Bannamwandu ne Bassemwandu Kiki Kye Beetaaga? Oyinza Kubayamba Otya?
Bannamwandu ne Bassemwandu Kiki Kye Beetaaga? Oyinza Kubayamba Otya?
Jeanne ali mu muzigo gwe omuli ekitangaala ekitonotono, ateeka amasowaani n’ebintu ebirala ku mmeeza nga bulijjo, abeeko ky’alya. Agenda okwejjuukiriza, ng’ataddeko essowaani bbiri . . . era kino kimuleetera okutulika n’akaaba. Olw’okuba bw’atyo bwe yamanyiira okukola, yeesanze ng’atadde ebintu by’abantu babiri ku mmeeza! Kati wayiseewo emyaka ebiri bukya mwami we omwagalwa afa.
ABO abatayitangako mu mbeera eno, tebayinza kutegeerera ddala bulumi omuntu bw’aba nabwo ng’afiiriddwako munne mu bufumbo. Mu butuufu, omuntu okutereera oluvannyuma lw’ekizibu ng’ekyo eky’amaanyi okumutuukako kitwala ekiseera. Beryl, ow’emyaka 72, yali tasobola kukikkiriza nti mwami we yali afudde amangu ago. Agamba nti, “Kyalabika ng’ekitaali kituufu, nnali sikikkiriza nti sigenda kuddamu kumulaba ng’ayingira wadde okufuluma mu nnyumba.”
Omuntu bw’atemebwako omukono oba okugulu, emirundi egimu aba “alowooza” nti ekitundu ekitemeddwako kikyaliko. Mu ngeri y’emu, abafumbo abafiiriddwako bannaabwe emirundi egimu baba nga “abalaba” abaagalwa baabwe nga bali mu kibinja ky’abantu oba oluusi beesanga nga waliwo kye bagamba omuntu atakyaliwo!
Oluusi, ab’eŋŋanda n’ab’emikwano tebamanya kya kukola ng’omwagalwa waabwe afiiriddwa munne mu bufumbo. Waliwo omuntu yenna gw’omanyi eyafiirwako munne mu bufumbo? Oyinza kumuyamba otya? Kiki ky’olina okumanya okusobola okuyamba bannamwandu ne bassemwandu okugumira ennaku yaabwe? Oyinza otya okuyamba oyo afiiriddwako munne mu bufumbo okuddamu okuba omusanyufu?
Bye Tusaanidde Okwewala
Ab’emikwano n’abeŋŋanda bayinza okunakuwala ennyo olw’obulumi obungi omwagalwa waabwe bw’aba alimu, era ekyo kiyinza Olubereberye 37:34, 35; Yobu 10:1.
okubaleetera okumugaana okukaaba. Kyokka, omwekenneenya omu eyakola okunoonyereza ku bannamwandu ne bassemwandu abawerera ddala 700 yawandiika ng’agamba nti: “Tewaliiwo kiseera ‘kigere’ omuntu kyalina kumala ng’akungubaga.” N’olwekyo, mu kifo ky’okugaana afiiriddwako munne mu bufumbo okukaaba, muleke akaabe.—Wadde nga kiyinza okukwetaagisa okuyambako ku nteekateeka z’okuziika, teweewa buyinza kukola ku buli nsonga ekwata ku kuziika. Paul, ssemwandu ow’emyaka 49, agamba nti: “Kyansanyusa nnyo okulaba nti abo abannyambako ku nteekateeka z’okuziika bandeka okwesalirawo ku bintu ebisinga obukulu. Kyali kikulu nnyo gyendi okulaba nti emikolo gy’okuziika mukyala wange gigenda bulungi. Kino kye kintu ekisembayo kye nnali nsobola okukola okuwa mukyala wange ekitiibwa.”
Awatali kubuusabuusa, abantu bangi basiima obuyambi obubaweebwa. Eileen, nnamwandu ow’emyaka 68 agamba nti: “Olw’okuba ebirowoozo byange tebyali wamu, tekyambeerera kyangu kukola ku nteekateeka z’okuziika, okujjuzaamu foomu ezikwata ku kuziika, okusasulira ebisale gamba ng’eby’amasannyalaze n’ebirala ebiringa ebyo. Ekirungi, mutabani wange ne mukyala we bannyamba nnyo.”
Ate era, totya kwogera ku bikwata ku mufu. Beryl, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Mikwano gyange gyannyamba nnyo. Kyokka, bangi baali beewala okwogera ku mwami wange, John. Kyali kiringa nti tabeerangawoko, era kino kyannuma nnyo.” Nga wayiseewo ekiseera, bannamwandu ne bassemwandu bayinza okwagala okwogera ku baagalwa baabwe. Waliwo engeri ennungi omufu z’abadde nazo oba ekintu ekisanyusa ekimukwatako ky’ojjukira? Kibuulireko munne mu bufumbo asigaddewo; totya kukyogerako. Bw’omanya nti ky’onooyogera kijja kusanyusa oyo afiiriddwako munne mu bufumbo, yogera ku birungi bye yakolanga ebikuleetera okumulowoozaako. Kino kiyinza okuyamba oyo aba afiiriddwa okukimanya nti abalala banakuwalidde wamu naye.—Abaruumi 12:15.
