Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enzivvuunula ya Bayibuli Ennungi Ennyo

Enzivvuunula ya Bayibuli Ennungi Ennyo

“Ekigambo kya Katonda kiramu.”—BEB. 4:12.

ENNYIMBA: 37, 116

1. (a) Mulimu ki Katonda gwe yawa Adamu? (b) Abantu ba Katonda bazze bakozesa batya olulimi?

YAKUWA KATONDA yawa abantu ekirabo eky’okwogera. Oluvannyuma lw’okutonda Adamu n’amuteeka mu lusuku olulabika obulungi, Yakuwa yamuwa omulimu ogw’okutuuma ensolo zonna amannya. Adamu yawa buli nsolo erinnya erigisaanira. (Lub. 2:19, 20) Okuva olwo, abantu ba Katonda babaddenga bakozesa ekirabo eky’okwogera, kwe kugamba, olulimi, okutendereza Yakuwa n’okumanyisa abalala ebyo by’ayagala. Mu myaka egiyise, abantu ba Katonda bakozesezza ekirabo eky’olulimi okuvvuunula Bayibuli okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

2. (a) Misingi ki akakiiko ka New World Bible Translation gye kaagoberera nga kakola emirimu gyako? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Waliwo enkyusa za Bayibuli nkumi na nkumi, naye ezimu teziggyayo bulungi bubaka obuli mu Kigambo kya Katonda. Okusobola okuvvuunula Bayibuli mu ngeri entuufu, mu myaka gya 1940, akakiiko ka New World Bible Translation kassaawo emisingi egirina okugobererwa mu kuvvuunula Bayibuli, era abavvuunuzi mu nnimi ezisukka 130 bagigoberedde. Emisingi egyo gye gino: (1) Okuwa erinnya lya Katonda ekitiibwa nga lizzibwa mu bifo byonna mwe lirina okubeera. (Soma Matayo 6:9.) (2) Okuvvuunula kigambo ku kigambo obubaka obuli mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka we kiba kisoboka, naye we kitasoboka kuvvuunula kigambo ku kigambo, amakulu agali mu bubaka obwo ge galina okuteekebwawo. (3) Okukozesa olulimi olutegeerekeka obulungi era olwangu okusoma. * (Soma Nekkemiya 8:8, 12.) Ka tulabe engeri abavvuunuzi gye baagobereramu emisingi egyo nga bavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 n’enkyusa ez’ennimi endala.

OKUWA ERINNYA LYA KATONDA EKITIIBWA

3, 4. (a) Biwandiiko ki eby’edda ebirimu erinnya lya Katonda? (b) Bwe kituuka ku linnya lya Katonda, kiki abavvuunuzi ba Bayibuli bangi kye bakoze?

3 Abo abeekenneenya ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda eby’Olwebbulaniya, gamba ng’Emizingo egy’Ennyanja Enfu, bakizudde nti ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ezikiikirira erinnya lya Katonda zisangibwa mu biwandiiko ebyo emirundi mingi nnyo. Ng’oggyeeko okusangibwa mu biwandiiko by’Olwebbulaniya eby’edda, erinnya lya Katonda lisangibwa ne mu Septuagint ezimu ez’Oluyonaani ezaakozesebwanga okuva mu kyasa eky’okubiri E.E.T. okutuuka mu kyasa ekisooka E.E.

4 Wadde nga waliwo obukakafu bungi obulaga nti erinnya lya Katonda lirina okubeera mu Bayibuli, enkyusa za Bayibuli nnyingi zaggibwamu erinnya lya Katonda ettukuvu. Mu butuufu, nga waakayita emyaka ebiri gyokka oluvannyuma lw’Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani okufulumizibwa mu 1950, enkyusa eyitibwa American Standard Version yaddamu okufulumizibwa. Bayibuli eyo bwe yasooka okufulumizibwa mu 1901 yalimu erinnya lya Katonda, kyokka bwe yaddamu okufulumizibwa mu 1952, teyaliimu linnya lya Katonda. Lwaki? Abavvuunula Bayibuli eyo baagamba nti “tekisaana n’akatono” kukozesa linnya lya Katonda. Abavvuunuzi ba Bayibuli endala nnyingi, ez’Olungereza n’ez’ennimi endala, nabo bagoberedde enkola eyo y’emu.

