Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Akiraze Atya nti Atwagala Nnyo?

Yakuwa Akiraze Atya nti Atwagala Nnyo?

“Laba okwagala Kitaffe kw’atulaze bwe kuli okungi ennyo!”—1 YOK. 3:1.

ENNYIMBA: 91, 13

1. Kiki omutume Yokaana kye yakubiriza Abakristaayo okukola, era lwaki?

MU 1 Yokaana 3:1, omutume Yokaana yakubiriza Abakristaayo okulowooza ennyo ku kwagala okungi Yakuwa kw’alina gye bali. Yagamba nti: “Laba okwagala Kitaffe kw’atulaze bwe kuli okungi ennyo!” Bwe tufumiitiriza ku kwagala okungi Yakuwa kw’alina gye tuli n’engeri gy’akwolekamu, kituyamba okwongera okumwagala n’okunyweza enkolagana yaffe naye.

2. Lwaki abamu kibazibuwalira okukikkiriza nti Katonda abaagala?

2 Kyokka abantu abamu tekibanguyira kukkiriza nti Katonda asobola okubaagala. Abantu ng’abo balowooza nti Katonda aliwo kutiibwa butiibwa na kugonderwa. Olw’okuba bayigiriziddwa enjigiriza enkyamu, abamu balowooza nti Katonda talina kwagala era nti tekisoboka kumwagala. Ate abalala balowooza nti Katonda ayagala abantu bonna, ka babe nga bakola ki oba nga beeyisa batya. Bayibuli ekiraga nti Yakuwa alina okwagala kungi era okwagala kwe kwamuleetera okuwaayo Omwana we ng’ekinunulo ku lwaffe. (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:8) Kyokka, ebintu abantu abamu bye bayiseemu mu bulamu n’engeri gye baakuzibwamu biyinza okukifuula ekizibu gye bali okukikkiriza nti Katonda abaagala.

3. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atwagalamu?

3 Yakuwa atwagala atya? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, kikulu okutegeera enkolagana eri wakati wa Yakuwa Katonda naffe. Yakuwa ye yatonda abantu bonna. (Soma Zabbuli 100:3-5.) Eyo ye nsonga lwaki omuntu eyasooka okutondebwa Bayibuli emuyita “omwana wa Katonda,” era ye nsonga lwaki Yesu yatuyigiriza okusaba Katonda nga tugamba nti “Kitaffe ali mu ggulu.” (Luk. 3:38; Mat. 6:9) Okuva bwe kiri nti ye yatuwa obulamu, Yakuwa ye Kitaffe; era enkolagana eri wakati waffe naye efaananako eyo ebeera wakati wa taata n’omwana. Mu butuufu, Yakuwa atwagala mu ngeri y’emu taata omulungi gy’ayagalamu abaana be.

4. (a) Yakuwa ayawukana atya ku bataata? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino n’ekiddako?

4 Kya lwatu nti bataata bonna tebatuukiridde. Ne bwe bafuba batya, tebasobola kwoleka kwagala ng’okwo Yakuwa kw’alina. Mu butuufu, abantu abamu bakulidde mu maka nga bataata baabwe babayisa bubi. Ekyo kibaleetedde ennaku ey’amaanyi. Kyokka, Yakuwa talinga bataata abo. (Zab. 27:10) Bwe tumanya engeri Yakuwa gy’atwagalamu n’engeri gy’atufaako kisobola okutuyamba okwongera okumusemberera. (Yak. 4:8) Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza ebintu bina ebiraga nti Yakuwa atwagala nnyo. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebintu bina bye tusobola okukola okulaga nti twagala Katonda.

YAKUWA ATUWA BYONNA BYE TWETAAGA

5. Bintu ki ebikwata ku Katonda omutume Pawulo bye yagamba abantu b’omu Asene?

5 Omutume Pawulo bwe yali mu kibuga Asene ekya Buyonaani, yakiraba nti ekibuga ekyo kyalimu ebifaananyi bya bakatonda bingi abantu be baali balowooza nti be baabawa obulamu n’ebintu bye baali beetaaga mu bulamu. Pawulo yabagamba nti: “Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu . . . y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna. . . . Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli.” (Bik. 17:24, 25, 28) Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, atuwa “ebintu byonna” bye twetaaga okusobola okubeera abalamu. Lowooza ku bintu ebitali bimu by’atuwadde.

