Fumiitirizanga ku Bintu eby’Omwoyo
“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”—1 TIM. 4:15.
ENNYIMBA: 57, 52
1, 2. Lwaki obwongo bw’omuntu bwewuunyisa?
OBWONGO bw’omuntu bwewuunyisa. Ng’ekyokulabirako, abantu balina obusobozi obw’okuyiga ennimi ez’enjawulo. Ennimi ezo zibasobozesa okusoma, okuwandiika, okwogera, awamu n’okutegeera ebyo bye baba bawulidde. Ate era zibasobozesa okusaba Katonda n’okumutendereza mu nnyimba. Ekyo kifuula abantu ab’enjawulo ku nsolo. Bannasayansi nabo tebasobola kutegeerera ddala ngeri obwongo bw’omuntu gye bukolamu ebintu ebyo ebyewuunyisa.
2 Obusobozi bw’okuyiga n’okukozesa ennimi kirabo okuva eri Katonda. (Zab. 139:14; Kub. 4:11) Ate era Katonda yawa abantu ekirabo ekirala ekibafuula ab’enjawulo ku nsolo. Obutafaananako nsolo, abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo era basobola okusalawo okukozesa ennimi okumutendereza.—Lub. 1:27.
3. Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa ky’atuwadde ekisobola okutuyamba okuba ab’amagezi?
3 Okusobola okutuyamba okumanya engeri y’okumuweerezaamu n’okumutenderezaamu, Katonda atuwadde ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga ye Bayibuli. Bayibuli esobola Zab. 40:5; 92:5; 139:17) Mu butuufu, ebintu ebiri mu Bayibuli ‘bisobola okutufuula abagezi ne tufuna obulokozi.’—Soma 2 Timoseewo 3:14-17.
okufunibwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka mu 2,800. Bwe tufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Bayibuli, kituyamba okufuna endowooza ya Katonda. (4. Okufumiitiriza kye ki, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
4 Okufumiitiriza kwe kussa ebirowoozo ku kintu oba okukirowoozaako ennyo, ka kibe kirungi oba kibi. (Zab. 77:12; Nge. 24:1, 2) Kituganyula nnyo bwe tufumiitiriza ku Yakuwa Katonda n’Omwana we, Yesu Kristo. (Yok. 7:3) Naye kakwate ki akali wakati w’okusoma n’okufumiitiriza? Bintu ki bye tuyinza okufumiitirizaako, era tusobola tutya okunyumirwa okufumiitiriza?
FUBA OKULABA NTI OGANYULWA MU EBYO BY’OSOMA
5, 6. Kiki ekiyinza okukuyamba okutegeera by’osoma n’okubijjukira?
5 Wali okyetegerezza nti waliwo ebintu by’osobola okukola nga tobirowoozezzanako, gamba ng’okussa, okutambula, n’okuvuga eggaali? Ekyo oluusi kye kibaawo ne bwe tuba nga tusoma. N’olwekyo, kikulu okussaayo omwoyo ku ebyo by’oba osoma n’okulowooza ennyo ku kye bitegeeza. Bw’otuuka ku nkomerero y’akatundu oba omutwe omutono, kiba kirungi okuyimiriramu n’ofumiitiriza ku ebyo bye waakasoma olabe obanga obitegedde bulungi. Kya lwatu nti oluusi bwe wabaawo ebintu ebiwugula oba bw’oba tossizzaayo mwoyo, kiyinza okuleetera ebirowoozo byo okuwugulwa, bw’otyo n’otoganyulwa mu by’osoma. Ekyo oyinza otya okukyewala?
6 Bannasayansi bakizudde nti okusoma mu ddoboozi eriwulikika kiyamba omuntu okujjukira ebyo by’aba asomye. Omutonzi waffe eyakola obwongo, ekyo akimanyi bulungi. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagamba Yoswa ‘okulowoozanga,’ oba okusoma mu ddoboozi eriwulikika, ekitabo ky’Amateeka. (Soma Yoswa 1:8.) Naawe singa Bayibuli ogisoma mu ngeri eyo, kiyinza okukuyamba okussaayo omwoyo ku by’osoma n’okubijjukira.
