Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu
“Nkwegayiridde, wulira, nange ka njogere.”—YOB. 42:4.
ENNYIMBA: 113, 114
1-3. (a) Lwaki olulimi Katonda lw’ayogera n’engeri gy’awuliziganyaamu n’abalala bya waggulu nnyo ku by’abantu? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
KATONDA abeerawo emirembe n’emirembe yatonda ebitonde ebitegeera ng’ayagala nabyo bibeere n’obulamu era bibeere bisanyufu. (Zab. 36:9; 1 Tim. 1:11) Ekitonde Katonda kye yasooka okutonda, omutume Yokaana yakiyita “Kigambo” era “omubereberye w’ebitonde bya Katonda.” (Yok. 1:1; Kub. 3:14) Yakuwa yayogeranga n’Omwana we oyo omubereberye ng’amutegeeza by’ayagala n’enneewulira ze. (Yok. 1:14, 17; Bak. 1:15) Ate omutume Pawulo yayogera ku ‘nnimi za bamalayika,’ ng’eno ye ngeri abo abali mu ggulu gye bawuliziganyaamu era ya waggulu nnyo ku y’abantu.—1 Kol. 13:1.
2 Yakuwa amanyi bulungi ebitonde bye byonna ebitegeera, ebiri ku nsi n’ebiri mu ggulu. Abantu bukadde na bukadde basaba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo mu kiseera kye kimu. Yakuwa awulira essaala ezo ate nga mu kiseera kye kimu aba ayogera n’ebitonde bye eby’omu ggulu era ng’abiwa obulagirizi. Ekyo kiraga nti ebirowoozo bye, olulimi lwe, n’engeri gy’awuliziganyaamu n’abalala bya waggulu nnyo ku by’abantu. (Soma Isaaya 55:8, 9.) N’olwekyo, Yakuwa bw’aba ayogera n’abantu akakasa nti ayogera nabo mu ngeri ennyangu okutegeera.
3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu Katonda by’azze akola okusobola okwogera eri abantu mu ngeri ennyangu okutegeera. Era
tugenda kulaba engeri gy’atuukana n’embeera okusobola okwogera eri abantu.KATONDA AYOGERA ERI ABANTU
4. (a) Lulimi ki Yakuwa lwe yakozesa okwogera ne Musa, Samwiri, ne Dawudi? (b) Biki ebiri mu Bayibuli?
4 Yakuwa yayogera ne Adamu mu lusuku Adeni ng’akozesa olulimi lw’abantu, era kirabika Yakuwa yakozesa Lwebbulaniya olw’edda ng’ayogera ne Adamu. Nga wayise ekiseera, yabaako ebintu by’ategeeza abawandiisi ba Bayibuli abaali boogera Olwebbulaniya, gamba nga Musa, Samwiri, ne Dawudi, era ebyo bye yabategeeza baabiwandiika mu bigambo byabwe era baabisengeka mu ngeri ez’enjawulo. Ng’oggyeeko okuwandiika butereevu ebigambo Katonda bye yabanga ayogedde, baawandiika ne ku ngeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu be, nga mw’otwalidde n’engeri abantu be gye baayolekamu okukkiriza n’okwagala awamu n’ensobi ze baakola. Ebintu ebyo byonna bituganyula nnyo leero.—Bar. 15:4.
5. Yakuwa yali yeetaagisa abantu be bakozese Lwebbulaniya lwokka? Nnyonnyola.
5 Embeera bwe zaagenda zikyuka, Katonda naye yakyusaamu n’akozesa n’ennimi endala ezitali Lwebbulaniya. Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuva mu buwambe e Babulooni, abamu ku bo baatandika okukozesa Olulamayiki. Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Danyeri ne Yeremiya ne Ezera kabona okuwandiika ebitundu ebimu eby’ebitabo bya Bayibuli bye baawandiika mu Lulamayiki.—Laba obugambo obuli wansi mu Ezera 4:8; 7:12; Yeremiya 10:11; ne Danyeri 2:4 mu Nkyusa ey’Ensi Empya.
