OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2015

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina okuva nga Febwali 1 okutuuka nga 28, 2016.

Okyajjukira?

Laba obanga ojjukira ebimu ku ebyo ebyafulumira mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi mu myezi omukaaga egiyise.

Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu

Okuba nti Katonda akozesezza ennimi ez’enjawulo okwogera eri abantu kirina ekintu ekikulu kye kituyigiriza.

Enzivvuunula ya Bayibuli Ennungi Ennyo

Abo abaali ku kakiiko ka New World Bible Translation baakolera ku misingi esatu emikulu.

Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013

Ezimu ku nkyukakyuka ezaakolebwa mu nkyusa eno ze ziruwa?

Kozesa Bulungi Olulimi Lwo

Ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kituyamba kitya okumanya ddi lwe tusaanidde okwogera, bye tusaanidde okwogera, n’engeri gye tusaanidde okwogeramu?

Yakuwa Ajja Kukuyamba

Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku bulwadde, era kiki kye tusaanidde okukola nga tulwadde?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nnafuna Emirembe ne Katonda era ne Maama Wange

Michiyo Kumagai bwe yalekera awo okusinza bajjajja, maama we yamukyawa. Michiyo yasobola atya okuddamu okutabagana ne maama we?

Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi 2015

Olukalala lw’emitwe egibadde mu magazini eya bonna n’ey’okusoma mu kibiina.