Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weereza Yakuwa Awatali Kuwugulibwa

Weereza Yakuwa Awatali Kuwugulibwa

‘Maliyamu yawuliriza ekigambo kya Yesu. Kyokka Maliza yali awuguliddwa olw’eby’okukola ebingi.’LUK. 10:39, 40.

ENNYIMBA: 94, 134

1, 2. Lwaki Yesu yali ayagala nnyo Maliza, naye kiki ekiraga nti Maliza yali tatuukiridde?

KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’olowooza ku Maliza? Bayibuli eraga nti Maliza yali mukwano gwa Yesu era nti Yesu yali amwagala nnyo. Kyokka waliwo n’abakazi abalala Yesu be yali ayagala ennyo, nga muno mwe mwali maama we Maliyamu ne Maliyamu, muganda wa Maliza. (Yok. 11:5; 19:25-27) Lwaki Yesu yali ayagala nnyo Maliza?

2 Yesu yali ayagala nnyo Maliza olw’okuba yalina omwoyo ogw’okusembeza abagenyi, yali mukozi nnyo, era yali yettanira nnyo ebintu eby’omwoyo. Maliza yali akkiririza mu ebyo Yesu bye yayigirizanga. Era yali akkiriza nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Yok. 11:21-27) Kyokka, Maliza yali muntu atatuukiridde, nga naffe bwe tuli abatatuukiridde. Lumu Yesu bwe yali akyadde mu maka gaabwe, Maliza yagamba Yesu okubaako ky’akolawo okutereeza embeera ye gye yali alowooza nti yali yeetaaga okutereezebwa. Yagamba Yesu nti: “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.” (Soma Lukka 10:38-42.) Ebyo bye tusoma mu nnyiriri ezo bituyigiriza ki?

MALIZA YALI AWUGULIDDWA

3, 4. Mu ngeri ki Maliyamu gye yalondawo ekyo “ekisinga obulungi,” era kiki Maliza kye yayiga? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)

3 Olw’okuba Yesu yasiima nnyo omwoyo ogw’okusembeza abagenyi Maliza ne Maliyamu gwe baayoleka, yasalawo okubaako ebintu eby’omuwendo by’abayigiriza. Maliyamu yakozesa akakisa ako okubaako by’ayiga okuva eri Omuyigiriza Omukulu era bw’atyo yatuula “okumpi n’ebigere bya Mukama waffe n’awuliriza ekigambo kye.” Maliza naye yandibadde akola kye kimu. Singa yakola bw’atyo, Yesu yandibadde amusiima nnyo.

4 Kyokka, Maliza yasalawo okwemalira ku kuteekateeka eby’okulya ebingi ng’ayagala okusanyusa Yesu. Naye emirimu gyamuyitirirako n’atuuka n’okunyiigira muganda we Maliyamu. Yesu bwe yakiraba nti Maliza yali akola ebintu bingi, yamugamba nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana olw’ebintu ebingi.” Era yamugamba nti ebintu bitono bye byali byetaagisa. Oluvannyuma Yesu yasiima Maliyamu olw’okuleka ebirala byonna n’asalawo okumuwuliriza. Yagamba nti: “Maliyamu ye alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.” Maliyamu yali asobola okwerabira ebintu bye yalya ku olwo nga Yesu abakyalidde, naye yali tasobola kwerabira bigambo Yesu bye yayogera ng’amusiima n’ebyo bye yayigiriza ku olwo. Nga wayise emyaka egisukka mu 60, omutume Yokaana yawandiika nti: “Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we.” (Yok. 11:5) Ekyo kiraga nti Maliza yakolera ku kuwabula Yesu kwe yamuwa era n’afuba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa obulamu bwe bwonna.

5. Njawulo ki eriwo wakati w’ebiseera byaffe n’ebiseera by’edda, era ekyo kireetawo kibuuzo ki?

5 Leero waliwo ebintu bingi ebisobola okutuwugula nga tuweereza Yakuwa okusinga bwe kyali mu biseera by’edda. Magazini ya Watchtower eya Ssebutemba 15, 1958 yalabula ab’oluganda obutakkiriza tekinologiya kubawugula nga baweereza Yakuwa. Ne mu kiseera ekyo, kumpi buli lunaku waabangawo ebintu ebipya ebyajjanga ku katale. Ebintu gamba nga magazini, firimu, leediyo, ne ttivi, abantu baali babyettanira nnyo. Watchtower eyo yagamba nti ng’enkomerero egenda esembera, “ebintu ebiwugula bijja kweyongera obungi.” Leero, n’okusinga bwe kyali kibadde, waliwo ebintu bingi ebisobola okutuwugula. Kati olwo kiki kye tuyinza okukola okusobola okukoppa Maliyamu, tusigale nga twemalidde ku kuweereza Yakuwa awatali kuwugulibwa?