7. Ddi lwe tuyinza okufumiitiriza obulungi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)
7 Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okufumiitiriza n’okussaayo omwoyo ku ebyo bye tusoma. Eyo ye nsonga lwaki kirungi okufumiitiriza ng’owumuddemu era ng’oli mu kifo ekisirifu awatali biwugula. Omuwandiisi wa Zabbuli yateranga okufumiitiriza ng’asisimuse ekiro. (Zab. 63:6) Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yagendanga mu bifo ebisirifu okusobola okufumiitiriza n’okusaba.—Luk. 6:12.
EBINTU EBIRUNGI BYE TUSOBOLA OKUFUMIITIRIZAAKO
8. (a) Ng’oggyeeko ebyo ebiri mu Bayibuli, biki ebirala bye tuyinza okufumiitirizaako? (b) Yakuwa awulira atya bw’alaba nga twogera n’abalala ebimukwatako?
8 Kikulu nnyo okufumiitiriza ku bintu ebiri mu Bayibuli. Kyokka waliwo n’ebintu ebirala bye tuyinza okufumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda. Ekyo kijja kutuleetera okutendereza Yakuwa olw’obulungi bwe era n’okubuulirako abalala ku bikolwa bye eby’ekitalo. (Zab. 104:24; Bik. 14:17) Yakuwa kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tufumiitiriza ku bintu ebyo era nga tubinyumyako n’abalala. Bayibuli egamba nti: ‘Awo abo abatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n’awuliriza n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abatya Mukama ne balowooza erinnya lye.’—Mal. 3:16.
9. (a) Biki Pawulo bye yagamba Timoseewo okufumiitirizaako? (b) Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo nga tweteekateeka okugenda okubuulira?
9 Omutume Pawulo yagamba Timoseewo okufumiitiriza ku ngeri ebyo by’ayogera, ku nneeyisa ye, ne ku kuyigiriza kwe, gye byandikutte ku balala. (Soma 1 Timoseewo 4:12-16.) Okufaananako Timoseewo, naffe tulina ebintu bingi eby’omwoyo bye tusobola okufumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, twetaaga okufumiitiriza nga tweteekateeka okuddayo okuyigiriza omuntu Bayibuli. Tuyinza okulowooza ku kibuuzo kye tuyinza okumubuuza oba ekyokulabirako kye tuyinza okukozesa okusobola okumuyamba okukulaakulana. Okukozesa ebiseera byaffe mu ngeri eyo kivaamu emiganyulo mingi, kubanga kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe era kituyamba okuyigiriza obulungi abantu Bayibuli. Ate era bwe tufumiitiriza nga tetunnagenda kubuulira nakyo kivaamu emiganyulo mingi. (Soma Ezera 7:10.) Okusoma ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, kisobola okutuleetera okwesunga okubuulira. Okufumiitiriza ku byawandiikibwa bye twagala okukozesa olunaku olwo n’ebitabo bye twagala okugaba, kijja kutuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. (2 Tim. 1:6) Kikulu okulowooza ku bantu b’omu kitundu kyaffe era n’ebintu ebisobola okubakwatako. Bwe tweteekateeka mu ngeri eyo, kijja kutuyamba okukozesa obulungi Bayibuli nga tuwa obujulirwa.—1 Kol. 2:4.
