Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okugonjoola Obutakkaanya

Okugonjoola Obutakkaanya

Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka

Okugonjoola Obutakkaanya

Omwami agamba nti: “Bwe twamala okufumbiriganwa, nze ne Sarah * twabeeranga mu maka ga bazadde bange. Lumu, muganzi wa muganda wange yansaba okumuzzaayo ewuwe mu mmotoka yaffe. Nnakkiriza era nnagenda ne mutabani wange omuto. Naye nnagenda okudda eka nga Sarah munyiivu nnyo. Twatandika okuyombera mu maaso ga bazadde bange era n’ampita mwenzi. Nnawulira obusungu era bye nnayogera byayongera bwongezi kumunyiiza.”

Omukyala agamba nti: “Mutabani waffe alina obulwadde obw’amaanyi, ate mu kiseera ekyo tetwalina bulungi ssente. N’olwekyo Fernando bwe yagendera mu mmotoka ne muganzi wa muganda we wamu ne mutabani waffe, waliwo ebintu ebyannyiiza. Bwe yakomawo nnamubuulira ekyandi ku mutima. Twayomba nnyo era ne twevuma. Oluvannyuma nnawulira bubi nnyo.”

ABAFUMBO bwe bayomba kitegeeza nti tebakyayagalana? Nedda! Fernando ne Sarah, aboogeddwako waggulu, baagalana nnyo. Kyokka, obufumbo ka bube bulungi butya, oluusi wabaawo obutakkaanya.

Obutakkaanya buva ku ki, era kiki ky’oyinza okukola okubugonjoola? Olw’okuba Katonda ye yatandikawo obufumbo, kiba kya magezi okwetegereza ky’agamba ku nsonga eno mu Kigambo kye Baibuli.​—Olubereberye 2:21, 22; 2 Timoseewo 3:16, 17.

Okutegeera Ekivaako Ebizibu

Abafumbo abasinga bandyagadde okweyisa mu ngeri eraga okwagala n’ekisa. Kyokka, Baibuli egamba nti “bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) N’olwekyo, bwe wabaawo obutakkaanya, kiyinza okuba ekizibu okusigala ng’oli mukkakkamu. Bwe wabalukawo oluyombo, abamu kiyinza okubazibuwalira okwewala engeri zaabwe embi, gamba ng’okwogerera waggulu n’okuvuma. (Abaruumi 7:21; Abaefeso 4:31) Biki ebirala ebiyinza okumalawo emirembe?

Omwami engeri gy’ayogeramu ky’ayagala etera okwawukana ku y’omukyala. Michiko agamba nti: “Bwe twali twakafumbiriganwa, nnakizuula nti engeri nze gye nkwatamu ensonga ya njawulo ku y’omwami wange. Nze njagala nnyo okwogera ku kiki ekyabaddewo, lwaki kyabaddewo, n’engeri gye kyabaddewo. Naye omwami wange ye ayagala kumanya kiki kyabaddewo kyokka.”

Michiko si ye yekka alina ekizibu kino. Mu bufumbo bungi, omu ayinza okuba ng’ayagala kulambulula nsonga yonna, ate nga ye munne tayagala bya kukaayana era yeewala okubyogerako. Oluusi, omu gy’akoma okugezaako okwogera ku kizibu, munne gy’akoma okukyewala. Obufumbo bwo nabwo bwe butyo bwe buli? Omu ku mmwe atera okugezaako okwogera ku kizibu, ng’ate omulala akyewala?

Ekirala eky’okulowoozaako kiri nti engeri buli omu gy’ayogeramu ne munne mu bufumbo esinziira nnyo ku maka mwe yakulira. Justin, eyakamala emyaka etaano mu bufumbo, agamba nti: “Mu maka gye nnakulira twali basirise era kinzibuwalira okweyabiza omuntu. Kino mukyala wange tekimusanyusa. Ewaabwe bantu boogezi, era tazibuwalirwa kumbulira kimuli ku mutima.”

