OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ssebutemba 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Okitobba 26 okutuuka nga Noovemba 29, 2015.

Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?

Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, tusobola okweyongera okukula mu by’omwoyo.

Omuntu Wo ow’Omunda Akola Bulungi?

Laba engeri gy’ayinza okukuyamba okusalawo ebikwata ku by’obujjanjabi, eby’okwesanyusaamu, n’omulimu gw’okubuulira.

“Munywerere mu Kukkiriza”

Ebyo ebyaliwo nga Peetero atambulira ku mazzi bituyigiriza ki ku kukkiriza?

Yakuwa Akiraze Atya nti Atwagala Nnyo?

Kikuzibuwalira okukikkiriza nti Yakuwa akwagala nnyo?

Tuyinza Tutya Okulaga nti Twagala Yakuwa?

Okwagala tekulina kukoma ku nneewulira eba mu mutima gwaffe.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi

Soma ku byafaayo bya Melita Jaracz, eyamala emyaka egisukka mu 50 mu buweereza obw’ekiseera kyonna n’omwami we, Ted Jaracz, eyali ku Kakiiki Akafuzi.