Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omusumba Akufaako

Omusumba Akufaako

Semberera Katonda

Omusumba Akufaako

Matayo 18:12-14

‘DDALA Katonda anfaako?’ Bw’oba wali weebuuzizzaako ekibuuzo ekyo, si gwe osoose. Bangi ku ffe tufunye ebizibu bingi era oluusi tuyinza n’okwebuuza obanga Omutonzi w’eggulu n’ensi ebitutuukako bimukwatako. Twandyagadde okumanya obanga ddala Yakuwa Katonda atufaako kinnoomu. Bwe yali ku nsi, Yesu, amanyi obulungi Yakuwa, yawa ekyokulabirako ekituyamba okumanya ekituufu.

Ng’ageraageranya Yakuwa ku musumba alabirira obulungi endiga ze, Yesu yagamba nti: “Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu ku zo bw’ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko? Era bw’aba ng’agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.” (Matayo 18:12-14) Ka tulabe engeri Yesu gye yalaga mu kyokulabirako kino nti Yakuwa afaayo ku baweereza Be kinnoomu.

Omusumba buli ndiga yagitwalanga nga ya muwendo. Emu ku zo bwe yabanga ebuze, yamanyanga ndiga ki ebuze. Buli emu yabanga agimanyi erinnya. (Yokaana 10:3) Omusumba omulungi nga taweera okutuusa ng’azudde endiga eyabanga ebuze n’agikomyawo mu kisibo. Mu kugenda okunoonya endiga ebuze, ziri 99 yabanga tazisuuliridde. Abasumba baateranga okulundira awamu ebisibo byabwe. * Bwe kityo omusumba bwe yabanga agenze okunoonya endiga ye ebuze, endala yazirekeranga basumba banne. Omusumba bwe yazuulanga endiga ye nga tetuukiddwako kabi konna, yasanyukanga nnyo. Yasitulanga endiga eno n’agissa ku kibegabega era n’agizzaayo mu kisibo.​—Lukka 15:5, 6.

Ng’alaga amakulu agali mu kyokulabirako ekyo, Yesu yagamba nti Katonda tayagala wadde “omu ku abo abato bano okuzikirira.” Emabegako, Yesu yali alabudde abayigirizwa be obuteesittaza omu “ku abo abato bano [abamukkiriza].” (Matayo 18:6) Kati olwo ekyokulabirako kya Yesu kino kituyigiriza ki ku Yakuwa? Kituyigiriza nti ye Musumba afaayo ennyo ku buli emu ku ndiga ze, nga mw’otwalidde ‘n’abato’​—abo abayinza okulabika ng’abatalina mugaso mu nsi. Yee, Katonda amanyi buli omu ku baweereza be era amutwala nga wa muwendo.

Bw’oba oyagala okukakasa nti oli wa muwendo mu maaso ga Katonda, lwaki toyiga ebisingawo ku Musumba Omukulu, Yakuwa Katonda, otegeere n’engeri gy’oyinza okumusembereramu? Bw’onookola bw’otyo, ojja kuwulira ng’omutume Peetero, eyaliwo nga Yesu awa ekyokulabirako ekyo. Oluvannyuma Peetero yawandiika nti: ‘Musindikirenga Katonda ebibeeraliikiriza byonna, kubanga abafaako.’​—1 Peetero 5:7, NW.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okwawula ebisibo tekyabanga kizibu kubanga buli ndiga yalinga emanyi eddoboozi ly’omusumba waayo.​—Yokaana 10:4.