6. Ekigambo kya Katonda kyatuuka kitya okuba mu nnimi endala ng’oggyeeko Olwebbulaniya?
6 Ekiseera kyatuuka Alekizanda Omukulu n’awamba ebitundu by’ensi bingi era Olukoyine, kwe kugamba, Oluyonaani olwali lwogerwa abantu ba bulijjo ne lubuna mu bitundu by’ensi bingi. Abayudaaya bangi baatandika okwogera olulimi olwo era ekyo kyaviirako Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okuvvuunulwa mu Luyonaani. Kigambibwa nti enzivuunula eyo yavvuunulwa abantu 72, era eyitibwa Septuagint. Eyo ye nzivuunula ya Bayibuli eyasooka era nkulu nnyo. * Abavvuunuzi abo bavvuunula mu ngeri ez’enjawulo: abamu bavvuunula kigambo ku kigambo ate abalala amakulu g’ebyawandiikibwa baafuba okugateeka mu bigambo byabwe. Wadde kyali kityo, Abayudaaya abaali boogera Oluyonaani awamu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, Septuagint eyo baagitwalanga ng’Ekigambo kya Katonda.
7. Lulimi ki Yesu lw’ayinza okuba nga yakozesa okuyigiriza abayigirizwa be?
7 Omwana wa Katonda omubereberye bwe yali wano ku nsi, ayinza okuba nga yayogeranga era nga yayigirizanga mu Lwebbulaniya. (Yok. 19:20; 20:16; Bik. 26:14) Olwebbulaniya olwayogerwanga mu kyasa ekyasooka luyinza okuba nga lwalimu n’ebigambo by’Olulamayiki. Kyokka, Yesu yali amanyi n’Olwebbulaniya olw’edda olwayogerwanga mu kiseera kya Musa ne bannabbi abalala, era olwasomebwanga mu makuŋŋaaniro buli wiiki. (Luk. 4: 17-19; 24:44, 45; Bik. 15:21) Okugatta ku ekyo, olulimi Oluyonaani n’Olulattini nazo zaayogerwanga mu Isiraeri. Ebyawandiikibwa tebitubuulira obanga Yesu yayogeranga n’ennimi ezo.
8, 9. Amawulire amalungi bwe gaagenda gasaasaana, lwaki Oluyonaani lwatandika okukozesebwa ennyo mu bantu ba Katonda, era ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa?
8 Abagoberezi ba Yesu abaasooka baali bamanyi Olwebbulaniya, naye oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu abagoberezi be * Ebbaluwa omutume Pawulo ze yawandiika n’ebitabo ebirala ebyaluŋŋamizibwa byali mu Luyonaani.
baayogeranga n’ennimi endala. (Soma Ebikolwa 6:1.) Amawulire amalungi bwe gaagenda gasaasaana, ekiseera kyatuuka bangi ku Bakristaayo ne baba nga boogera Luyonaani. Mu butuufu, ebitabo by’Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana, omuli ebintu Yesu bye yayigiriza ne bye yakola, bangi baabifunanga mu Luyonaani. Bwe kityo, abayigirizwa bangi baali boogera Luyonaani so si Lwebbulaniya.9 Abo abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bwe baabanga bajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, baabijulizanga mu Septuagint. Ebimu ku ebyo bye baajuliza byawukanamu katono ku ngeri Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya gye byawandiikibwamu, naye kati bye bimu ku Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa. Bwe kityo, omulimu ogwakolebwa abantu abatatuukiridde gwafuuka kitundu ky’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa Katonda atasosola mu mawanga n’ennimi.—Soma Ebikolwa 10:34.
10. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’ayogeramu n’abantu?