Lwaki Mwandifubye Okugonjoola Ebizibu?

Abanoonyereza ku by’obufumbo bakizudde nti ekisinga okulaga obanga obufumbo bunaaba bulungi oba nedda, si gye mirundi buli omu gy’agamba munne nti amwagala. Era si kwe kuba nti mukwatagana bulungi ku nsonga y’okwetaba, wadde okuba nti mulina ssente nnyingi. Mu kifo ky’ebyo byonna, ekisinga okulaga obanga obufumbo bujja kuba bulungi oba nedda y’engeri omwami n’omukyala gye bagonjoolamu obutakkaanya obubalukawo.

Ng’oggyeko ekyo, Yesu yagamba nti abantu bwe bafumbiriganwa, Katonda y’aba abagasse, so si muntu yenna. (Matayo 19:4-6) N’olwekyo, obufumbo obulungi bulina okuweesa Katonda ekitiibwa. Naye, omwami bw’atalaga mukazi we kwagala na kisa, Yakuwa Katonda ayinza obutawuliriza ssaala ze. (1 Peetero 3:7) Omukyala bw’atawa bba kitiibwa, aba anyoomye Yakuwa eyalonda omwami okuba omutwe gw’amaka.​—1 Abakkolinso 11:3.

Ebinaakuyamba​​—Weewale Enjogera Embi

K’obe nga wakulira mu maka ga ngeri ki, waliwo enjogera gy’olina okwewala bw’oba ow’okukolera ku misingi gya Baibuli ng’ogonjoola obutakkaanya. Weebuuze ebibuuzo bino wammanga:

‘Nneewala okwesasuza?’ Olugero olumu lugamba nti: “Okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: n’okunyigiriza kw’obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.” (Engero 30:33) Ekyo kitegeeza ki? Lowooza ku kyokulabirako kino. Obutakkaanya ku nsasaanya y’ensimbi mu maka (“okukekkereza ensimbi”) buyinza okuvaamu oluyombo buli omu n’avuma munne (“weeyisa ng’omwana omuto”). Kituufu nti singa munno ‘akunyiga ennyindo’ ng’akuvuma, naawe oyinza okwagala ‘okunyiga’ eyiye. Naye jjukira nti okwesasuza kyongera bwongezi kwonoona mbeera.

Omuwandiisi wa Baibuli Yakobo yagamba: “Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo. N’olulimi muliro.” (Yakobo 3:5, 6) Abafumbo bwe batafuga lulimi lwabwe, obuntu obutono buyinza okuvaamu ennyombo ez’amaanyi. Era obufumbo bwe buba butera okubaamu ennyombo ng’ezo, kiba kizibu okulagaŋŋana okwagala.

Mu kifo ky’okwesasuza, oyinza okukola nga Yesu ‘ataavuma bwe yali avumibwa’? (1 Peetero 2:23) Ekisinga okumalawo amangu ennyombo kwe kuwuliriza munno ky’agamba era n’omwetondera olw’ebitasaana by’oba oyogedde.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Olulala bwe wajjawo obutakkaanya, weebuuze nti: ‘Kinzijjako ki okukkiriza nti munnange ky’agamba kirimu ensa? Nnandiba nga nnina kye nkoze ekireese oluyombo? Kiki ekiŋŋaana okwetonda?’

‘Munnange by’agamba mbitwala ng’ebitali bikulu?’ Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mwenna mubeerenga n’emmeeme emu, abasaasiragana.” (1 Peetero 3:8) Lowooza ku bintu bibiri ebiyinza okukulemesa okukolera ku magezi gano. Ekisooka, oyinza okuba nga tomanyi kiri mu mutima gwa munno. Ng’ekyokulabirako, ekintu bwe kiba nga munno kimuyisizza bubi okusinga gwe, kyangu okumugamba nti, “Nnaawe leka kweraliikirira bitaliimu.” Oyinza okuba ng’ogezaako kumuyamba kulaba nsonga mu ngeri ennuŋŋamu. Kyokka ebigambo ng’ebyo tebitera kubaako gwe bibuddaabuda. Omwami oba omukyala omufumbo kimuzzaamu amaanyi bw’akimanya nti munne amutegeera era amulumirirwa.

