Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

KIKI ekyaleetera omusajja eyali omuyeekera era nga mubbi okukyusa obulamu bwe? Lwaki omukazi eyali nnantameggwa mu kuzannya tayikondo yakyusa ebiruubirirwa bye? Obwesige taata bwe yalina mu mutabani we bwavaamu butya ebibala? Soma ebibakwatako omanye eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

“Ng’oggyeko obulamu bwange obw’emabega, kati ndi musanyufu.”​—GARRY P. AMBROCIO

EMYAKA: 47

ENSI: PHILIPPINES

EBYAFAAYO: NNALI MUYEEKERA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira mu kabuga akatono akayitibwa Vintar. Olusenyi olunene mwe twali tubeera lwali lwetooloddwa ensozi eziriko omuddo ogulabika obulungi, emigga egirimu amazzi amayonjo, n’empewo ennungi. Ng’oggyeko okuba nti kyali kifo kya mirembe, obulamu tebwali bwangu. Abantu bajja awaka ne batubba era ne batwala n’ebisolo byaffe.

Bwe nnali mu myaka gyange egy’obutiini, nnanywanga nnyo omwenge nga ndi ne mikwano gyange, nnafuuweetanga sigala, era nnabbanga nsobole okufuna ssente ezigula ebintu ebyo. Nnatuuka n’okubba amajolobero ga jjajja wange. Abasirikale baanteebereza okuba omu ku abo abaali mu kabinja k’abayeekera akaayitibwanga New People’s Army (NPA) era emirundu egisinga obungi baankubanga nnyo. N’ekyavaamu, nnasalawo okwegatta ku kabinja ako. Okumala emyaka etaano, nnabeeranga mu nsozi n’abayeekera ba NPA. Obulamu tebwali bwangu. Twabeeranga mu ddukadduka, nga tudduka abasirikale. Oluvannyuma, nnakoowa okwekukuma mu nsozi, ne nsalawo okwewaayo eri gavana w’essaza ly’e Ilocos Norte. Yampisa bulungi era n’annyamba okufuna omulimu omulungi. Wadde kyali kityo, nnasigala nkyenyigira mu mize emibi, nga mmenya amayumba ne nziba era nga ntiisatiisa abantu.

ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Omukyala gwe nnakolanga naye ayitibwa Loida yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Okuyitira mu mukyala oyo, nnasisinkana Jovencio eyatandika okunjigiriza Baibuli. Naye tekyali kyangu okuleka emize emibi gye nnalina. Ekiseera Jovencio kye yansomesezangamu Baibuli, kye ssaafuuweeterangamu sigala, era nnasigala nneenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. N’ekyavaamu, poliisi yankwata nga mmenya amateeka ne nsibibwa mu kkomera okumala emyezi 11 be ddu. Mu kiseera ekyo, nnasaba Yakuwa nga mmwegayirira annyambe. Nnamusaba ansonyiwe era ampe n’omwoyo gwe omutukuvu gumpe obulagirizi era gunsobozese okuba omunywevu.

Nga wayiseewo akaseera, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yankyalira mu kkomera era n’andeetera Baibuli. Nnagisoma era ne njiga nti Yakuwa musaasizi, wa kwagala, era asonyiwa ebibi. Nnakitegeera nti Yakuwa abadde musaasizi gye ndi era ampadde akakisa okuyiga amakubo ge. Nnamusaba okumpa amaanyi okusobola okuleka emize gyange emibi. Bye nnasoma mu Engero 27:11 byankwatako nnyo. Nnakitwala nti ebyo Yakuwa bye yayogera mu lunyiriri olwo yali abigamba nze butereevu. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, Ndyokenga nziremu oyo anvuma.”

Bwe nnasumululwa okuva mu kkomera, nnaddamu okusoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana zaabwe, era ne ntandika okukolera ku misingi gya Baibuli. N’ekyavaamu, olw’obuyambi bwa Yakuwa nnaleka emize emibi gye nnalina, era ne mpaayo obulamu bwange eri Yakuwa Katonda.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Ng’oggyeko obulamu bwange obw’emabega, kati ndi musanyufu. Wadde nga nnali muddu wa bikolwa bibi, nfuuse omuntu omuggya. (Abakkolosaayi 3:9, 10) Leero, nnina enkizo okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Yakuwa abayonjo era n’okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Katonda waffe omuyinza w’ebintu byonna, Yakuwa.

