Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Ajja Kukuyamba

Yakuwa Ajja Kukuyamba

“Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda.”—ZAB. 41:3.

ENNYIMBA: 23, 138

1, 2. Kiki oluusi kye tuyinza okwebuuza nga tuli balwadde, era bantu ki aboogerwako mu Bayibuli abeebuuza ebibuuzo ng’ebyo?

WALI obaddeko omulwadde ennyo ne weebuuza nti: ‘Ddala nnaasobola okuwona obulwadde buno?’ Oba omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo ayinza okuba nga yali mulwadde nnyo ne weeraliikirira obanga anaawona. Kya bulijjo okweraliikirira nga tulwadde obulwadde obw’amaanyi oba nga waliwo omuntu waffe alwadde. Mu Bayibuli tusoma ku bakabaka babiri abaaliwo mu biseera bya nnabbi Eriya ne nnabbi Erisa abaayolekaganako n’embeera bw’etyo. Omu ku bo yali Kabaka Akaziya, mutabani wa Kabaka Akabu ne Yezeberi. Yagwa ekigwo eky’amaanyi n’alwala, era ne yeebuuza nti: “Ndiwona endwadde eno?” Omulala yali Kabaka Benikadadi owa Busuuli. Yalwala obulwadde obw’amaanyi naye ne yeebuuza nti: “Ndiwona endwadde eno?”—2 Bassek. 1:2; 8:7, 8.

2 Bwe tuba abalwadde oba bwe tulwaza tuba n’essuubi nti tujja kussuuka oba nti omulwadde waffe ajja kussuuka. Kyokka bangi bwe baba abalwadde beebuuza obanga Katonda alina ky’ayinza okukolawo okubayamba. Mu biseera bakabaka abo aboogeddwako we baabeererawo, oluusi Katonda yawonyanga abantu mu ngeri ey’ekyamagero. Waliwo n’abantu abamu Yakuwa be yazuukiza ng’akozesa bannabbi be. (1 Bassek. 17:17-24; 2 Bassek. 4:17-20, 32-35) Naye waliwo ensonga yonna eyandituleetedde okulowooza nti bwe tulwala naffe Katonda ajja kutuwonya mu ngeri ey’ekyamagero mu kiseera kino?

3-5. Kiki Katonda ne Yesu kye basobola okukola, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

3 Tewali kubuusabuusa kwonna nti Katonda asobola okuwonya omuntu oba okumulwaza. Ekyo Bayibuli ekiwaako obukakafu. Waliwo abantu abamu, gamba nga Falaawo eyaliwo mu kiseera kya Ibulayimu ne Miriyamu mwannyina wa Musa, Katonda be yabonereza ng’abaleetera endwadde. (Lub. 12:17; Kubal. 12:9, 10; 2 Sam. 24:15) Katonda yagamba Abaisiraeri nti bwe batandibadde beesigwa gy’ali yandibaleetedde “buli ndwadde na buli kibonyoobonyo.” (Ma. 28:58-61) Era Yakuwa yaggyangawo endwadde oba n’aziziyiza okukwata abantu. (Kuv. 23:25; Ma. 7:15) Ate era Yakuwa alina abantu be yawonya. Yobu bwe yalwala ennyo n’atuuka n’okwegomba okufa, Katonda yamuwonya!—Yob 2:7; 3:11-13; 42:10, 16.

4 Mu butuufu, Katonda asobola okuwonya omuntu omulwadde. N’Omwana we naye asobola okuwonya omuntu omulwadde. Bayibuli eraga nti Yesu yawonya abagenge, abo abaali bagwa ensimbu, bamuzibe, n’abo abaali baasannyalala. (Soma Matayo 4:23, 24; Yok. 9:1-7) Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti ebyamagero ebyo Yesu bye yakola byali biraga ekyo ky’ajja okukola ku kigero eky’ensi yonna mu nsi empya. Mu kiseera ekyo, tewali n’omu ‘alyogera nti ndi mulwadde.’—Is. 33:24.

