:33-37.

11 Abagoberezi ba Yesu bwe baakimanya nti Yesu yali atandise okufuga nga Kabaka mu 1914, baakiraba nti enkomerero yali esobola okutuuka essaawa yonna. Bwe kityo, baagyetegekera nga bongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Yesu yakiraga nti yali ayinza okujja “enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo.” Kati olwo kiki abagoberezi be kye bandibadde balina okukola? Yesu yagamba nti: “Mubeere bulindaala.” N’olwekyo, ka tube nga tuwulira nti tumaze ekiseera kiwanvu nga tulindirira, ekyo tekisaanidde kutuleetera kulowooza nti enkomerero eri wala oba nti tejja kujja mu kiseera kyaffe.

12. Kaabakuuku yabuuza ki Yakuwa, era Yakuwa yamuddamu atya?

12 Lowooza ku nnabbi Kaabakuuku, eyalagirwa okulangirira nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa. We yatandikira omulimu ogwo, bannabbi abalala baali bamaze emyaka mingi nga balangirira ebikwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Kaabakuuku yali akiraba nti ebikolwa ebibi byali byeyongedde obungi. Eyo ye nsonga lwaki yabuuza Yakuwa nti: “Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba?” Mu kifo ky’okuddamu ekibuuzo kye butereevu, Yakuwa yakakasa nnabbi we oyo omwesigwa nti okuzikirizibwa okwali kulaguddwa tekwali kwa ‘kulwawo’ kutuukirira. Katonda yagamba Kaabakuuku ‘akulindirire.’—Soma Kaabakuuku 1:1-4; 2:3.

13. Ndowooza ki Kaabakuuku gye yali asobola okufuna, era lwaki ekyo tekyandibadde kya magezi?

13 Watya singa Kaabakuuku yaggwamu amaanyi n’atandika okugamba nti: ‘Mmaze ebbanga ddene nga mpulira nti Yerusaalemi kigenda kuzikirizibwa. Kirabika okuzikirizibwa okwo kukyali wala. Tekinneetaagisa kweyongera kulangirira nti ekibuga kino kinaatera okuzikirizibwa. Omulimu guno ka ngulekere abalala.’ Singa Kaabakuuku yalowooza bw’atyo, yandibadde afiirwa enkolagana ye ne Yakuwa era oboolyawo yandibadde afiirwa obulamu bwe ng’Abababulooni bazikiriza Yerusaalemi!

14. Lwaki tetujja kwejjusa olw’okusigala nga tuli bulindaala?

14 Tewali kubuusabuusa nti bwe tunaaba mu nsi empya kijja kutuleetera essanyu lingi bwe tunaafumiitiriza ku ky’okuba nti obunnabbi bwonna obukwata ku nnaku ez’enkomerero bwatuukirira. Okufumiitiriza ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, kijja kutuleetera okwongera okwesiga Yakuwa n’okuba abakakafu nti ebisuubizo bye byonna ebinaaba tebinnatuukirira bijja kutuukirira. (Soma Yoswa 23:14.) Tujja kusiima nnyo Katonda, oyo ‘eyateeka ebiseera n’ebiro mu buyinza bwe,’ okuba nti bulijjo yatujjukizanga nti ‘enkomerero y’ebintu byonna yali esembedde.’—Bik. 1:7; 1 Peet. 4:7.

BAAKO KY’OKOLAWO NGA BW’OLINDIRIRA!

Oyoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira? (Laba akatundu 15)

15, 16. Lwaki tusaanidde okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira mu kiseera kino eky’enkomerero?

15 Tusuubira nti ekibiina kya Yakuwa kijja kweyongera okutukubiriza okuba obulindaala. Okujjukizibwa ng’okwo kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu n’obuteerabira nti ebyo ebiri mu kabonero akalaga okubeerawo kwa Kristo bituukirira. Kati olwo kiki kye tusaanidde okukola mu kiseera kino kye tulimu? Tusaanidde okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi!—Mat. 6:33; Mak. 13:10.

16 Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Bwe tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, tusobola . . . okutaasa abantu ne batafiirwa bulamu bwabwe ng’ensi eno embi ezikirizibwa.” Mwannyinaffe oyo amanyi bulungi kye kitegeeza okutaasibwa akatyabaga, kubanga ye n’omwami we be bamu ku abo abaawonawo emmeeri eyitibwa Wilhelm Gustloff bwe yabbira mu 1945. Ne mu mbeera ng’eyo enzibu ennyo, omuntu asobola okulemererwa okumanya ekyo ddala ekisinga obukulu. Mwannyinaffe oyo agamba nti emmeeri eyo bwe yali ebbira, waliwo omukazi eyali aleekaanira waggulu nti: “Ensawo yange! Ensawo yange! Amajolobera gange! Amajolobera gange gali eri gye bateeka emigugu. Ebintu byange byonna bisaanyeewo!” Ku luuyi olulala, abasaabaze abamu baali bakola butaweera okutaasa abantu abaali bagudde mu nnyanja. Okufaananako abasaabaze abo abaalina omwoyo ogw’okwefiiriza, naffe tukola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bw’abantu. Tukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira tusobole okuyamba abantu okuwonawo ng’ensi eno ezikirizibwa.

Osalawo mu ngeri ey’amagezi kikuyambe obuteerabira bukulu bw’ebiseera bye tulimu? (Laba akatundu 17)

17. Lwaki tuli bakakafu nti enkomerero esobola okujja essaawa yonna?

17 Ebintu ebiriwo mu nsi biraga bulungi nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira era nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka. N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti wakyasigaddeyo ekiseera kiwanvu ‘amayembe ekkumi n’ensolo’ ebyogerwako mu Okubikkulirwa 17:16 okulumba Babulooni Ekinene, amadiini gonna ag’obulimba. Tusaanidde okukijjukira nti Katonda y’ajja ‘okukiteeka mu mitima gyabyo’ okulumba amadiini ag’obulimba era ekyo kisobola okubaawo mu bwangu, essaawa yonna! (Kub. 17:17) Mu butuufu, enkomerero eneetera okutuuka. N’olwekyo, tusaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku bigambo bya Yesu bino: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya, ku kunywa, n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku olwo luleme kubagwako bugwi ng’ekyambika.” (Luk. 21:34, 35; Kub. 16:15) Ka tweyongere okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu nga tuli bakakafu nti ayamba abo bonna abamulindirira.—Is. 64:4.

18. Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

18 Nga bwe tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tusaanidde okukolera ku bigambo by’omuyigirizwa Yuda bino: ‘Abaagalwa, mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, era musabe nga mulina omwoyo omutukuvu, musobole okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga bwe mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okunaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Yud. 20, 21) Kati olwo, tuyinza tutya okukiraga nti tulindirira ensi empya Katonda gye yasuubiza era nti tugyesunga? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.

^ lup. 1 Obumu ku bunnabbi obukwata ku Masiya n’engeri gye bwatuukirizibwamu bulagibwa mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? ku lupapula 200.