Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi

NNAZAALIBWA mu 1927 mu kabuga Wakaw, Saskatchewan, Canada. Taata ne maama baazaala abaana musanvu, abalenzi bana n’abawala basatu. Bwe kityo, okuviira ddala mu buto nnali mmanyi kye kitegeeza okubeera n’abantu.

Mu myaka gya 1930 eby’enfuna mu nsi yonna byagootaana nnyo era n’amaka gaffe gaakosebwa nnyo. Wadde nga tetwali bagagga, tetwabulwanga byakulya. Twalina enkoko n’ente, n’olwekyo, ebintu gamba ng’amagi, amata, n’omuzigo tebyaggwanga waka. Mu butuufu, ffenna awaka twabanga n’emirimu mingi egy’okukola.

Waliwo ebintu bingi bye nzijukira ebyaliwo mu kiseera ekyo ebindeetera essanyu. Ng’ekyokulabirako, taata bwe yagendanga mu kibuga okutunda ebintu ebyavanga mu faamu yaffe, yakomangawo ne bbookisi ejjudde apo. Ffenna awaka twalyanga apo buli lunaku!

TUYIGA AMAZIMA

Bazadde bange baatandika okuyiga amazima nga ndi wa myaka mukaaga. Johnny, omwana ow’obulenzi gwe baasooka okuzaala, yafa nga wayise ekiseera kitono nga yaakazaalibwa. Bazadde bange baabuuza omukulembeze w’eddiini nti, “Johnny ali ludda wa?” Yabagamba nti, okuva bwe kiri nti yafa tannabatizibwa, yali tagenze mu ggulu, wabula yali alina ekifo ekirala mwe yali agenze. Omukulembeze w’eddiini oyo era yagamba nti singa bazadde bange bamuwa ssente yali asobola okusabira Johnny n’ava mu kifo ekyo n’agenda mu ggulu. Singa ggwe wali bazadde bange, wandiwulidde otya? Taata ne maama baggwaamu amaanyi era tebaddamu kwogera na mukulembeze wa ddiini oyo. Kyokka, beeyongera okwebuuza wa Johnny gye yali.

Lumu maama yafuna akatabo akoogera ku ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Yakasoma n’obwegendereza. Taata bwe yakomawo awaka, maama yamugamba nti: “Kati mmanyi Johnny gy’ali! Johnny yeebase, naye ekiseera kijja kutuuka azuukuke.” Akawungeezi ako, taata yasoma akatabo ako n’akamalako. Maama ne taata baabudaabudibwa nnyo okukimanya nti Bayibuli egamba nti abafu tebaliiko kye bamanyi era nti mu kiseera eky’omu maaso bajja kuzuukira.​​—⁠Mub. 9:​5, 10; Bik. 24:15.

Ebyo maama ne taata bye baasoma mu katabo ako byakyusa obulamu bwaffe, era byatuyamba okubudaabudibwa n’okufuna essanyu. Baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era ne batandika okugenda mu nkuŋŋaana mu kibiina ky’e Wakaw, ekyalimu ab’oluganda bangi enzaalwa za Ukraine. Waayita ekiseera kitono, maama ne taata ne batandika okubuulira.

Nga wayise ekiseera kitono, twasengukira mu British Columbia era ab’oluganda mu kibiina kyaffe ekipya baatwaniriza n’essanyu. Buli lwe nzijukira engeri gye twategekangamu Omunaala gw’Omukuumi ng’amaka, kindeetera essanyu lingi. Ffenna tweyongera okwagala Yakuwa n’okwagala amazima. Mu butuufu, kyali kyeyoleka bulungi nti ddala Yakuwa yali atuwa emikisa.

Bwe twali tukyali bato, ffe abaana tekyatwanguyiranga kubuulira balala bikwata ku nzikiriza yaffe. Naye ekintu ekimu ekyatuyamba kwe kuba nti nze ne muganda wange omuto Eva twegezangamu mu nnyanjula ez’okukozesa nga tubuulira era twateranga okuweebwa enkizo okulaga ebyokulabirako mu lukuŋŋaana lw’obuweereza. Wadde nga twalina ensonyi, twayiga okwogera n’abantu ebikwata ku Bayibuli. Mu butuufu, ndi musanyufu nnyo olw’engeri gye twatendekebwamu okubuulira!

