“Abalinga Abo Mubatwale nga ba Muwendo Nnyo”
OKUVA mu 1992, Akakiiko Akafuzi kabadde kalonda abakadde abalina obumanyirivu okuyambako obukiiko bw’Akakiiko Akafuzi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwo. * Ab’oluganda abo abalondebwa okuva mu ‘b’endiga endala,’ bayambako ab’oluganda abaweereza ku Kakiiko Akafuzi. (Yok. 10:16) Babeerawo mu nkuŋŋaana ez’obukiiko kwe baba balondeddwa okuweereza ezibaawo buli wiiki, ne babaako ebintu ebikulu bye bategeeza Akakiiko Akafuzi, era ne babaako n’amagezi ge bawa. Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi be basalawo ekirina okukolebwa, naye abayambi baabwe be bassa mu nkola ebiba bisaliddwawo era bakola emirimu gyonna egiba gibaweereddwa. Abayambi abo bawerekerako ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi nga bagenda ku nkuŋŋaana ez’enjawulo oba ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna. Ate oluusi batumibwa okukyalira ofiisi z’amatabi nga bakiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu.
Omu ku b’oluganda abadde aweereza ng’omuyambi okuva enteekateeka eyo bwe yatandikibwawo agamba nti: “Bwe ntuukiriza obuvunaanyizibwa bwange, kiyamba ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi okwemalira ku bintu eby’omwoyo.” Ate ow’oluganda omulala amaze emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza ng’omuyambi, agamba nti: “Eno nkizo ya maanyi gye siyinza kugeraageranya ku kintu kirala kyonna.”
Akakiiko Akafuzi kakwasizza ab’oluganda abakola ng’abayambi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era kasiima nnyo emirimu emirungi ab’oluganda abo gye bakola. Ka ffenna ‘tutwale abantu abalinga abo nga ba muwendo nnyo.’—Baf. 2:29.
^ lup. 2 Okumanya ebikwata ku buvunaanyizibwa bw’obukiiko bw’Akakiiko Akafuzi, Laba akasanduuko “Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kalabiriramu Omulimu gw’Obwakabaka” mu ssuula 12 ey’ekitabo God’s Kingdom Rules!