Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!

Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!

“Katonda ow’emirembe . . . abawe buli kintu ekirungi okusobola okukola by’ayagala.”—BEB. 13:20, 21.

ENNYIMBA: 136, 14

1. Omulimu gw’okubuulira gwali mukulu kwenkana wa eri Yesu? Nnyonnyola.

YESU yayagalanga nnyo okwogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Bwe yali wano ku nsi, Yesu yayogera ku Bwakabaka obwo emirundi mingi okusinga ekintu ekirala kyonna. Mu butuufu, yabwogerako emirundi egisukka mu 100. Tewali kubuusabuusa nti Obwakabaka Yesu yali abutwala nga bukulu nnyo.—Soma Matayo 12:34.

2. Bantu bameka abayinza okuba nga baaliwo nga Yesu awa ekiragiro ekiri mu Matayo 28:19, 20, era lwaki tugamba bwe tutyo?

2 Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yasisinkana abantu abasukka mu 500 abaali bajja okufuuka ababuulizi b’Obwakabaka. (1 Kol. 15:6) Kirabika ku olwo lwe yawa ekiragiro eky’okubuulira “abantu b’omu mawanga gonna” ebikwata ku Bwakabaka. Omulimu ogwo tegwandibadde mwangu. * Yesu yagamba nti omulimu ogwo gwandibadde gukolebwa okutuukira ddala “ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,” era bwe kityo bwe kibadde. Oyinza okuba nga naawe weenyigira mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo.—Mat. 28:19, 20.

3. Bintu ki ebisatu ebituyambye okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira?

3 Oluvannyuma lw’okuwa ekiragiro ekikwata ku kubuulira, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Ndi wamu nammwe.” (Mat. 28:20) Ekyo kiraga nti Yesu yandibadde awa abagoberezi be obulagirizi nga bakola omulimu gw’okubuulira. Era Katonda waffe atuwadde “buli kintu ekirungi” okusobola okutuyamba okutuukiriza obulungi omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (Beb. 13:20, 21) Mu kitundu kino, tugenda kwetegerezaayo bisatu ku bintu ebyo: (1) ebintu ebituweereddwa okukozesa, (2) enkola ezitali zimu ze tukozesezza, ne (3) engeri gye tutendekeddwamu. Ka tusooke tulabe ebimu ku bintu bye tukozesezza mu myaka 100 egiyise.

KABAKA AWA ABANTU BE EBINTU EBY’OKUKOZESA

4. Ebintu ebitali bimu bye tukozesezza bituyambye bitya mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

4 Yesu yageraageranya “ekigambo ky’Obwakabaka” ku nsigo ezisigibwa ku ttaka ery’ebika eby’enjawulo. (Mat. 13:18, 19) Omulimi ayinza okukozesa ebintu eby’enjawulo okuteekateeka ennimiro nga tannasiga nsigo. Mu ngeri y’emu, okumala emyaka mingi, Kabaka waffe atuwadde ebintu ebitali bimu eby’okukozesa okuteekateeka emitima gy’obukadde n’obukadde bw’abantu okusobola okukkiriza amawulire g’Obwakabaka. Ebimu ku bintu ebyo twabikozesa okumala emyaka mitonotono, naye ate ebirala tukyabikozesa n’okutuusa leero. Kyokka, ebintu ebyo byonna bituyambye okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu.

5. Ababuulizi baakozesanga batya kakaadi okwabanga obubaka bwa Bayibuli?

5 Mu 1933, ababuulizi baatandika okukozesa kakaadi akaaliko obubaka bwa Bayibuli. Kakaadi ako kaayamba bangi okutandika okubuulira. Buli luvannyuma lw’ekiseera, baafulumyanga kakaadi akalala nga kaliko obubaka obw’enjawulo. Kakaadi ako kaali kangu okukozesa! Ow’Oluganda Erlenmeyer yalina emyaka nga kkumi bwe yasooka okukozesa kakaadi ako. Yagamba nti: “Twagambanga bugambi omuntu nti, ‘Nkusaba osome obubaka obuli ku kakaadi kano?’ Omuntu bwe yamalanga okusoma kakaadi ako, twamulekeranga eky’okusoma, oluvannyuma ne tweyongerayo.”