5 Kati olwo twandisuubidde Katonda ne Yesu okutuwonya mu ngeri ey’ekyamagero leero? Ndowooza ki gye twandibadde nayo ku ndwadde ez’amaanyi, era biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tusalawo ku by’obujjanjabi?

ANAAKUYAMBANGA NG’OLI KU NDIRI

6. Kiki kye tumanyi ku ‘kirabo eky’okuwonya’ abamu ku Bakristaayo abaasooka kye baalina?

6 Bayibuli eraga nti mu kyasa ekyasooka Katonda yasobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta okukola ebyamagero. (Bik. 3:2-7; 9:36-42) Mu ‘birabo eby’omwoyo ebitali bimu’ bye baaweebwa, mwe mwali ‘n’ekirabo eky’okuwonya.’ (1 Kol. 12:4-11) Naye ebirabo ebyo n’ebirabo ebirala, gamba ng’okwogera mu nnimi n’okwogera obunnabbi, byandituuse ekiseera ne bikoma. (1 Kol. 13:8) Ebirabo ebyo tebikyaliwo leero. N’olwekyo, tetusaanidde kusuubira Katonda kutuwonya oba okuwonya ab’eŋŋanda zaffe mu ngeri ey’ekyamagero.

7. Kiki Zabbuli 41:3 ky’etukakasa?

7 Wadde kiri kityo, okufaananako abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda, naffe bwe tulwala, tusaba Katonda okutubudaabuda, okutuwa amagezi, n’okutuyamba okuguma. Kabaka Dawudi yagamba nti: “Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw’akabi. Mukama anaamukuumanga, [era n’amubeesaawo nga mulamu].” (Zab. 41:1, 2) Tukimanyi nti mu kiseera kya Dawudi, omuntu yenna eyafangayo ku muntu omunaku teyawangaalanga mirembe na mirembe. N’olwekyo, Dawudi okwogera ebigambo ebyo yali tategeeza nti omuntu eyayambanga omwavu Katonda yandimukuumye mu ngeri ey’ekyamagero n’aba nga tasobola kufa. Dawudi ateekwa okuba nga yali ategeeza nti Katonda yandibadde ayamba omuntu afaayo ku munaku. Mu ngeri ki? Yagamba nti: ‘Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda: Onookyusiza ddala obuliri bwe nga mulwadde.’ (Zab. 41:3) Omuntu yenna eyafangayo ku munaku yalinga mukakafu nti Katonda yali amulaba era nti yali alaba ebintu ebirungi bye yakolanga. Obusobozi bw’okulwanyisa endwadde Katonda bwe yateeka mu mibiri gy’abantu bwandibadde buyamba omuntu ng’oyo okuwona obulwadde.

8. Okusinziira ku Zabbuli 41:4, kiki Dawudi kye yasaba Yakuwa?

8 Bwe yali ayogera ku mbeera gye yayitamu, Dawudi yagamba nti: “Nayogera nti ‘Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.’” (Zab. 41:4) Ebigambo ebyo Dawudi ayinza okuba nga yabyogera mu kiseera Abusaalomu we yali ng’agezaako okuwamba obwakabaka bwe. Mu kiseera ekyo Dawudi yali mulwadde nnyo nga tasobola kubaako ky’akolawo. Wadde nga Katonda yali amusonyiye, Dawudi teyeerabira ebyo ebyava mu kibi kye yakola ne Basuseba. (2 Sam. 12: 7-14) Wadde kyali kityo, Dawudi yali mukakafu nti Katonda yandibadde amufaako mu kiseera ekyo nga mulwadde. Naye Dawudi yali asaba Katonda amuwonye mu ngeri ey’ekyamagero?

9. (a) Embeera ya Dawudi yayawukanako etya ku ya Kabaka Keezeekiya? (b) Kiki Dawudi kye yali asuubira Yakuwa okumukolera?