10. Bintu ki ebirala ebirungi bye tuyinza okufumiitirizaako?
10 Otera okubaako by’owandiika mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba mu nkuŋŋaana
ennene? Bw’oddamu n’oyita mu ebyo bye wawandiika kikuwa akakisa okufumiitiriza ku bintu by’oyize mu Kigambo kya Katonda ne ku ebyo ekibiina kya Yakuwa bye kikuyambye okuyiga. Ate era osobola okusoma era n’ofumiitiriza ku bintu ebitali bimu ebifulumira mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! buli mwezi. Bw’oba osoma akatabo Yearbook, kiba kirungi n’osooka oyimiriramu n’ofumiitiriza ku kyokulabirako ekimu nga tonnagenda ku kirala. Ekyo kijja kukuyamba okuganyulwa mu by’osoma ne mu byokulabirako ebirimu. Ate era bw’obaako ekitabo kyaffe ky’osoma, kiba kirungi okusaza ku nsonga enkulu oba okubaako ne by’owandiika ebiyinza okukuyamba nga weeteekateeka okuddiŋŋana, okukyalira ow’oluganda, oba ng’otegeka emboozi. N’ekisinga obukulu, bw’ofumiitiriza ku by’osoma, kisobozesa ebintu by’osoma okukutuuka ku mutima era oba osobola okwebaza Yakuwa olw’ebintu ebirungi by’oba oyize.FUMIITIRIZA KU KIGAMBO KYA KATONDA BULI LUNAKU
11. Kintu ki ekisingayo obukulu kye tuyinza okufumiitirizaako, era lwaki? (Laba obugambo obuli wansi.)
11 Kya lwatu nti ekintu ekisingayo obukulu kye tuyinza okufumiitirizaako kye Kigambo kya Katonda. Naye watya singa weesanga mu mbeera nga tokkirizibwa kubeera na Bayibuli? * Ne mu mbeera eyo, osobola okufumiitiriza ku bintu bye wasoma, gamba ng’ebyawandiikibwa ebisinga okukusanyusa oba ebigambo ebiri mu nnyimba zaffe ez’Obwakabaka. (Bik. 16:25) Ate era omwoyo gwa Katonda gusobola okukuyamba okujjukira ebintu ebirungi bye wayiga.—Yok. 14:26.
12. Nteekateeka ki ey’okusoma Bayibuli gy’oyinza okugoberera?
12 Oyinza okukozesa ennaku ezimu eza wiiki okusoma n’okufumiitiriza ku kusoma kwa Bayibuli okwa wiiki. Ate ennaku endala oyinza okuzikozesa okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayigiriza ne bye yakola. Kya lwatu nti abantu bangi balina kye bamanyi ku ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe. (Bar. 10:17; Beb. 12:2; 1 Peet. 2:21) Ekibiina kya Yakuwa kyafulumya ekitabo ekinnyonnyola ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’ebintu ebyaliwo mu buweereza bwe, nga bwe byajja biddiriŋŋana. Ekitabo ekyo kisobola okutuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri.—Yok. 14:6.
LWAKI KIKULU OKUFUMIITIRIZA?
13, 14. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo, era ekyo kinaatuyamba kitya?
13 Okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo kiyamba omuntu okukula mu by’omwoyo. (Beb. 5:14; 6:1) Omuntu amala akadde akatono ng’afumiitiriza ku Yakuwa ne Yesu tasobola kuba na kukkiriza kunywevu. Kiba kyangu omuntu ng’oyo okuva mu mazima. (Beb. 2:1; 3:12) Yesu yagamba nti bwe tutawulira oba bwe tutakkiriza Kigambo kya Katonda “n’omutima omulungi ddala,” tetujja kusobola ‘kukikuuma.’ Mu kifo ky’ekyo, kijja kuba kyangu ‘okuwugulibwa okweraliikirira, eby’obugagga, n’amasanyu ag’obulamu buno, era tetujja kusobola kubaako kye tutuukiriza.’—Luk. 8:14, 15.
14 N’olwekyo, ka tweyongere okufumiitirizanga ku Kigambo kya Katonda. Ekyo kijja kutukubiriza okukoppa Yakuwa n’okwoleka engeri ze. (2 Kol. 3:18) Ffenna tusobola okweyongera okuyiga ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu n’okwoleka engeri ze emirembe n’emirembe. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo!—Mub. 3:11.