6. Kakaadi okwabanga obubaka bwa Bayibuli kaayamba katya ababuulizi?

6 Kakaadi akaabangako obubaka bwa Bayibuli kaayamba ababuulizi mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’ababuulizi abamu baali baagala nnyo okubuulira, baalina ensonyi era nga tebamanyi kya kwogera. Ate abalala baayogeranga nnyo. Baabuuliranga abantu kumpi buli kimu kye baabanga bamanyi mu ddakiika ntono, naye ng’oluusi tebakozesa magezi! Okuva bwe kiri nti kakaadi ako kaaliko ebigambo bitonotono ebyali bisengekeddwa obulungi, kaayamba ababuulizi okubuulira obulungi.

7. Kusoomooza ki ababuulizi kwe baayolekagana nako nga bakozesa kakaadi?

7 Kyokka waaliwo n’okusoomooza okutali kumu ababuulizi kwe baayolekagananga nakwo nga bakozesa kakaadi. Mwannyinaffe Grace A. Estep yagamba nti: “Oluusi omuntu yabuuzanga nti, ‘Kakaadi kano koogera ku ki? Lwaki tobimbuulira bubuulizi?’” Abantu abamu baabanga tebasobola kusoma bubaka obwabanga ku kakaadi. Ate abalala, okuva bwe kiri nti baali balowooza nti kakaadi baali bakabaweeredde ddala, bwe baakakwatanga, nga bayingira mu nnyumba zaabwe nga baggalawo oluggi. Omuntu bwe yabanga tayagala bubaka bwaffe, yakwatanga kakaadi ako n’akayuzaayuza. Wadde kyali kityo, kakaadi ako kaayamba ababuulizi okuyiga okutuukirira abantu n’okubamanyisa nti baali babuulizi b’Obwakabaka.

8. Ababuulizi baakozesanga batya gramufomu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 26.)

8 Ekintu ekirala ababuulizi kye baakozesa mu myaka gya 1930 okutuukira ddala awo nga ku ntandikwa y’emyaka gya 1940 ye gramufomu, era ab’oluganda abamu baagiyitanga Alooni okuva bwe kiri nti kumpi ye yakolanga ogw’okwogera. (Soma Okuva 4:14-16.) Omuntu bwe yakkirizanga okuwuliriza, omubuulizi yamuteerangako ejjinja okwabanga emboozi eyeesigamiziddwa ku Bayibuli okumala eddakiika nnya n’ekitundu, era oluvannyuma yamulekeranga eky’okusoma. Oluusi ab’omu maka bonna baakuŋŋaananga wamu ne bawuliriza emboozi eyo! Mu 1934 Watch Tower Society yatandika okukola gramufomu ez’okukozesa, naddala mu mulimu gw’okubuulira. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, emboozi ezaali zikwatiddwa ku mayinja zaawerera ddala 92.

9. Gramufomu yayamba etya ababuulizi?

9 Oluvannyuma lw’okuwuliriza emu ku mboozi ezo, omusajja omu ayitibwa Hillary Goslin yasaba omubuulizi amwazike gramufomu okumala wiiki emu asobole okuyamba baliraanwa be okumanya ebikwata ku Bwakabaka. Omubuulizi yagenda okuddayo yasanga abantu bangi abaagala okuyiga ebisingawo nga bamulinze. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bangi ku bantu abo beewaayo eri Yakuwa, era bawala ba Hillary ababiri baagenda ne mu Ssomero lya Gireyaadi, oluvannyuma ne basindikibwa okuweereza mu nsi endala. Okufaananako kakaadi akaaliko obubaka bwa Bayibuli, gramufomu nayo yayamba bangi okutandika okubuulira. Naye ekiseera kyali kigenda kutuuka, Kabaka ayigirize abantu be okubuulira ng’ayitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

ABABUULIZI BAKOZESA ENKOLA EZ’ENJAWULO

10, 11. Empapula z’amawulire ne leediyo byakozesebwa bitya mu mulimu gw’okubuulira, era lwaki enkola ezo zaali nnungi?

