Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kozesa Bulungi Olulimi Lwo

Kozesa Bulungi Olulimi Lwo

“Ebigambo eby’omu kamwa kange . . . bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama.”—ZAB. 19:14.

ENNYIMBA: 82, 77

1, 2. Lwaki Bayibuli egeraageranya olulimi ku muliro?

MU OKITOBBA 1871, omuliro ogw’amaanyi gwakwata ekibira ky’e Wisconsin mu Amerika, era mu kiseera kitono gwasaasaana ne gwokya emiti ng’obuwumbi bubiri era ne gutta n’abantu abasukka mu 1,200. Omuliro ogwo guteeberezebwa okuba nga gwatandikira ku kaliro akatono akaamansuka okuva ku ggaali y’omukka. Ekyo kituleetera okulowooza ku bigambo ebiri mu Yakobo 3:5, awagamba nti: “Akaliro akakoleeza ekibira ekinene nga kaba katono nnyo!” Lwaki Yakobo yayogera ebigambo ebyo?

2 Mu lunyiriri 6, Yakobo alaga ensonga lwaki yayogera ebigambo ebyo. Yagamba nti: “Olulimi nalwo muliro.” Olulimi lukiikirira ebigambo bye twogera. Okufaananako omuliro, olulimi lwaffe nalwo lusobola okuleeta obuzibu obw’amaanyi. Bayibuli egamba nti “okufa n’obulamu biba mu buyinza bw’olulimi.” (Nge. 18:21) Kya lwatu nti tetusobola kulekera awo kwogera olw’okutya nti tuyinza okwogera ekintu ekitasaana, ng’era bwe tutasobola kulekera awo kukozesa muliro olw’okutya nti guyinza okuviirako ebintu ebirala okuggya. Ekikulu kwe kuba abeegendereza. Bwe tukozesa obulungi omuliro, gusobola okutuyamba mu kufumba, okwota, n’okutuwa ekitangaala. Mu ngeri y’emu, bwe tukozesa obulungi olulimi lwaffe, tusobola okutendereza Yakuwa era bye twogera bisobola okuganyula abalala.—Zab. 19:14.

3. Bintu ki ebisatu ebikwata ku kwogera bye tugenda okulaba?

3 Ka tube nga tukozesa mimwa oba nga tukozesa bubonero okwogera, obusobozi bwaffe obw’okwogera kirabo kya muwendo okuva eri Katonda. Tuyinza tutya okukozesa ekirabo ekyo okuzimba abalala? (Soma Yakobo 3:9, 10.) Tugenda kwetegereza ebintu bisatu ebikwata ku kwogera: ddi lwe tusaanidde okwogera, biki bye tusaanidde okwogera, era n’engeri gye tusaanidde okwogeramu.

DDI LWE TUSAANIDDE OKWOGERA?

4. Ddi lwe kyetaagisa okusirika?

4 Ebiseera ebimu tekiba kya magezi kwogera. Bayibuli egamba nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu.” (Mub. 3:7) Okusirika ng’abalala boogera kiraga nti tubassaamu ekitiibwa. (Yob. 6:24) Bwe tufuga olulimi lwaffe ne twewala okwogera ebintu ebirina okukuumibwa nga bya kyama, kiba kiraga nti tuli ba magezi. (Nge. 20:19) Era bwe tufuga olulimi lwaffe nga waliwo atunyiizizza nakyo kiba kyoleka nti tuli ba magezi.—Zab. 4:4.

5. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’okwogera Katonda kye yatuwa?

5 Ku luuyi olulala, Bayibuli egamba nti waliwo “n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Mub. 3:7) Singa mukwano gwo akuwa ekirabo ekirungi, ekirabo ekyo otereka kitereke? Nedda. Mu kifo ky’ekyo okiraga nti osiima ekirabo ekyo ng’okikozesa bulungi. Tulaga nti tusiima ekirabo eky’okwogera Yakuwa kye yatuwa nga tukikozesa bulungi. Ekyo tuyinza okukikola nga twogera ekyo ekituli ku mutima, nga tubuulira abalala ekyo kye twagala, nga twogera n’abalala ebigambo ebizzaamu amaanyi, era nga tutendereza Katonda. (Zab. 51:15) Tuyinza tutya okumanya ‘ekiseera ekituufu eky’okwogereramu’?