Ekimu ku bintu bye nnayagalanga ennyo nga nkyali muto kwe kubeerangako awamu n’ab’oluganda abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, omulabirizi w’ekitundu ayitibwa Jack Nathan bwe yakyaliranga ekibiina kyaffe, yasulanga waffe. * Yatubuuliranga ebyokulabirako bingi era yatusiimanga olw’ebirungi bye twakolanga. Ekyo kyatuleetera okwagala okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.

Bwe nnali nkyali muto, nnagambanga nti, “Bwe nnaakula, njagala kubeera ng’Ow’oluganda Nathan.” Mu butuufu, ekyokulabirako ow’oluganda oyo kye yateekawo kyannyamba okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. We nnaweereza emyaka 15, nnali mmaliridde okuweereza Yakuwa. Nze ne Eva twabatizibwa mu 1942.

EBINTU EBYAGEZESA OKUKKIRIZA KWAFFE

Mu kiseera kya Ssematalo II omwoyo gwa ggwanga gwali gubunye buli wamu. Bwe kityo, omusomesa omu ayitibwa Scott, yagoba baganda bange babiri ne mwannyinaze ku ssomero olw’okugaana okukubira bbendera saluti. Oluvannyuma yagamba omusomesa wange nange angobe. Naye omusomesa wange yamugamba nti, “Ensi yaffe ewa abantu eddembe okwesalirawo obanga baneenyigira mu mikolo egitumbula mwoyo gwa ggwanga oba nedda.” Wadde nga Scott yagezaako okupikiriza omusomesa wange angobe, omusomesa wange yamugamba nti, “Sijja kumugoba.”

Scott yamugamba nti: “Olina okugoba Melita. Singa tomugoba, ŋŋenda kukuloopa.” Omusomesa wange yagamba bazadde bange nti singa tangoba, yali wa kufiirwa omulimu gwe, era nti ekyo yalina okukikola wadde nga yali tayagala kukikola. Wadde kyali kityo, ebintu abaana bye baasomanga ku ssomero twasobolanga okubifuna ne tubisomera awaka. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twasengukira mu kitundu ekirala, ne tufuna essomero eddala.

Mu kiseera ky’olutalo, ebitabo byaffe byawerebwa, naye twagenda mu maaso nga tubuulira nnyumba ku nnyumba nga tukozesa Bayibuli yokka. N’ekyavaamu, twakuguka mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka nga tukozesa butereevu Ebyawandiikibwa, era ekyo kyatuyamba okukula mu by’omwoyo.

NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Nnali njagala nnyo eby’okukola enviiri era nnawangula ebirabo ebiwerako

Nze ne Eva olwamala okusoma twatandika okuweereza nga bapayoniya. Nnafuna omulimu mu dduuka eritunda eby’okulya. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandika okusoma eby’okukola enviiri, era ekyo kyantwalira emyezi mukaaga. Nnafuna omulimu mu saaluuni, nga nkola ennaku bbiri mu wiiki, era emirundi ebiri mu mwezi nnayigirizanga abantu okukola enviiri. Ekyo kyansobozesa okweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya.

Mu 1955, nnayagala okugenda ku lukuŋŋaana olunene olwali lugenda okubeera mu kibuga New York, Amerika, ne mu kibuga Nuremberg, Bugirimaani. Naye bwe nnali sinnasimbula kugenda mu New York, nnasisinkana Ow’oluganda Nathan Knorr eyali avudde ku kitebe kyaffe ekikulu. Ye ne mukyala we baali bazze ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Vancouver, Canada. Nga bali eyo, nnasabibwa okukola ku nviiri za mukyala wa Knorr. Ow’oluganda Knorr yasanyuka nnyo olw’engeri gye nnali nkozeemu enviiri za mukyala we era n’ayagala okwogerako nange. Bwe twali tunyumya, nnamugamba nti nnali nteekateeka okugenda mu New York nga sinnagenda mu Bugirimaani. Yansaba okugenda mpeererezeeko ku Beseri y’omu Brooklyn okumala ennaku mwenda.

