Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013

Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013

EMYAKA bwe gizze giyitawo, wabaddengawo enkyukakyuka ezikolebwa mu Bayibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza, naye enkyukakyuka ezaakolebwa mu eyo eya 2013 ze zikyasinze obungi. Ng’ekyokulabirako, kati Bayibuli eyo erimu ebigambo bitonoko okusinga ku eyo eyasooka. Ate waliwo n’ebigambo ebimu ebyakyusibwa. Essuula ezimu kati ziri mu ngeri ya bitontome, era erimu n’obugambo wansi obutangaaza ku bigambo ebimu. Tetusobola kwogera ku nkyukakyuka zonna ezaakolebwa mu Bayibuli eyo, naye mu kitundu kino tugenda kulabayo ezimu ku zo.

Ebimu ku Bigambo Ebitaakozesebwa Bye Biruwa? Nga bwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, ebigambo “Sheol,” “Hades,” ne “soul” tebyakozesebwa. Kyokka waliwo n’ebigambo ebirala ebiwerako ebyakyusibwa.

Ng’ekyokulabirako, ekigambo ky’Olungereza “long-suffering,” (“okulwa mu kubonaabona”) omuntu yali asobola okukitegeera obubi ng’alowooza nti kitegeeza okubonaabonera ekiseera ekiwanvu. Kati ekigambo ekyo kivvuunulwa nga “patience” (“obugumiikiriza”), era ekyo kiggyayo bulungi amakulu. (Bag. 5:22) Ate mu kifo ky’okukozesa ekigambo ky’Olungereza “loving-kindness,” [“ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala”], kati mu Bayibuli yaffe ey’Olungereza tukozesa ekigambo “loyal love” [okwagala okutajjulukuka]. Amakulu g’ekigambo ekyo gafaananako n’amakulu g’ekigambo obwesigwa era ng’ebigambo bino byombi bitera okukozesebwa mu sentensi eziddiriŋŋana.—Zab. 36:5; 89:1.

Ebigambo ebimu ebyavvuunulwanga mu ngeri y’emu mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza enkadde kati bivvuunulwa okusinziira ku makulu ge biba birina mu lunyiriri mwe biri. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri ekigambo ky’Olwebbulaniya ʽoh·lamʹ gye kyavvuunulwa mu ngeri ez’enjawulo mu Zabbuli 90:2 ne Mikka 5:2. Mu Zabbuli 90:2 kyavvuunulwa nga “emirembe gyonna” ate mu Mikka 5:2 kyavvuunulwa nga ‘ennaku ez’edda.’

Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebitera okuvvuunulwa nga “ensigo” bisobola okutegeeza ensigo z’ebimera oba mu ngeri ey’akabonero bisobola okutegeeza “ezzadde.” Mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eyasooka ebigambo ebyo byavvuunulwa nga “ensigo” wonna we biri mu Byawandiikibwa ebyasooka, nga mw’otwalidde ne mu Olubereberye 3:15. Kyokka leero mu Lungereza abantu tebatera kukozesa kigambo “ensigo” okutegeeza ezzadde, n’olwekyo, Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 ekozesa ekigambo “ezzadde” mu Olubereberye 3:15 ne mu nnyiriri endala ezigwa mu kkowe eryo. (Lub. 22:17, 18; Kub. 12:17) Ate mu nnyiriri endala ebigambo ebyo bivvuunulwa okusinziira ku makulu ge birina mu nnyiriri ezo.—Lub. 1:11; Zab. 22:30; Is. 57:3.

Lwaki ebigambo ebimu mu kusooka ebyavvuunulwa obutereevu kati tebivvuunuddwa bwe bityo? Ebyongerezeddwako A1 mu Bayibuli yaffe eya 2013 biraga nti enzivuunula ya Bayibuli ennungi yeeyo ekozesa “amakulu amatuufu ag’ekigambo oba ag’ebigambo bwe kiba nti okuvvuunula kigambo ku kigambo kijja kubuza amakulu.” Ebisoko ebyakozesebwa mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa bwe biba nga biggyayo amakulu mu nnimi endala, ebisoko ebyo bivvuunulwa butereevu mu nnimi ezo. Ng’ekyokulabirako, ebigambo “nkebera . . . emitima” ebiri mu Okubikkulirwa 2:23 bitegeerekeka bulungi mu nnimi nnyingi. Naye ebigambo, “nkebera ensigo” ebiri mu lunyiriri olwo lwe lumu omuntu ayinza obutabitegeera. N’olwekyo ekigambo “ensigo” kyakyusibwa ne kivvuunulwa nga “ebirowoozo eby’omunda ddala,” okusobola okuggyayo obulungi amakulu. Mu ngeri y’emu, mu Ekyamateeka 32:14, ebigambo “amasavu ag’oku nsigo ag’eŋŋaano” bivvuunulwa nga “eŋŋaano esingayo obulungi.” Ate era mu nnimi nnyingi, ebigambo “nze atayogera bulungi” bitegeerekeka mangu okusinga ebigambo “nze ow’emimwa egitali mikomole.”—Kuv. 6:12.