5. Lwaki kikulu obutaggya linnya lya Katonda mu Bayibuli?

5 Ddala eky’okuba nti abavvuunuzi bateeka oba baggya erinnya lya Katonda mu nzivuunula zaabwe kikulu? Omuvvuunuzi omulungi aba alina okumanya ekigendererwa ky’oyo alina obwanannyini ku ebyo by’avvuunula, kubanga ekyo kimuyamba ng’asalawo engeri gy’alina okuvvuunulamu. Waliwo ebyawandiikibwa bingi mu Bayibuli ebiraga nti erinnya lya Katonda kkulu nnyo era nti lirina okutukuzibwa. (Kuv. 3:15; Zab. 83:18; 148:13; Is. 42:8; 43:10; Yok. 17:6, 26; Bik. 15:14) Yakuwa Katonda, oyo eyawandiisa Bayibuli, yaluŋŋamya abo abaagiwandiika okukozesa erinnya lye emirundi mingi. (Soma Ezeekyeri 38:23.) N’olwekyo, abavvuunuzi bwe baggya mu nzivuunula zaabwe erinnya lya Katonda erisangibwa emirundi mingi mu biwandiiko bya Bayibuli eby’edda, baba tebassizza kitiibwa mu Katonda.

6. Lwaki Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 erimu erinnya lya Katonda emirundi emirala mukaaga okusinga eya 1984?

6 Obukakafu obulaga nti erinnya lya Katonda lirina okubeera mu Bayibuli bweyongedde. Mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 erinnya lya Katonda lirimu emirundi 7,216. Mu nkyusa eno erinnya lya Katonda lisangibwa mu bifo ebirala 6 we litaali mu nkyusa eya 1984. Bitaano ku bifo ebyo bisangibwa mu 1 Samwiri 2:25; 6:3; 10:26; 23:14, 16. Lyateekebwa mu bifo ebyo kubanga Emizingo egy’Ennyanja Enfu egyaliwo emyaka egisukka mu 1,000 ng’ebiwandiiko by’Abamasoleti eby’Olwebbulaniya tebinnabaawo, girimu erinnya lya Katonda mu nnyiriri ezo. Ate ekifo ekirala mwe lyayongerwa kye Ekyabalamuzi 19:18, era lyayongerwamu oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko ebirala eby’edda.

7, 8. Makulu ki agali mu linnya Yakuwa?

7 Abakristaayo ab’amazima erinnya lya Katonda balitwala nga kkulu nnyo. Mu ebyongerezeddwako mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 mulimu okutangaazibwa okukwata ku makulu g’erinnya lya Katonda. Kyazuulibwa nti erinnya Yakuwa lirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ha·wah,’ ekitegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” * Edda ebitabo byaffe byannyonnyolanga amakulu g’erinnya lya Katonda nga bijuliza Okuva 3:14 (NW), awagamba nti: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera.” Bwe kityo, Enkyusa ey’Ensi Empya eya 1984 yagamba nti erinnya lya Katonda litegeeza nti “asobola okuba ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekyo ky’aba asuubizza.” * Naye Ebyongerezeddwako A4 mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 wagamba nti: “Wadde ng’erinnya Yakuwa lizingiramu amakulu ago, amakulu agalirimu tegakoma ku ky’okuba nti asobola okuba ekyo kyonna ky’asalawo okubeera. Gazingiramu n’eky’okuba nti asobozesa ebitonde bye okukola kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.”

8 Yakuwa asobozesa ebitonde bye okubeera ekyo ky’ayagala. Ng’atuukagana n’amakulu g’erinnya lye, Katonda yasobozesa Nuuwa okufuuka omuzimbi w’eryato, Bezaleeri okubeera omukugu mu mirimu egy’emikono, Gidiyoni okubeera omulwanyi omuzira, ne Pawulo okubeera omutume eri amawanga. Mazima ddala, erinnya lya Katonda lya makulu nnyo eri abantu be. Era akakiiko ka New World Bible Translation tekasobola mulundi na gumu kuwagira kya kuggya linnya lya Katonda mu Bayibuli.

9. Lwaki essira lissiddwa ku kuvvuunula Bayibuli mu nnimi endala?

9 Leero, Enkyusa ey’Ensi Empya eri mu nnimi ezisukka mu 130 era abavvuunuzi mu nnimi ezo zonna bafubye okuzza erinnya lya Katonda wonna we lirina okubeera mu Bayibuli. (Soma Malaki 3:16.) Ku luuyi olulala, abavvuunuzi ba Bayibuli bangi baggya erinnya lya Katonda mu nzivuunula zaabwe, mu kifo we lyandibadde ne bassaawo ebitiibwa nga “Mukama” oba erinnya lya katonda omu ow’omu kitundu. Eyo ye nsonga esinga obukulu lwaki Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa katadde essira ku kuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okufuna Bayibuli essa ekitiibwa mu linnya lya Katonda.

