Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekinaatuyamba Okuba n’Endowooza Entuufu ku Mwenge

Ekinaatuyamba Okuba n’Endowooza Entuufu ku Mwenge

Ekinaatuyamba Okuba n’Endowooza Entuufu ku Mwenge

TONY eyayogeddwako mu kitundu ekyasoose, yandibadde mu bulamu obulungi singa yali akikkiriza nti alina ekizibu ky’okwekamirira omwenge. Kyokka, olw’okuba yali asobola okunywa omwenge omungi n’aba nga talina kyakyuseeko, yalowooza nti tegusobola kukosa bulamu bwe. Lwaki yalina endowooza eyo enkyamu?

Omwenge gwe yeekamiriranga gwe gwamuleetera okuba n’endowooza enkyamu. Ka kibe nti Tony yali akimanyi oba nedda, obwongo bwe bwalinga tebukola bulungi buli lwe yanywanga omwenge omungi. Gye yakomanga okunywa omwenge, n’obwongo bwe gye bwakomanga okunafuwa n’aba nga tasobola kutegeera bulungi mbeera gy’alimu.

Ekintu eky’okubiri ekyamuleetera okuba n’endowooza enkyamu kwe kuba nti yali tayagala kuva ku muze gwe ogw’okunywa ennyo omwenge. Allen eyayogeddwako mu kitundu ekiwedde teyasooka kukkiriza nti alina ekizibu ky’okwekamirira omwenge. Agamba nti: “Omwenge nnagunyweranga mu nkukutu, era nneekwasanga obusongasonga nga ngezaako okubikkirira ku muze gwange. Ebyo byonna nnabikolanga olw’okwagala okweyongera okunywa omwenge.” Wadde ng’abalala baali bakiraba nti omwenge gwe gwali gufuga obulamu bwa Tony ne Allen, bo baali tebalaba mutawaana gwonna. Abasajja bano bombi baalina okubaako kye bakolawo okulaba nti tebafugibwa mwenge. Naye kiki kye baalina okukola?

Baako ky’Okolawo!

Bangi abalekedde awo okunywa ennyo omwenge balina kye bakozeewo nga bagoberera ebigambo bya Yesu bino: “Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likwesittaza, liggyemu olisuule. Waakiri ofiirwa ekitundu ekimu eky’omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Ggeyeena.”​—Matayo 5:29.

Kya lwatu Yesu yali takubiriza bantu kweggyamu maaso. Wabula mu ngeri ey’okugereesa yali aggumiza ensonga nti tulina okuba abeetegefu okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okutwonoonera enkolagana yaffe ne Katonda. Kyo kituufu nti, ekyo kiyinza obutatwanguyira kukola. Naye kijja kutuyamba obuteeteeka mu mbeera n’obutaba na ndowooza eyinza okutuleetera okwekamirira omwenge. N’olwekyo, singa wabaawo abakugamba nti onywa nnyo omwenge, baako ky’okolawo. * Bw’oba nga tosobola kwefuga, guviireko ddala. Wadde ng’ekyo kiyinza okukuleetera obulumi obw’amaanyi, obulumi obwo buba butono nnyo bw’obugeraageranya n’okufiirwa obulamu bwo.

Ne bw’oba nga toli lujuuju, otera okunywa omwenge omungi? Bwe kiba bwe kityo, kiki ekinaakuyamba okuba n’endowooza entuufu ku mwenge?

Gy’Oyinza Okuggya Obuyambi

1. Ba n’okukkiriza nti okusaba buli kiseera okuviira ddala ku mutima kisobola okukuyamba. Abo bonna abaagala okusanyusa Yakuwa Katonda, Baibuli ebawa amagezi gano amalungi: “Mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 4:6, 7) Oyinza kusaba otya okusobola okuba n’emirembe mu birowoozo?

Kkiriza mu bwesimbu nti olina ekizibu ky’okunywa ennyo omwenge, era nga ggwe ovunaanyizibwa ku kizibu ekyo. Singa otegeeza Katonda ekyo kye wandyagadde okukola okuvvuunuka ekizibu ekyo, ajja kukuyamba ofune obuweerero era osobole okwewala ebizibu eby’amaanyi. “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Engero 28:13) Yesu naye yagamba nti tuyinza okusaba bwe tuti: “Totuleka kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.” (Matayo 6:13) Kati olwo, osobola otya okukolera ku kusaba ng’okwo, era okuddibwamu oyinza kukufuna ludda wa?