Lwaki ebigambo “batabani ba Isiraeri” bivvuunulwa nga “Abaisiraeri” ate “abaana ab’obulenzi abataliiko bakitaabwe” ne bivvuunulwa nga “abaana abataliiko bakitaabwe” mu Bayibuli yaffe ey’Olungereza empya? Mu nnyiriri ezisinga obungi omusangibwa ebigambo “batabani ba Isiraeri,” ebigambo ebyo biba tebitegeeza basajja bokka, wabula biba bitegeeza abasajja n’abakazi Abaisiraeri. Eyo ye nsonga lwaki mu nnyiriri ezisinga obungi ebigambo ebyo byavvuunulwa nga “Abaisiraeri.”—Kuv. 1:7; 35:29; 2 Bassek. 8:12.

Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “abaana ab’obulenzi” mu Olubereberye 3:16, kyavvuunulwa nga “abaana” mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza enkadde. Kyokka mu Okuva 22:24, ekigambo ekyo kyali tekivvuunuddwa bwe kityo. Naye kati mu Bayibuli yaffe empya kivvuunuddwa nga “abaana.” Olunyiriri olwo lusoma bwe luti: “Abaana bammwe [Olwebbulaniya, “abaana bammwe ab’obulenzi”] babeere nga tebalina bakitaabwe.” Era mu ngeri y’emu, ebigambo “omwana ow’obulenzi ataliiko kitaawe” kati bivvuunulwa nga “omwana ataliiko kitaawe” oba “mulekwa.” (Ma. 10:18; Yob. 6:27) Ne Septuagint nayo yavvuunula bw’etyo ebigambo ebyo.

Lwaki ebigambo ebimu ebyakozesebwa mu Lwebbulaniya kati tebyateekebwamu? Mu Lwebbulaniya, waliwo engeri bbiri ebintu gye byogerwamu. Oyo ayogera alina okulaga nti ekyo ky’ayogerako kigenda mu maaso oba nti kiwedde. Enkyusa ey’Ensi Empya enkadde yagezaako okugeegeenya enjogera y’olulimi Olwebbulaniya. Yakozesanga ebigambo, gamba nga, “n’atanula,” “ne yeeyongera,” “n’alyoka,” oba “n’atandika,” okulaga nti ekyo ekyogerwako kigenda mu maaso oba nti kikolebwa enfunda n’enfunda. * Ate era yakozesanga nnyo ebigambo ebikkaatiriza, gamba nga “mazima ddala,” ne “mu butuufu,” okulaga nti ekyo ekyogerwako kiwedde oba kituukiridde.

Mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 ebigambo ng’ebyo bikozeseddwa awo wokka we kyetaagisa okusobola okuggyayo amakulu. Ng’ekyokulabirako, mu Olubereberye 1:3, kyali tekyetaagisa kulaga nti ebigambo “Wabeewo ekitangaala” Katonda yabyogera enfunda n’enfunda. (Lub. 1:3) Kyokka mu Olubereberye 3:9, kyeyoleka lwatu nti Yakuwa bwe yali ayita Adamu, yamuyita emirundi egiwerako, era ekyo Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 ekiraga. Mu butuufu, mu Bayibuli yaffe empya essira lyassibwa nnyo ku ekyo ekikolebwa mu kifo ky’okulissa ku kulaga nti ekyo ekikolebwa kigenda mu maaso oba nti kiwedde. Ekyo kyatusobozesa okukozesa ebigambo bitono ate nga biggyayo bulungi amakulu agali mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.

Kati essuula eziwerako ziri mu ngeri ya bitontome, nga bwe kyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka

Lwaki essuula eziwerako kati ziri mu ngeri ya bitontome? Ennyiriri nnyingi eziri mu Bayibuli mu kusooka zaawandiikibwa mu ngeri ya bitontome. Mu nnimi nnyingi leero, ebitontome bitegeererwa ku ngeri ebigambo gye bivugamu, kyokka mu Lwebbulaniya, ebitontome bisengekebwa mu ngeri nti, sentensi eziddiriŋŋana zikozesa ebigambo eby’enjawulo ebirina amakulu ge gamu, oba mu ngeri nti, ebyo ebyogerwako mu sentensi emu byawukanira ddala ku ebyo ebyogerwako mu sentensi egiddirira.

