Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Twetaaga Okununulibwa!

Twetaaga Okununulibwa!

Twetaaga Okununulibwa!

LUMU amazzi gaayanjala ne gayingira ekirombe ky’amanda (coal) ekiri okumpi ne Pittsburgh, Pennsylvania, mu Amerika, ne gasibirayo abakozi mwenda abaali ffuuti 240 wansi. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu baanunulibwa nga tewali kabi kabatuuseeko. Kino kyakolebwa kitya?

Nga beeyambisa mmaapu n’ekyuma ekiri mu bwengula (Global Positioning System), abadduukirize baasobola okumanya akafo abasajja abo we baali beewogomye. Okusobola okubaggyayo, abadduukirize baasima ekituli kya inci 30 obugazi era ne baweerezaayo akatimba. Abasimi b’amanda abo baggibwayo omu ku omu, bwe batyo ne bawona okufa. Bonna baali basanyufu okuba nti banunuliddwa.

Kituufu nti ekyatuuka ku basajja abo omwenda, oba ekintu ekirala kyonna ekiteeka obulamu bwaffe mu kabi, abasinga obungi ku ffe tekigenda kututuukako. Naye olw’okuba twolekagana n’ebizibu ebiva mu kulwala, okukaddiwa n’okufa, ffenna twetaaga okununulibwa. Omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike. Amulisa ng’ekimuli n’atemebwa: era adduka ng’ekisiikirize so tabeerera.” (Yobu 14:1, 2) Na guno gwaka, ebigambo ebyo ebyayogerwa emyaka nga 3,500 emabega, bikyali bituufu​—gwe ate ani ku ffe ayinza okwewala okufa? Ka kibe nti tubeere wa oba ka tube ng’obulamu bwaffe tubulabirira tutya, ffenna twetaaga okununulibwa okuva mu kubonaabona, okukaddiwa, n’okufa.

Bannasayansi n’abantu abalala bakola butaweera basobole okwongera ku kiseera omuntu ky’amala nga mulamu. Ekibiina ekimu kigamba nti kirina ekigendererwa “ky’okumalawo okufa n’okuyamba abo abakirimu okusigala nga balamu emirembe gyonna.” Wadde nga abantu bagenze wala nnyo mu bya sayansi era nga bafuba nnyo okusigala nga balamu, na buli kati emyaka gy’obulamu bw’omuntu tegisukka nnyo ku 70 oba 80 Musa gye yayogerako emyaka 3,500 emabega.​—Zabbuli 90:10.

K’obe ng’okkiriziganya ne Yobu kye yayogera ku bulamu oba nedda, ekiseera kijja kutuuka naawe ‘odduke ng’ekisiikirize,’ olekewo mikwano gyo, ab’eŋŋanda, ab’omu maka go, n’ebintu byo byonna​—ogende emagombe. Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda yawandiika nti: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.”​—Omubuulizi 9:5.

Eky’ennaku kiri nti nga Baibuli bw’egamba, okufa ‘kufuze’ olulyo lw’omuntu ng’omufuzi nnaakyemalira bw’akola. Yee, abantu beetaaga okununulibwa okuva mu kufa, omulabe waabwe asingayo obubi. (Abaruumi 5:14; 1 Abakkolinso 15:26) Abadduukirize, ka babe bakugu batya oba ka babe na byuma bya mulembe bitya, tebasobola kukuyamba kwewala kufa. Naye ye Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, ateeseteese okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kufa.

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula  3]

Photo by Gene J. Puskar-/​Pool/Getty Images