10 Ebyo bye tulabye ku ngeri Yakuwa gy’ayogeramu n’abantu biraga nti Yakuwa ayogera n’abantu okusinziira ku mbeera eba eriwo. Tatwetaagisa kuyiga lulimi lumu okusobola okumumanya n’okumanya ebigendererwa bye. (Soma Zekkaliya 8:23; Okubikkulirwa 7:9, 10.) Yakuwa ye yaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli, naye yabaleka okugiwandiika mu ngeri ez’enjawulo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KIKUUMIBWA
11. Lwaki okuba nti abantu boogera ennimi za njawulo tekiremesezza Katonda kwogera gye bali?
11 Okuba nti abantu bakozesa ennimi ez’enjawulo n’okuba nti waliwo enjawulo entonotono mu nzivuunula za Bayibuli ezitali zimu kiremesezza obubaka bwa Katonda okutuuka ku bantu? Nedda. Ng’ekyokulabirako, tumanyi ebigambo bitono nnyo eby’olulimi Yesu lwe yayogeranga. (Mat. 27:46; Mak. 5:41; 7:34; 14:36) Kyokka Yakuwa yakakasa nti ebigambo bya Yesu biwandiikibwa era ne bivvuunulwa mu Luyonaani n’oluvannyuma mu nnimi endala. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abayudaaya n’Abakristaayo abatali bamu baakoppolola ebiwandiiko bya Bayibuli bingi, ekyayamba Ekigambo kya Katonda okukuumibwa. Ebiwandiiko ebyo byavvuunulwa mu nnimi endala nnyingi. John Chrysostom eyaliwo mu kyasa eky’okuna oba eky’okutaano E.E. yagamba nti mu kiseera ekyo ebyo Yesu bye yayigiriza byali bivvuunuddwa mu nnimi z’Abasuuli, ez’Abamisiri, ez’Abayindi, ez’Abaperusi, ez’Abeesiyopiya, ne mu nnimi endala nnyingi.
12. Abantu baagezaako batya okusaanyaawo Bayibuli?
12 Okuvvuunula Bayibuli mu nnimi ezitali zimu kyalemesa kaweefube eyakolebwa abantu, gamba nga empula wa Rooma Diocletian, eyawa ekiragiro mu mwaka gwa 303 E.E. 2 Timoseewo 2:9.
nti Bayibuli zonna zisaanyizibwewo. Waaliwo abantu bangi abaalwanyisa Ekigambo kya Katonda era abaalwanyisa n’abo abaali bakivvuunula oba abaali bakisaasaanya. Mu kyasa ekya 16, William Tyndale yatandika okuvvuunula Bayibuli okuva mu Lwebbulaniya n’Oluyonaani okugizza mu Lungereza, era yagamba omusajja omu eyali omuyivu nti: “Singa Katonda ankuuma, mu myaka mitono nja kusobozesa omulenzi alima okutegeera Ebyawandiikibwa okukusinga.” Tyndale yalina okudduka mu Bungereza n’agenda mu nsi emu ey’omu Bulaaya asobole okuvvuunula Bayibuli n’okugikuba mu kyapa. Wadde ng’abakulembeze b’amadiini baakola kyonna ekisoboka okusaanyaawo Bayibuli nga bazookya mu lujjudde, Bayibuli zeeyongera bweyongezi okusaasaana. Ekiseera kyatuuka, Tyndale n’aliibwamu olukwe n’akwatibwa, n’atugibwa, era ne bamwokera ku muti. Naye Bayibuli gye yavvuunula yasigalawo. Bayibuli eyo yeeyambisibwa nnyo mu kuvvuunula enkyusa ya Bayibuli eya King James abantu bangi gye balina.—Soma13. Kiki ekizuuliddwa oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko eby’edda?