6. Lwaki kikulu okulonda ekiseera ekituufu eky’okwogereramu?

6 Ebigambo ebiri mu Engero 25:11 biraga nti kikulu okumanya ekiseera ekituufu eky’okwogereramu. Wagamba nti: “Ekigambo ekyogerwa [mu kiseera ekituufu] kiri ng’amapeera aga zzaabu mu bisero ebya ffeeza.” Amapeera aga zzaabu ku bwago gaba galabika bulungi. Naye ate bwe gateekebwa mu bisero ebya ffeeza geeyongera okulabika obulungi. Mu ngeri y’emu, bwe tulonda ekiseera ekituufu eky’okwogereramu, ebigambo byaffe byeyongera okuba ebirungi eri oyo aba abiwulira. Mu ngeri ki?

7, 8. Bakkiriza bannaffe mu Japan baakoppa batya Yesu nga balonda ekiseera ekituufu eky’okubuulira abalala ku ssuubi ery’okuzuukira?

7 Ebigambo bye twogera biyinza okuba nga ddala omuntu gwe tubigamba abyetaaga, naye bwe tutamanya kiseera kituufu kya kubyogereramu, biyinza obutamuganyula. (Soma Engero 15:23.) Ng’ekyokulabirako, mu Maaki 2011, musisi ow’amaanyi yayita mu buvanjuba bwa Japaani era n’agoya ebibuga bingi ebiri mu kitundu ekyo. Abantu abasukka mu 15,000 baafa. Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu ekyo nabo baakosebwa, baakozesa akakisa ako okubudaabuda abantu nga bakozesa Bayibuli. Kyokka, abantu abasinga obungi mu kitundu ekyo ba nzikiriza ya Bbuda era bamanyi kitono nnyo ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Bakkiriza bannaffe baakiraba nti mu kiseera ekyo nga musisi yaakayita, tekyali kya magezi kubuulira bantu abo abaali bakungubaga bikwata ku ssuubi ery’okuzuukira. Mu kifo ky’ekyo, baakozesa bulungi ekirabo eky’okwogera okubudaabuda abantu nga bakozesa Bayibuli okubalaga ensonga lwaki ebintu ebibi bituuka ne ku bantu abalungi.

8 Yesu yali amanyi ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu. (Yok. 18:33-37; 19:8-11) Lumu yagamba abayigirizwa be nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kaakano.” (Yok. 16:12) Abajulirwa ba Yakuwa mu buvanjuba bwa Japan baakoppa Yesu. Nga wayise emyaka ebiri n’ekitundu oluvannyuma lwa musisi oyo okuyita, beenyigira mu kaweefube ow’okugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38, eyalina omutwe “Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?” Mu kiseera ekyo abantu bangi baali beetegefu okubudaabudibwa essuubi ery’okuzuukira, era bakkiriza tulakiti eyo. Kya lwatu nti embeera zaawukana mu bitundu ebitali bimu, bwe kityo, tulina okukozesa amagezi okumanya ekiseera ekituufu eky’okwogereramu.

9. Mu mbeera ki mwe twetaagira okulonda ekiseera ekituufu okwogera?

9 Kikulu okumanya ekiseera ekituufu eky’okwogereramu. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okutunyiiza mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu. Kiba kya magezi okusooka okufumiitiriza okulaba obanga ddala kitwetaagisa okubaako kye twogera. Bwe kiba nga ddala kitwetaagisa okubaako kye twogera, tekiba kya magezi kwogera na muntu atunyiizizza nga tukyaliko obusungu, kuba ekyo kiyinza okutuviirako okwogera mu ngeri etesaana. (Soma Engero 15:28.) Mu ngeri y’emu, kitwetaagisa okukozesa amagezi nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe. Twagala okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa, naye tusaanidde okuba abagumiikiriza n’okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tugenda okwogera. Okwogera ebigambo ebituufu mu kiseera ekituufu kisobola okubayamba okukkiriza amazima.

BIKI BYE TUSAANIDDE OKWOGERA?

10. (a) Lwaki tusaanidde okwegendereza ebigambo bye twogera? (b) Waayo ekyokulabirako eky’ebigambo ebitasaana.

10 Ebigambo bye twogera bisobola okuleetera abalala okuwulira obulungi oba okuwulira obubi. (Soma Engero 12:18.) Abantu bangi mu nsi ya Sitaani batera okwogera mu ngeri erumya abalala. Programu za ttivi, leediyo, firimu, n’ebirala ebiri ng’ebyo bireetedde abantu bangi ‘okuwagala olulimi lwabwe ne luba ng’ekitala n’okuyiga okwolekeza abalala ebigambo eby’obukambwe ebiringa obusaale.’ (Zab. 64:3) Ekyo Omukristaayo asaanidde okukyewala. ‘Ebigambo eby’obukambwe’ bizingiramu ebigambo ebirumya abalala oba ebibafeebya. Wadde ng’oluusi omuntu ayinza okwogera ebigambo ebyo ng’ayagala okuleetera abalala okuseka, ebivaamu biyinza obutaba birungi. Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okwewalira ddala ebigambo ebivuma. Wadde ng’oluusi kirungi okusaaga, tusaanidde okwewala okukozesa ebigambo ebirumya abalala oba ebibaweebuula olw’okwagala obwagazi okusesa abalala. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, naye mwogerenga ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.”—Bef. 4:29, 31.