Olukuŋŋaana olunene olwali mu New York lwali lwa njawulo nnyo gye ndi. Ku lukuŋŋaana olwo nnasisinkana ow’oluganda omuto ayitibwa Theodore (Ted) Jaracz. Bwe nnali nnaakamusisinkana, kyanneewuunyisa nnyo bwe yambuuza nti, “Oli payoniya?” Nnamuddamu nti, “Nedda.” Mukwano gwange LaVonne bwe yawulira kye nnaddamu, yagamba nti “Wamma, payoniya.” Ted yasoberwa n’abuuza LaVonne nti, “Ky’ogamba omumanyi okusinga bwe yeemanyi?” Nnagamba Ted nti nnali nnyimirizzaamu okuweereza nga payoniya, naye nti nnali ŋŋenda kuddamu okuweereza nga payoniya amangu ddala nga nzizeeyo eka.

NFUMBIRWA OMUSAJJA AYAGALA ENNYO YAKUWA

Ted yazaalibwa mu 1925 mu Kentucky, Amerika, era yabatizibwa nga wa myaka 15. Wadde nga teri n’omu ku b’eŋŋanda ze eyayiga amazima, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga wayise emyaka ebiri bukya abatizibwa. Eyo ye yali entandikwa y’obuweereza bwe obw’ekiseera kyonna, bwe yamalamu emyaka nga 67.

Mu Jjulaayi 1946, nga wa myaka 20, Ted yamaliriza emisomo gye mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’omusanvu. Oluvannyuma yatandika okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Cleveland, Ohio. Nga wayise emyaka ena, yasindikibwa okulabirira ettabi lya Australia.

Ted yaliwo ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Nuremberg, Bugirimaani, era twamala akaseera nga tunyumya. Twatandika okuba n’enkolagana ey’oku lusegere. Kyansanyusa nnyo okukimanya nti yali aweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Yali munyiikivu, nga wa buvunaanyizibwa, nga wa kisa, era ng’afaayo nnyo ku balala. Mu butuufu, yakulembezanga ebyo abalala bye baagala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, Ted yaddayo mu Australia ate nze ne nzirayo mu Vancouver. Kyokka tweyongera okuwuliziganya nga twewandiikira amabaluwa.

Nga wayise emyaka ng’etaano ng’ali mu Australia, Ted yakomawo mu Amerika era n’asindikibwa okuweereza nga payoniya mu Vancouver. Kyansanyusa nnyo okulaba ng’ab’eka bonna bamwagala nnyo. Mwannyinaze omukulu, Michael, yali ankuuma butiribiri, era bwe yalabanga omulenzi yenna ng’anneeyogerezaako, yankomangako. Kyokka, Michael bwe yalaba Ted, yamwagalirawo. Michael yaŋŋamba nti: “Melita, ofunye omusajja omulungi. Fuba okulaba nti omuyisa bulungi oleme kumufiirwa.”

Twafumbiriganwa mu 1956, era twaweerereza wamu mu buweereza obw’ekiseera kyonna okumala emyaka mingi

Nange nnali njagala nnyo Ted. Twafumbiriganwa nga Ddesemba 10, 1956. Twasooka kuweerereza wamu nga bapayoniya mu Vancouver, ne tudda mu Cali­fornia, era oluvannyuma ne tutandika okukyalira ebibiina mu Missouri ne mu Arkansas. Okumala emyaka nga 18, twasulanga mu maka ga njawulo buli wiiki nga tukyalira ebibiina mu bitundu ebitali bimu eby’Amerika. Twanyumirwanga nnyo omulimu gw’okubuulira, era kyatusanyusanga nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe. Ekyo kyatwerabizanga ebizibu bye twayolekagananga nabyo nga tukyalira ebibiina.