13 Kyo kituufu nti kopi za Bayibuli ezimu ez’edda zirimu ensobi entonotono n’enjawulo entonotono. Naye waliwo ebiwandiiko bya Bayibuli, emizingo, n’enzivuunula ezitali zimu eby’edda abeekenneenya ba Bayibuli bye bageraageranyizza era ne babyetegereza bulungi. Bakizudde nti waliwo ennyiriri ntono nnyo ezaawukanamu era nti enjawukana ezizirimu si za maanyi. Kyokka okutwalira awamu obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyuka. Ebyo ebizuuliddwa oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko eby’edda bikakasa nti ebyo ebiri mu Bayibuli leero by’ebyo byennyini Yakuwa bye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika.—Is. 40:8. *
14. Bayibuli esaasaanyiziddwa kwenkana wa?
14 Wadde ng’abalabe ba Katonda bakoze kyonna ekisoboka okusaanyaawo Bayibuli, Yakuwa akakasizza nti Bayibuli kye kitabo ekisinzeeyo okuvvuunulwa mu byafaayo byonna. Ne mu kiseera kino ng’abantu abasinga obungi balina okukkiriza kutono mu Katonda, Bayibuli kye kitabo abantu kye basinga okugula, era kati esobola okufunibwa mu nnimi ezisukka mu 2,800, mu bulambalamba oba mu bitundutundu. Bayibuli kye kitabo ekisinzeeyo okusaasaanyizibwa mu nsi yonna. Enzivuunula za Bayibuli ezimu tezitegeerekeka bulungi oba tezeesigika nnyo. Wadde kiri kityo, kyenkana enzivuunula za Bayibuli zonna zisobola okuyamba omuntu okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda.
KYALI KYETAAGISA OKUFULUMYA ENKYUSA YA BAYIBULI ENDALA
15. (a) Ebitabo byaffe bisobodde bitya okutuuka ku bantu aboogera ennimi ez’enjawulo? (b) Lwaki ebitabo byaffe bisooka kuwandiikibwa mu Lungereza?
15 Mu 1919 waaliwo abayizi ba Bayibuli abatonotono abaalondebwa okuba “omuddu Mat. 24:45) Omuddu oyo akoze kyonna ekisoboka okutuusa emmere ey’eby’omwoyo ku bantu mu nnimi nnyingi, era ennimi ezo kati zisukka mu 700. Okufaananako Olukoyine (Oluyonaani) olwayogerwanga mu kyasa ekyasooka, leero, Olungereza lwe lulimi olusingayo okukozesebwa mu nsi yonna. N’olwekyo, ebitabo byaffe biwandiikibwa mu Lungereza ne bivvuunulwa mu nnimi endala.
omwesigwa era ow’amagezi.” Mu kiseera ekyo okusingira ddala omuddu omwesigwa yayogeranga “n’ab’omu nju’ ng’akozesa Lungereza. (16, 17. (a) Kiki abantu ba Katonda kye baali beetaaga? (b) Era obwetaavu obwo bwakolebwako butya? (c) Kiki Ow’oluganda Knorr kye yali ayagala?
16 Ebitabo byaffe byonna byesigamiziddwa ku Bayibuli. Mu myaka gya 1950 Bayibuli ya King James Version eya 1611 ye yali esinga okukozesebwa abantu. Naye olulimi lwayo lwali lukadde nnyo. Era erinnya lya Katonda lyalimu emirundi mitono, so ng’ate ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda byalimu erinnya lya Katonda emirundi mingi nnyo. Ate era mu bifo ebimu, enkyusa eyo yalimu ensobi abavvuunuzi ze baakola era yalimu n’ennyiriri ezimu ezitasangibwa mu biwandiiko eby’edda ebyesigika. N’enkyusa za Bayibuli endala ezaaliwo mu kiseera ekyo nazo zaalimu ensobi ezifaananako ng’ezo.