11. Ebyo ebiri mu mitima gyaffe bikwata bitya ku bigambo bye twogera?

11 Yesu yagamba nti “ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) N’olwekyo, bwe tuba ab’okulonda ebigambo ebirungi tulina okusooka okukakasa nti ebyo ebiri mu mutima gwaffe birungi. Ebyo bye twogera biraga engeri gye tutwalamu abantu abalala. Bwe tuba nga ddala twagala abalala era nga tubafaako, bye twogera bijja kuba birungi era nga bizimba.

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okulonda ebigambo ebituufu eby’okwogera?

12 Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okufuna ebigambo ebituufu eby’okwogera. Ne Kabaka Sulemaani eyali ow’amagezi ‘yafumiitirizanga’ okusobola okufuna “ebigambo ebisanyusa era n’okuwandiika ebigambo ebituufu eby’amazima.” (Mub. 12:9, 10, NW) Oluusi okisanga nga kizibu okufuna ebigambo ebirungi eby’okwogera? Bwe kiba kityo, fuba okubaako ebigambo ebirala by’oyiga. Ekyo osobola okukikola nga weetegereza engeri ebigambo gye bikozesebwamu mu Bayibuli ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Fuba okutegeera amakulu g’ebigambo by’ototegeera. N’ekisinga obukulu, yiga okukozesa ebigambo mu ngeri ezimba abalala. Okwetegereza engeri Yesu gye yakozesangamu ebigambo nakyo kisobola okutuyamba. Yesu yali amanyi bulungi eky’okwogera kubanga Yakuwa yamuyigiriza engeri y’okwogeramu okusobola ‘okugumya oyo akooye.’ (Is. 50:4) Okusooka okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tugenda okwogera kisobola okutuyamba okukozesa ebigambo ebituufu. (Yak. 1:19) Tusaanidde okwebuuza, ‘Ddala ebigambo bye ŋŋenda okwogera, oyo gwe mbibuulira anaabitegeera nga bwe njagala abitegeere? Ebigambo bino binaamukwatako bitya?’

13. Lwaki kikulu okwogera mu ngeri etegeerekeka?

13 Amakondeere gaakozesebwanga mu Isiraeri ey’edda okuyita abantu okukuŋŋaanira mu kifo ekimu oba okuva mu kifo ekyo, era gaakozesebwanga n’okuyita abasirikale okugenda okulwana. Tekyewuunyisa nti Bayibuli ekozesa ekyokulabirako ky’eddoboozi ly’ekkondeere okulaga obukulu bw’okwogera mu ngeri etegeerekeka obulungi. Singa eddoboozi ly’ekkondeere lyabanga teritegeerekeka, lyali lisobola okusuula eggye mu kabi. Mu ngeri y’emu, singa ebigambo bye twogera tebitegeerekeka, biyinza okutabula oba okuwabya oyo abiwulira. Naye wadde nga tulina okwogera mu ngeri etegeerekeka, tusaanidde okukozesa amagezi nga twogera.—Soma 1 Abakkolinso 14:8, 9.

14. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yesu yakozesanga ebigambo ebyangu okutegeera.

14 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kulonda ebigambo ebituufu. Lowooza ku kwogera kwe okumanyiddwa ennyo okuli mu Matayo essuula 5 okutuukira ddala ku ssuula 7. Yesu teyakozesa bigambo ebizibu okutegeera, ebiteetaagisa, oba ebirumya abalala. Mu kifo ky’ekyo, yakozesa ebigambo ebyangu era ebitegeerekeka obulungi okusobola okutuuka ku mitima gy’abaali bamuwuliriza. Ng’ekyokulabirako, okusobola okuyamba abantu okulekera awo okweraliikirira kye banaalya, yayogera ku ngeri Yakuwa gy’alabiriramu ebinyonyi. Oluvannyuma, yageraageranya abo abaali bamuwuliriza ku binyonyi, n’abuuza nti: “Mmwe temubisinga nnyo?” (Mat. 6:26) Ng’ebigambo ebyo ebyali ebyangu okutegeera biteekwa okuba nga byakwata nnyo ku mitima gy’abo abaali bamuwuliriza! Kati ka twetegereze ekintu eky’okusatu ekikwata ku kwogera.