15, 16. (a) Oganyuddwa otya mu kufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo? (b) Lwaki ebiseera ebimu kiyinza okutubeerera ekizibu okufumiitiriza, naye lwaki tetwandireseeyo kufumiitiriza?
15 Bwe tweyongera okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo, tujja kweyongera okwagala amazima. Ekyo kijja kutuyamba okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi awamu n’abantu be tusanga nga tubuulira. Okufumiitiriza ku kirabo ekisingayo obulungi Katonda kye yatuwa, ekya ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, kijja kutuyamba okusiima enkizo gye tulina ey’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. (Bar. 3:24; Yak. 4:8) Mark, abeera mu South Africa eyamala emyaka esatu mu kkomera olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi agamba nti: “Gye tukoma okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo, gye tukoma okuzuula ebintu ebipya ebikwata ku Katonda waffe, Yakuwa. Oluusi bwe mba nga mpeddemu amaanyi oba nga nneeraliikirira ebikwata ku biseera eby’omu maaso, nkwata Bayibuli yange ne mbaako ekyawandiikibwa kye nsoma era ne nkifumiitirizaako. Ekyo kinnyamba okukkakkana.”
16 Kyo kituufu nti leero mu nsi mulimu ebintu bingi ebiwugula ne kiba nti oluusi kiba kizibu okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo. Ow’oluganda omulala ayitibwa Patrick abeera mu Afirika agamba nti: “Obwongo bwange bulinga akasanduuko mwe bateeka amabaluwa amalungi n’agatali malungi, ageetaaga okusunsulwamu buli lunaku. Oluusi mbaako ebintu ebinneeraliikiriza era nsooka ne nsaba Yakuwa annyambe okuggya ebirowoozo byange ku bintu ebyo. Wadde ng’ekyo kiyinza okuntwalira ekiseera ekiwerako nga sinnatandika kufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo, okukola ekyo kinnyamba okwongera okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Ekyo kinsobozesa okutegeera obulungi ebintu eby’omwoyo. (Zab. 94:19) Mu butuufu, abo abeekenneenya ebyawandiikibwa buli lunaku era ne babifumiitirizaako, baganyulwa nnyo.—Bik. 17:11.
OYINZA OTYA OKUFUNA EBISEERA OKUFUMIITIRIZA?
17. Biseera ki by’okozesa okufumiitiriza?
17 Abamu bakozesa ebiseera eby’oku makya ennyo okusoma, okufumiitiriza, n’okusaba. Abamu bakikola mu biseera eby’okuwummulamu nga bali ku mulimu. Abalala kibabeerera kyangu okukikola akawungeezi oba ekiro nga tebanneebaka. Abamu banyumirwa okusoma Bayibuli ku makya era ne baddamu okugisoma ekiro nga bagenda okwebaka. Mu ngeri eyo, basoma ekigambo kya Katonda emisana n’ekiro. (Yos. 1:8) Ekikulu kwe kufunayo ekiseera okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku.—Bef. 5:15, 16.
18. Mikisa ki egiva mu kufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku n’okukikolerako?
18 Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi nti abo abakifumiitirizaako era ne bafuba okukolera ku ebyo bye bayiga, bafuna emikisa mingi. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Yesu yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Luk. 11:28) N’ekisinga obukulu, bwe tufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo buli lunaku kitusobozesa okweyisa mu ngeri eweesa Omutonzi waffe ekitiibwa. N’ekinaavaamu, ajja kutuyamba okuba abasanyufu mu kiseera kino era ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya ey’obutuukirivu.—Yak. 1:25; Kub. 1:3.
^ lup. 11 Laba ekitundu “Ebintu Ebyatuyamba Okusigala nga Tutunula mu byʼOmwoyo” mu Watchtower eya Ddesemba 1, 2006, olupapula 12-16.