3 Osaanidde Kusaba Otya?
Okusaba
3 Osaanidde Kusaba Otya?
BWE kituuka ku kusaba, obulombolombo bw’amadiini bussa nnyo essira ku ebyo omuntu by’akola ng’asaba gamba ng’okwewombeeka, ebigambo ebikozesebwa, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Kyokka, Baibuli etuyamba obutassa ssira ku bintu ng’ebyo wabula okulissa ku nsonga enkulu eri mu kibuuzo kino, “Tusaanidde kusaba tutya?”
Baibuli eraga nti abaweereza ba Katonda abeesigwa baasabanga nga bali mu bifo eby’enjawulo ne mu ngeri ez’enjawulo. Baasabanga mu kasirise oba mu lwatu okusinziira ku mbeera ezaabangawo. Baasabanga nga batunudde waggulu oba nga bavunnamye wansi. Mu kifo ky’okukozesa ebifaananyi, ssapuli, oba ebitabo by’essaala nga basaba, baasabanga nga bye boogera biviira ddala ku mitima gyabwe. Kiki ekyaleetera okusaba kwabwe okuwulirwa Katonda?
Nga bwe kyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, baasabanga Katonda omu—Yakuwa. Waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo ekyaleetera okusaba kwabwe okuwulirwa Katonda. Mu 1 Yokaana 5:14 tusoma nti: “Buno bwe bwesige bwe tulina gy’ali, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” Okusaba kwaffe kulina okuba nga kutuukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Ekyo kitegeeza ki?
Bwe tuba ab’okusaba mu ngeri etuukagana n’ebyo Katonda by’ayagala, twetaaga okumanya ebyo by’ayagala. N’olwekyo, okusoma Baibuli kikulu nnyo bwe tuba twagala okusaba mu ngeri esiimibwa. Kino kitegeeza nti Katonda tajja kuwulira kusaba kwaffe okuggyako nga tuli basomi ba Baibuli? Nedda, naye Katonda atusuubira okuyiga ebyo by’ayagala, okubitegeera n’okubikolerako. (Matayo 7:21-23) Twetaaga okusaba mu ngeri etuukagana n’ebyo bye tuyiga.
Bwe tugenda tuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebyo by’ayagala, okukkiriza kwaffe kweyongera—ekintu ekirala ekikulu ekyetaagisa mu kusaba. Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye musaba nga mulina okukkiriza mujja kubifuna.” (Matayo 21:22) Okuba n’okukkiriza tekitegeeza kumala gakkiriza buli kintu. Wabula, kitegeeza okukkiririza mu kintu ekiriko obukakafu obw’amaanyi wadde nga tekirabika. (Abebbulaniya 11:1) Baibuli erimu obukakafu bungi obulaga nti Yakuwa, gwe tutasobola kulaba, wa ddala, mwesigwa, era mwetegefu okuddamu okusaba kw’abo abamukkiririzaamu. Okugatta ku ekyo, tusobola okusaba Yakuwa bulijjo atwongere okukkiriza era ayagala nnyo okutuwa bye twetaaga.—Lukka 17:5; Yakobo 1:17.
Mu Baibuli mulimu ekintu ekirala ekikulu ekikwata ku ngeri y’okusabamu. Yesu yagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) N’olwekyo, Yesu y’engeri yokka mwe tuyitira okutuuka eri Kitaffe, Yakuwa. Bwe kityo, Yesu yagamba abagoberezi be okusaba mu linnya lye. (Yokaana 14:13; 15:16) Ekyo tekitegeeza nti tusaanidde kusaba Yesu. Wabula tusaba mu linnya lya Yesu, nga tujjukira nti Yesu y’atusobozesa okutuukirira Kitaffe atuukiridde era omutukuvu.
Lumu abagoberezi ba Yesu ab’oku lusegere baamusaba nti: “Mukama waffe tuyigirize engeri y’okusabamu.” (Lukka 11:1) Kya lwatu, baali tebasaba kubayigiriza ebyo bye twakamala okwogerako. Mu butuufu baali baagala okumanya biki bye baalina okusaba—baali ng’abagamba nti, ‘Biki bye tusaanidde okusaba?’
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Okusaba kw’omuntu okusobola okuwulirwa Katonda kulina okuba nga kutuukagana n’ebyo Katonda by’ayagala, asaanidde okusaba ng’alina okukkiriza, n’okusaba ng’ayitira mu linnya lya Yesu