Bw’oba oyamba oyo afiiriddwa, weewale okumuwa amagezi ku buli kintu, ekiyinza okumukaluubiriza. Tomuwaliriza kukola kusalawo * Mu kifo ky’ekyo, kozesa amagezi era weebuuze nti, ‘Kiki kye nnyinza okukola okuyamba mukwano gwange oba omu ku b’eŋŋanda ali mu mbeera enzibu olw’okufiirwa munne mu bufumbo?’
okw’amangu.Ky’Oyinza Okukola
Oyo aba afiiriddwako munne mu bufumbo aba yeetaaga obuyambi mu nnaku eziddirira. Oyinza okuyambako mu kufumba emmere, okusuza ab’eŋŋanda abazze abeetaaga aw’okusula, oba okubeerako awamu naye?
Ate era, olina okukimanya nti abasajja n’abakazi bagumira ennaku n’ekiwuubaalo mu ngeri ya njawulo. Ng’ekyokulabirako, mu bitundu ebimu, abasajja abafiirwako bakyala baabwe baddamu okuwasa mu bbanga lya myezi 18—ekitatera kubaawo eri bannamwandu. Lwaki kiri bwe kityo?
Okwawukana ku ekyo abasinga obungi kye balowooza, abasajja baddamu okuwasa si lwa kuba nti baba baagala kwetaba kyokka oba okukola obukozi ku byetaago byabwe ebirala. Mu butuufu, abasajja baagala nnyo okweyabiza bannaabwe mu bufumbo era nga kino kye kibaleetera okuwuubaala ennyo nga bafiiriddwako bakyala baabwe. Ku luuyi olulala, bannamwandu bo kibanguyira okufuna abababudaabuda, wadde nga emirundi egimu mikwano gy’abaami baabwe gibeerabira. Olw’okuba bassemwandu baagala nnyo okweyabiza bannaabwe mu bufumbo, ekyo kiraga emu ku nsonga lwaki baddamu okuwasa nga balaba nti y’engeri yokka ey’okwemalako ekiwuubaalo—wadde nga okuddamu okuwasa amangu oba okutandika okubeera n’omuntu gwe batamanyidde kiyinza okuleetawo ebizibu ebitali bimu. N’olwekyo abakyala bo kiyinza okubanguyira okugumira ennaku.
Kiki ky’oyinza okukola okumuyamba mukwano gwo oba ow’oluganda lwo omusajja oba omukazi obutawuubaala nnyo? Helen, nnamwandu ow’emyaka 49 agamba nti: “Abasinga obungi baba n’ebiruubirirwa ebirungi naye tebabaako kye bakolawo. Batera okugamba nti, ‘Bwe waabaawo kye wandyagadde okukukolerako oyinza okuntegeeza.’ Naye nsiima nnyo oli bw’aŋŋamba nti, ‘ŋŋenda kugula bintu, wandyagadde tugende ffenna?’” Paul, eyalina omukyala eyafa kookolo annyonnyola ensonga lwaki yasiimanga nnyo abalala bwe baamuyitanga atambuleko nabo. Agamba nti, “Emirundi egimu oyinza okuwulira nga toyagala kubeera na bantu balala oba okwogera ku mbeera gy’olimu. Naye oluvannyuma lw’okubeerako awamu n’abalala akawungeezi, owulira bulungi; towuubaala nnyo. Omanya nti waliwo abakufaako era ne kikuleetera okuwulira obulungi.” *
Lwe Basinga Okwetaaga Okubudaabudibwa
Helen yakiraba nti ekiseera ab’eŋŋanda ze we baddirayo ku byabwe, kye yali asinga okwetaagiramu okubudaabudibwa. Agamba nti, “Omwagalwa wo bw’aba nga yaakafa, mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo babaawo mu kiseera ekyo okukuzaamu amaanyi naye oluvannyuma beddirayo ku byabwe. Kyokka gwe osigala mu kiwuubaalo.” Emikwano egya nnamaddala bajja kweyongera okubudaabuda oyo afiiriddwa olw’okuba bamanyi embeera gy’alimu.