2. Funa amaanyi okuva mu Kigambo kya Katonda. “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi . . . era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Abeebbulaniya 4:12) Abantu bangi abaanywanga omwenge ekisukkiridde bafunye obuyambi nga basoma Baibuli buli lunaku era n’okufumiitiriza ku bye basoma. Omuwandiisi wa zabbuli eyali atya Katonda yagamba nti: “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, newakubadde okuyimirira mu kkubo ly’abo abalina ebibi. . . . Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. . . . Buli ky’akola, akiweerwako omukisa.”​—Zabbuli 1:1-3.

Allen eyasobola okwekutula ku muze ogw’okunywa ennyo omwenge olw’okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, agamba nti, “Nnandibadde mufu singa Baibuli n’emisingi egigirimu tebyannyamba kulekera awo kunywa mwenge.”

3. Weefuge. Baibuli egamba nti abo abali mu kibiina Ekikristaayo ng’edda baali batamiivu baanaazibwa “n’omwoyo gwa Katonda waffe” ne batukula. (1 Abakkolinso 6:9-11) Mu ngeri ki? Baayambibwa ne balekera awo okwekamirira omwenge n’okugenda mu binyumu bwe baayiga okwefuga, era omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gwabayamba ne bayiga okwefuga. “Temutamiiranga mwenge kubanga ekyo kibaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, naye mujjuzibwenga omwoyo.” (Abeefeso 5:18; Abaggalatiya 5:21-23) Yesu Kristo yasuubiza nti ‘Kitaffe ow’omu ggulu yandiwadde omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ N’olwekyo, “Musabenga, muliweebwa.”​—Lukka 11:9, 13.

Abo abaagala okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima basobola okuyiga okwefuga singa basoma Baibuli era ne basaba buli kiseera okuviira ddala ku mutima. Mu kifo ky’okuggwamu amaanyi, kkiriza ekisuubizo kino ekiri mu Kigambo kya Katonda: “Oyo asigira omwoyo alikungula obulamu obutaggwaawo okuva mu mwoyo. N’olwekyo, tetulekuliranga kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”​—Abaggalatiya 6:8, 9.

4. Londa emikwano emirungi. “Otambulanga n’abantu ab’amagezi naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Engero 13:20) Tegeeza mikwano gyo nti omaliridde obutaddamu kunywa mwenge mungi. Kyokka Ekigambo kya Katonda kirabula nti, bw’onoolekera awo ‘okwekamirira omwenge, okugenda mu binyumu, n’okunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya,’ abamu kw’abo abaali mikwano gyo bajja ‘kusoberwa era bajja kukuvuma.’ (1 Peetero 4:3, 4) Beera mumalirivu okwekutula kw’abo abaagala okukulemesa okwefuga.

5. Ssaawo ekkomo. “Mulekere awo okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mukakase ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Abaruumi 12:2) Singa ogoberera emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda ng’ossaawo ekigero ky’olina okukomako mu kifo ky’okugoberera mikwano gyo oba “enteekateeka y’ebintu eno,” ojja kuba n’obulamu obusanyusa Katonda. Naye osobola otya okusalawo ekigero ky’omwenge gw’olina okukomako?

Omwenge ka gube nga mutono kwenkana wa, bwe guba nga gukuleetera okuba nga tokyasobola kulowooza bulungi, guba mungi gy’oli. N’olwekyo, bw’oba osazeewo okunywa omwenge, kiba kya magezi okussaawo ekigero kyennyini ky’olina okukomako. Tokkiriza abo abakuvumirira okukulemesa okunywerera ku ky’osazeewo. Salawo ekigero kyennyini ekitaakose bulamu bwo era nga tekijja kukuleetera kunywa mwenge mungi.

6. Yiga okugamba nti nedda. “Naye ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda.” (Matayo 5:37) Oyo akukyazizza bw’aba akupikiriza okunywa omwenge, mu buwombeefu mugambe nti tojja kugunywa. “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.”​—Abakkolosaayi 4:6.

