Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Enkomerero bw’Enejja, biki ebijja okuggibwawo?
Ebimu ku ebyo ebijja okuggibwawo ze gavumenti z’abantu, entalo n’obutali bwenkanya, amadiini agatakola Katonda by’ayagala era agatayambye bantu, n’abantu abatatya Katonda.—5/1, lup. 3-5.
Googi ow’e Magoogi ayogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri y’ani?
Googi ow’e Magoogi, si ye Sitaani, wabula ge mawanga agajja okwegatta awamu nga gaagala okusaanyaawo abantu ba Katonda oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika.—5/15, lup. 29-30.
Bintu ki omukaaga ebisobola okuyamba omuntu okusigala nga musanyufu wadde ng’akaddiye?
Bayibuli etukubiriza (1) okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, (2) obutagwa lubege, (3) okuba n’endowooza ennuŋŋamu, (4) okubeera abagabi, (5) okuba ab’omukwano, ne (6) okusiima ebyo bye batukolera. Ebintu ebyo bisobola okuyamba omuntu okuba omusanyufu wadde ng’akaddiye.—6/1, lup. 8-10.
Ebyamagero Yesu bye yakola byakiraga bitya nti mugabi?
Ku mbaga e Kaana, Yesu yafuula lita z’amazzi 380 omwenge. Ku mulundi omulala yaliisa abantu abasukka mu 5,000 mu ngeri ey’ekyamagero. (Mat. 14:14-21; Yok. 2:6-11) Mu mbeera ezo zombi, Yesu yayoleka omwoyo omugabi nga Kitaawe.—6/15, lup. 4-5.
Wadde nga tetutuukiridde, lwaki tusobola okusanyusa Katonda?
Abantu gamba nga Yobu, Lutti, ne Dawudi baakola ensobi. Wadde kyali kityo, baanakuwalira ensobi zaabwe, beenenya mu bwesimbu, era baali bamalirivu okuweereza Katonda. Baasanyusa Katonda, era naffe tusobola okumusanyusa.—7/1, lup. 12-13.
Abantu bonna abali mu madiini ag’obulimba bajja kuttibwa nga Babulooni Ekinene kizikirizibwa?
Nedda. Okusinziira ku Zekkaliya 13:4-6, kiyinzika okuba nti n’abamu ku bakulembeze b’amadiini bajja kwefuula abatabangako bannaddiini era bajja kwegaana amadiini gaabwe ago ag’obulimba.—7/15, lup. 15-16.
Balaki bwe yakkiriza okugenda mu lutalo, lwaki yagamba nti Debola naye yalina okugenda nabo?
Balaki yalina okukkiriza okw’amaanyi. Mu kifo ky’okusaba Yakuwa abongere eby’okulwanyisa, Balaki yayagala agende n’omubaka wa Katonda, Debola, ng’akimanyi nti ekyo kyandimuyambye okuguma era ne kigumya n’abasajja be. (Balam. 4:6-8; 5:7)—8/1, lup. 13.
Ebimu ku bintu Omukristaayo by’asobola okufumiitirizaako bye biruwa?
Asobola okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda, Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, enkizo ey’okusaba, n’ekirabo eky’ekinunulo.—8/15, lup. 10-13.
Okwewala emikwano emibi kiyamba kitya Omukristaayo bwe kituuka ku kwogerezeganya?
Wadde nga twagala okulaga ekisa abo abataweereza Yakuwa, kiba kikyamu Omujulirwa wa Yakuwa okutandika okwogerezeganya n’omuntu atannaba kwewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa era atatambuliza bulamu bwe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (1 Kol. 15:33)—8/15, lup. 25.
Kiki ekyaleetera okukkiriza kwa Peetero okuddirira era yaddamu atya okuba n’okukkiriza?
Peetero yayoleka okukkiriza n’atambulira ku mazzi ng’agenda eri Yesu. (Mat. 14:24-32) Naye bwe yatunuulira omuyaga, yatya nnyo. Yaddamu okutunuulira Yesu era n’akkiriza Yesu okumuyamba.—9/15, lup. 16-17.
Ebikolwa by’Abatume 28:4 wagamba nti abantu b’e Maluta baalowooza nti Pawulo mutemu. Lwaki baalowooza batyo?
Omusota bwe gwabojja Pawulo, abantu abo bayinza okuba nga baalowooza nti Dike, katonda waabwe omukazi ow’obwenkanya, yali amubonereza.—10/1, lup. 9.
Eky’okuba nti Maliza yawugulibwa eby’okukola ebingi bye yalina kituyigiriza ki?
Lumu ekijjulo ekinene Maliza kye yali ateekateeka kyamuleetera okuwugulibwa. Yesu yagamba nti muganda wa Maliza, Maliyamu, yali alonze ekyo ekisinga obulungi kubanga ye yasalawo okumuwuliriza. Tetusaanidde kukkiriza bintu ebitali bikulu kuyingirira nteekateeka zaffe ez’eby’omwoyo.—10/15, lup. 18-20.