Oboolyawo nnamwandu oba ssemwandu ayinza okuba nga yeetaaga omuntu abeereko wamu naye ku nnaku ezimu gamba ng’olwo lwe baafumbiriganirwako oba olwo munne lwe yafiirako. Eileen, eyayogeddwako waggulu agamba nti mutabani we omukulu amuyamba okugumira ennaku n’ekiwuubaalo by’aba nabyo ku lunaku lwe baafumbiriganirwako. Agamba, “Buli mwaka, mutabani wange Kevin antwalako mu kifo ekimu okwewummuzaamu era ne ndiirako wamu naye ekyemisana.” Lwaki tolamba nnaku ng’ezo ku kalenda yo ne kiba nti buli lwe zituuka gwe oba abalala mufuba okukyalira nnamwandu oba ssemwandu okusobola okumuzzaamu amanyi mu kiseera ekizibu ng’ekyo?—Engero 17:17.
Abamu bakisanze nti abo abaafiirwako bannaabwe mu bufumbo basobola okubabudaabuda. Annie, amaze emyaka munaana nga nnamwandu ayogera ku nkolagana gy’alina ne nnamwandu omulala, agamba nti, “Obumalirivu bwalina bwa nkwatako nnyo era ne bunnyamba okweyongera okuguma.”
Yee, bwe bagenda beeyongera okuguma oluvannyuma lw’okufiirwa, bannamwandu ne bassemwandu basobola okuzzaamu abalala amaanyi n’essuubi. Bannamwandu babiri aboogerwako mu Baibuli, Luusi ne nnyazaala we Nawomi baaganyulwa olw’okuzziŋŋanamu amaanyi. Ebyo Baibuli by’eyogera biraga engeri okufaayo buli omu kwe yalaga munne gye kwabayambamu okugumira ennaku n’okwaŋŋanga embeera enzibu gye baali boolekaganye nayo.—Luusi 1:15-17; 3:1; 4:14, 15.
Ekiseera eky’Okuwona
Bannamwandu ne bassemwandu bwe baba ab’okutereera, balina okwewala okulowooza ennyo ku bannaabwe ababa babafuddeko ekiyinza okubalemesa okukola ku byetaago byabwe. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba nti waliwo “ekiseera eky’okukaabiramu amaziga.” Naye era yagamba nti walina okubaawo ‘ekiseera eky’okuwona.’—Omubuulizi 3:3, 4.
Paul, eyayogeddwako waggulu, ayogera ku ngeri gye kiri ekizibu okwewala okulowooza ennyo ku bintu ebyayita n’okutya nti obulamu buyinza okuzibuwala omuntu bw’ataba ne munne. Agamba nti, “Nze ne mukyala wange twalinga emiti ebiri egyakulira awamu nga gisibaganye. Naye omuti ogumu gwakala ne guggibwa ku gunnaagwo, omulala ne gusigala nga gukyamyekyamye. Okusigala obw’omu kyankaluubiriza nnyo.” Olw’okuba abantu abamu baba baagala okusigala nga beesigwa eri bannaabwe ababa babafuddeko, bagaana okulekerawo okulowooza ku bintu ebyayita. Abalala batya nti bwe beesanyusaamu kiyinza okulaga nti balidde mu bannaabwe olukwe, n’olwekyo bagaana okugenda okusanyukirako awamu n’abalala. Tuyinza tutya okuyamba bannamwandu ne bassemwandu okuwona—okutereera?
Kye twandisoose okukola kwe kuyamba omuntu oyo okwogera ebimuli ku mutima. Herbert, eyaakamala emyaka mukaaga nga ssemwandu agamba: “Nnasiimanga nnyo abagenyi bwe bankyaliranga era ne bampuliriza nga mbabuulira ebindi ku mutima. Kyo kituufu nti embeera yange yali teyanguyira balala kubeera nange, naye nnasiima nnyo ekisa kye bandaga.” Paul yakwatibwako nnyo naddala olw’engeri mukwano gwe gye yafaangayo okumubuuzanga engeri gye yeewulirangamu. Paul agamba nti, “Kyansanyusanga nnyo olw’okuba yayogeranga nange mu bwesimbu era mu ngeri ey’ekisa era nnamubuuliranga bwe nnali nneewulira.”—Engero 18:24.
Bw’ayogera ku bimuluma gamba ng’okwejjusa, okuwulira ng’alina ekimulumiriza, oba obusungu bw’alina, omuntu afiiriddwa aba atandise okukkiriza embeera gy’alimu. Ekyayamba 2 Samwiri 12:19-23.