7. Noonya obuyambi. Saba obuyambi okuva eri mikwano gyo abasobola okukuyamba okwongera okwefuga n’okukola ekisanyusa Katonda. “Babiri basinga omu; kubanga baba n’empeera ennungi olw’okutegana kwabwe. Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne.” (Omubuulizi 4:9, 10; Yakobo 5:14, 16) Ekitongole eky’omu Amerika ekiyitibwa National Institute on Alcohol Abuse and Alcoholism nakyo kiwa amagezi gano: “Oluusi kiyinza okukubeerera ekizibu okukendeeza ku mwenge gw’onywa. Saba ab’omu maka go ne mikwano gyo bakuyambe okutuuka ku kiruubirirwa kyo.”

8. Nywerera ku ky’osazeewo. “Mubeere bakozi ba kigambo so si bawulizi buwulizi nga mwerimbalimba n’endowooza enkyamu. Naye oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe era n’aganyiikiriramu, omuntu oyo olw’okuba taba muwulizi eyeerabira wabula agondera ekigambo, ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.”​—Yakobo 1:22, 25.

Ekinaakuyamba Okwekutula ku Muze gw’Okwekamirira Omwenge

Tekiri nti buli muntu anywa ennyo omwenge nti afuuka lujuuju. Naye abamu batandika okunywa ennyo omwenge oba okugunywa buli kiseera, n’ekivaamu ne gubafuukira omuze. Olw’okuba omwenge gulimu ebirungo eby’amaanyi, abo abalina omuze ogw’okugwekamirira, baba beetaaga amaanyi agasinga ku gaabwe era n’obuyambi bwa Katonda okusobola okugwekutulako. Allen agamba nti: “Bwe nnali ntandika okuva ku mwenge, nnawulira obulumi bungi nnyo mu mubiri gwange. Awo we nnakitegeerera nti nnali nneetaaga okufuna obujjanjabi okugatta ku buyambi bwa Katonda bwe nnali nfuna.”

Okwongereza ku buyambi bwe bafuna mu by’omwoyo, abanywi b’omwenge bangi beetaaga okufuna obujjanjabi okusobola okulekera awo okwekamirira omwenge. * Abamu beetaaga okuweebwa ebitanda mu ddwaliro okusobola okuvvuunuka obulumi obw’amaanyi bwe bafuna olw’okuva ku mwenge oba okufuna eddagala erisobola okubayamba okukendeeza ku kyoyooyo eky’okunywa omwenge n’okuguviirako ddala. Omwana wa Katonda omukozi w’eby’amagero yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, abalwadde be bamwetaaga.”​—Makko 2:17.

Emiganyulo Egiri mu Kugoberera Obulagirizi bwa Katonda

Amagezi amalungi agali mu Baibuli agakwata ku mwenge gava eri Katonda ow’amazima, atwagaliza ekisingayo obulungi​—si mu kiseera kino kyokka, naye era n’emirembe gyonna. Olvannyuma lw’emyaka 24 ng’avudde ku mwenge, Allen agamba: “Kya nsanyusa nnyo okumanya nti nnali nsobola okutereera, okukitegeera nti Yakuwa yali ayagala ntereeze obulamu bwange, era nti . . .” Allen asirikiiriramu kubanga okujjukira eby’emabega kimuleetera ebiyengeyenge mu maaso. “Nmm . . . okukimanya nti Yakuwa ategeera embeera yange era nti afaayo era asobola okumpa obuyambi bwe nneetaaga​—nkitwala nga kya muwendo nnyo.”

N’olwekyo bw’oba ng’olina ekizibu ky’okunywa omwenge omungi, toyanguyiriza kugamba nti tosobola kufuna buyambi bwonna oba nti tolina ssuubi lyonna. Allen n’abalala bangi nnyo baaliko mu mbeera gy’olimu kati era baakendeeza ku mwenge gwe baali banywa era abamu baaguviirako ddala. Tebejjusa kintu kyonna; era naawe tojja kwejjusa.

Ka kibe nti osazeewo okunywa omwenge ogw’ekigero oba okuguviirako ddala, goberera okubuulirira kwa Katonda kuno: “Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”​—Isaaya 48:18.

[Obugambo obuli wansi]

^ Laba akasanduuko “Omwenge Gunfuga?” ku lupapula 8.