10 Nga bagoberera obulagirizi bwa Kabaka waabwe, abantu ba Katonda bakozesezza enkola ez’enjawulo okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Ekyo kyali kikulu nnyo, naddala mu kiseera ‘abakozi we baabeerera abatono.’ (Soma Matayo 9:37.) Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, empapula z’amawulire zaakozesebwa okutuusa amawulire amalungi mu bitundu abaweereza ba Yakuwa gye baali abatono ennyo. Buli wiiki, Ow’oluganda Charles Taze Russell yaweerezanga emboozi ze ezeesigamiziddwa ku Bayibuli eri abakuŋŋaanya b’amawulire. Oluvannyuma abakuŋŋaanya b’amawulire baaziweerezanga ebitongole ebikuba empapula z’amawulire mu Amerika, mu Canada, ne mu Bulaaya. Kigambibwa nti omwaka gwa 1913 we gwatuukira, emboozi z’Ow’oluganda Russell zaali zisomebwa abantu nga 15,000,000 okuyitira mu mpapula z’amawulire 2,000!

11 Oluvannyuma lw’okufa kw’Ow’oluganda Russell, ababuulizi baatandika okukozesa enkola endala okutuusa amawulire amalungi ku bantu. Nga Apuli 16, 1922, Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yawa emu ku mboozi ze ezaasookera ddala ddala ku mukutu gwa leediyo ogumu era abantu nga 50,000 be baamuwuliriza. Oluvannyuma, nga Febwali 24, 1924, ekibiina kya Yakuwa kyaggulawo leediyo eyitibwa WBBR. Ng’eyogera ku nkola eyo ey’okutuusa amawulire amalungi ku bantu, Watch Tower eya Ddesemba 1, 1924, yagamba nti: “Mu nkola zonna ezaakakozesebwa okubunyisa amawulire amalungi, leediyo ye nkola esingayo obulungi era tetwala ssente nnyingi.” Okufaananako empapula z’amawulire, leediyo yayamba nnyo mu kutuusa amawulire amalungi ku bantu ne mu bitundu omwali ababuulizi abatono.

Ababuulizi b’Obwakabaka babuulira mu bifo ebya lukale era balagirira abantu ku mukutu gwaffe ogwa, jw.org (Laba akatundu 12, 13)

12. (a) Ngeri ki ey’okubuulira mu bifo ebya lukale gy’osinga okunyumirwa? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba obutatya kwenyigira mu nkola ez’okubuulira mu bifo ebya lukale?

12 Leero essira lisiddwa nnyo ku kubuulira mu bifo ebya lukale: ku siteegi za bbaasi, awasimba eggaali z’omukka, awasimba ebidduka, mu bibangirizi ebya lukale, ne mu butale. Bwe kiba nti otya okwenyigira mu emu ku ngeri ezo ez’okubuulira, saba Yakuwa akuyambe era fumiitiriza ku bigambo by’Ow’oluganda Angelo Manera, amaze ebbanga eddene ng’aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Yagamba nti: “Buli ngeri empya ey’okubuulira gye twagambibwanga okukozesa twagitwala ng’engeri endala ey’okuweerezaamu Yakuwa, ey’okukyoleka nti tuli beesigwa gy’ali, n’okukiraga nti tuli beetegefu okumuweereza mu ngeri yonna gy’ayagala tumuweerezeemu.” Okwenyigira mu ngeri empya ez’okubuulira, oboolyawo ezo ezitatwanguyira kwenyigiramu, kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okweyongera okukula mu by’omwoyo.—Soma 2 Abakkolinso 12:9, 10.