“Nnali njagala kukiikirira Brazil.”​—JULIANA APARECIDA SANTANA ESCUDEIRO

EMYAKA: 31

ENSI: BRAZIL

EBYAFAAYO: NNANTAMEGGWA MU KUZANNYA TAYIKONDO

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira mu kabuga akayitibwa Londrina. Wadde ng’abantu abasinga obungi abaabeeranga mu kitundu ekyo baali baavu, kyali kiyonjo era nga kirimu emirembe. Bwe nnaweza emyaka kkumi, mwannyinaze omukulu yankubiriza okumwegattako okuyiga omuzannyo ogw’okulwana oguyitibwa tayikondo, ekitegeeza “okukozesa emikono n’ensambaggere” Taata yali tayagala njige muzannyo ogwo naye oluvannyuma yabivaako.

Nnafuna okutendekebwa okw’amaanyi era ne mpangula empaka nnyingi eza tayikondo eza bannantameggwa ezaategekebwanga mu ssaza ly’e Parana. Oluvannyuma nnawangula empaka z’eggwanga lyonna, era mu 1993, nnalangirirwa ng’omuzannyi wa Brazil nnantameggwa mu kuzannya tayikondo. Nnali njagala kuvuganya mu mpaka za bannantameggwa ez’ensi yonna. Kyokka, bazadde bange baali baavu era tebaalina ssente za kunsasulira kugenda mu si z’ebweru.

Nnali nsuubira nti omuzannyo gwa tayikondo gwanditekeddwa mu mizannyo gya Olimpikisi era mangu ddala kino kyatuukirira. Nnali njagala kukiikirira Brazil mu Mizannyo gya Olimpikisi, n’olwekyo nnafuna okutendekebwa okw’amaanyi era ne nfuna abaansasulira ssente ekyansobozesa okuvuganya mu mpaka ezaali mu Bufalansa, Vietnam, South Korea, Japan, ne mu South America. Ekiruubirirwa kyange ekirala kyali okwenyigira mu mizannyo egiyitibwa Pan American Games era nnakola bulungi ne kiba nti nnalondebwa okuba omu ku bantu abasatu abaandivuganyizza mu mpaka z’omuzannyo ogwo ezaali e Santo Domingo, mu ggwanga lya Dominican Republic, mu 2003.

ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu mwaka gwa 2001, nze n’omulenzi wange twasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, ne batandika okutuyigiriza Baibuli. Mu kusooka ssaanyumirwanga. Nnabanga mukoowu nnyo nga sisobola kussaayo mwoyo, era nnasumagiranga nga tusoma. Wadde kyali kityo, bye nnayiga byantuuka ku mutima—ekyo kyeyoleka bulungi nga ntuuse ku mpaka ez’amaanyi ezaali ziddako.

Olw’okuba nnali nnondeddwa okubeera mu ttiimu ya Pan American Games, abatendesi ba tayikondo bantwala okuvuganya mu mpaka ez’okusunsulamu abo abandizannye mu mpaka z’akamalirizo. Ekiseera kyange eky’okulwana bwe kyatuuka, nnayimirira buyimirizi mu kifo kimu—nnali sikyayagala kulwana. Mangu ddala nnakitegeera nti Omukristaayo tasaanidde kulwana na balala—ka kibeere mu muzannyo! Nnajjukira ekiragiro kya Baibuli ekigamba nti ‘yagala muntu munno nga bwe weeyagala.’ (Matayo 19:19) Nnakyuka ne ntambula okuva mu kifo ekyo nga sisuubira kukyusa ndowooza yange. Abantu baantunuulira enkaliriza nga tebakikkiriza.

Bwe nnaddayo eka, nnatuula ne ndowooza ku ekyo kye nnali ŋŋenda okukola mu bulamu bwange. Nnakwata brocuwa eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa eyogera ku ekyo Katonda ky’atwetaagisa. Mu yo nnalabamu ekyawandiikibwa ekiri mu Zabbuli 11:5 ekyogera ku Yakuwa nga kigamba nti: ‘oyo ayagala eby’ettemu emmeeme ye emukyawa.’ Ebigambo ebyo eby’omuwandiisi wa zabbuli byantuuka ku mutima era ne nsalawo obutaddamu kuzannya tayikondo.