OBUTAKOZESA NSI MU BUJJUVU

6. Abantu ba Yakuwa bakozesezza batya tekinologiya?

6 Ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda kibaddenga kikozesa tekinologiya okutumbula okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku firimu ya Photo-Drama of Creation,” eyalimu amaloboozi n’ebifaananyi ebyali mu langi ez’enjawulo. Ssematalo I bwe yali tannatandika ne bwe yali agenda mu maaso, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi babudaabudibwa nnyo bwe baalaba firimu eyo eyali ekomekkereza ng’eraga emirembe eginaabaawo mu Bufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi. Oluvannyuma, abantu ba Yakuwa baakozesa leediyo okutuusa amawulire amalungi ag’Obwakabaka ku bukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi. Leero abantu ba Yakuwa bakozesa nnyo kompyuta ne Intaneeti okutuusa amawulire amalungi ku bantu buli wamu, nga mw’otwalidde n’abo abali ku bizinga ne mu bitundu by’ensi ebyesudde.

Tokkiriza bintu bitali bikulu kuyingirira bintu eby’omwoyo (Laba akatundu 7)

7. (a) Lwaki kya kabi okukozesa ensi mu bujjuvu? (b) Kiki kye tusaanidde okwegendereza ennyo? (Laba obugambo obuli wansi.)

7 Bayibuli etukubiriza okwewala okukozesa ensi mu bujjuvu. (Soma 1 Abakkolinso 7:29-31.) Omukristaayo ayinza okumalira ebiseera bingi ku bintu, gamba ng’eby’emizannyo, okulaba ttivi, okugenda okulambula, n’okunoonya ebintu ebisingayo okuba eby’omulembe. Ate era ayinza okumalira ebiseera bingi ku kuwuliziganya n’abantu ku Intaneeti, ku kusindika n’okusoma obubaka, ku kumanya amawulire agakwata ku by’emizannyo, n’ebirala ebiri ng’ebyo. * (Mub. 3:1, 6) Wadde ng’ebintu ebyo biyinza obutaba bibi, singa tetuteeka kkomo ku biseera bye tumalira ku bintu ng’ebyo, kiyinza okutuviirako okulagajjalira ekintu ekisingayo obukulu, nga kuno kwe kuweereza Yakuwa.—Soma Abeefeso 5:15-17.

8. Lwaki kikulu okwewala okwagala ebintu ebiri mu nsi?

8 Sitaani akoze kyonna ekisoboka okutuleetera okwagala ebintu ebiri mu nsi n’okutuwugula tuleme kweyongera kuweereza Yakuwa. Ekyo yakikola mu kyasa ekyasooka era leero akikola ku kigero ekya waggulu ennyo. (2 Tim. 4:10) N’olwekyo, tusaanidde okukolera ku kubuulirira kuno: “Temwagalanga . . . ebintu ebiri mu nsi.” Bwe tufuba okukolera ku kubuulirira okwo, tetujja kuwugulibwa era tujja kweyongera okwagala Yakuwa. N’ekinaavaamu, kijja kutwanguyira okukola Katonda by’ayagala n’okunyweza enkolagana yaffe naye.—1 Yok. 2:15-17.

EBIROWOOZO BYO BIMALIRE KU BINTU EBISINGA OBUKULU

9. Kiki Yesu kye yayogera ku liiso lyaffe ery’akabonero, era kyakulabirako ki kye yateekawo?

9 Okubuulirira Yesu kwe yawa Maliza kutuukana bulungi n’ekyokulabirako kye yassaawo era n’ebyo bye yayigiriza. Yakubiriza abayigirizwa be okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’ basobole okwemalira ku Bwakabaka awatali kuwugulibwa. (Soma Matayo 6:22, 33.) Yesu teyalina bintu bingi; teyalina nnyumba yiye ku bubwe wadde ekibanja.—Luk. 9:58; 19:33-35.

10. Kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo ku ntandikwa y’obuweereza bwe?

10 Waliwo ebintu bingi ebyaliwo nga Yesu ali ku nsi ebyali bisobola okumuwugula, naye teyabikkiriza kumuwugula. Ku ntandikwa y’obuweereza bwe, bwe yali amaze okuyigiriza ekibiina ky’abantu mu Kaperunawumu era ng’akoze n’ebyamagero, abantu baamusaba asigale mu kibuga kyabwe. Naye kiki Yesu kye yakola? Yabagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:42-44) Mu butuufu, Yesu yatalaaga ebitundu bya Palesitayini ng’abuulira era ng’ayigiriza. Wadde nga Yesu yali atuukiridde, naye yakoowanga era yalinga yeetaaga okuwummulamu.—Luk. 8:23; Yok. 4:6.

11. Kiki Yesu kye yagamba omusajja eyalina enkaayana ne muganda we, era kulabula ki kwe yawa?

11 Ate lumu Yesu bwe yali ayigiriza abagoberezi be ku ngeri y’okwaŋŋangamu okuyigganyizibwa, omusajja omu yamugamba nti: “Omuyigiriza, gamba muganda wange anjawulizeeko eby’obusika.” Naye Yesu yagaana okweyingiza mu nkaayana ezo. Yagamba omusajja oyo nti: “Ani yannonda okuba omulamuzi wammwe oba okubagabanyizaamu ebyammwe?” Yesu yeeyongera okuyigiriza era n’akubiriza abaali bamuwuliriza okwewala okwagala ennyo ebintu kubanga ekyo kyali kiyinza okubawugula ne balekera awo okuweereza Katonda.—Luk. 12:13-15.

12, 13. (a) Lwaki Abayonaani baali baagala okulaba Yesu? (b) Yesu yeewala atya okuwugulibwa?

12 Yesu yalina eby’okulowoozaako bingi mu wiiki eyasembayo amale attibwe. (Mat. 26:38; Yok. 12:27) Yalina eby’okukola bingi, era yali agenda kuwozesebwa era attibwe mu ngeri ey’obukambwe. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ku Ssande nga Nisaani 9, mu mwaka gwa 33 E.E. Ng’obunnabbi bwe bwali bulaga, Yesu yayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde omwana gw’endogoyi, era abantu baamwaniriza nga Kabaka eyali ‘ajjidde mu linnya lya Yakuwa.’ (Luk. 19:38) Ku lunaku olwaddako, Yesu yayingira mu yeekaalu n’agobamu abasuubuzi abaali bafudde ennyumba ya Katonda ekifo eky’okunyagiramu Bayudaaya bannaabwe.—Luk. 19:45, 46.

13 Mu kibiina ky’abantu abaali mu Yerusaalemi mwalimu Abayonaani abaali bakwatiddwako ennyo ebintu Yesu bye yali akola era ne batuukirira omutume Firipo ne bamusaba agambe Yesu nti baagala okwogerako naye. Naye Yesu teyakkiriza kuwugulibwa kuva ku bintu ebikulu ennyo ebyali bigenda okubaawo. Teyagezaako kunoonya buganzi mu bantu basobole okumulwanirira ng’abalabe be baagala okumutta. Bwe yamala okukiraga nti yali anaatera okuttibwa, yagamba Andereya ne Firipo nti: “Oyo ayagala obulamu bwe abuzikiriza, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno ajja kubukuuma asobole okufuna obulamu obutaggwaawo.” Bwe kityo, mu kifo ky’okukola ekyo Abayonaani abo kye baali baagala, Yesu yakubiriza abagoberezi be okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza nga ye, era n’abagamba nti: “Oyo yenna ayagala okumpeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa.” Kya lwatu nti obubaka obwo Firipo yabutegeeza Abayonaani abo.—Yok. 12:20-26.

14. Wadde ng’omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yakulembezanga mu bulamu bwe, kiki ekiraga nti teyagwa lubege?

14 Wadde nga Yesu teyakkiriza kuwugulibwa kuva ku mulimu omukulu ogw’okubuulira, yafunangayo akaseera okwenyigira mu bintu ebirala. Lumu yakkiriza okugenda ku mbaga ey’obugole era n’afuula amazzi omwenge, ekintu ekyasanyusa ennyo abantu abaali ku mbaga eyo. (Yok. 2:2, 6-10) Ate era oluusi mikwano gye oba abantu abaali baagala okuyiga amazima bwe baamuyitanga ku bijjulo, yagendanga. (Luk. 5:29; Yok. 12:2) N’ekisinga obukulu, Yesu yateranga okufuna akadde okusaba, okufumiitiriza, n’okuwummulako.—Mat. 14:23; Mak. 1:35; 6:31, 32.