13. Omukutu gwaffe ogwa jw.org guyambye gutya abantu, era birungi ki by’ofunye mu kulagirira abantu okugenda ku mukutu gwaffe ogwo?

13 Leero ababuulizi bangi bafubye okuyamba abantu okugenda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti oguyitibwa, jw.org, kwe basobola okusomera n’okuwanula ebitabo byaffe mu nnimi ezisukka mu 700. Abantu abasukka mu kakadde kamu n’ekitundu be bagenda ku mukutu gwaffe buli lunaku. Nga leediyo bwe yakola, omukutu gwaffe ogwa Intaneeti guyambye abantu bangi okuwulira amawulire amalungi, nga mw’otwalidde n’abo abali mu bitundu ebyesudde.

OKUTENDEKA ABABUULIZI B’AMAWULIRE AMALUNGI

14. Kutendekebwa ki ababuulizi b’Obwakabaka kwe baali beetaaga, era ssomero ki eribayambye okufuuka abayigiriza abalungi?

14 Tumaze okulaba ebintu eby’enjawulo n’enkola ez’enjawulo bye tukozesezza mu kubuulira amawulire amalungi. Naye ate tutendekeddwa tutya? Watya singa omuntu yawakanyanga obubaka bwe yabanga awulidde ku gramufomu oba singa yayagalanga okumanya ebisingawo oluvannyuma lw’okusoma ebyo ebyabanga ku kakaadi. Ababuulizi baali beetaaga okumanya engeri y’okuddamu abo ababawakanya n’okuyamba abo abaabanga baagala okumanya ebisingawo. Yakuwa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu yayamba Ow’oluganda Nathan H. Knorr okukiraba nti kyali kyetaagisa okutendeka ababuulizi okukozesa ekirabo kyabwe eky’okwogera nga babuulira. Kiki ekyakolebwa? Essomero ly’Omulimu gwa Katonda lyatandikibwawo mu bibiina mu 1943. Essomero eryo lituyambye okufuuka abayigiriza abalungi.

15. (a) Kusoomooza ki abamu kwe baayitamu nga bawa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda? (b) Ekisuubizo kya Katonda ekiri mu Zabbuli 32:8 kituukiridde kitya mu bulamu bwo?

15 Ababuulizi abamu kyabatwalira ebbanga nga tebannamanyiira kwogerera mu maaso g’abantu. Ow’oluganda Julio S. Ramu ajjukira ebyo ebyaliwo bwe yali awa emboozi ye eyasooka mu 1944. Emboozi eyo yali ekwata ku ki? Yali ekwata ku Dowegi, omusajja ayogerwako mu nnyiriri za Bayibuli ttaano zokka! Julio yagamba nti: “Nnatandika okukankana amagulu n’emikono, era amannyo gange ne gakubagana.” Emboozi ye yonna yalina okugizimbira ku byawandiikibwa bitaano byokka. Agamba nti: “Emboozi yange nnagiweera mu ddakiika ssatu. Ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okuyimirira ku kituuti okwogera eri abantu, naye saalekulira.” Abaana abato nabo baawanga emboozi mu ssomero, naye oluusi tekyabanguyiranga kugiwa mu maaso g’ekibiina. Angelo Manera, eyayogeddwako waggulu, ajjukira ekyo ekyaliwo ng’omwana omu omuto awa emboozi ye eyasooka. Agamba nti: “Yatya nnyo ne kiba nti olw’atandika okuwa emboozi ye, yatandikirawo okukaaba. Naye olw’okuba yali mumalirivu okugiwa, yakaaba nga bw’agiwa okutuukira ddala bwe yagimaliriza.” Kyandiba nti otya okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana oba okwenyigira mu nkuŋŋaana mu ngeri endala yonna olw’okuba olina ensonyi oba olw’okuba waliwo ekintu ky’owulira nti tosobola kukola bulungi? Saba Yakuwa akuyambe okuvvuunuka okutya. Yakuwa ajja kukuyamba nga bwe yayamba abo abeenyigira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu biseera by’edda.—Soma Zabbuli 32:8.