Mu Enkyusa ey’Ensi Empya eyasooka, ennyiriri eziri mu kitabo kya Yobu n’ekya Zabbuli zaasengekebwa mu ngeri eraga nti mu kusooka ebyo ebiri mu bitabo ebyo byali bya kuyimbibwa oba kutontomebwa. Ensengeka eyo eyamba mu kukkaatiriza ensonga era eyamba omuntu okujjukira ebyo ebiri mu nnyiriri z’aba asomye. Mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013, ekitabo ky’Engero, Oluyimba, n’essuula nnyingi eziri mu bitabo eby’obunnabbi kati nabyo byawandiikibwa mu ngeri ya bitontome. Ng’ekyokulabirako, weetegereze Isaaya 24:2, olabe engeri ebigambo gye byasengekebwamu okusobola okukikkaatiriza nti tewaali n’omu eyali ayinza okusimattuka omusango Yakuwa gwe yali asaze. Omuntu asoma olunyiriri olwo bw’akiraba nti lwawandiikibwa nga kitontome, kimuyamba okukitegeera nti omuwandiisi wa Bayibuli oyo yali taddiŋŋana buddiŋŋanyi bigambo biteetaagisa, wabula nti yawandiika mu ngeri ya kitontome okusobola okukkaatiriza ekyo Yakuwa kye yali agambye.

Oluusi tekiba kyangu kumanya obanga ebigambo eby’Olwebbulaniya byawandiikibwa mu ngeri ya bitontome oba mu ngeri ya bulijjo. Bwe kityo, enzivuunula za Bayibuli zaawukana bwe kituuka ku kusengeka ennyiriri ezimu mu ngeri ey’ebitontome oba okuzisengeka mu ngeri eya bulijjo. Abavvuunuzi bakola kinene nnyo mu kusalawo okusengeka ennyiriri ezimu mu ngeri ey’ebitontome. Ennyiriri ezimu ziba zaawandiikibwa mu ngeri ya bulijjo naye ng’ebigambo ebirimu bivugamu ng’ebitontome.

Ekitundu ekipya ekiri ku buli ntandikwa y’ekitabo kya Bayibuli, kiyamba omusomi okutegeera ani ayogera, naddala bwe kituuka ku kitabo eky’Oluyimba ekyawandiikibwa mu ngeri ey’ekitontome.

Okwekenneenya ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda kyatuyamba kitya mu kuvvuunula enkyusa eya 2013? Abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya eyasooka beesigama nnyo ku Biwandiiko eby’Olwebbulaniya eby’Abamasoleti n’Ebiwandiiko by’Oluyonaani ebya Westcott ne Hort. Kyokka leero, abantu beeyongedde okwekenneenya ebiwandiiko bya Bayibuli ebitali bimu eby’edda, era ekyo kiyambye mu kwongera okutegeera engeri ennyiriri ezimu bwe zaali zisoma mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka. Leero Emizingo egy’Ennyanja Enfu myangu okufuna. Ate era waliwo ebiwandiiko by’Oluyonaani ebitali bimu ebyeyongedde okwekenneenyezebwa. Leero ebiwandiiko bya Bayibuli bingi eby’edda biteekeddwa ku kompyuta ne kiba nti kati kyangu okubigeraageranya okusobola okumanya engeri Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyasooka gye byali bisomamu. Akakiiko ka New World Bible Translation kakozesezza ebiwandiiko ebyo okwekenneenya ebyawandiikibwa, ne kakola enkyukakyuka ezeetaagisa.

Ng’ekyokulabirako, mu 2 Samwiri 13:21, Septuagint erimu ebigambo bino: “Naye teyayagala kunyiiza mutabani we Amunoni olw’okuba yali amwagala nnyo, okuva bwe kiri nti ye yali omwana we omubereberye.” Enkyusa ey’Ensi Empya eyasooka teyaliimu bigambo ebyo olw’okuba tebyali mu biwandiiko by’Abamasoleti. Kyokka ebigambo ebyo bisangibwa mu Mizingo egy’Ennyanja Enfu era byateekebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013. Mu ngeri y’emu, erinnya lya Katonda lyayongerwa mu nkyusa eyo emirundi etaano mu kitabo kya Samwiri Ekisooka. Ate era okwongera okwekenneenya ebiwandiiko eby’Oluyonaani kyatuleetera okukyusaamu mu nsengeka y’ebigambo ebiri mu Matayo 21:29-31. N’olwekyo, enkyukakyuka ezimu zaakolebwa okusinziira ku bukakafu obw’amaanyi obuli mu biwandiiko bya Bayibuli ebitali bimu mu kifo ky’okwesigama ku kiwandiiko ekimu obumu eky’Oluyonaani.

Zino ze zimu ku nkyukakyuka ezaakolebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013, ezituyambye okwongera okutegeera Bayibuli n’okukiraba nti ddala enkyusa eyo kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Katonda.

^ lup. 10 Laba New World Translation of the Holy Scriptures—With References, Appendix 3C.