Okwetwalira waggulu nakyo kiyinza okuleetera omuntu obutafa ku munne ky’agamba. Omuntu ng’oyo yesukkulumya ku balala ng’abafeebya buli kiseera. Kino ayinza okukikola ng’abayita amannya agasoomooza oba ng’abafaananya ebintu ebibi. Lowooza ku Bafalisaayo n’abawandiisi ab’omu kiseera kya Yesu. Omuntu yenna​—ne bwe yabanga Mufalisaayo munnaabwe​—bwe yayogeranga ekintu ekyawukana ku kyabwe, nga batandika okumuyita amannya agaweebuula n’okwogera ebimufeebya. (Yokaana 7:45-52) Naye Yesu si bwe yakolanga. Yafaangayo ku balala kye bamugamba.​—Matayo 20:29-34; Makko 5:25-34.

Lowooza ku ngeri gye weeyisaamu nga munno akubuulidde ekimuluma. By’oyogera, eddoboozi lyo, n’engeri gy’omutunuuliramu biraga nti omulumirirwa? Oba omulagirawo nti by’ayogera temuli nsa?

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mu wiiki ezijja, weetegereze engeri gy’oyogeramu ne munno. Bw’ayogera ekintu n’omulagirawo nti si kikulu oba bw’oyogera ekintu ekimuweebuula, weetonde amangu ago.

‘Ntera okubuusabuusa ebigendererwa bya munnange?’ “Yobu atiira bwereere Katonda? Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna?” (Yobu 1:9, 10) Setaani bwe yayogera ebigambo ebyo, yabuusabuusa ebigendererwa bya Yobu.

Abafumbo bwe bataba beegendereza, bayinza okwesanga nga bakola ekintu kye kimu. Ng’ekyokulabirako, munno bw’akukolera ekintu ekirungi, otandika okulowooza nti alina kyakwagalako oba ky’akukweka? Bw’oba n’endowooza nti munno takufaako, buli nsobi gy’akola ogiraba nga bukakafu nti ddala ky’olowooza kituufu? Mu kaseera ako otandika okujjukira buli nsobi gye yali akoze?

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Wandiika olukalala lw’ebintu ebirungi munno by’akukoledde n’ensonga kw’avudde okukulowoozaako bw’atyo.

Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okwagala . . . tekusiba bubi ku mwoyo.” (1 Abakkolinso 13:4, 5) Okuba n’okwagala okwa nnamaddala tekitegeeza butalaba nsobi za balala. Naye era tekitegeeza kuzitereka. Pawulo yayongera n’agamba nti okwagala “kukkiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:7) Kino tekitegeeza nti okwagala kukkiriza buli ekyogerwa, wabula kitegeeza kuba mwetegefu okwesiga abalala. Okwagala tekubuusabuusa wadde okwekengera abalala. Okwagala okwogerwako mu Baibuli kuleetera omuntu okuba omwetegefu okusonyiwa n’obutabuusabuusa bigendererwa bya balala. (Zabbuli 86:5; Abaefeso 4:32) Abafumbo bwe booleka okwagala nga kuno bajja kuba n’obufumbo obulungi.

WEEBUUZE. . . .

▪ Abafumbo abaayogeddwako ku ntandikwa baakola nsobi ki?

▪ Nsobola ntya okwewala okukola ensobi bwe zityo mu bufumbo bwange?

▪ Ku ebyo byonna ebyogeddwako mu kitundu kino, kiruwa kye nsinga okwetaaga okukolako?

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.