17 Bwe kityo, Bayibuli eyali eggyayo amakulu amatuufu ag’Ebyawandikibwa era ng’olulimi lwayo lutegeerekeka bulungi yali yeetaagisa. N’olw’ensonga eyo, wassibwawo akakiiko ka New World Bible Translation era mu bbanga lya myaka kkumi, okuva mu 1950 okutuuka mu 1960, ab’oluganda abaali ku kakiiko ako baafulumya emizingo mukaaga egya Bayibuli. Omuzingo ogwasooka gwafulumizibwa nga Agusito 2, 1950, ku lukuŋŋaana olunene. Ku lukuŋŋaana olwo, Ow’oluganda N. H. Knorr yagamba nti abantu ba Katonda baali beetaaga enkyusa ya Bayibuli eggyayo amakulu amatuufu ag’Ebyawandiikibwa, etegeerekeka obulungi, era eyandibasobozesezza okutegeera obulungi amazima. Era okufaananako abayigirizwa ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, abantu ba Katonda baali beetaaga enkyusa ya Bayibuli ennyangu okusoma. Ow’oluganda Knorr kye yali ayagala kwe kuba nti Enkyusa ey’Ensi Empya esobozesa abantu bangi nga bwe kisoboka okumanya Yakuwa.
18. Kiki ekisobozesezza Bayibuli okuvvuunulwa mu nnimi nnyingi?
18 Ekyo Ow’oluganda Knorr kye yali ayagala kyatuukirizibwa mu 1963, Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bwe yafulumizibwa mu nnimi endala mukaaga: mu Ludaaki, mu Lufalansa, mu Lugirimaani, mu Luyitale, mu Lupotugo, ne mu Lusipeyini. Mu 1989 Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kaateekawo ekitongole ku kitebe kyaffe ekikulu okulabirira omulimu ogw’okuvvuunula Bayibuli. Ate mu 2005, essira lyassibwa ku kuvvuunula Bayibuli mu nnimi magazini eno mw’efulumira. Leero Enkyusa ey’Ensi Empya ekubiddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka mu 130.
19. Kintu ki ekikulu ekyaliwo mu 2013, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, kyeyoleka kaati nti olulimi olwakozesebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza lwali lwetaaga okukyusibwamuko okusobola okutuukana n’Olungereza olwogerwa mu kiseera kino. Ku wiikendi ya Okitobba 5 ne 6, 2013, abantu 1,413,676 mu nsi 31 baaliwo oba baayungibwa ku lukuŋŋaana olubaawo buli mwaka olwa 129 olwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Bonna baasanyuka nnyo okuwulira ng’omu ku b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi ng’afulumya Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza. Bangi baakulukusa amaziga nga baweebwa Bayibuli eyo empya. Ebyawandiikibwa bwe byali bisomebwa mu Bayibuli eyo empya, bangi baakiraba nti ddala Olungereza olulimu lutegeerekeka bulungi nnyo. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku Bayibuli eyo awamu n’enkyusa za Bayibuli endala ezivvuunuddwa okuva mu Bayibuli eyo.
^ lup. 6 Ekigambo Septuagint kitegeeza “Nsanvu.” Kigambibwa nti omulimu gw’okuvvuunula Septuagint gwatandikira mu Misiri mu kyasa eky’okusatu E.E.T. era ne guggwa awo nga mu 150 E.E.T. Enzivvuunula eyo ya mugaso nnyo ne leero, kubanga eyamba abeekenneenya ba Bayibuli okutegeera amakulu g’ebigambo by’Olwebbulaniya ebitali byangu kutegeera n’amakulu g’ennyiriri ezimu.
^ lup. 8 Abamu bagamba nti Matayo Enjiri ye yagiwandiika mu Lwebbulaniya oluvannyuma n’evvuunulwa mu Luyonaani, era nti Matayo ayinza okuba nga ye yagivvuunula.
^ lup. 13 Laba Appendix A3 mu New World Translation eya 2013; n’akatabo A Book for All People, lup. 7-9, wansi w’omutwe “Bayibuli Yakuumibwa Etya?”