‘WEEYAMBULEKO BULI EKIZITOWA’

15. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa, era kyakulabirako ki kye yateekawo?

15 Omutume Pawulo yageraageranya obulamu bw’Omukristaayo ku mbiro empanvu era n’agamba nti: “Ka tweyambuleko buli ekizitowa.” (Soma Abebbulaniya 12:1.) Pawulo yakolera ku ebyo bye yali ayigiriza. Yeerekereza eby’obugagga n’ettutumu bye yandifunye ng’ali mu ddiini y’Ekiyudaaya. Yeemalira ku ‘bintu ebisinga obukulu’ n’aweereza Katonda ng’abunyisa amawulire amalungi mu bitundu bya Busuuli, Asiya Omutono, Makedoni, ne mu Buyudaaya. Bwe yali ayogera ku ssuubi lye yalina ery’okugenda mu ggulu, Pawulo yagamba nti: “Nneerabira ebintu eby’emabega ne nduubirira eby’omu maaso, nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera.” (Baf. 1:10; 3:8, 13, 14) Pawulo yakozesa bulungi ekirabo kye eky’obwannamunigina n’asobola ‘okuweereza Mukama waffe nga tewali kimutaataaganya.’—1 Kol. 7:32-35.

16, 17. Ka tube nga tuli bafumbo oba nga tuli bwannamunigina, tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Waayo ekyokulabirako.

16 Okufaananako Pawulo, abaweereza ba Katonda abamu basazeewo okusigala nga si bafumbo basobole okwemalira ku mirimu gy’Obwakabaka. (Mat. 19:11, 12) Abaweereza ba Katonda abafumbo baba n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira amaka gaabwe, abali obwannamunigina bwe batalina. Kyokka, ka tube bafumbo oba nga tetuli bafumbo, ffenna tusobola ‘okweyambulako buli ekizitowa’ ne tuweereza Katonda nga tetulina bingi bitutaataaganya. Ekyo kiyinza okutwetaagisa okukendeeza ku budde bwe tumalira ku bintu ebitali bikulu n’okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza.

17 Lowooza ku Mark ne mukyala we Claire ab’omu Wales, bombi abaatandika okuweereza nga bapayoniya oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyabwe era ne beeyongera okuweereza nga bapayoniya n’oluvannyuma lw’okufumbiriganwa. Mark agamba nti: “Twasalawo okutunda ennyumba yaffe era n’okuleka omulimu gwe twali tukola ne tutandika okukola ogw’okuzimba ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi yonna.” Kati bamaze emyaka 20 nga bakola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Afirika. Lumu ssente ze baalina zaakeendeera nnyo na baba nga basigazza ddoola 15 zokka mu bulamu bwabwe, naye Yakuwa yabayamba. Claire agamba nti: “Kituleetera essanyu lingi okuba nti buli lunaku tuweereza Yakuwa. Tufunye emikwano mingi era tetulina kye tujula. Ebintu bye twefiiriza tetuyinza kubigeraageranya ku ssanyu lye tufunye mu kuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna.” Bangi ku abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. *

18. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

18 Ate ggwe? Kiki ky’oyinza okukola singa okizuula nti owuguliddwa era nti tokyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu? Oboolyawo kiyinza okuba nga kikwetaagisa okulongoosa mu ngeri gy’osomamu Bayibuli n’engeri gye weesomesaamu. Ekyo oyinza kukikola otya? Ekitundu ekiddako kiddamu ekibuuzo ekyo.

^ lup. 7 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Atalina Magezi Akkiriza Buli Kigambo.”

^ lup. 17 Laba n’ebyafaayo bya Hadyn ne Melody Sanderson mu kitundu “Twamanya Ekituufu era Ne Tukikola.” (Watchtower eya Maaki 1, 2006) Baaleka bizineesi yaabwe gye baali bakola mu Australia ne bayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Soma ku ekyo ekyaliwo ssente bwe zaali zibaweddeko nga baweereza ng’abaminsani mu Buyindi.