16. (a) Essomero lya Gireyaadi lyalina kigendererwa ki edda? (b) Okuva mu 2011 Essomero lya Gireyaadi libadde na kigendererwa ki?

16 Ng’oggyeeko Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, waliwo engeri endala abantu ba Yakuwa gye batendekebwamu. Abaminsani batendekebwa mu Ssomero lya Gireyaadi. Okusinziira ku omu ku abo abasomesa mu ssomero eryo, ekimu ku bigendererwa by’essomero eryo kwe “kuleetera abayizi okwongera okwagala omulimu gw’okubuulira.” Essomero lya Gireyaadi lyatandikibwawo mu 1943, era okuva olwo abayizi abasukka mu 8,500 be batendekeddwa. Abaminsani abatendekeddwa mu Gireyaadi baweereza mu nsi nga 170. Okuva mu 2011, abo abayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi balina okuba nga bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo: bapayoniya ab’enjawulo, abalabirizi abakyalira ebibiina, Ababeseri, oba abaminsani abatagendangako mu ssomero eryo.

17. Miganyulo ki egivudde mu Ssomero lya Gireyaadi?

17 Miganyulo ki egivudde mu ssomero eryo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu Agusito 1949, ababuulizi abaali mu Japan baali tebawera na kkumi. Omwaka ogwo we gwaggwerako, mu Japan mwalimu abaminsani 13 abaatendekebwa mu Ssomero lya Gireyaadi. Leero mu Japan mulimu ababuulizi nga 216,000, era ababuulizi nga 42 ku buli kikumi mu nsi eyo baweereza nga bapayoniya aba bulijjo!

18. Agamu ku masomero agatendeka Abajulirwa ba Yakuwa era agabayamba okwongera okunywera mu by’omwoyo ge galiwa?

18 Amasomero amalala, gamba ng’Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka, Essomero lya Bapayoniya, Essomero ly’Ababuulizi b’Obwakabaka, Essomero ly’Abalabirizi Abakyalira Ebibiina ne Bakyala Baabwe, n’Essomero ly’Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi ne Bakyala Baabwe, gakoze kinene nnyo mu kutendeka abantu ba Yakuwa n’okubayamba okwongera okunywera mu by’omwoyo. Tewali kubuusabuusa nti Kabaka yeeyongera okutendeka abantu be!

19. Kiki Ow’oluganda Charles Taze Russell kye yayogera ku mulimu gw’okubuulira, era ebigambo bye bituukiridde bitya?

19 Kati wayise emyaka egisukka mu 100 bukya Obwakabaka bwa Katonda buteekebwawo. Kabaka waffe, Yesu Kristo, akyeyongera okututendeka. Bwe yali anaatera okufa mu 1916, Ow’oluganda Charles Taze Russell yakiraga nti omulimu gw’okubuulira gwali gujja kweyongera okugaziwa. Yagamba omu ku abo abaatambulanga naye nti: “Omulimu gukulaakulana ku sipiidi ya waggulu nnyo, era gujja kweyongera okukulaakulana kubanga omulimu ogw’okubuulira ‘enjiri y’obwakabaka’ mu nsi yonna gukyali munene.’” (Faith on the March, ekyawandiikibwa A. H. Macmillan, lup. 69) Ebigambo ebyo bituukiridde! Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda ow’emirembe akyeyongera okutuwa byonna bye twetaaga okusobola okutuukiriza omulimu ogusingayo obulungi! Mu butuufu, Katonda atuwa “buli kintu ekirungi” okutuyamba okukola by’ayagala!

^ lup. 2 Kya lwatu nti bangi ku abo abaaliwo ku olwo baafuuka Abakristaayo. Mu bbaluwa ye eri Abakkolinso, Pawulo yabayita “ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano.” Yagattako nti: “Abasinga obungi bakyaliwo naye abamu beebaka mu kufa.” Kirabika nti Pawulo n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bamanyi bangi ku abo abaaliwo nga Yesu awa ekiragiro ekyo.