Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Atalina Magezi Akkiriza Buli Kigambo”

“Atalina Magezi Akkiriza Buli Kigambo”

“Omuntu atasoma mawulire aba musiru; ate oyo akkiriza buli ky’asoma mu mawulire musiru nnyo n’okusingawo.” —August von Schlözer, Munnabyafaayo Omugirimaani (1735-1809).

BWE kiba nti omuntu kyamuzibuwaliranga okwesiga ebintu ebyafulumiranga mu mpapula z’amawulire emyaka 200 emabega, kati olwo twanditutte tutya ebintu ebifulumira ku mikutu gya Intaneeti mu kyasa kino ekya 21? Leero enkulaakulana eriwo mu bya tekinologiya ekifudde kyangu eri abantu okufuna obubaka obutuufu n’obw’obulimba, obw’omugaso n’obutali bwa mugaso, obw’obulabe n’obutali bwa bulabe. Tulina okwegendereza ennyo bwe kituuka ku bintu bye tulaba ne bye tusoma. Abantu abamu, naddala abo abaakatandika okukozesa Intaneeti, banguwa okukkiriza amawulire n’ebintu ebirala ebiba ku Intaneeti oba ebiba mu bubaka mikwano gyabwe bwe giba gibasindikidde, ka bube nga buliko akabuuza. Naye Bayibuli egamba nti: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.”—Nge. 14:15.

Oyinza otya okukyoleka nti oli ‘mutegeevu’ n’osobola okumanya obanga ebintu bye baba bakusindikidde bituufu oba bya bulimba? Sooka weebuuze: ‘Ddala ebintu bino bivudde ku mukutu ogwesigika, oba bivudde eri abantu abeenoonyeza ebyabwe ku bwabwe? Kyandiba nti waliwo omukutu ogwesigika ogumaze okukiraga nti ebintu bino bya bulimba?’ * Osaanidde okukozesa amagezi. (Nge. 7:7) Bwe kiba nti obubaka obuba busindikiddwa bulabika ng’obw’obulimba, buyinza okuba nga ddala bwa bulimba. Ate era bwe kiba nti obubaka buwa ekifaananyi ekitali kirungi ku balala, sooka weebuuze: “Baani abasobola okubuganyulwamu? Kyandiba nti ababusaasaanya balina ebigendererwa ebikyamu?”

ABAAGALA ENNYO OKUWEEREZA OBUBAKA

Abantu abamu baagala nnyo okusooka abalala okusaasaanya amawulire nga tebasoose kukakasa obanga matuufu, oba okulowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu nga gasomeddwa. (2 Sam. 13:28-33) Kyokka bwe tuba ‘abategeevu,’ tujja kulowooza ku kabi akasobola okuvaamu, gamba ng’okwonoona erinnya ly’omuntu, ery’ekibiina, oba ery’ekitongole.

Omuntu ayinza okusindika obubaka nga tasoose kukakasa obanga butuufu olw’okuba ekyo kyetaagisa ebiseera bingi okusobola okukakasa nti butuufu. Ayinza okubusindika obusindisi ng’alowooza nti abo abanaabufuna bajja kusobola okwezuulira ekituufu. Naye ekyo tekiibatwalire biseera bingi? Kikulu okukijjukira nti ebiseera bye tulina bitono. (Bef. 5:15, 16) Mu kifo ky’okusindikira abalala ebintu bye tuteekakasa, kyandibadde kya magezi obutabisindikira ddala.

Weebuuze: ‘Njagala nnyo okuweereza abalala obubaka? Nnali mpandiikiddeko abalala nga mbeetondera olw’okubaweereza obubaka obukyamu oba ebintu eby’obulimba? Waliwo eyali aŋŋambye okulekera awo okumuweereza obubaka?’ Kijjukire nti buli ali ku lukalala lw’abo b’oweereza obubaka ku kompyuta yo akozesa Intaneeti, n’olwekyo asobola okunoonya ekintu kyonna ku Intaneeti ky’aba ayagala. Teyeetaaga kumupakira bubaka butamuyamba. Ate era si kya magezi okuweereza abalala emboozi ez’esigamiziddwa ku Bayibuli z’oba okutte ku butambi, oba ebyo by’oba owandiise ng’emboozi eweebwa. * Ate era, kikulu okukijjukira nti singa omuntu yeenoonyereza ku lwe, ne yeezuulira ennyiriri z’anaakozesa, oba ne yeetegekera ebyo by’anaddamu mu nkuŋŋaana, aganyulwa nnyo okusinga bw’obimusindikira obusindikizi.