^ Waliwo amalwaliro mangi agasobola okubayamba. Omunaala gw’Omukuumi tegulina nzijanjaba yonna gye gutongoza. Buli muntu asaanidde okwesalirawo bujjanjabi bwa ngeri ki bw’asaanidde okufuna kasita buba nga tebukontana na misingi gya Baibuli.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Omwenge Gunfuga?

Oyinza okwebuuza:

• Nnywa omwenge mungi okusinga gwe nnanywanga edda?

• Ngunywa emirundi mingi okusinga bwe nnagunywanga?

• Omwenge gwe nnywa kati gwa maanyi?

• Nnywa omwenge nsobole okwerabira ebizibu?

• Waliwo mukwano gwange oba omu ku b’eŋŋanda andabuddeko ku ngeri gye nnywamu omwenge?

• Okunywa omwenge kundeetedde ebizibu awaka, ku mulimu, oba nga ndi ku lugendo?

• Sisobola kumalako wiiki nga sinnywedde mwenge?

• Mpulira bubi abalala bwe beewala okunywa omwenge?

• Nkweka abalala obungi bw’omwenge gwe nnywa?

Bw’oddamu nti yee mu kibuuzo kimu oba ebisingawo ku ebyo ebiragiddwa waggulu, kikwetaagisa okubaako ky’okolawo okusobola okwefuga.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Okusalawo Obulungi ku Bikwata ku Mwenge

Nga tonnanywa mwenge, sooka olowooze ku bino:

Kirungi: okunywa omwenge, oba ngwewale?

Amagezi agakuweebwa: Oyo atasobola kwegerera mwenge asaanidde okugwewala.

Nsaanidde kunywa gwenkana wa?

Amagezi agakuweebwa: Salawo ekigero kw’olina okukoma nga tonnanywa oleme kutamiira.

Ddi lwe sisaanidde kunywa?

Amagezi agakuweebwa: Ng’ogenda okuvuga oba okukola omulimu gwonna ogukwetaagisa okuba ng’oli mu mbeera nnungi; ng’ogenda okwenyigira mu mirimu gy’eddiini; ng’oli lubuto; ng’olina eddagala erimu ly’okozesa.

Nsaanidde kugunywera wa?

Amagezi agakuweebwa: Mu kifo ekirungi; si nga weekwese; si mu kifo awali abantu b’oyinza okwesittaza.

Baani be nsaanidde okunywa nabo?

Amagezi agakuweebwa: N’emikwano emirungi oba ab’omu maka go; si n’abo abalina ekizibu ky’okwekamirira omwenge.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Ekigambo Kya Katonda Kiyamba Eyali Lujuuju

Supot abeera mu Thailand, yali lujuuju. Mu kusooka, yanywanga lwaggulo lwokka. Yatandiikiriza mpola mpola okunywa ku makya ne mu ttuntu. Emirundi egisinga obungi, yanywanga bunywi kutamiira. Naye oluvannyuma, yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe yayiga nti Yakuwa Katonda tayagala butamiivu, Supot yalekera awo okunywa. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yaddamu omuze gwe. Kino ab’omu maka ge kyabayisa bubi nnyo.

Wadde kyali kityo, Supot yali akyayagala Yakuwa era yali ayagala okumusinza mu ngeri entuufu. Mikwano gya Supot beeyongera okumuyamba era ne bakubiriza ab’omu maka ge okubeerako naye ebiseera ebisinga obungi n’obutamusuulirira. Mu kiseera ekyo, ekyawandiikibwa ekiri mu 1 Abakkolinso 6:10 ekiraga nti ‘abatamiivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda’ kyayamba Supot okulaba nti obulamu bwe bwali mu kabi. Yakitegeera nti yali yeetaaga okufuba ennyo okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo.

Ku mulundi guno Supot yali mumalirivu okuviira ddala ku mwenge. N’ekyavaamu, yavvuunuka ekizibu ky’okwagala okunywa omwenge ng’ayambibwako amaanyi g’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, ab’omu maka ge, n’ekibiina. Ab’omu maka ge baasanyuka nnyo bwe yabatizibwa ekyalaga nti yali amaze okwewaayo eri Katonda. Kati Supot alina enkolagana ey’okulusegere ne Katonda gye yali yeegomba okuba nayo, era akozesa ebiseera bye okuyamba abalala okutegeera ebikwata ku Katonda.