TUSAANIDDE KWOGERA TUTYA?

15. Lwaki tulina okukozesa ebigambo ebirungi nga twogera?

15 Kikulu okufaayo ku ngeri gye twogeramu eri abalala. Yesu bwe yayogera eri abantu mu kkuŋŋaaniro ly’e Nazaaleesi, abantu “beewuunya ebigambo ebirungi bye yayogera.” (Luk. 4:22) Bwe tukozesa ebigambo ebirungi, kisobola okuleetera abantu okwagala okuwuliriza ebyo bye twogera era kiyinza okubaleetera okubikkiriza. (Nge. 25:15) Tusobola okukoppa Yesu nga twogera n’abalala mu ngeri ey’ekisa, eraga nti tubassaamu ekitiibwa, era eraga nti tufaayo ku nneewulira zaabwe. Bwe yalaba engeri abantu gye baali baagala ennyo okuwuliriza bye yali ayigiriza, Yesu yabakwatirwa ekisa “n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.” (Mak. 6:34) Ate Yesu bwe yayisibwanga obubi, ekyo tekyamuleetera kukozesa bigambo bibi eri abo abaabanga bamuyisizza obubi.—1 Peet. 2:23.

16, 17. (a) Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga twogera n’ab’eŋŋanda zaffe oba ne mikwano gyaffe mu kibiina? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.) (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ebirungi ebiyinza okuva mu kwogera mu ngeri ey’ekisa.

16 Oluusi tekiba kyangu kwegendereza bye twogera naddala bwe kiba nti abo be twogera nabo be bantu be tumanyidde. Tuyinza obuteefiirayo ku bye twogera. Ekyo kitera okubaawo nga twogera n’ab’eŋŋanda zaffe oba ne mikwano gyaffe mu kibiina. Naye okuba nti Yesu yalina enkolagana ey’oku lusegere n’abayigirizwa be kyamuleetera okwogera nabo mu ngeri eteri ya kisa? Nedda! Abagoberezi be bwe beeyongera okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu, Yesu yabawabula mu ngeri ey’ekisa era n’akozesa n’ekyokulabirako eky’omwana omuto okubayamba. (Mak. 9:33-37) Abakadde basaanidde okukoppa Yesu nga bawabula abalala “mu mwoyo omukkakkamu.”—Bag. 6:1.

17 Omuntu omulala ne bw’ayogera ekintu ekitunyiiza, bwe tumuddamu nga tukozesa ebigambo ebirungi kisobola okuvaamu ebibala. (Nge. 15:1) Ng’ekyokulabirako, waliwo mwannyinaffe omu eyali omuzadde ali obwannamunigina eyalina omwana omutiini eyali atambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Mwannyinaffe omulala yatuukirira mwannyinaffe oyo n’amugamba nti: “Kya nnaku nti olemereddwa okutendeka obulungi omwana wo.” Mwannyinaffe yasooka n’afumiitiriza, oluvannyuma n’amugamba nti: “Kyo kituufu nti mu kiseera kino ebintu tebitambula bulungi, naye okutendeka omwana kitwala ekiseera. Nkusaba oyogere nange oluvannyuma lwa Kalumagedoni; olwo nno tujja kumanya ekituufu.” Okuddamu mu ngeri eyo ey’ekisa, kyayamba mu kukuuma emirembe wakati wa bannyinaffe abo ababiri, era kyayamba ne mutabani wa mwannyinaffe oyo, eyali awo ku bbali ng’awulira bye boogera. Omwana oyo yakiraba nti maama we yali akyamulinamu essuubi. Ekyo kyamukubiriza okulekayo emikwano emibi gye yalina. Oluvannyuma lw’ekiseera, yabatizibwa era n’aweerezaako ne ku Beseri. Ka tube nga twogera ne bakkiriza bannaffe, n’ab’eŋŋanda zaffe, oba n’abantu be tutamanyi, bulijjo ebigambo byaffe bibeerenga “bya kisa, era nga binoze omunnyo.”—Bak. 4:6.

18. Bwe tukoppa Yesu kituyamba kitya okukozesa obulungi ekirabo eky’okwogera?

18 Mu butuufu, obusobozi bwe tulina obw’okwogera kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Ka tufube okukoppa Yesu nga tulonda ekiseera ekituufu eky’okwogereramu, nga tulonda ebigambo ebituufu eby’okwogera, era nga tufuba okwogera mu ngeri ey’ekisa. Bwe tunaakola bwe tutyo, ebigambo byaffe bijja kuzzaamu abalala amaanyi era tujja kusanyusa Yakuwa, Oyo eyatuwa ekirabo eky’okwogera.