“Atunuulira Mutima”
Semberera Katonda
“Atunuulira Mutima”
ENDABIKA ey’okungulu esobola okutulimba. Endabika y’omuntu ey’okungulu si y’eraga ekyo kyennyini kyali munda mu mutima. Abantu batera okugeraageranya omuntu nga basinziira ku ndabika ye ey’okungulu. Ekisanyusa kiri nti, Yakuwa Katonda ye tatunuulira ndabika ya kungulu yokka. Ebigambo ebiri mu 1 Samwiri 16:1-12 bikiraga bulungi.
Kuba akafaananyi ku ekyo ekyaliwo. Yakuwa anaatera okufuka amafuta ku kabaka omupya ow’okufuga eggwanga lya Isiraeri. Katonda agamba nnabbi Samwiri nti: “Naakutuma eri Yese Omubesirekemu kubanga neerabidde kabaka mu batabani be.” (Olunyiriri 1) Yakuwa tayogera linnya lye naye agamba bugambi nti oyo gw’alonze ali omu ku batabani ba Yese. Nga Samwiri agenda e Besirekemu, ayinza okuba yeebuuza, ‘Nnaamanya ntya omu ku batabani ba Yese Yakuwa gw’alonze?’
Ng’atuuse mu Besirekemu, Samwiri ateekerateekera Yese ne batabani be n’abayita okujja ku kijjulo kya ssaddaaka. Eriyaabu mutabani wa Yese omukulu bw’atuuka, Samwiri asikirizibwa mangu endabika ye ey’okungulu. Samwiri alowooza nti olw’okuba Eriyaabu muwanvu, y’asaanira okuba kabaka era ayogera mu mutima gwe nti: “Mazima Mukama gw’afukako amafuta ali mu maaso ge.”—Olunyiriri 6.
Kyokka, ye Yakuwa ebintu abiraba mu ngeri ya njawulo. Agamba Samwiri nti: “Totunuulira Maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga mugaanyi.” (Olunyiriri 7) Yakuwa tasikirizibwa lwa buwanvu na bulungi bwa Eriyaabu. Amaaso ga Yakuwa galaba buli kimu; tegakoma ku ndabika ey’okungulu yokka naye era galaba n’obulungi bw’omuntu obw’omunda.
Yakuwa annyonnyola Samwiri nti: “Mukama talaba ng’abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” (Olunyiriri 7) Yee, Yakuwa kyatwala ng’ekikulu gwe mutima—ekyo omuntu kyali munda, ensibuko y’ebirowoozo bye, ebiruubirirwa bye n’enneewulira. ‘Oyo akebera emitima’ agaana Eriyaabu ne batabani ba Yese abalala mukaaga abaleetebwa eri Samwiri.—Engero 17:3.
Yese asigazizzaayo mutabani we omu asembayo obuto ayitibwa Dawudi “alunda endiga.” (Olunyiriri 11) N’olwekyo, Dawudi ayitibwa okuva ku ttale era n’ajja eri Samwiri. Awo Yakuwa agamba Samwiri nti: “Golokoka omufukeko amafuta, kubanga ye wuuyo.” (Olunyiriri 12) Ekituufu kiri nti, Dawudi ‘muvubuka alina amaaso amalungi era alabika obulungi.’ Naye omutima gwe gwe gumuleetera okusiimibwa mu maaso ga Katonda.—1 Samwiri 13:14.
Mu nsi eno eteeka ennyo essira ku bulungi obw’okungulu, tubudaabudibwa bwe tukimanya nti Yakuwa Katonda tasikirizibwa ndabika ey’okungulu. Ye tafaayo oba oli muwanvu kwenkana wa oba abalala bakulaba ng’oli mulungi. Ekyo ky’oli munda mu mutima gwo, Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu. Okutegeera kino kikuleetera okwagala okukulaakulanya engeri ezinaakufuula omulungi mu maaso ga Katonda?