Ekimu ku bintu bye nnali njagala ennyo ku Ted kwe kuba nti enkolagana ye ne Yakuwa yali agitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Yagitwalanga nga nkizo ya maanyi okuweereza Omuyinza w’Ebintu Byonna. Twanyumirwanga nnyo okusomera awamu Bayibuli. Buli kiro, bwe twabanga tetunneebaka, twafukamiranga okumpi n’ekitanda ne tusabira wamu. Oluvannyuma, buli omu yasabanga essaala eyiye ku bubwe. Ted bwe yabanga n’ensonga ey’amaanyi emuli ku mutima, nnakimanyanga. Yavanga mu buliri n’afukamira, n’asaba mu kasirise okumala ekiseera kiwanvu. Eky’okuba nti yategeezanga Yakuwa ku nsonga ennene n’entono kyandeetera okwongera okumwagala.

Nga wayise emyaka nga tumaze okufumbiriganwa, Ted yaŋŋamba nti yali agenda kutandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Yaŋŋamba nti: “Nsabye nnyo Yakuwa ku nsonga eno nsobole okuba omukakafu nti kye nkola ky’ekyo ky’ayagala nkole.” Tekyanneewuunyisa kuba nti Yakuwa yali amufuseeko omwoyo gwe omutukuvu era nti kati yali afunye essuubi ery’okugenda mu ggulu. Nnagitwala nga nkizo ya maanyi okuwagira omu ku baganda ba Kristo.​​—⁠Mat. 25:​35-​40.

OBUWEEREZA OBULALA

Mu 1974, kyatwewuunyisa nnyo, Ted bwe yalondebwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Twayitibwa okugenda okuweerereza ku Beseri y’omu Brooklyn. Nga tuli eyo, Ted yakolanga emirimu gye ku Kakiiko Akafuzi, ate nga nze nkola gwa kulongoosa era ng’oluusi nkola mu saaluuni.

Ted yatumibwanga okukyalira ofiisi z’amatabi agatali gamu. Yali ayagala nnyo okulaba ng’omulimu gw’okubuulira gukolebwa mu bitundu bya Soviet ­Union. Lumu bwe twali tugenze okuwummulako mu Sweden, Ted yaŋŋamba nti: “Melita, omulimu gwaffe ogw’okubuulira guwereddwa mu Poland, era njagala kuyamba ab’oluganda abali mu nsi eyo.” Bwe kityo, twafuna viza ne tugenda e Poland. Ted yasisinkana abamu ku b’oluganda abaali balabirira omulimu gw’okubuulira mu Poland era n’atambulako nabo nga bwe boogera ku nsonga eyo, waleme kubaawo muntu yenna awulira bye boogera. Wadde ng’ab’oluganda baamala ennaku nnya nga bali mu kafubo, kyansanyusa nnyo okulaba essanyu Ted lye yafuna olw’okuyamba bakkiriza banne mu by’omwoyo.

Twaddamu okugenda e Poland mu Noovemba 1977. F. W. Franz, Daniel Sydlik, ne Ted baali bagenze okukyalira Poland. Ogwo gwe mulundi ogwasooka ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi okukyala mu Poland mu butongole. Wadde ng’omulimu gwaffe gwali gukyawereddwa, ab’oluganda abo abasatu baasobola okugenda mu bibuga bya Poland ebitali bimu ne boogerako n’abalabirizi abatali bamu, bapayoniya, n’ab’oluganda abaali bamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa.

Ted n’abalala ku ofiisi z’ekitongole ekiramuzi ekya Moscow oluvannyuma lw’omulimu gwaffe okutongozebwa

Omwaka ogwaddako, Ted ne Milton Henschel baagenda e Poland, ne boogerako n’ab’obuyinza, mu kiseera ekyo abaali batandise okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku Bajulirwa ba Yakuwa n’omulimu gwabwe. Mu 1982, gavumenti ya Poland yakkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okubanga n’enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu. Mu mwaka ogwaddako Abajulirwa ba Yakuwa baafuna enkuŋŋaana ennene, era ezisinga obungi baazifunira mu bizimbe bye baapangisa. Mu 1985, ng’omulimu gwaffe gukyawereddwa, Abajulirwa ba Yakuwa mu Poland bakkirizibwa okuba n’enkuŋŋaana za disitulikiti nnya mu bisaawe ebinene. Mu Maayi 1989, Abajulirwa ba Yakuwa mu Poland bwe baali bateekateeka enkuŋŋaana ennene, gavumenti yatongoza omulimu gwabwe. Ekyo kye kimu ku bintu ebyasinga okuleetera Ted essanyu mu bulamu bwe.