Ddala obubaka buno mbuweerezeeko omuntu omulala?

Kiki kye wandikoze singa osanga ku Intaneeti ebintu eby’obulimba ebyogeddwa ku kibiina kya Yakuwa? Ebintu ng’ebyo wandibyesambidde ddala. Abamu balowooza nti ebintu ng’ebyo basaanidde okubiragako abalala basobole okumanya endowooza yaabwe, naye okukola ekyo kuba kwongera kusaasaanya bintu bya bulimba. Bw’obaako ebintu by’osomye ku Intaneeti naye nga tokakasa nti bituufu, oyinza okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi era n’oyogerako n’ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo. (Yak. 1:5, 6; Yud. 22, 23) Yesu, eyayogerwako eby’obulimba, yalabula abagoberezi be nti abalabe baabwe bandibayigganyizza era nti ‘bandibawaayirizza ebintu ebibi ebya buli ngeri.’ (Mat. 5:11; 11:19; Yok. 10:19-21) Tusaanidde okukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza n’okutegeera’ okusobola okumanya abo ‘aboogera ebitasaana’ n’abo abatali beesigwa mu byonna bye bakola.—Nge. 2:10-16.

WA ABALALA EKITIIBWA

Ate era tusaanidde okwegendereza ennyo bwe kituuka ku kubuulira abalala ebyo bye tumanyi oba bye tuba tuwulidde ku bakkiriza bannaffe. Ne bwe kiba nti ebintu ebyo bituufu, tekitegeeza nti tulina okubisaasaanya. Ebiseera ebimu tekiba kituufu era tekiba kya kwagala okusaasaanya ebintu ebikwata ku balala wadde nga bituufu. (Mat. 7:12) Ng’ekyokulabirako, okusaasaanya olugambo si kikolwa kya kwagala era tekizimba. (2 Bas. 3:11; 1 Tim. 5:13) Ebintu ebimu biyinza okuba nga bya kyama. N’olwekyo, tusaanidde okuwa abalala ekitiibwa nga tubaleka bo bennyini babyogere mu kiseera kyabyo ekituufu. Okusaasaanya amawulire ng’ekiseera ekituufu tekinnatuuka kiyinza okuba eky’akabi.

Leero kyangu nnyo okusaasaanya amawulire mu bwangu, ka gabe nga matuufu oba ga si matuufu, ka gabe nga gasaana oba nga tegasaana, ka gabe nga ga kabi oba nga si ga kabi. Oyo yenna aweereza obubaka ng’akozesa kompyuta oba essimu, asaanidde okukimanya nti k’abe ng’agenderedde kubuweereza muntu omu, mu kaseera katono buyinza okusaasaana mu nsi yonna. N’olwekyo, tusaanidde okwegendereza ennyo obutamala gaweereza mangu bubaka nga tetusoose kulowooza ku abo be tubuweereza. Bwe tusoma ku kintu ne kitukyamuukiriza, tusaanidde okukijjukira nti okwagala tekumala gakkiriza buli kintu. N’okusingira ddala, bwe tuba n’okwagala tetujja kukkiriza bintu ebiwandiikiddwa abaddu ba “kitaawe w’obulimba,” Sitaani Omulyolyomi nga balina ekigendererwa okwonoona erinnya ly’ekibiina kya Yakuwa oba erya bakkiriza bannaffe. (Yok. 8:44; 1 Kol. 13:7) Bwe tukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza n’okutegeera tujja kubeera bantu abategeevu era tujja kwegendereza engeri gye tutwalamu obubaka obuweerezebwa buli lunaku ku mikutu gy’empuliziganya. Nga Bayibuli bw’egamba, “abatalina magezi basikira obusirusiru: naye abategeevu bassibwako engule kwe kumanya.”—Nge. 14:18.

^ lup. 4 Oluusi ebintu ebiba byakakasibwa nti bya bulimba, oluvannyuma lw’ekiseera biddamu okufulumizibwa nga bikyusiddwamuko, bisobole okulabika ng’ebituufu.

^ lup. 8 Laba Obuweereza bw’Obwakabaka, aka Apuli 2010, “Akasanduuko k’Ebibuuzo.”