Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Endowooza ya Katonda ku Mwenge y’Eruwa?

Endowooza ya Katonda ku Mwenge y’Eruwa?

Endowooza ya Katonda ku Mwenge y’Eruwa?

OMUTONZI waffe, atwagaliza ebirungi, tatugaana kunywa mwenge gwa kigero. * Mu kifo ky’ekyo, atuwadde ‘omwenge ogusanyusa omutima gw’omuntu, amafuta okunyiriza amaaso ge, n’emmere emuwa amaanyi.’ (Zabbuli 104:15) Lumu, Yesu Kristo bwe yali ku mbaga, yafuula amazzi “omwenge omulungi” era kino kyaleetera abantu essanyu.​—Yokaana 2:3-10.

Awatali kubuusabuusa, Omutonzi waffe amanyi bulungi omwenge kye gusobola okukola ku bulamu bwaffe. Okuyitira mu Baibuli, Kitaffe ow’omu ggulu ‘atuyigiriza okutugasa’ era atulabula obutanywa mwenge mungi. (Isaaya 48:17) Lowooza ku kulabula kuno wammanga:

“Temutamiiranga mwenge kubanga ekyo kibaleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.” (Abeefeso 5:18) “Abatamiivu, . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9-11) Ekigambo kya Katonda kivumirira ‘obutamiivu, ebinyumu, n’ebiringa ebyo.’​—Abaggalatiya 5:19-21.

Kati ka tulabe ebimu ku bizibu eby’amaanyi ebiyinza okuva mu kunywa omwenge omungi.

Ebizibu Ebiva mu Kunywa Omwenge Omungi

Wadde ng’omwenge guyinza okuba omulungi, gusobola okuba ogw’akabi eri obulamu bwaffe. Okunywa omwenge ekisukkiridde kisobola okuvaamu ebizibu nga bino wammanga:

Okunywa omwenge ekisukkiridde kiremesa omuntu ‘okulowooza obulungi.’ (Engero 23:33) Allen eyanywanga omwenge omungi ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, agamba nti: “Okunywa omwenge omungi tekikosa mubiri gwokka naye era kirina ekikyamu kye kikola ku ndowooza y’omuntu. Kikuleetera obutalowooza ku ngeri gy’okosaamu abalala.”

Okunywa omwenge ekisukkiridde kireetera omuntu obutaba na nsonyi. Ebyawandiikibwa birabula nti: ‘Omwenge gumalawo okutegeera.’ (Koseya 4:11) Mu ngeri ki? Omwenge gusobola okuleetera omuntu okutandika okulowooza n’okwegomba ebintu ebibi bye yandibadde yeewala nga tagunywedde. Tuyinza okulemererwa okunywerera ku kukola ekituufu. Omwenge guyinza okutuleetera okwenyigira mu mpisa embi ne kituviirako obutasiimibwa Katonda.

Ng’ekyokulabirako, John bwe yafuna obutakkaanya ne mukyala we, olw’obusungu yasalawo okugenda mu bbaala. Ng’amaze okunywa omwenge omutonotono okusobola okukkakkanya obusungu bwe, omukyala omu yamutuukirira. John yeeyongera okunywa omwenge, era oluvannyuma yagenda n’omukyala oyo n’akola obwenzi. Oluvannyuma lw’ekyo, John yejjusa olw’okukola ekintu ky’atandikoze singa yali tanywedde mwenge mungi.

Okunywa omwenge omungi kiyinza okuviirako omuntu obutafuga lulimi lwe n’okweyisa obubi. Baibuli ebuuza nti “Ani alaba obuyinike? Ani alina ennyombo? Abo abalwawo ku mwenge; abo abagenda okunoonya omwenge omutabule.” (Engero 23:29, 30) Okunywa omwenge ekisukkiridde kiyinza okukuleetera ‘okuwulira ng’agalamidde wakati mu nnyanja oba ng’eyeewuubira waggulu ku mulongooti.’ (Engero 23:34) Omuntu anywedde omwenge omungi ayinza okuzuukuka ng’awulira nga gwe ‘bankubye naye nga tajjukira kyamutuuseeko.’​—Engero 23:35, Contemporary English Version.

Okunywa omwenge ekisukkiridde kisobola okukosa obulamu bw’omuntu. “Enkomerero [omwenge] guluma ng’omusota, gusonsomola ng’embalasaasa.” (Engero 23:32) Sayansi akwata ku by’ekisawo akakasizza obutuufu bw’olugero luno olw’edda. Okunywa ennyo omwenge kiyinza okuviirako omuntu okufuna endwadde ez’akabi gamba nga kookolo, endwadde z’ekibumba, obulwadde bw’akalulwe, obulwadde bwa sukaali, obulwadde obukosa obwongo bw’abaana abawere, okusannyalala, obulwadde bw’omutima, n’endala nnyingi. Omuntu bw’anywa omwenge omungi ne bw’aba akikoze omulundi gumu gwokka, kiyinza okumuviirako okuzirika oba okufa. Wadde kiri kityo, ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi ebiva mu kwekamirira omwenge, tebyogerwako mu bitabo by’ekisawo.

Ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Omuntu ne bw’aba nga tatamidde, okunywa omwenge omungi kimuviirako obutasanyusa Katonda. Baibuli egamba nti: “Zibasanze abo abakeera enkya mu makya okugolokoka, bagoberere ekitamiiza; abalwawo ekiro okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa!” Lwaki kiri bwe kityo? Isaaya ayogera ku ngeri okunywa omwenge omungi gye kiyinza okuleetera omuntu obutasanyusa Katonda. Agamba nti, ‘Tebalowooza mulimu gwa Yakuwa, so tebaassa ku mwoyo okukola kw’engalo ze.’​—Isaaya 5:11, 12.

Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘obutaba ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge.’ (Engero 23:20) Abakazi abakulu bakubirizibwa ‘obutafugibwa mwenge mungi.’ (Tito 2:3) Lwaki? Emirundi egisinga obungi abantu bataandiikiriza mpolampola okunywa omwenge oluvannyuma ne gufuuka omuze. N’ekivaamu, omunywi w’omwenge ayinza okugamba nti ‘nnaazuukuka ddi, nzireyo ngunoonye nate? (Engero 23:35, CEV) Kiba kya kabi nnyo abanywi b’omwenge bwe bakeera ku makya okunywa omwenge nga balowooza nti gwe gujja okubamalako ettamiiro.

Baibuli erabula nti abo ‘abeekamirira omwenge, abeenyigira mu binyumu, mu kunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya, bajja kuwoza eri oyo agenda okulamula abalamu n’abafu.’ (1 Peetero 4:3, 5) Ng’ayogera ku bukulu bw’ekiseera kye tulimu, Yesu yalabula bw’ati: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya, ku kunywa, n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku [lwa Yakuwa] luleme kubagwako bugwi ng’ekyambika.”​—Lukka 21:34, 35.

Kati olwo, abo abanywa omwenge ekisukkiridde bayinza kukola ki ‘obuteemalira ku kunywa mwenge’?

[Obugambo obuli wansi]

^ Mu kitundu kino, ekigambo “omwenge” kikozesebwa okutegeeza ebintu nga bbiya, wayini, walagi, n’ebirala ng’ebyo.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Okwekamirira omwenge kiyinza okuvaamu ebizibu bingi