6. Engeri Katonda gye yatondamu ensi eraga etya nti atwagala nnyo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)

6 Lowooza ku nsi Yakuwa gye ‘yawa abaana b’abantu.’ (Zab. 115:15, 16) Bannasayansi basaasaanyizza obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente nga banoonyereza okulaba obanga basobola okuzuulayo sseŋŋendo endala ezifaananako ng’ensi. Wadde nga bazudde sseŋŋendo endala nnyingi, bannasayansi tebasobodde kuzuulayo sseŋŋendo ndala yonna esobola kubaako abantu ng’ensi. Ensi Katonda yagikola mu ngeri ya njawulo. Kirowoozeeko, Yakuwa yatonda ensi ng’erabika bulungi, nga yeeyagaza, era nga ye yokka esobola okubeerako abantu! (Is. 45:18) Ekyo kiraga bulungi nti ddala Yakuwa atwagala nnyo.—Soma Yobu 38:4, 7; Zabbuli 8:3-5.

7. Engeri Katonda gye yatukolamu eraga etya nti atwagala nnyo?

7 Wadde nga Yakuwa yatuwa ensi erabika obulungi, akimanyi bulungi nti ebintu eby’omubiri si bye byokka ebyetaagisa okusobola okutuyamba okuba abasanyufu era abamativu mu bulamu. Omwana kimusanyusa nnyo okukimanya nti bazadde be bamwagala era nti bamufaako. Yakuwa yatonda abantu mu kifaananyi kye, nga basobola okukimanya nti abaagala era nga nabo basobola okumwagala. (Lub. 1:27) Okugatta ku ekyo, Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3) Olw’okuba Kitaffe Yakuwa atwagala nnyo, “atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa,” eby’omubiri n’eby’omwoyo.—1 Tim. 6:17; Zab. 145:16.

YAKUWA ATUYIGIRIZA AMAZIMA

8. Lwaki tusaanidde okukkiriza “Katonda ow’amazima” okutuyigiriza?

8 Bataata baba baagala nnyo abaana baabwe era baba baagala okubayamba baleme kubuzaabuzibwa oba kulimbibwa. Kyokka abazadde abasinga obungi tebasobola kuwa baana baabwe bulagirizi butuufu kubanga bo bennyini tebagoberera mitindo egiri mu Kigambo kya Katonda. N’ekivuddemu, amaka gaabwe tegasobodde kubaamu ssanyu. (Nge. 14:12) Kyokka Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5) Ayagala nnyo abaana be era ayagala nnyo okubayamba okutegeera amazima agasobola okubaganyula mu bulamu bwabwe, naddala bwe kituuka ku ngeri ey’okumusinzaamu. (Soma Zabbuli 43:3.) Mazima ki Yakuwa g’atuyambye okumanya, era ekyo kiraga kitya nti atwagala nnyo?

Bataata Abakristaayo bakoppa Yakuwa nga bayigiriza abaana baabwe amazima era nga babayamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu (Laba akatundu 8-10)

9, 10. (a) Lwaki Yakuwa atubuulira ebimukwatako? (b) Lwaki atubuulira ebikwata ku kigendererwa kye eri abantu?

9 Okusookera ddala, Yakuwa atuyambye okutegeera amazima agamukwatako. Atuyambye okumanya erinnya lye, erisangibwa mu Bayibuli emirundi mingi okusinga erinnya eddala lyonna. Ekyo kiraga nti Yakuwa ayagala tumumanye. (Yak. 4:8) Yakuwa era atuyambye okutegeera engeri ze. Bwe twetegereza ebintu Yakuwa bye yatonda, tukiraba nti wa maanyi era nti alina amagezi mangi nnyo. (Bar. 1:20) Ate era bwe tusoma Bayibuli tukiraba nti Yakuwa mwenkanya era nti atwagala nnyo. Bwe tweyongera okutegeera engeri za Yakuwa, kituyamba okwongera okuba n’enkolagana ennungi naye.