Olukuŋŋaana lwa disitulikiti mu Poland

OBULWADDE

Mu 2007, twali ku lugendo nga tugenda e South Africa ku mukolo ogw’okuwaayo ofiisi y’ettabi. Bwe twatuuka mu Bungereza, puleesa ya Ted yalinnya nnyo, era omusawo n’amugamba asazeemu olugendo olwo. Ted bwe yatereeramu, twaddayo mu Amerika. Kyokka bwe waali waakayita wiiki ntono, puleesa yamukuba n’asannyalala oludda olwa ddyo.

Ted yakosebwa nnyo ne kiba nti yamala ebbanga nga tasobola na kugenda mu ofiisi. Naye ekirungi kiri nti yasigala akyasobola bulungi okwogera. Wadde nga yali mu mbeera eyo, yafubanga okukola emirimu gye, nga mw’otwalidde n’okwenyigira mu nkuŋŋaana z’Akakiiko Akafuzi ezaabangawo buli wiiki ng’ayungibwa ku ssimu mu ddiiro lyaffe.

Ted yasiima nnyo obujjanjabi obwamuweebwa ku Beseri. Mpolampola yagenda atereera. Bwe kityo, yasobola okutuukiriza obumu ku buvunaanyizibwa bwe mu kibiina, era yabanga musanyufu.

Nga wayise emyaka esatu, puleesa yaddamu okukuba Ted era n’afa ku Lwokusatu, nga Jjuuni 9, 2010. Wadde nga nnali nkimanyi nti lumu Ted yandimalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi, sisobola kunnyonnyola bulumi bwe nnafuna ng’afudde n’ekiwuubaalo kye mpulira. Wadde kiri kityo, nneebaza Yakuwa buli lunaku olw’ebyo bye yansobozesa okukola okuyamba Ted. Twamala emyaka egisukka mu 53 nga tuweerereza wamu mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’engeri Ted gye yannyambamu okwongera okunyweza enkolagana yange ne Kitange ow’omu ggulu. Ndi mukakafu nti anyumirwa nnyo obuweereza bwe obupya.

OKWOLEKAGANA N’OKUSOOMOOZEBWA MU BULAMU

Kyansanyusanga nnyo okukola mu saaluuni n’okutendeka abalala mu kukola enviiri ku Beseri

Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga mpeerereza wamu n’omwami wange, tekimbeeredde kyangu kwolekagana n’okusoomooza okutali kumu kwe nfuna mu bulamu bwange. Nze ne Ted twanyumirwanga nnyo okunyumyako n’ab’oluganda abaabanga bakyadde ku Beseri awamu n’abantu abaabanga bazze mu nkuŋŋaana. Kati okuva bwe kiri nti omwagalwa wange Ted takyali nange ate nga nange amaanyi gakendedde, ebintu ebyo sikyasobola kubikola nga bwe kyali edda. Wadde kiri kityo, nkyanyumirwa okubeerako awamu ne bakkiriza bannange ku Beseri ne mu kibiina. Emirimu ku Beseri si myangu, naye kindeetera essanyu okuweereza Katonda mu ngeri eyo. Ate era okwagala kwe nnina eri omulimu gw’okubuulira tekukendeeranga. Wadde nga nkoowa mangu era nga sisobola kuyimirira kumala bbanga ddene, kindeetera essanyu lingi okubuulira ku nguudo n’okuyigiriza abantu Bayibuli.

Bwe ndowooza ku bintu ebibi ebigenda mu maaso mu nsi, kindeetera essanyu lingi okuba nti nnasobola okuweereza Yakuwa nga ndi wamu n’omwami omulungi bw’atyo! Mu butuufu, Yakuwa ampadde emikisa mingi.​​—⁠Nge. 10:22.

^ lup. 13 Ebikwata ku Jack Nathan byafulumira mu Watchtower eya Ssebutemba 1, 1990, lup. 10-​14.