ENKYUSA YA BAYIBULI ENTUUFU ERA ETEGEEREKEKA OBULUNGI

10, 11. Obumu ku buzibu abavvuunuzi bEnkyusa ey’Ensi Empya mu nnimi endala bwe baayolekagana nabwo bwe buliwa?

10 Waaliwo okusoomooza okutali kumu mu kuvvuunula Bayibuli mu nnimi ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, abavvuunuzi b’Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eyasooka, baagoberera enkola abavvuunuzi ba Bayibuli ez’Olungereza abamu gye baagoberera nga bavvuunula ekigambo ky’Olwebbulaniya “Sheol” mu nnyiriri nga Omubuulizi 9:10. Olunyiriri olwo lwali lusoma bwe luti: “Tewali mulimu, newakubadde okuyiiya ebintu, newakubadde okumanya, newakubadde amagezi mu Sheʹol, gy’ogenda.” Abavvuunuzi ba Bayibuli ez’ennimi endala bangi baasanga obuzibu mu kuvvuunula ekigambo “Sheol” olw’okuba abantu abasinga obungi aboogera ennimi ezo baali tebamanyi kigambo ekyo ate nga ne mu nkuluze zaabwe tekiriimu. Ate abamu bwe baakisomanga baalowoozanga nti kifo ekya ddala ekiriko we kiri. Bwe kityo, abavvuunuzi mu nnimi ezo bakkirizibwa okuvvuunula amakulu g’ekigambo “Sheol” n’ekigambo ky’Oluyonaani “Hades” nga bakozesa ekigambo “amagombe.”

11 Mu Lungereza ekigambo ky’Olwebbulaniya neʹphesh n’ekigambo ky’Oluyonaani psy·kheʹ baabivvuunula nga bakozesa ekigambo “soul” wonna we byasangibwanga. Naye tekyali kyangu kugoberera nkola eyo mu nnimi endala. Lwaki? Kubanga ebigambo bye baali basobola okukozesa okuvvuunula ekigambo ekyo byali biyinza okuleetera abantu abamu okulowooza nti “soul” kintu ekiva mu muntu ng’amaze okufa ne kisigala nga kiramu. Okusobola okumalawo obuzibu obwo, abavvuunuzi bakkirizibwa okuvvuunula ekigambo “soul” okusinziira ku makulu ge kirina mu lunyiriri mwe kiri. Okusobola okutegeera amakulu ag’enjawulo ge kirina, baagoberera obulagirizi obuli mu ebyongerezeddwako mu New World Translation of the Holy Scriptures—With References. Bwe kityo, essira lyassibwa ku kuyamba omusomi okutegeererawo by’asoma, era ebirala by’ayinza okwetaaga okumanya ne bissibwa mu bugambo obuli wansi.

12. Ezimu ku nkyukakyuka ezaakolebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 ze ziruwa? (Laba n’ekitundu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013,” mu magazini eno.)

12 Ebibuuzo abavvuunuzi abatali bamu bye baabuuzanga byayamba akakiiko ka New World Bible Translation okukiraba nti waliwo n’ebigambo ebirala ebyali bisobola okuwa amakulu amakyamu. Bwe kityo, mu Ssebutemba 2007, Akakiiko Akafuzi kaasalawo nti Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eddemu okwekeneenyezebwa okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Nga bakola enkyukakyuka ezo, ebibuuzo nkumi na nkumi abavvuunuzi abatali bamu bye baabuuza byekenneenyezebwa. Ebigambo by’Olungereza ebikadde byaggibwamu mu kifo kyabyo ne muteekebwamu ebikozesebwa ennaku zino, era essira lyassibwa nnyo ku kukozesa ebigambo ebyangu okutegeera kyokka nga biggyayo bulungi amakulu. Okukolera ku bintu ebimu abavvuunuzi ab’ennimi endala bye baakola nakyo kyasobozesa okufulumya Bayibuli ey’Olungereza ennungi ennyo.—Nge. 27:17.