10 Yakuwa era atubuulira ebikwata ku kigendererwa kye eri abantu, kwe kugamba, ekifo kye tulina mu nteekateeka ye. Ekyo kisobozesa ffenna abaweereza be, ku nsi ne mu ggulu, okuba mu mirembe n’okuba obumu. Bayibuli eraga nti Katonda teyatutonda nga tulina eddembe ery’okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. (Yer. 10:23) Yakuwa amanyi bulungi ebyo bye twetaaga. Okusobola okuba mu mirembe n’okuba obumu, tulina okukkiriza obufuzi bwe n’okumugondera. Yakuwa atubuulidde ebintu ebyo kubanga atwagala.

11. Kiki Yakuwa ky’atusuubizza ekiraga nti atwagala nnyo?

11 Taata omulungi alowooza ku biseera by’abaana be eby’omu maaso olw’okuba aba ayagala babe n’obulamu obulungi era obw’amakulu. Eky’ennaku kiri nti abantu abasinga obungi tebategeera bikwata ku biseera eby’omu maaso, oba bamalira ebiseera byabwe byonna nga banoonya ebintu ebitaleeta ssanyu lya nnamaddala. (Zab. 90:10) Okuba nti Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa atusuubizza ebiseera eby’omu maaso ebirungi, kiraga nti atwagala nnyo. Ekyo kituyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era obw’ekigendererwa.

YAKUWA AWABULA ERA AKANGAVVULA ABAANA BE

12. Okuwabula Yakuwa kwe yawa Kayini ne Baluki kwalaga kutya nti yali abaagala era nti yali abafaako?

12 Yakuwa yagamba Kayini nti: “Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? Bw’onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? . . . Naawe [ekibi onookifuganga]?” (Lub. 4:6, 7) Ng’okubuulirira okwo kwali kutuukirawo! Yakuwa bwe yakiraba nti Kayini yali ayolekedde okukola ekintu ekibi, yamulabula. Eky’ennaku, Kayini teyawuliriza Yakuwa, era yagwa mu mitawaana mingi. (Lub. 4:11-13) Ku mulundi omulala, Yakuwa bwe yakiraba nti omuwandiisi wa Yeremiya, Baluki, yali afunye endowooza eteri nnuŋŋamu eyali emuleetedde okuwulira ng’aweddemu amaanyi, yamuwabula. Obutafaananako Kayini, Baluki yakkiriza okuwabulwa Yakuwa kwe yamuwa era ekyo kyataasa obulamu bwe.—Yer. 45:2-5.

13. Lwaki Yakuwa yakkiriza abaweereza be abeesigwa abamu okufuna ebizibu eby’amaanyi?

13 Pawulo yagamba nti: “Yakuwa gw’ayagala gw’akangavvula; mu butuufu, abonereza buli gw’atwala ng’omwana we.” (Beb. 12:6) Kyokka okukangavvula tekutegeeza kubonereza bubonereza kyokka. Kusobola n’okuweebwa mu ngeri endala. Mu Bayibuli tusoma ku baweereza ba Katonda bangi abaali abeesigwa Yakuwa be yakangavvula mu ngeri ezitali zimu, era ne kibaviiramu emiganyulo mingi. Lowooza ku Yusufu, Musa, ne Dawudi abaayita mu mbeera enzibu ennyo. Yakuwa yali wamu nabo nga boolekagana n’embeera enzibu. Era ebintu bye baayiga nga boolekagana n’embeera ezo enzibu byabayamba nnyo nga Yakuwa abawadde obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Bwe tusoma ku ngeri Yakuwa gy’ayambamu era gy’atendekamu abantu be, kituyamba okukiraba nti ddala atwagala nnyo.—Soma Engero 3:11, 12.

14. Yakuwa bw’atukangavvula, kiraga kitya nti atwagala?

14 Okuba nti Yakuwa atukangavvula nakyo kiraga nti atwagala. Abo Yakuwa b’aba akangavudde bwe bakkiriza okukangavvula kw’aba abawadde era ne beenenya ‘abasonyiyira ddala.’ (Is. 55:7) Ekyo kiraga ki? Ebyo Dawudi bye yayogera, bituyamba okukiraba nti Yakuwa musaasizi nnyo. Dawudi yagamba nti: “Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; awonya endwadde zo zonna; anunula obulamu bwo buleme kuzikirira; akussaako engule ey’ekisa n’okusaasira okulungi. Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe.” (Zab. 103:3, 4, 12) N’olwekyo, ka bulijjo tube beetegefu okukkiriza okuwabula n’okukangavvula Yakuwa by’atuwa nga tukimanyi nti ekyo akikola olw’okuba atwagala nnyo.—Zab. 30:5.