Abo abaantendekanga mu tayikondo kino tebakisanyukira. Baagezaako okukyusa endowooza yange nga bagamba nti nze nnali omuzannyi asinga abalala mu ggwanga eryo era nti nnali nnaatera okuvuganya mu Mizannyo gya Olimpikisi. Naye nnali mmaze okusalawo.

Mu kiseera ekyo, nze n’omulenzi wange twali bafumbo. Ye yali atandise okubuulira awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yakomangawo awaka nga musanyufu era n’ambuulira ku ebyo bye yabanga abuuliddeko abantu abalala. Nnakimanya nti okusobola okufuna enkizo eyo, nnalina okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nneekutula ku ddiini gye nnalimu era oluvannyuma n’atuukiriza ebisaanyizo ne mbatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nze n’omwami wange tuli basanyufu nnyo era tuli bumu olw’okuba tufuba okukolera ku misingi gya Baibuli mu bufumbo bwaffe. Kinsanyusa nnyo okuwagira omwami wange ng’afuba okulabirira ekibiina mwe tukuŋŋaanira. Nnandibadde nfuba nnyo okuwangula omudaali ogwa zaabu ne mba mwatiikirivu. Naye muli mpulira nti teri kintu ky’oyinza kufuna mu nsi eno etaliimu bwenkanya kiyinza kugeraageranyizibwa na kuweereza Yakuwa Katonda.

“Taata wange teyalekera awo kunnyamba.”​—INGO ZIMMERMANN

EMYAKA: 44

ENSI: BUGIRIMAANI

EBYAFAAYO: NNALI MUKUUMI MU KIFO EKISANYUKIRWAMU

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu maka agatali bumu mu nzikiriza mu kabuga akayitibwa Gelsenkirchen omwali ekirombe ky’amanda (coal). Taata wange yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Naye Maama yamuziyizanga nga tayagala nze, muganda wange, ne bannyinaze ababiri tubeere ba nzikiriza ye. Yakolanga okumala essaawa kkumi n’okusingawo olunaku ng’avuga loole. Emirundi egisinga obungi yatandikanga okukola ku ssaawa munaana oba mwenda ez’ekiro. Kyokka, yafubanga nnyo okutuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Wadde kyali kityo, okufuba kwe ssaakusiima.

Bwe nnaweza emyaka 15, nnawulira ng’enkuŋŋaana z’eddiini ze yantwalangamu sikyazaagala era ne nneewaggula. Nga wayiseewo omwaka gumu, nneegatta ku bakubi b’ebikonde. Mu myaka ebiri egyaddirira, nneeyisanga mu ngeri embi ennyo ekyayongera okunakuwaza taata. Bwe nnaweza emyaka 18, nnava awaka.

Nneegombanga nnyo eby’emizannyo era nnatendekebwanga kumpi emirundi mukaaga buli wiiki—okusooka, okukuba ebikonde ate oluvannyuma okusitula obuzito. Ku wiikendi, nze ne mikwano gyange twagendanga mu bifo ebisanyukirwamu okuzina. Lumu, nnalwana ne kasitoma eyalabika ng’ow’obulabe era ne mmumegga awatali kulwa. Nnannyini kifo bwe yalaba ekyo kye nnali nkoze, yampeerawo omulimu ogw’okukola ng’omukuumi w’ekifo ekyo. Olw’okuba omusaala gwali mulungi, nnakkiriza okukola omulimu ogwo.

Buli wiikendi, nnayimiriranga ku mulyango oguyingira mu kifo ekyo ekisanyukirwamu, era nze nnasalangawo ani asaanidde okuyingira n’atasaanidde. Abantu nga 1,000 be bajjanga mu kifo ekyo, n’olwekyo nnakolanga nnyo. Abantu baateranga okulwana. Nnaatiisibwatiisibwanga n’emundu era n’amacupa amaatifu nga baagala okuntuusaako obulabe. Abamu ku abo be nnagaananga okuyingira oba be nnafulumyanga bannindiranga wabweru nga baagala okunneesasuza. Nnalina emyaka 20 era nga ndowooza nti tewali asobola kunneesimbamu. Mu butuufu, nnali sisobola kwefuga—nnali mukambwe, wa malala, wa ffujjo, era nga njagala nnyo okuba omuwanguzi.

ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Taata wange teyalekera awo kunnyamba. Yakola enteekateeka okumpeerezanga magazini za Watchtower ne Awake!. * Nnazituuma mwe nnali nsula, kyokka nga sizisoma. Lumu nnasalawo okutunulako mu zimu ku magazini ezo. Ebitundu bye nnasoma ebikwata ku ngeri eby’obufuzi, eby’enfuna, n’eddiini gye bigenda okuzikirizibwamu, byandeetera okukubira mwannyinaze essimu. Ye n’omwami we baali Bajulirwa ba Yakuwa. Bansaba okunjigiriza Baibuli era ne nzikiriza.

Okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Abaggalatiya 6:7 kyandeetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nnakimanya nti buli kye nkola, kye njogera, oba kye nsalawo leero kijja kubaako kye kikola ku bulamu bwange mu biseera eby’omu maaso. Ekyawandiikibwa ekiri mu Isaaya 1:18, nakyo kyanzizaamu amaanyi, kigamba nti: “‘Mujje nno, tuteese ffembi,’ bw’ayogera Mukama. ‘Ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira.’” Okuviira ddala ku ntandikwa y’okuyiga kwange, ekyawandiikibwa ekyo kyannyamba obuteetwala nti sisaanira oba okuwulira nti nnali sikyasobola kudda eri Yakuwa.

Mu myezi mukaaga, nnali mmaze okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange, naye ekyo tekyali kyangu. Nnalina okwekutula ku mikwano emibi n’okweggya mu mbeera gye nnalimu. N’olwekyo, nnatandika okubuulira mikwano gyange nti nnali njiga Baibuli era nga mbabuulira ne ku ebyo bye nnali njiga. Baatandika okunneewala era nga bampita kabona. Mwannyinaze yannyamba okufuna omulimu omulala ogusaanira.

Nnatandika n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka mwannyinaze n’omwami we gye baakuŋŋaaniranga, wadde nga kyali mayiro 19 okuva we nnabeeranga. Waaliwo Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyali okumpi n’ewange, naye nnali ntya okusisinkana abantu abaali bammanyi okuviira ddala mu buto bwange. Nnatyanga n’okubuulira nnyumba ku nnyumba, mu kitundu mmwe nnabeeranga. Watya singa nnasanganga omuntu gwe nnali nnafulumya okuva mu kifo we nnali nkuuma oba gwe nnali nnawa ku biragalalagala? Wadde kyali kityo, nnakozesa eky’okuyiga kye nnali nfunye mu kutendekebwa okw’okusitula obuzito n’okukuba ebikonde—okutendekebwa okusinga obuzibu kwe kusinga okuba okw’omuganyulo. N’olwekyo, bwe nnafuna ebisaanyizo okubuulira, nnafuba okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka.

Waliwo obuzibu obulala bwe nnalina okuvvuunuka—nnali saagala kusoma oba okwesomesa. Naye nnakimanya nti okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, nnalina okufuba okusima amazima agali munda mu Bayibuli. Nnakizuula nti nga bwe kiri mu kusitula obuzito olina okufuba bw’oba oyagala okufuna amaanyi.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nneekutula ku mize emibi egyandinviiriddemu okufa amangu! Nnina okuba omwegendereza nneme kuddamu kutwalirizibwa bunafu bwange. Naye kati ndi musanyufu olw’okuba n’amaka amalungi n’okuba n’omukyala alina engeri ennungi ez’Ekikristaayo. Nnina emikwano egya nnamaddala gye nneesiga mu Bajulirwa ba Yakuwa. Taata wange yafa emyaka etaano egiyise, naye nga tannafa yali musanyufu okulaba nti nnali nkyusizza obulamu bwange.

[Obugambo obuli wansi]

^ Zikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.