BANGI BAASIIMA NNYO

13. Bayibuli eya 2013 ekutte etya ku bantu?

13 Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 ekutte etya ku bantu? Waliwo amabaluwa mangi agaweerezeddwa ku kitebe kyaffe ekikulu ng’abantu abatali bamu booleka okusiima kwabwe. Bangi bakkiriziganya n’ebigambo bya mwannyinaffe omu eyagamba nti: “Bayibuli eringa akasanduuko omuli ebintu eby’omuwendo ebitali bimu. Bw’osoma ebigambo bya Yakuwa ng’okozesa Bayibuli eya 2013 obanga abikkudde akasanduuko ako n’ogenda nga weekenneenya buli kimu ku bintu eby’omuwendo ebyo, nga weetegereza langi yaabyo, enkula yaabyo, n’engeri ennungi gye birabikamu. Okusoma Ebyawandiikibwa mu lulimi olutegeerekeka obulungi kinnyambye okwongera okutegeera Yakuwa, era bwe mba nsoma mpulira ng’ali mu mikono gya Kitange oyo, ng’ali awo ansomera ebigambo bye ebiwoomu.”

14, 15. Enkyusa ey’Ensi Empya ekutte etya ku bantu aboogera ennimi endala?

14 Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza si ye yokka ekutte ku bantu. Omusajja omu nnamukadde ow’omu Sofia, Bulgaria, yayogera bw’ati ku Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olubulugaliya: “Nsomye Bayibuli okumala emyaka mingi naye sisomangako Bayibuli nnyangu kutegeera era entuuka ku mutima ng’eno.” Ate oluvannyuma lw’okufuna Enkyusa ey’Ensi Empya mu lulimi Olwalubaniya, mwannyinaffe omu yagamba nti: “Ng’Ekigambo kya Katonda kinyuma nnyo mu Lwalubaniya! Nkizo ya maanyi Yakuwa okwogera naffe mu lulimi lwaffe!”

15 Mu nsi nnyingi, Bayibuli ziri ku buseere era si nnyangu kufuna, n’olwekyo okufuna Bayibuli eba nkizo ya maanyi. Alipoota emu okuva mu Rwanda yagamba nti: “Okumala emyaka mingi abantu abasinga obungi be twasomesanga Bayibuli baali tebakulaakulana olw’okuba tebaalina Bayibuli. Baali tebasobola kugula Bayibuli ezaali zitundibwa. Ate era ennyiriri ezimu mu Bayibuli ezo si nnyangu kutegeera era ekyo nakyo kyalemesanga abantu okukulaakulana mu by’omwoyo.” Naye ebintu byakyuka oluvannyuma lw’okufuna Enkyusa ey’Ensi Empya mu Lunyalwanda. Ab’omu maka agamu mu Rwanda omuli abaana abana abavubuka baagamba nti: “Twebaza nnyo Yakuwa n’omuddu omwesigwa okutuwa Bayibuli eno. Tuli baavu nnyo era tetwalina ssente zigulira buli omu mu maka Bayibuli. Naye kati buli omu ku ffe alina Bayibuli. Tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’ekyo kye yatukolera nga tusomera wamu Bayibuli ng’amaka buli lunaku.”

16, 17. (a) Kiki Yakuwa ky’ayagaliza abantu be? (b) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

16 Tusuubira nti Enkyusa ey’Ensi Empya ejja kweyongera okufulumira mu nnimi endala nnyingi. Sitaani agezaako nnyo okuziyiza omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli, naye tuli bakakafu nti Yakuwa ayagala abantu bonna okumuwuliriza ng’ayogera gye bali mu ngeri etegeerekeka obulungi. (Soma Isaaya 30:21.) Ekiseera kijja kutuuka ‘ensi lw’ejja okujjula okumanya Yakuwa, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.’—Is. 11:9.

17 Ka bulijjo tweyongere okukozesa mu bujjuvu ebirabo byonna Yakuwa by’atuwa, nga mw’otwalidde n’enkyusa ya Bayibuli essa ekitiibwa mu linnya lye. Kkiriza Yakuwa ayogerenga naawe buli lunaku okuyitira mu Kigambo kye. Yakuwa asobola okuwuliriza essaala zaffe. Bwe tuba n’empuliziganya ennungi ne Yakuwa, kijja kutuyamba okweyongera okumumanya era tujja kweyongera okumwagala.—Yok. 17:3.

“Nkizo ya maanyi Yakuwa okwogera naffe mu lulimi lwaffe!”

^ lup. 2 Laba Ebyongerezeddwako A1 mu New World Translation eya 2013, ne Watchtower eya Maayi 1, 2008 wansi w’ekitundu “Enzivvuunula ya Bayibuli Ennungi Ogimanyira ku Ki?

^ lup. 7 Waliwo n’ebitabo ebirala ebikkiriziganya n’ennyinnyonnyola eyo, naye abantu abamu tebakkiriziganya nayo.

^ lup. 7 Laba New World Translation of the Holy Scriptures—With References, Appendix 1A wansi w’omutwe “Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya,” lup. 1561.