Kabaka Dawudi okufuna amaanyi agaamusobozesa ‘okuva wansi’ n’okugumira okufa kw’omwana we kwali kweyabiza oyo asingayo okwesigika, Yakuwa Katonda.—Wadde nga tekiba kyangu mu kusooka, oluvannyuma lw’ekiseera nnamwandu oba ssemwandu aba alina okudda mu mbeera ye eya bulijjo. Oyinza okukolerako awamu naye ebimu ku bintu by’okola bulijjo, gamba nga okugula ebintu oba okutambulako? Osobola okumusaba akuyambeko ng’olina by’okola? Eyo ye ngeri endala gy’oyinza okubayambamu obutawuubaala. Okugeza, ayinza okukuyambako okulabirira abaana oba okukulaga engeri y’okufumbamu emmere gy’amanyi okufumba obulungi? Ayinza okukuyambako mu kuddaabiriza ebintu ebimu awaka? Ng’oggyeko okukolera awamu emirimu egimuzzaamu amaanyi, okumusaba akuyambeko mu bintu ng’ebyo kyongera okumukakasa nti wa mugaso.
Omuntu afiiriddwa bw’addamu ne yeeyabiza abalala, ayinza okugenda ng’atereera mpola mpola era n’aba ng’asobola n’okweteerawo ebiruubirirwa ebipya. Yonette, omuzadde era nnamwandu ow’emyaka 44 bw’atyo bwe yakola. Agamba: “Okudda mu mbeera yange eya bulijjo kyali kizibu nnyo! Okukola emirimu gyange egya bulijjo, enkozesa ya ssente, n’okulabirira abaana bange abasatu tekyali kyangu.” Kyokka, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yonette yayiga engeri y’okukolamu ebintu ebyo era n’okwogera obulungi n’abaana be. Yatandika n’okukkiriza ebyo mikwano gye ab’okulusegere bye bamukoleranga okumuyamba.
“Obulamu Busigala nga bwa Muwendo”
Bwe baba ab’okuyamba abo abafiiriddwa, ab’emikwano n’ab’omu maka balina okuba n’endowooza etegudde lubege. Olw’okuba emirundi egimu yeewulira bulungi ate ekiseera ekirala n’aba mwennyamivu, kiyinza okutwala emyezi oba emyaka egiwerako oyo afiiriddwa munne mu bufumbo okutereera n’okuddamu okuba n’essuubi. Mu butuufu, ‘endwadde y’omu mutima gwe’ eyinza okuba nga ya maanyi.—1 Bassekabaka 8:38, 39.
Mu biseera ng’ebyo ebizibu, afiiriddwako munne w’ayinza okwetaagira okuzzibwamu amaanyi aleme okweyawula ku balala n’okubeera mu kiwuubaalo. Okufiibwako mu ngeri ng’eyo kisobozesezza bannamwandu ne bassemwandu okutereera. Claude, nnamwandu ow’emyaka 60 era nga kati mubuulizi ow’ekiseera kyonna mu Afirika, agamba: “Obulamu busigala nga bwa muwendo, ne bw’oba ofunye ekikangabwa eky’okufiirwako munno mu bufumbo.”
Oluvannyuma lw’okufiirwako munno mu bufumbo, obulamu tebuba kye kimu. Wadde kiri kityo, abo abasigalawo oluvannyuma lw’okufiirwako abaagalwa baabwe baba bakyalina bingi bye basobola okukolera abalala.—Omubuulizi 11:7, 8.
[Obugambo obuli wansi]
^ Laba akasanduuko “Kiba Kirungi Okutereka Ebintu by’Omwagalwa Wo Afudde?” ku lupapula 28.
^ Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okuyambamu oyo afiiriddwa omwagalwa we, laba brocuwa Omwagalwa Wo bw’Afa, olupapula 20-25, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 27]
Emikwano egya nnamaddala bajja kweyongera okubudaabuda oyo afiiriddwa
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Kiba Kirungi Okutereka Ebintu by’Omwagalwa Wo Afudde?
Omukyala ayitibwa Helen, eyafiirwa bba emyaka mitono emabega, agamba nti: “Nnatereka ebintu bingi ebyali eby’omwami wange. Ebintu ebyo binzijukiza ebiseera eby’essanyu bye twabangamu. Saayagala kubyeggyako mangu kubanga oluvannyuma lw’ekiseera enneewulira zisobola okukyuka.”
Kyokka, ye Claude eyafiirwa mukazi we emyaka egisoba mu etaano emabega, agamba nti: “Saagala kubeera na kintu kye kyonna kimunzijukiza. Ndowooza nti okweggyako ebintu bye kinnyambye okugumira embeera eyo.”
Ebigambo ebyo biraga nti abantu balina endowooza ez’enjawulo ku ekyo kye bayinza okukolera ebintu by’abaagalwa baabwe ababa bafudde. N’olwekyo, ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe tebasaanidde kubakakaatikako ndowooza zaabwe bwe kituuka ku nsonga eno.—Abaggalatiya 6:2, 5.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Waliwo ennaku z’omanyi nti zaasinga okwetaagiramu okufiibwako?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Oluusi oyinza okubayita mutambuleko wamu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Kolerako wamu nabo ebintu ebimu oba sanyukirako wamu nabo