Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

6 Okusaba Kusobola Okukuyamba?

6 Okusaba Kusobola Okukuyamba?

Okusaba

6 Okusaba Kusobola Okukuyamba?

OKUSABA kulina engeri yonna gye kutuyambamu? Baibuli egamba nti yee, okusaba kw’abaweereza ba Katonda abeesigwa ddala kubayamba. (Lukka 22:40; Yakobo 5:13) Mu butuufu, okusaba kusobola okutuyamba okukola ku bwetaavu bwe tulina obw’eby’omwoyo, okuba obulungi mu nneewulira ne mu mubiri. Kino kisoboka kitya?

Ka tugambe nti omwana wo aweereddwa ekirabo. Wandimuyigirizza nti kimala okuwulira obuwulizi muli nti asiimye ekirabo ekyo? Oba wandimuyigirizza okwogera ebigambo ebiraga okusiima? Bwe twogera ebigambo ebiraga enneewulira, kisobozesa abalala okumanya enneewulira zaffe era kiraga nti tusiimye. Bwe kityo bwe kiba bwe kituuka ku kwogera ne Katonda? Awatali kubuusabuusa! Lowooza ku byokulabirako bino.

Okusaba nga twebaza. Bwe twebaza Kitaffe olw’ebirungi by’atuwa, twogera ku mikisa gy’atuwadde. N’ekivaamu, twongera okulaga okusiima, okuba abasanyufu, n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu.​—Abafiripi 4:6.

Ekyokulabirako: Yesu yalaga okusiima olw’engeri Kitaawe gye yawuliramu okusaba kwe era n’engeri gye yakuddamu.​​—Yokaana 11:41.

Okusaba nga twetaaga okusonyiyibwa. Bwe tusaba Katonda okutusonyiwa, tweyongera okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, kyongera okulaga nti twenenyezza, era tuba bamalirivu obutaddamu kukola kibi ekyo. Ate era tufuna obuweerero ne tutaddamu kulumizibwa muntu waffe ow’omunda.

Ekyokulabirako: Dawudi yasaba okulaga nti yeenenyeza era n’okwoleka ennaku gye yalina ku mutima.​​—Zabbuli 51.

Okusaba nga twetaaga obulagirizi n’amagezi. Okusaba Yakuwa okutuwa obulagirizi oba amagezi ge twetaaga okusobola okusalawo obulungi, kisobola okutuyamba okuba abeetoowaze. Kisobola okutujjukiza nti obusobozi bwaffe buliko ekkomo era ne kituyamba okwongera okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu.​​—Engero 3:5, 6.

Ekyokulabirako: Sulemaani yayoleka obwetoowaze bwe yali asaba obulagirizi n’amagezi okusobola okufuga Isiraeri.​​—1 Bassekabaka 3:5-12.

Okusaba nga tuli bennyamivu. Bwe tweyabiza Katonda nga tulina ennaku ku mutima, tujja kufuna obuweerero era tujja kwesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwaffe.​​—Zabbuli 62:8.

Ekyokulabirako: Kabaka Asa yasaba bwe yali ayolekaganye n’omulabe we ow’amaanyi.​—2 Ebyomumirembe 14:11.

Okusabira abalala abali mu bwetaavu. Essaala ng’ezo zituyamba okwewala okwefaako ffekka, okuyiga okulumirirwa abalala, n’okuba abasaasizi.

Ekyokulabirako: Yesu yasabira abagoberezi be.​​—Yokaana 17:9-17.

Okusaba nga tutendereza. Bwe tutendereza Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo n’engeri ze ennungi tujja kwongera okumusiima n’okumuwa ekitiibwa. Essaala ng’ezo ziyinza n’okutuyamba okusemberera Katonda waffe era Kitaffe.

Ekyokulabirako: Dawudi yatendereza nnyo Katonda olw’ebyo bye yatonda.​​—Zabbuli 8.

Omuganyulo omulala gwe tufuna nga tusabye gye ‘mirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.’ (Abafiripi 4:7) Okuba n’emirembe mu nsi eno embi guba mukisa gwa maanyi ogutasangikasangika. Okuba n’emirembe kiganyula n’emibiri gyaffe. (Engero 14:30) Naye emirembe egyo tugifuna lwa kufuba kwaffe kwokka? Oba waliwo ekintu ekirala ekikulu ekyetaagisa?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]

Okusaba kutuganyula mu ngeri nnyingi​​—mu by’omubiri, mu nneewulira, n’ekisinga byonna, mu by’omwoyo