9 Nga wayiseewo emyaka, Katonda yawonya Kabaka Keezeekiya eyalwala ennyo n’abulako katono okufa. Keezeekiya yawona obulwadde obwo era n’abeerawo emyaka emirala 15. (2 Bassek. 20:1-6) Kyokka Dawudi teyasaba Katonda amuwonye mu ngeri ey’ekyamagero. Ebigambo ebiri mu nnyiriri eziriraanyeewo biraga nti Dawudi yali ayagala Katonda amuyambe mu ngeri y’emu nga bwe yandiyambye omuntu afaayo ku munaku. Muno mwe mwali n’okumuyamba nga mulwadde. Olw’okuba Katonda yali asonyiye Dawudi ekibi kye yakola, Dawudi yali asobola okumusaba okumubudaabuda n’okusobozesa omubiri gwe okulwanyisa obulwadde obwali bumuluma. (Zab. 103:3) Naffe tusobola okukola kye kimu.

10. Ekyo ekyatuuka ku Tulofiimo ne Epafulodito kituyigiriza ki?

10 Katonda teyawonya Dawudi mu ngeri ya kyamagero wadde okumuwangaaza ennyo. Era bwe kityo bwe kyali n’eri Tulofiimo, omu ku abo abaakolanga ne Pawulo. Tukimanyi nti oluusi Pawulo yawonyanga abantu mu ngeri ey’ekyamagero (Soma Ebikolwa 14:8-10.) Yawonya “taata wa Pubuliyo eyali yeebase nga mulwadde omusujja n’ekiddukano.” Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira n’amussaako emikono n’amuwonya.” (Bik 28:8) Kyokka Pawulo teyawonya Tulofiimo eyali amuwerekeddeko mu lumu ku ŋŋendo ze yatambula ng’akola omulimu gw’obuminsani. (Bik. 20:3-5, 22; 21:29) Tulofiimo bwe yalwala n’aba nga tasobola kweyongerayo ne Pawulo, Pawulo teyamuwonya mu ngeri ya kyamagero, wabula yamuleka mu Mireeto asobole okuwona. (2 Tim. 4:20) Mu ngeri y’emu, Epafulodito bwe “yalwala n’abulako katono okufa,” Bayibuli teraga nti Pawulo yawonya mukwano gwe oyo mu ngeri ey’ekyamagero.—Baf. 2:25-27, 30.

MAGEZI KI G’OSAANIDDE OKUKOLERAKO?

11, 12. Kiki kye tumanyi ku Lukka, era ayinza kuba nga yayamba atya Pawulo?

11 “Lukka omusawo omwagalwa,” eyawandiika ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume naye yatambulanga ne Pawulo. (Bak. 4:14; Bik16:10-12; 20:5, 6) Lukka ateekwa okuba nga yawanga Pawulo amagezi agakwata ku by’obujjanjabi, era ateekwa okuba nga yamujjanjabanga awamu n’abalala be baatambulanga nabo. Lwaki Lukka kyali kimwetaagisa okukola bw’atyo? Kubanga ne Pawulo yalwalanga ng’ali ku ŋŋendo ze ez’obuminsani. (Bag. 4:13) Lukka yajjanjabanga abalwadde, era ng’ekyo kituukagana n’ebigambo bya Yesu bino: “Abalamu tebeetaaga musawo naye abalwadde be bamwetaaga.”—Luk. 5:31.

12 Bayibuli tetubuulira wa Lukka gye yasomera obusawo na ddi lwe yabusoma. Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi nti “Lukka omusawo” yali abalamusizza. Kirabika Pawulo yayogera bw’atyo ku Lukka olw’okuba Abakristaayo abo baali bakimanyi nti Lukka yali musawo. Lukka ayinza okuba nga yatendekebwa mu ssomero eryali litendeka abasawo eryali mu kibuga Lawodikiya ekyali kiriraanye ekibuga Kkolosaayi. Lukka yali musawo mutendeke so si muntu atali mutendeke eyali ayagala obwagazi okuwa amagezi agakwata ku by’obujjanjabi. Kino kyeyolekera mu lulimi olw’ekisawo lwe yakozesa mu Njiri ye ne mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, era n’okuba nti yayogera nnyo ku byamagero Yesu bye yakola ng’awonya abantu endwadde.

13. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tetunnawa magezi gakwata ku bya bujjanjabi oba nga tetunnagakkiriza?

13 Leero, tewali mukkiriza munnaffe yenna ayinza kutuwonya mu ngeri ya kyamagero. Naye olw’okuba bakkiriza bannaffe batufaako, oluusi bayinza okutuwa amagezi agakwata ku by’obujjanjabi, ne bwe kiba nti tetubasabye kugatuwa. Kyo kituufu nti amagezi agamu ge batuwa gayinza okutuyamba. Ng’ekyokulabirako, Timoseewo bwe yali alumwa olubuto, oboolyawo olw’okunywa amazzi g’omu kitundu agataali mayonjo, Pawulo yamugamba okunywa ku mwenge. * (Soma 1 Timoseewo 5:23.) Naye ekyo kyawukana ku kugezaako okusendasenda mukkiriza munno okukozesa eddagala erimu oba ekirungo ekimu ekiyinza okuba nga tekikola oba nga kya bulabe. Oluusi abantu abatuwa amagezi bayinza okutuwa ensonga nga zino: ‘Omu ku b’eŋŋanda zange yalina obulwadde bwe bumu n’akozesa eddagala lino, n’awona.’ Kyokka, omuntu bw’atuwa amagezi ng’ago, k’abe nga mwesimbu, kikulu okukijjukira nti oluusi n’eddala oba enzijanjaba ebimanyiddwa ennyo bisobola okuba eby’akabi.—Soma Engero 27:12.

BEERA MWEGENDEREZA

14, 15. (a) Abamu bwe balaba abalala nga balwadde kiki kye bakola? (b) Ebyo ebiri mu Engero 14:15 bituyamba bitya nga tusalawo ku by’obujjanjabi?

14 Abakristaayo twagala okuba abalamu obulungi kubanga tukimanyi nti ekyo kisobola okutuyamba okuweereza obulungi Yakuwa. Wadde kiri kityo, ffenna twasikira ekibi era tulwala. Bwe tulwala, waliwo obujjanjabi obutali bumu bwe tuba tusobola okukozesa. Buli muntu alina okwesalirawo ku lulwe bujjanjabi ki bw’anaakozesa. Naye eky’ennaku kiri nti mu nsi eno ejjudde abantu ab’omululu, abantu abamu bwe balaba abalala nga balwadde, bakatwala ng’akakisa ke bafunye okubakolamu ssente. Batunda eddagala eritali ttuufu naye ate ne baliwaanawaana nga bwe likola obulungi. Ate abantu abamu oba kampuni ezimu bakubiriza bantu okugula eddala ery’ebbeeyi olw’okwagala okubakolamu obukozi ssente. Abantu ng’abo bwe basanga omuntu omulwadde era omwetegefu okukola kyonna ekyetaagisa okusobola okuwona, kyangu omuntu oyo okukkiriza bye bamugamba. Naye Bayibuli egamba nti: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.”—Nge. 14:15.

15 Omuntu ow’amagezi tamala gakkiriza buli magezi agakwata ku by’obujjanjabi agamuweebwa, naddala singa oyo aba agamuwadde si mutendeke. Omuntu ow’amagezi asobola okwebuuza: ‘Omuntu ono aŋŋambye nti eddagala lino liriko gwe lyayamba, naye ddala waliwo abajulizi abamala abakakasa nti ddala oyo gw’ayogerako lyamuwonya? Abantu baawukana. Ddala waliwo ekintu kyonna kye nnyinza okusinziirako okulowooza nti nange eddagala eryo linannyamba? Kyandiba nti nneetaaga okwongera okunoonyereza ku nsonga eno oboolyawo n’okwebuuza ku bantu abalala abatendekeddwa mu kujjanjaba obulwadde bwe nnina?’—Ma. 17:6.

16. Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tusalawo ku by’obujjanjabi?

16 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza “okubeera n’endowooza ennuŋŋamu . . . mu nteekateeka eno ey’ebintu.” (Tit. 2:12) Ekyo kyetaagisa nnyo naddala singa obujjanjabi bwe batukubiriza okufuna buliko akabuuza oba nga tebutegeerekeka. Oyo abuwa oba oyo atukubiriza okubufuna asobola okunnyonnyola obulungi engeri obujjanjabi obwo gye bukolamu? Engeri obujjanjabi obwo gye bukolamu etegeerekeka bulungi era abasawo abatendeke bagisemba? (Nge. 22:29) Oba kyandiba nti tukyamuukiridde bukyamuukirizi? Kyandiba nti batugambye nti obujjanjabi obwo bwazuuliddwa mu kitundu ekimu ekiri ewala era nti abasawo bangi tebannabumanya? Naye ddala waliwo obukakafu bwonna nti obujjanjabi obwo bukozesebwa mu malwaliro era nti bukola? Abamu basobola n’okutuwa amagezi okukozesa obujjanjabi obuzingiramu okukozesa amaanyi agatategeerekeka oba ameekusifu. Tusaanidde okwesamba obujjanjabi ng’obwo kubanga Katonda atugamba okwewala eby’obusamize.—Ma. 18:10-12; Is. 1:13.

“MUNAABANGA BULUNGI!”

17. Kiki ffenna kye twagala?

17 Akakiiko Akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka kaawandiikira ebibiina ebbaluwa eyalimu ensonga enkulu ennyo. Oluvannyuma lw’okumenya ebintu Abakristaayo bye balina okwewala, ebbaluwa eyo yafundikira ng’egamba nti: “Bwe muneewalanga ebintu ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba!” (Bik. 15:29) Ebigambo “munaabanga bulungi” era bisobola okuvvuunulwa nga “munaabeeranga ba maanyi.” Mu butuufu, ffenna twagala okuba abalamu obulungi era twagala okuba ab’amaanyi nga tuweereza Katonda.

Twagala okuba abalamu obulungi era twagala okuba ab’amaanyi nga tuweereza Katonda (Laba akatundu 17)

18, 19. Kiki kye twesunga mu nsi empya?

18 Nga tukyali mu nteekateeka eno ey’ebintu tujja kweyongera okulwala. Tetusuubira kuwonyezebwa mu ngeri ya kyamagero. Wadde kiri kityo, Okubikkulirwa 22:1, 2 woogera ku kiseera lwe tujja okuwonyezebwa ddala. Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa n’alaba ‘omugga ogw’amazzi ag’obulamu n’emiti egy’obulamu eby’okuwonya amawanga.’ Wano yali tayogera ku ddagala ery’ekinnansi eririwo kati oba erinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Mu kifo ky’ekyo, yali ayogera ku nteekateeka Yakuwa z’akoze okuyitira mu Yesu Kristo okusobozesa abantu abawulize okufuna obulamu obutaggwaawo, ekintu ffenna kye twesunga.—Is. 35:5, 6.

19 Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tukimanyi nti Yakuwa atufaako kinnoomu ne bwe tuba nga tuli balwadde. Okufaananako Dawudi, tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuyamba nga tuli balwadde. Era okufaananako Dawudi naffe tusobola okugamba nti: “Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange, era onteeka mu maaso go ennaku zonna.”—Zab. 41:12.

^ lup. 13 Ekitabo ekiyitibwa The Origins and Ancient History of Wine kigamba nti: “Kizuuliddwa nti obuwuka obuleeta endwadde ya typhoid n’obuwuka obulala obw’akabi, omwenge gubutta mangu.”