YAKUWA ATUKUUMA

15. Kiki ekiraga nti Yakuwa atwala abantu be nga ba muwendo nnyo?

15 Ekimu ku bintu taata omulungi by’atwala ng’ebikulu kwe kukuuma ab’omu maka ge baleme kutuukibwako kabi oba ekizibu eky’amaanyi. Ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, bw’atyo bw’ali. Ng’ayogera ku Yakuwa, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Akuuma emmeeme z’abatukuvu be; abawonya mu mukono gw’omubi.” (Zab. 97:10) Lowooza ku kino: Nga bw’oyanguwa okukuuma eriiso lyo olw’okuba lya muwendo nnyo gy’oli, ne Yakuwa bw’ayanguwa okukuuma abantu be olw’okuba ba muwendo nnyo gy’ali.—Soma Zekkaliya 2:8.

16, 17. Yakuwa yakuuma atya abantu be mu biseera by’edda, era abakuuma atya leero?

16 Oluusi Yakuwa akuuma abantu be ng’akozesa bamalayika be. (Zab. 91:11) Ng’ekyokulabirako, lumu malayika wa Yakuwa yatta Abasuuli 185,000 mu kiro kimu, bw’atyo n’akuuma abantu ba Katonda. (2 Bassek. 19:35) Omutume Peetero, Pawulo, n’abalala nabo Yakuwa yabanunula ng’akozesa bamalayika be okubaggya mu kkomera. (Bik. 5:18-20; 12:6-11) Ne leero, Yakuwa akuuma abantu be. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu eyali avudde ku kitebe kyaffe ekikulu yakyalako mu nsi emu ey’omu Afirika omwali entalo n’obutabanguko era oluvannyuma n’awa alipoota ekwata ku nsi eyo. Yagamba nti abantu baali balwanagana, nga babba ebintu, nga bakwata abakazi, era nga battiŋŋana. Kyokka tewali n’omu ku bakkiriza bannaffe yattibwa, wadde nga bangi ku bo baafiirwa ebintu byabwe byonna. Ab’oluganda abo bwe baabuuzibwa engeri gye baali basangamu obulamu, nga bonna basanyufu, baddamu nti: “Tuli bulungi era twebaza nnyo Yakuwa!” Baakiraba nti Yakuwa abaagala nnyo.

17 Kyokka oluusi Yakuwa aleka abalabe okutta abaweereza be abeesigwa, gamba nga bwe kyali ku Siteefano. Wadde kiri kityo, akuuma abantu be ng’ekibiina ng’abalabula ku mitego gya Sitaani. (Bef. 6:10-12) Okuyitira mu Kigambo kye n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, Yakuwa atuyamba okulaba akabi akali mu bulimba bw’eby’obugagga, eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu n’ettemu, okukozesa obubi Intaneeti, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Mu butuufu Kitaffe, Yakuwa, akuuma abantu be era abaagala nnyo.

ENKIZO EY’EKITALO

18. Owulira otya bw’olowooza ku ky’okuba nti Yakuwa akwagala nnyo?

18 Oluvannyuma lw’okwetegereza ebintu ebitali bimu ebiraga nti Yakuwa atwagala nnyo, naffe tusobola okuwulira nga Musa bwe yawulira. Musa bwe yafumiitiriza ku kiseera ekiwanvu kye yali amaze ng’aweereza Yakuwa, yagamba nti: “Otukkuse enkya n’okusaasira kwo; tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.” (Zab. 90:14) Nga tulina enkizo ya maanyi okukimanya nti Yakuwa atwagala nnyo! Mu butuufu, tukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Yokaana eyagamba nti: “Laba okwagala Kitaffe kw’atulaze bwe kuli okungi ennyo!”—1 Yok. 3:1.